Footnote
a Okwenenya mu bwesimbu tekikoma ku kwetonda oba okugamba nti tuboneredde. Mu kitundu kino tugenda kulaba ekyokulabirako kya Kabaka Akabu, Kabaka Manase, n’omwana omujaajaamya Yesu gwe yayogerako mu lugero, kituyambe okumanya kye kitegeeza okwenenya mu bwesimbu. Ate era tugenda kulaba ebyo abakadde bye basaanidde okulowoozaako nga bakola ku nsonga z’omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi okulaba obanga ddala yeenenyezza.