Footnote
a Ng’enjatika entono bwe zisobola okunafuya ekintu eky’ebbumba, omwoyo gw’okuvuganya gusobola okunafuya ekibiina. Ekibiina bwe kitaba kinywevu era bwe kitaba bumu, tekisobola kuba kifo eky’emirembe eky’okusinzizaamu Katonda. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okwewala okuba n’omwoyo gw’okuvuganya era ne kye tusobola okukola okuleetawo emirembe mu kibiina.