Footnote
c EBIFAANANYI: Enkyukakyuka omuntu z’asobola okukola singa ayigirizibwa Bayibuli: Mu kusooka omusajja awulira nti obulamu bwe tebulina makulu, olw’okuba tamanyi Yakuwa. Oluvannyuma Abajulirwa bamusanga nga babuulira, era n’akkiriza okuyigirizibwa Bayibuli. By’ayigirizibwa bimuleetera okwewaayo n’okubatizibwa. Ekiseera bwe kiyitawo, naye ayamba abalala okufuuka abayigirizwa. Oluvannyuma bonna banyumirwa obulamu mu nsi empya.