Footnote
d Kabaka Asa alina ebibi eby’amaanyi bye yakola. (2 Byom. 16:7, 10) Kyokka ayogerwako bulungi mu Bayibuli. Wadde nga mu kusooka yagaana okukolera ku kuwabula okwamuweebwa, kiyinzika okuba ng’oluvannyuma yeenenya. Okutwaliza awamu, ebintu ebirungi bye yakola byasingira wala ensobi ze yakola. Asa yasinzanga Yakuwa yekka, era yafuba okuggya mu bwakabaka bwe ebifaananyi ebyali bisinzibwa.—1 Bassek. 15:11-13; 2 Byom. 14:2-5.