Footnote
a Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna. Naye abantu bangi ekyo tebakikkiriza. Bagamba nti obulamu bwajjawo bwokka. Ebyo bye boogera tebijja kunafuya kukkiriza kwaffe singa tufuba okunyweza okukkiriza kwe tulina mu Katonda ne mu Bayibuli. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.