Footnote
b EBIFAANANYI: Okuviira ddala mu buto, mwannyinaffe abaddenga asaba Yakuwa obutayosa. Bwe yali akyali muto, bazadde be baamuyigiriza engeri y’okusabamu. Bwe yayingira emyaka gy’obutiini, yatandika okuweereza nga payoniya, era emirundi mingi yasabanga Yakuwa amuyambe okutuukiriza obulungi obuweereza bwe. Nga wayise emyaka, omwami wa mwannyinaffe oyo bwe yali nga mulwadde nnyo, mwannyinaffe yeegayiriranga Yakuwa amuwe amaanyi okugumira ekizibu ekyo. Leero mwannyinaffe oyo nnamwandu, naye akyanyiikirira okusaba nga mukakafu nti Kitaawe ow’omu ggulu ajja kuddamu essaala ze nga bw’abaddenga aziddamu.