Footnote
a Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna, y’alina okusinzibwa. Ebyo bye tukola nga tumusinza abikkiriza bwe tuba nga tugondera amateeka ge, era nga tutambulira ku mitindo gye. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu munaana ebizingirwa mu kusinza kwaffe. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tukolamu ebintu ebyo, era n’engeri gye biyinza okutuyamba okuba abasanyufu.