Footnote
a Timoseewo yali mubuulizi w’amawulire amalungi eyalina obumanyirivu. Kyokka omutume Pawulo yamukubiriza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Timoseewo bwe yandikoledde ku magezi Pawulo ge yamuwa, yandyeyongedde okuba ow’omugaso eri Yakuwa era n’eri bakkiriza banne. Okufaananako Timoseewo, naawe oyagala okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era n’okuyamba bakkiriza banno? Bwe kiba bwe kityo, biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo ebinaakuyamba? Era biki ebizingirwa mu kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okubituukako?