Footnote
b EBIFAANA: Ow’oluganda yaweerezaako ku Beseri ng’akyali muvubuka. Oluvannyuma yawasa era ye ne mukyala we ne baweereza nga ba payoniya. Bwe baazaala abaana, yabatendeka mu mulimu gw’okubuulira. Kati akaddiye, naye era akyeyongera okubuulira n’obunyiikivu ng’akozesa amabaluwa.