-
Okuba n’Essuubi Kireetawo Enjawulo?Zuukuka!—2004 | Apuli 22
-
-
Okuba n’Essuubi Kireetawo Enjawulo?
DANIEL yalina emyaka kkumi gyokka, era yalina obulwadde bwa kookolo nga bwakamulumira omwaka mulamba. Abasawo abaali bamujjanjaba awamu n’abalala abaamuli ku lusegere baali baweddemu essuubi nti asobola okuwona. Naye Daniel ye yalina essuubi. Yali asuubira nti yandikuze n’afuuka omusawo, n’ayambako mu kunoonyereza ku ddagala erivumula kookolo. Okusingira ddala yali agumidde ku ky’okuba nti waaliwo omusawo eyali agenda okujja okumulaba eyalina obumanyirivu mu kujjanjaba ekika kya kookolo gwe yalina. Kyokka olunaku omusawo lwe yali ow’okujjirako bwe lwatuuka, teyasobola kujja olw’embeera y’obudde embi. Daniel yaggwaamu amaanyi. Essuubi lye yalina lyamuggwaamu, era waayita ennaku ntono n’afa.
Ebyo ebikwata ku Daniel byayogerwa omusawo omu eyeekenneenya engeri okuba n’essuubi n’obutaba na ssuubi gye kikwata ku bulamu bw’omuntu. Oyinza okuba nga naawe wali owuliddeko ku kintu ekifaananako n’ekyo ekyaliwo ku Daniel. Ng’ekyokulabirako, omuntu omu omukadde ayinza okuba ku ndiri naye ng’alina ekintu kye yeesunga okutuukako, oba omuntu gwe yeesunga okulaba. Ekyo ky’abadde yeesunga bw’amala okukifuna, wayita ekiseera kitono n’afa. Kiki ekiba kiyambye omuntu oyo okubeerawo okumala akaseera? Kyandiba nti okuba n’essuubi kirimu amaanyi agatali ga bulijjo ng’abamu bwe balowooza?
Abasawo bangi bagamba nti okulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi n’okuba n’essuubi, kirina kinene kye kikola ku bulamu bw’omuntu. Naye abasawo abamu ekyo tebakkiriziganya nakyo. Abamu bagamba nti tekikwatagana na ssaayansi. Bagamba nti endowooza n’enneewulira, tezirina kakwate na ndwadde eziruma abantu.
Si kipya okuba nti abamu bagamba nti okuba n’essuubi si kikulu. Ebyasa bingi emabega, omufirosoofo Omuyonaani eyali ayitibwa Aristotle bwe yasabibwa okunnyonnyola amakulu g’ekigambo “essuubi” yagamba nti: “Essuubi kwe kuloota ng’otunula.” Ate ne mu kiseera kyaffe, munnabyabufuzi Omumerika eyali ayitibwa Benjamin Franklin yagamba nti: “Omuntu abeera mu kusuubira afa enjala.”
Kati olwo ekituufu ekikwata ku kuba n’essuubi kye kiruwa? Okuba n’essuubi kitegeeza kubeera awo ng’olowooza ku bintu ebitasoboka, oba okubeera obubeezi mu birooto? Oba kyandiba nti waliwo ensonga kwe tusinziira okugamba nti okuba n’essuubi kintu kikulu nnyo, era nti ffenna tulyetaaga okusobola okuba abalamu obulungi, era abasanyufu?
-
-
Lwaki Twetaaga Okuba n’Essuubi?Zuukuka!—2004 | Apuli 22
-
-
Lwaki Twetaaga Okuba n’Essuubi?
WATYA singa Daniel, omwana ayogeddwako mu kitundu ekiwedde yali asigadde ng’alina essuubi? Yandisobodde okuwona kookolo? Yandibadde akyali mulamu leero? N’abantu abakkiririza ennyo mu bukulu bw’okuba n’essuubi, ekyo tebasobola kukikkiriza. N’olwekyo waliwo ekintu ekikulu ennyo kye tusaanidde okujjukira. Tetusaanidde kulowooza nti essuubi lisobola okuwonya obulwadde bwonna omuntu bw’aba nabwo, oba okumalawo ebizibu byonna by’aba nabyo.
Omusawo ayitibwa Nathan Cherney bwe yali ayogerera ku mukutu gw’amawulire ogumu, yalaga akabi akali mu kulowooza nti omulwadde omuyi bw’aba n’essuubi, buli kimu kiba kisoboka. Yagamba nti: “Oluusi tulaba abaami nga banenya bakyala baabwe nti tebafumiitirizza kimala era nti tebafubye kulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi.” Cherney agattako nti: “Obulwadde bw’omuntu bwe bweyongera okunyiinyiitira, abantu ababa n’endowooza eyo baba ng’abagamba nti abadde alina ky’ayinza okukolawo okuziyiza, ka tugeze ekizimba, okweyongera okukula, ate ng’ekyo tekisoboka.”
Ekituufu kiri nti, omuntu aba n’obulwadde obutawona obuba bugenda okumuviirako okufa, embeera gy’aba ayitamu teba nnyangu. N’olwekyo, tekiba kikolwa kya kisa okuleetera omulwadde ng’oyo okulumirizibwa omutima. Kati olwo tugambe nti okuba n’essuubi tekirina mugaso gwonna?
Si bwe kiri, omusawo oyo y’omu bw’aba ajjanjaba abantu, okusingira ddala essira talissa ku kulwanyisa bulwadde butereevu oba okwongezaayo obulamu bw’abantu, wabula alissa ku kulaba nti omulwadde abeera mu mbeera ennungi nga bwe kisoboka, ebbanga lyonna ly’amala nga tannafa. Abasawo abalina endowooza ng’eyiye bakkiriza nti obujjanjabi obuyamba omulwadde, k’abe muyi, obutennyamira bukulu nnyo. Waliwo obukakafu obulaga nti omuntu bw’aba n’essuubi kimuyamba obutennyamira.
Ensonga Lwaki Kikulu Okuba n’Essuubi
Omusawo ayitibwa W. Gifford-Jones yagamba nti: “Essuubi ddagala lya maanyi.” Yeekenneenya okunoonyereza okutali kumu okwakolebwa okusobola okumanya obukulu bw’okubudaabuda abantu ababa n’obulwadde obuba bugenda okubaviirako okufa. Kigambibwa nti abalwadde abaweebwa obuyambi ng’obwo batera okuba n’essuubi era tebatera kuggwaamu maanyi. Okunoonyereza okulala okwakolebwa mu 1989 kwalaga nti abalwadde abaaweebwa obuyambi obwo baabeerawo ebbanga ggwanvuko okusinga bwe kyandibadde. Naye okunoonyereza okulala okukoleddwa mu myaka egyakayita tekuwagira nnyo nsonga eyo. Kyokka okunoonyereza okukoleddwa kukakasa nti abalwadde ababudaabudibwa tebennyamira nnyo era tebafuna bulumi bwa maanyi nga bwe kyandibadde nga tebabudaabudiddwa.
Lowooza ku kunoonyereza okulala okwakolebwa okwalaga engeri okulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi n’ebimalamu amaanyi gye kirina akakwate n’obulwadde obumu obw’omutima. Abasajja abasukka mu 1,300 be baanoonyerezebwako. Oluvannyuma lw’emyaka kkumi, kyazuulibwa nti 12 ku buli kikumi ku basajja abo baalina obulwadde bw’omutima. Ku basajja abo abaali abalwadde, omuwendo gw’abo abaali balowooza ku bintu ebimalamu amaanyi gwali kukubisaamu emirundi ebiri ogw’abo abaali balowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi. Omusawo ayitibwa Laura Kubzansky akolera ku ttendekero erimu ery’abasawo agamba nti: “Obujulizi obusinga obungi obulaga nti okuba n’endowooza ennungi kiyamba obulamu bw’abantu bubadde buva eri abantu kinnoomu; naye oluvannyuma lw’okunoonyereza kuno, abasawo kati bakakasa nti endowooza omuntu gy’aba nayo erina akakwate n’endwadde z’omutima.”
Waliwo okunoonyereza okwalaga nti abantu abalowooza nti embeera y’obulamu bwabwe mbi nnyo batera okuyisibwa obubi nga balongooseddwa, okusinga abo abalowooza nti embeera y’obulamu bwabwe si mbi nnyo. Ate era kirowoozebwa nti okuwangaala kw’omuntu kulina akakwate n’endowooza ennungi gy’aba nayo. Okunoonyereza okulala kwalaga engeri abakadde gye bakwatibwako olw’endowooza ennungi oba etali nnungi gye baba nayo ku bintu ebijjawo olw’obukadde. Abakadde bwe baagambibwa nti omuntu bw’akaddiwa yeeyongera okuba omugezi era nti aba n’obumanyirivu bungi mu bintu ebitali bimu, baatandika okutambuza amaanyi. Mu butuufu amaanyi ge baalina gaali genkana n’ago ge bandifunye nga bakoze dduyiro okumala wiiki 12!
Lwaki ebintu ng’essuubi n’okulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi kirabika birina kye biyamba ku bulamu? Oboolyawo bannassaayansi n’abasawo tebannategeera bulungi ngeri ndowooza y’omuntu n’omubiri gwe gye bikolamu okusobola okumanya eky’okuddamu. Naye abo abanoonyereza ku bintu ebyo balina ebintu eby’omuganyulo bye bazudde. Ng’ekyokulabirako, omusawo omu ajjanjaba endwadde ezikosa obusimu bw’omubiri agamba nti: “Bw’oba omusanyufu era ng’olina essuubi oba owulira bulungi. Kiyamba omubiri okuba nga mukkakkamu, era kiganyula nnyo omubiri. Kye kimu ku bintu ebisobola okuyamba abantu okuba abalamu obulungi.”
Endowooza eyo eyinza okwewuunyisa abasawo abamu ne bannassaayansi kubanga mpya gye bali. Naye si mpya eri abo abasoma Bayibuli. Emyaka nga 3,000 emabega, Kabaka Sulemaani yaluŋŋamizibwa okugamba nti: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.” (Engero 17:22) Weetegereze nti olunyiriri olwo terugamba nti omutima omusanyufu guwonya buli bulwadde, wabula lugamba nti “ddagala ddungi.”
N’olwekyo bwe kiba nti essuubi ddagala, musawo ki atandiriwadde balwadde be? Naye essuubi terikoma ku kuyamba muntu kuba mulamu bulungi.
Engeri Okuba n’Essuubi oba Obutaba na Ssuubi Gye Kikwata ku Bulamu Bwo
Abanoonyereza bakizudde nti abantu abasuubira ebintu ebirungi baganyulwa mu ngeri nnyingi. Batera okukola obulungi ku ssomero, ku mirimu, ne mu by’emizannyo. Ng’ekyokulabirako, waliwo okunoonyereza okwakolebwa ku ttiimu emu ey’abakazi abaddusi. Abatendesi baabuuzibwa ebibuuzo ku ekyo ekyandivudde mu misinde era ne bawa endowooza yaabwe nga basinziira ku busobozi bw’abakazi abo kinnoomu. Abakazi nabo baawa endowooza yaabwe nga basinziira ku ssuubi lye baalina. Ebyavaamu byalaga nti essuubi abakazi abo lye baalina lyabayamba okukola obulungi okusinga obusobozi bwe baalina. Lwaki essuubi likola kinene nnyo ku bulamu bw’omuntu?
Waliwo bingi ebizuuliddwa ebiraga ebizibu ebiva mu butaba na ssuubi. Mu myaka gya 1960, waliwo okunoonyereza okwakolebwa ku nneeyisa y’ensolo okwaviirako abanoonyereza okukizuula nti obuteesobola busobola okuyigibwa. Baakizuula nti abantu nabo basobola okufuna ekizibu ekyo. Ng’ekyokulabirako, waliwo abantu be baateeka mu kifo ekimu omwali ebireekaana era ne babagamba nti baali basobola okubaako amapeesa ge banyiga ne baggyako amaloboozi g’ebintu ebyo. Abantu abo baasobola kuggyako amaloboozi ago.
Ekibinja eky’okubiri eky’abantu nakyo kyateekebwa mu kifo ekyo era ne bagambibwa okukola ekintu kye kimu, naye amapeesa gaali tegakola. Bangi ku abo abaali mu kibinja ekyo eky’okubiri baatandika okulowooza nti baali tebalina kye bayinza kukolawo kuggyako maloboozi ago. Ku mirundi egyaddako, baali tebaagala kubaako kintu kyonna kye bakola. Baali bakakafu tewaali kye basobola kukolawo kuggyako maloboozi ago. Kyokka mu kibinja ekyo eky’okubiri, abo abaalina essuubi bo baasigala bagezaako nga bakakafu nti basobola okuggyako amaloboozi ago.
Omusawo ayitibwa Seligman, omu ku abo abaakola okunoonyereza okwo yasalawo okwemalira ku kunoonyereza ku ngeri okuba n’essuubi n’obutaba na ssuubi gye kikwata ku bulamu bw’omuntu. Yeekenneenya abantu abalowooza nti bo buli kimu tebakisobola. Endowooza ng’eyo eviirako abantu obutakola bulungi bintu oba okubalemeseza ddala okubaako kye bakola. Seligman awumbawumbako bw’ati ku ebyo ebivaamu omuntu bw’atasuubira bintu birungi: “Emyaka abiri mu etaano gye mmaze nga nnoonyereza nkizudde nti omuntu bw’aba nga buli kiseera alowooza nti ebintu ebibi bijja kumutuukako oba nti tebijja kuvaawo, ekyo kikosa buli kimu ky’akola, era emirundi mingi ebintu ebyo bimutuukako.”
Endowooza eyo nayo eyinza okulabika ng’empya eri abantu abamu leero, naye si mpya eri abo abasoma Bayibuli. Bayibuli egamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.” (Engero 24:10) Mazima ddala nga Bayibuli bw’eraga, okuggwaamu essuubi kimalamu omuntu amaanyi. Naye kiki ky’osobola okukola okulwanyisa ekizibu ky’obutaba na ssuubi, n’osobola okuba n’essuubi mu bulamu bwo?
[Ekifaananyi]
Okuba n’essuubi kyamuganyulo nnyo
-
-
Okulwanyisa Ekizibu ky’Obutaba na SsuubiZuukuka!—2004 | Apuli 22
-
-
Okulwanyisa Ekizibu ky’Obutaba na Ssuubi
EBIZIBU by’oyolekagana nabyo mu bulamu obitwala otya? Abakugu bangi bagamba nti engeri omuntu gy’addamu ekibuuzo ekyo eyinza okulaga obanga alina essuubi, oba aweddemu essuubi. Ffenna twolekagana n’ebizibu mu bulamu, era abamu bafuna ebizibu eby’amaanyi okusinga abalala. Naye lwaki abamu bwe bafuna ebizibu basigala balina essuubi, ate ng’abalala baggwaamu essuubi ne bwe kiba nti ebizibu bye bafunye si bya maanyi nnyo?
Okugeza, ka tugambe nti onoonya omulimu. Ogenda okukola yintaviyu naye n’otafuna mulimu. Ekyo ekiba kikutuuseeko, oluvannyuma okitwala otya? Kiyinza okukuyisa obubi ennyo, era n’ogamba nti, ‘Tewali ayinza kukozesa muntu nga nze. Sirifuna mulimu.’ Oba n’ekisinga obubi, oyinza okuleka ekintu ekyo ekimu ekibaddewo, okukwerabiza ebirungi byonna ebibaddewo mu bulamu bwo. N’ogamba nti, ‘Nze nnalemererwa. Sirina mugaso.’ Endowooza ng’eyo eba eraga nti oweddemu essuubi.
Engeri gy’Oyinza Okweggyamu Endowooza Ezikumalamu Essuubi
Oyinza otya okulwanyisa endowooza ezikumalamu essuubi? Ekisooka, kwe kukimanya nti olina endowooza ng’ezo. Eky’okubiri, kwe kuzeggyamu. Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako, ddala kituufu nti tewafunye mulimu olw’okuba tewali ayinza kukuwa mulimu? Oba kisoboka okuba nti baabadde banoonya omuntu alina ebisaanyizo eby’enjawulo ku bibyo?
Lowooza ku bintu ebirala ebirungi by’otuuseeko mu bulamu bwo kikusobozese okweggyamu endowooza ezitali nnuŋŋamu ezikumalamu essuubi. Ddala okugenda okunoonya omulimu n’otagufuna kitegeeza nti tolina kalungi konna mu bulamu bwo? Osobola okulowooza ku birungi by’otuuseeko mu bulamu bwo, gamba ng’ebiruubirirwa eby’omwoyo by’otuuseeko, enkolagana gy’olina n’ab’omu maka go, oba ne mikwano gyo. Weewale okulowooza nti ekizibu ky’olina tekijja kuvaawo. Ng’ekyokulabirako, ddala kituufu nti tolifuna mulimu? Waliwo bingi by’osobola okukola okwewala endowooza ezisobola okukuleetera okuggwaamu essuubi.
Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu, era Beera n’Ekiruubirirwa
Ka twetegereze engeri abanoonyereza gye bannyonnyolamu essuubi. Bagamba nti, okuba n’essuubi kwe kuba ng’osuubira nti ojja kutuuka ku biruubirirwa byo. Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu ekiddako, okuba n’essuubi kisingawo ku ekyo. Naye ennyinnyonnyola eyo ya muganyulo mu ngeri ezitali zimu. Okutunuulira essuubi mu ngeri eyo kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okweteerawo ebiruubirirwa.
Bwe tuba ab’okuba n’essuubi nti tusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’ebiseera eby’omu maaso, tuba twetaaga okuyiga okweteerawo ebiruubirirwa, n’okufuba okubituukako. Bw’oba tolina biruubirirwa ng’ebyo, lowooza ku biruubirirwa by’osobola okweteerawo. Olinayo ekiruubirirwa kyonna kye weeteerawo? Kyangu nnyo okubeera awo nga tukola ebintu bye bimu buli lunaku nga tetulina kintu kisinga bukulu gye tuli kye twagala kutuukako mu bulamu. Ku bikwata ku ky’okweteerawo ebiruubirirwa mu bulamu, Bayibuli egamba nti: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’—Abafiripi 1:10.
Bwe tweteerawo ebiruubirirwa, kiba kyangu okussa essira ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. Gamba nga ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, ab’omu maka gaffe, ne ku ngeri y’okweyimirizaawo. Kyokka kiba kirungi obuteeteerawo biruubirirwa bingi mu kusooka, era ne tweteerawo ebyo bye tusobola okutuukako amangu. Ekiruubirirwa bwe kiba ekizibu okutuukako, tuyinza okuggwaamu amaanyi. N’olwekyo, bwe tuba n’ekiruubirirwa nga kijja kututwalira ekiseera kiwanvu okukituukako, tuyinza okukigabanyaamu ebiruubirirwa ebitonotono bye tusobola okutuukako amangu.
Olugero olugamba nti “akwata empola atuuka wala,” lutuufu nnyo. Bwe tuba nga tulina ebiruubirirwa bye tweteereddewo, kitwetaagisa okuba abagumiikiriza era abamalirivu okusobola okubituukako. Ekirala ekisobola okutuyamba, kwe kufumiitiriza ku bukulu bw’ebiruubirirwa byaffe era n’emiganyulo gye tujja okufuna nga tubituuseeko. Kyo kituufu nti wajja kubaawo ebisoomooza, naye tetusaanidde kukitwala nti tuba tulemereddwa.
Kyokka tusaanidde okulowooza ku bintu ebitali bimu bye tusobola okukola okusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe. Omuwandiisi omu ayitibwa C. R. Snyder, eyanoonyereza ennyo ku miganyulo egiri mu kuba n’essuubi agamba nti, kikulu okulowooza ku ngeri ez’enjawulo ze tuyinza okuyitiramu okutuuka ku kiruubirirwa kye tuba tweteereddewo. Engeri emu bw’etakola, tuyinza okugezaako engeri ey’okubiri, oba ey’okusatu.
Snyder era agamba nti, kikulu okumanya ddi lwe tusaanidde okuleka ekiruubirirwa ekiba kitulemye okutuukako, ne tugezaako ekirala. Bwe tulaba nga ddala tulemereddwa okutuuka ku kiruubirirwa ekimu, okukiremerako kiyinza okutumalamu amaanyi. Ku luuyi olulala, bwe tuleka ekiruubirirwa ekiba kitulemye okutuukako ne tugezaako ekirala, tetuggwaamu ssuubi.
Bayibuli erimu ekyokulabirako ekirungi ekikwata ku nsonga eyo. Kabaka Dawudi yayagala nnyo okuzimbira Katonda we Yakuwa, yeekaalu. Naye Katonda yagamba Dawudi nti enkizo eyo yali agenda kugiwa mutabani wa Dawudi ayitibwa Sulemaani. Mu kifo kya Dawudi okulemera ku kuzimba yeekaalu oba okuggwaamu amaanyi, yakyusa ebiruubirirwa bye. Yatandika okukuŋŋaanya ssente n’eby’okukozesa ebirala mutabani we bye yandikozesezza okuzimba yeekaalu eyo.—1 Bassekabaka 8:17-19; 1 Ebyomumirembe 29:3-7.
Ne bwe tuba nga tufubye okwewala ebintu ebitumalamu essuubi, era nga tufubye okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okweteerawo ebiruubirirwa, era wayinza okubaawo ebintu ebitumalamu amaanyi. Lwaki? Kubanga ebintu ebisinga obungi ebimalamu essuubi ebiri mu nsi, tetubirinaako buyinza. Naye tuyinza tutya okusigala nga tulina essuubi, wadde nga waliwo ebizibu, gamba ng’obwavu, entalo, obutali bwenkanya, endwadde, n’okufa?
[Ekifaananyi]
Bw’ogenda okusaba omulimu ne batagukuwa, okitwala nti tolifuna mulimu?
[Ekifaananyi]
Kabaka Dawudi yakiraga nti yalina endowooza ennungi bwe yakyusa ebiruubirirwa bye
-
-
Wa w’Oyinza Okuggya Essuubi Erya Nnamaddala?Zuukuka!—2004 | Apuli 22
-
-
Wa w’Oyinza Okuggya Essuubi Erya Nnamaddala?
ESSAAWA yo erekedde awo okukola era kirabika eyonoonese. Muli weebuuza wa w’onoogitwala okukanikibwa. Waliwo abantu bangi abakuba obulango nti bakanika amasaawa, era bonna bagamba nti bakugu mu kukola omulimu ogwo; kyokka abamu bakubagana empawa. Naye watya singa okizuula nti omu ku baliraanwa bo ye yayiiya ekika ky’essaawa eyo era nti mwetegefu okukuyamba okukanika essaawa yo ku bwereere? Tewali kubuusabuusa nti kati oba omanyi eky’okukola.
Geraageranya essaawa eyo ku ssuubi. Bw’okiraba nti oweddemu essuubi, nga bwe kiri eri abantu bangi mu nsi eno ejjudde ebizibu, wa w’oyinza okufuna obuyambi? Abantu bangi bagamba nti basobola okuyamba abantu okuddamu okuba n’essuubi, naye bye boogera bibuzaabuza era abamu bakubagana empawa. Kati olwo lwaki togenda eri Oyo eyakola omuntu era n’amuteekamu n’obusobozi bw’okuba n’essuubi? Bayibuli egamba nti “tali wala wa buli omu ku ffe,” era nti mwetegefu okutuyamba.—Ebikolwa 17:27; 1 Peetero 5:7.
Amakulu Amagazi ag’Ekigambo Essuubi
Bayibuli eraga nti ekigambo essuubi kirina amakulu magazi okusinga abasawo ne bannassaayansi bwe bagamba. Ebigambo ebyavvuunulwa nga “essuubi” mu Bayibuli bitegeeza okulindirira ekintu ng’okyesunga era n’okusuubira ebirungi. Okutwalira awamu, essuubi lizingiramu ebintu bibiri. Lizingiramu okwagala ekintu ekirungi n’okuba ne ky’osinziirako okukkiriza nti ekintu ekyo ojja kukifuna. Ebyo Bayibuli by’esuubiza si birooto bulooto. Waliwo obukakafu obulaga nti bijja kutuukirira.
Okuba n’essuubi kifaananako okuba n’okukkiriza. Olina okuba n’obukakafu. (Abebbulaniya 11:1) Kyokka Bayibuli eraga nti waliwo enjawulo wakati w’okukkiriza n’essuubi.—1 Abakkolinso 13:13.
Okuwaayo ekyokulabirako: Bw’osaba mukwano gwo okubaako ekintu ky’akuyamba okukukorerako, oba osuubira nti ajja kukuyamba. Oba ne ky’osinziirako okuba n’essuubi nti ajja kukuyamba kubanga omukkiririzaamu. Omumanyi bulungi, ozze omulaba ng’alaga abalala ekisa era mugabi. Okukkiriza n’essuubi by’olina birina akakwate, naye bya njawulo. Oyinza otya okuba n’essuubi ng’eryo mu Katonda?
Ekisinziirwako Okuba n’Essuubi
Katonda ye nsibuko y’essuubi erya nnamaddala. Mu biseera eby’edda, Yakuwa yayitibwa “essuubi lya Isirayiri.” (Yeremiya 14:8) Essuubi lyonna eryesigika abantu be lye baalina lyali liva gy’ali; n’olwekyo ye yali essuubi lyabwe. Mu butuufu, essuubi eryo teryali lya bwereere. Katonda yabawa kye baali basinziirako okuba n’essuubi. Ebbanga eggwanvu lye yamala ng’akolagana nabo yabasuubiza ebintu bingi era n’abituukiriza. Yoswa, omu ku abo abaakulembera Isirayiri yagamba nti: “Mukimanyi bulungi nti tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza ekitatuukiridde.”—Yoswa 23:14.
Wadde nga kati wayise ebyasa bingi, ne mu kiseera kino Katonda amanyiddwa ng’oyo atuukiriza by’asuubiza. Bayibuli eraga ebintu bingi bye yasuubiza era n’abituukiriza. Ebintu by’asuubiza byesigika nnyo ne kiba nti mu bitundu ebimu mu Bayibuli byayogerwako ng’ebyali bimaze okutuukirira mu kiseera lwe byawandiikibwa.
Eyo ye nsonga lwaki tugamba nti Bayibuli kitabo ekisobozesa abantu okuba n’essuubi. Bw’osoma Bayibuli n’olaba engeri Katonda gye yakolaganamu n’abantu, oba ne ky’osinziirako okweyongera okussa essuubi lyo mu Katonda. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”—Abaruumi 15:4.
Ssuubi Ki Katonda ly’Atuwa?
Ddi lwe tusinga okuwulira nti twetaaga okuba n’essuubi? Si mu kiseera nga tufiiriddwa omuntu waffe oba nga twolekaganye n’embeera eyinza okutuviirako okufa? Kyokka eri abantu bangi, mu kiseera ekyo nga bafiiriddwa omuntu waabwe lwe basinga okuggweeramu ddala essuubi. Kintu ki ekisinga okutumalamu essuubi ng’okufa? Okufa kuwondera buli omu ku ffe. Tusobola kukwewala kumala kiseera buseera, era bwe kuba kututuuseeko tuba tetulina kye tuyinza kukolawo. Kituukirawo okuba nti okufa Bayibuli ekuyita “omulabe.”—1 Abakkolinso 15:26.
Kati olwo wa we tuyinza okufuna essuubi nga tufiiriddwa omuntu waffe oba nga twolekaganye n’embeera eyinza okutuviirako okufa? Ekyawandiikibwa ekyo ekigamba nti okufa mulabe era kigamba nti omulabe oyo ‘ajja kuggibwawo.’ Yakuwa Katonda asinga okufa amaanyi. Ekyo yakiraga emirundi mingi. Yakiraga atya? Bayibuli eraga emirundi mwenda Katonda lwe yakozesa amaanyi ge okuzuukiza abafu.
Lumu waaliwo ekintu ekyewuunyisa ennyo. Yakuwa Katonda yawa Omwana we Yesu amaanyi n’azuukiza Laazaalo eyali amaze ennaku nnya ng’afudde. Kino Yesu teyakikola mu nkukutu, wabula yakikola mu lujjudde.—Yokaana 11:38-48, 53; 12:9, 10.
Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki abantu abo baazuukizibwa? Tebaddamu ne bakaddiwa era ne bafa?’ Ekyo kituufu. Naye olw’okuzuukira okwo okwaliwo ddala kwe tusomako mu Byawandiikibwa, tetukoma kuba na ssuubi nti abantu baffe bajja kuzuukira, naye era tulina n’ensonga lwaki tukkiriza nti ddala bajja kuzuukira. Mu ngeri endala, tulina essuubi ekkakafu.
Yesu yagamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.” (Yokaana 11:25) Katonda ajja kuwa Yesu obuyinza okuzuukiza abantu ku kigero ky’ensi yonna. Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lya Kristo] ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Abo bonna abeebase e magombe bajja kuzuukizibwa baddemu babeere ku nsi emirembe gyonna.
Nnabbi Isaaya yayogera bw’ati ku kuzuukira okujja okubaawo: “Abafu baliba balamu. Emirambo giriyimuka. Muzuukuke mwogerere waggulu n’essanyu mmwe ababeera mu nfuufu; kubanga omusulo gwammwe gulinga omusulo ogw’oku makya, era ettaka liriwandula abafu abalirimu.”—Isaaya 26:19.
Ekyo tekikuzzaamu nnyo maanyi? Abafu bali mu mikono mituufu. Bali ng’omwana ali mu lubuto lwa nnyina. Bonna Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna abajjukira. (Lukka 20:37, 38) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kubazuukiza baanirizibwe mu nsi ennungi ng’omwana eyaakazaalibwa bw’ayanirizibwa abantu be ababa bamulindiridde! N’olwekyo ne bwe tuba twolekaganye n’okufa, tuba n’essuubi.
Engeri Okuba n’Essuubi Gye Kiyinza Okukuganyulamu
Omutume Pawulo alina bingi by’atubuulira ku miganyulo egiri mu kuba n’essuubi. Yayogera ku ssuubi ng’ekimu ku bitundu ebikulu ku kyambalo eky’eby’omwoyo, ng’eno ye nkofiira. (1 Abassessalonika 5:8) Kiki kye yali ategeeza? Mu biseera eby’edda, abasirikale baayambalanga ku mitwe gyabwe enkofiira ey’ekyuma nga bagenda mu lutalo. Enkofiira ezo zaakuumanga emitwe gyabwe ne gitatuukibwako kabi. Kiki kye tuyigamu? Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe, n’essuubi likuuma ebirowoozo byaffe. Bw’oba n’essuubi ekkakafu mu bisuubizo bya Katonda, kikuyamba obutaggwaamu maanyi ng’oyolekaganye n’ebizibu. Ani atandyagadde kuba na nkofiira ng’eyo?
Pawulo yakozesa ekyokulabirako ekirala ekikwata ku ssuubi. Yagamba nti: “Essuubi lye tulina liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu.” (Abebbulaniya 6:19) Olw’okuba Pawulo yawona okufiira ku nnyanja emirundi egiwera, yali amanyi bulungi omugaso gw’ennanga. Omuyaga bwe gwakubanga eryato, abalunnyanja baasuulanga ennanga. Ennanga eyo yakkiranga ddala wansi mu nnyanja ne kisobozesa eryato obutatwalibwa muyaga ogwali guyinza okuliviirako okwekuba ku njazi.
Mu ngeri y’emu, essuubi Katonda ly’atuwa bwe liba nga linywevu era nga kkakafu mu mitima gyaffe, lijja kutuyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Yakuwa asuubiza nti ekiseera kijja kutuuka abantu babe nga tebakyabonaabona olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, obulumi, n’okufa. (Laba akasanduuko ku lupapula 10.) Okunywerera ku ssuubi eryo kijja kutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda, mu kifo ky’okwenyigira mu bikolwa ebibi ebingi ennyo mu nsi leero.
Essuubi Yakuwa ly’atuwa naawe likukwatako. Ayagala obeera mu bulamu bwe yali ategekedde abantu okubeeramu ku lubereberye. Ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa.” Kiki kye basaanidde okukola? Ekisooka, buli muntu alina ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Abawandiisi b’akatabo kano bakukubiriza okuyiga amazima gano agawa obulamu, agali mu Kigambo kya Katonda. Essuubi Katonda ly’anaakuwa lisingira wala essuubi lyonna ly’osobola okufuna mu nsi eno.
Bw’oba n’essuubi ng’eryo, tosaanidde kweraliikirira, kubanga Katonda asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyonna ky’oyinza okuba nakyo ekituukagana n’ebyo by’ayagala. (2 Abakkolinso 4:7; Abafiripi 4:13) Eryo si lye ssuubi lye weetaaga? N’olwekyo, bw’oba ng’obadde oweddemu essuubi, toggwaamu maanyi. Waliwo essuubi, era osobola okulifuna!
[Akasanduuko/Ekifaananyi]
Kwe Tusinziira Okuba n’Essuubi
Ebyawandiikibwa bino bisobola okukuyamba okuba n’essuubi:
◼ Katonda atusuubiza ebiseera eby’omu maaso ebirungi.
Ekigambo kye kigamba nti ensi ejja kufuulibwa ekifo ekirabika obulungi, era ng’erimu abantu abasanyufu era abali obumu.—Zabbuli 37:11, 29; Isaaya 25:8; Okubikkulirwa 21:3, 4.
◼ Katonda tayinza kulimba.
Akyayira ddala obulimba. Yakuwa mutukuvu, n’olwekyo tasobola kulimba.—Engero 6:16-19; Isaaya 6:2, 3; Tito 1:2; Abebbulaniya 6:18.
◼ Katonda alina amaanyi mangi nnyo.
Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Tewali kisobola kumulemesa kutuukiriza bisuubizo bye.—Okuva 15:11; Isaaya 40:25, 26.
◼ Katonda ayagala obe mulamu emirembe gyonna.
—Yokaana 3:16; 1 Timoseewo 2:3, 4.
◼ Katonda atulinamu essuubi.
Asalawo okutunuulira ebirungi bye tukola n’engeri zaffe ennungi, mu kifo ky’okutunoonyaamu ensobi. (Zabbuli 103:12-14; 130:3; Abebbulaniya 6:10) Aba asuubira nti tujja kukola ekituufu, era bwe tukikola, kimusanyusa.—Engero 27:11.
◼ Katonda ajja kukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo.
Abaweereza be tebasaanidde kuggwaamu maanyi. Katonda abawa omwoyo gwe omutukuvu okubayamba, nga gano ge maanyi agasingayo.—Abafiripi 4:13.
◼ Okusuubirira mu Katonda si kwa bwereere.
Katonda mwesigwa era yeesigika.—Zabbuli 25:3.
[Ekifaananyi]
Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe, n’essuubi likuuma ebirowoozo byaffe
[Ekifaananyi]
Okufaananako ennanga, essuubi lituyamba obutaggwaamu maanyi
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Courtesy René Seindal/Su concessione del Museo Archeologico Regionale A. Salinas di Palermo
-