Footnote
a Yakuwa yawa nnabbi Zekkaliya okwolesebwa okutali kumu. Ebyo Zekkaliya bye yalaba byamuzzaamu amaanyi awamu n’abantu ba Yakuwa abalala okusobola okuzzaawo okusinza okw’amazima, wadde nga tekyali kyangu. Okwolesebwa okwo naffe kusobola okutuyamba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebikulu bye tusobola okuyigira ku kwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna okukwata ku kikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni.