Footnote
b EBIFAANANYI: OIw’okuba baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, omwami n’omukyala balagaŋŋana okwagala n’obusaasizi era babiraga n’abaana baabwe. Ate era baagala nnyo Yakuwa. Olw’okuba basiima ekirabo eky’okuba n’abaana, bafuba okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa n’okumuweereza. Abazadde abo bakozesa vidiyo okunnyonnyola abaana baabwe ensonga lwaki Yakuwa yawaayo ekinunulo. Ate era babayigiriza nti mu lusuku lwa Katonda tujja kulabirira ensi n’ebisolo emirembe gyonna.