Footnote
a Yesu bwe yagamba nti endiga ze zandiwulirizza eddoboozi lye, yali ategeeza nti abayigirizwa be bandiwulirizza enjigiriza ze era ne bazikolerako mu bulamu bwabwe. Mu kitundu kino tugenda kulaba enjigiriza za Yesu bbiri, kwe kugamba, okulekera awo okweraliikirira eby’obulamu, n’okulekera awo okusalira abalala omusango. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukolera ku ebyo bye yayigiriza.