Footnote
a Yakuwa ye mukwano gwaffe asingayo. Omukwano gwe tulina naye tugutwala nga gwa muwendo nnyo, era twagala okweyongera okumumanya obulungi. Kitwala ekiseera okumanya omuntu. Bwe kityo bwe kiri bwe tuba nga twagala okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Tulina eby’okukola bingi mu bulamu, kati olwo tuyinza tutya okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, era tunaaganyulwa tutya nga tukikoze?