Footnote
a Ekiseera kye tulimu kikulu nnyo mu byafaayo. Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga, ng’obunnabbi bwa Bayibuli obutali bumu bwe bulaga. Mu kitundu kino, tugenda kulaba obumu ku bunnabbi obwo. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe, n’okusigala nga tuli bakkakkamu era n’okweyongera okwesiga Yakuwa kati ne mu biseera eby’omu maaso.