Footnote
a Tusiima nnyo enkizo ey’okutuukirira Yakuwa mu kusaba. Twagala essaala zaffe zibe ng’obubaani obuwunya akawoowo obumusanyusa. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tusobola okuteeka mu ssaala zaffe. Ate era tugenda kulabayo ebintu bye tusaanidde okulowoozaako nga tusabiddwa okukiikirira abalala mu kusaba.