Footnote
a Amaka okusobola okubaamu essanyu, buli omu agalimu alina okumanya ekyo ekimusuubirwamu era alina okukolagana obulungi n’abalala abagalimu. Taata alina okukulembera ab’omu maka ge mu ngeri ey’okwagala, maama alina okumuyambako, ate abaana balina okuba nga bagondera bazadde baabwe. Ekyo bwe kityo bwe kiri ne mu maka ga Yakuwa. Katonda waffe yatutonda ng’alina ekigendererwa, era bwe tukola ebyo by’ayagala okusobola okutuukana n’ekigendererwa kye, tujja kuba ba mu maka ge emirembe gyonna.