Yobu
2 Osobola okuyisa omuguwa mu nnyindo zaayo
Oba okufumita emba zaayo n’eddobo?*
3 Eneekwegayirira,
Oba eneeyogera naawe n’eggonjebwa?
4 Eneekola naawe endagaano
Osobole okugifuula omuddu wo ennaku zonna?
5 Onoozannya nayo ng’azannya n’ekinyonyi
Oba onoogisibira bawala bo bagizannyise?
6 Abasuubuzi banaagiwaanyisaamu ebyamaguzi ebirala?
Banaagigabanyizaamu abasuubuzi?
7 Onoofumita eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo?+
Oba onoofumita omutwe gwayo amafumu agaswagga ebyennyanja?
8 Gikwateko;
Olutalo lw’onoolwana nayo tolirwerabira era tolikiddamu!
9 Toyinza kugimala maanyi.
N’okugirabako obulabi kiyinza okukutiisa.*
10 Tewali n’omu ayinza kwetantala kugicookooza.
N’olwekyo ani ayinza okunneetantala?+
11 Ani eyasooka okumpa ekintu kyonna, mmusasule?+
Buli ekiri wansi w’eggulu kyange.+
12 Siireme kwogera ku magulu gaayo,
Ku maanyi gaayo, ne ku ngeri ennungi gye yakulamu.
13 Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky’okungulu?
Ani anaayingira mu kamwa kaayo?
14 Ani ayinza okwasamya akamwa kaayo?
Amannyo gaayo gonna ga ntiisa.
15 Ku mugongo gwayo kuliko amagalagamba*
Agasibaganye.
16 Buli limu lyekutte ku linnaalyo,
Empewo n’eba nga tesobola kugayitamu.
17 Buli limu lyekwatidde ku linnaalyo;
Geekutte wamu era tegayinza kwawulibwa.
18 Bw’efugula, wabaawo ekitangaala,
N’amaaso gaayo galinga ekitangaala ky’enjuba evaayo.
19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebimyanso;
Muvaamu ensasi z’omuliro.
20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka,
Ng’oguva mu kyoto kye bataddemu ebisubi.
21 Omukka gw’essa gukoleeza amanda,
Ennimi z’omuliro ziva mu kamwa kaayo.
22 Ensingo yaayo erimu amaanyi mangi,
Etiisa abo abali mu maaso gaayo.
23 Enfunyiro z’omubiri gwayo zigattiddwa wamu;
Nnywevu era tezisagaasagana, ziringa ezaakolebwa mu kyuma ekisaanuuse.
24 Omutima gwayo mugumu ng’ejjinja,
Mugumu ng’olubengo.
25 Bw’eyimuka, n’ab’amaanyi batya;
Bw’ekuba amazzi abantu basoberwa.
26 Ekitala tekisobola kugiwangula;
Wadde effumu, oba akasaale, oba omuwunda.+
27 Ekyuma ekitwala ng’ebisubi,
Ekikomo ekitwala ng’ekiti ekivunze.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa;
Amayinja g’envuumuulo gaba nga bisubi ku yo.
29 Embuukuuli egitwala ng’akasubi,
Era esekerera effumu erigaluddwa.
30 Wansi waayo eringa enzigyo eziriko obwogi;
Yeekulula mu bitosi ng’ekyuma ekiwuula.+
31 Ereetera ennyanja okutokota ng’entamu;
Esiikuula ennyanja n’eba ng’entamu erimu amafuta ag’akaloosa ageesera.
32 Weeyise erekawo amayengo agamasamasa.
Omuntu ayinza n’okulowooza nti obuziba bulina envi.
33 Tewali kiringa yo ku nsi,
Ekitonde ekitatya.
34 Buli ekirina amalala ekitunuuliza busungu.
Ye kabaka w’ensolo zonna ez’omu nsiko ez’amaanyi.”