-
Kuuma Emirembe mu Maka GoEkyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
-
-
ESSUULA EY’EKKUMI N’EMU
Kuuma Emirembe mu Maka Go
1. Ebimu ku bintu ebiyinza okuleetawo enjawukana mu maka bye biruwa?
BALINA essanyu abo abali mu maka omuli okwagala, okutegeeragana n’emirembe. Oboolyawo, n’agago bwe gali bwe gatyo. Eky’ennaku, amaka mangi tegali bwe gatyo era galimu enjawukana olw’ensonga ezitali zimu. Kiki ekireetawo enjawukana mu maka? Mu ssuula eno tujja kwogera ku bintu bisatu. Mu maka agamu, abagalimu tebakkiririza mu ddiini emu. Mu malala, abaana bayinza okuba n’abazadde ba njawulo. Ate era mu malala, obuzibu bw’okweyimirizaawo oba okwagala okufuna ebintu ebingi kuyinza okwawukanya ab’omu maka. Kyokka, embeera ezaawukanya amaka agamu ziyinza obutawukanya malala. Kiki ekireetawo enjawulo?
2. Abamu banoonyeza wa obulagirizi obukwata ku bulamu bw’amaka, naye ensibuko esingayo obulungi ey’obulagirizi ng’obwo yeruwa?
2 Endowooza y’omuntu, y’emu ku nsonga ezivaako ekyo. Singa ogezaako okutegeera endowooza y’omuntu omulala, kijja kukwanguyira okumanya engeri y’okukuumamu amaka nga gali bumu. Ensonga ey’okubiri ye nsibuko y’obulagirizi bwo. Abantu bangi bagoberera amagezi agabaweebwa abo be bakola nabo ku mirimu, baliraanwa, abawandiisi b’omu mpapula z’amawulire oba abantu abalala. Kyokka, abamu bazudde ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku mbeera yaabwe, ne bagoberera bye bayize. Okukola kino kiyinza kitya okuyamba ab’omu maka okukuuma emirembe mu maka gaabwe?—2 Timoseewo 3:16, 17.
SINGA OMWAMI WO ALINA ENZIKIRIZA YA NJAWULO
Gezaako okutegeera endowooza ya munno
3. (a) Baibuli ewa kubuulirira ki okukwata ku kuwasa omuntu ow’enzikiriza endala? (b) Misingi ki emikulu egiyamba singa omu ku bafumbo aba mukkiriza ate nga munne tali?
3 Baibuli evumirira okufumbiriganwa n’omuntu ow’enzikiriza endala. (Ekyamateeka 7:3, 4; 1 Abakkolinso 7:39) Kyokka, kikyayinzika okuba nga wayiga amazima okuva mu Baibuli nga wamala dda okufumbirwa, kyokka omwami wo n’agagaana. Kati olwo kiki ky’osaanidde okukola? Kya lwatu ng’ebirayiro by’obufumbo bikyakufuga. (1 Abakkolinso 7:10) Baibuli eggumiza nti obufumbo bwa lubeerera era ekubiriza abafumbo okugonjoola obutategeeragana bwe baba nabwo so si kubwebalama. (Abeefeso 5:28-31; Tito 2:4, 5) Naye, kiba kitya singa omwami wo takukkiririza ddala kugoberera ddiini ekkiririza mu Baibuli? Ayinza okugezaako okukuziyiza okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina, oba ayinza okugamba nti ye tayagala mukyala we kugenda nju ku nju ng’ayogera ku by’eddiini. Onookola otya?
4. Omukyala ayinza atya okweteeka mu mbeera y’omwami we singa tebali bumu mu kukkiriza?
4 Weebuuze, ‘Lwaki omwami wange yeeyisa bw’atyo?’ (Engero 16:20, 23) Bw’aba tategeerera ddala ky’okola, ayinza okweraliikirira ku lulwo. Oba ayinza okupikirizibwa ab’eŋŋanda ze olw’okuba tokyenyigira mu bulombolombo obumu bwe batwala nga bukulu. “Ng’andeseewo nzekka mu nnyumba, nnawulira nga njabuliddwa,” bw’atyo omwami omu bwe yagamba. Omusajja ono yawulira nga eddiini yali emututteko mukyala we. Naye amalala gaamulemesa okukkiriza nti yali awulira ekiwuubaalo. Omwami wo ayinza okuba yeetaaga kumukakasa nti okwagala Yakuwa tekitegeeza nti okwagala kwe walina gy’ali kukendedde. Funa ebiseera okubeerako naye.
5. Omukyala alina omwami ow’enzikiriza endala ayinza atya obutagwa lubege?
5 Kyokka, waliwo ekintu ekisingako obukulu ky’olina okulowoozaako okusobola okwaŋŋanga embeera eyo mu ngeri ey’amagezi. Ekigambo kya Katonda kikubiriza abakyala: “Muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.” (Abakkolosaayi 3:18) Mu ngeri eno, kirabula ku mwoyo ogwa kyetwala. Ate era, bwe kigamba nti “nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe,” ekyawandiikibwa kino kiraga nti mu kugondera omwami wo oba olina n’okugondera Mukama waffe. Tolina kugwa lubege.
6. Misingi ki omukyala Omukristaayo gy’alina okujjukira?
6 Eri Omukristaayo, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’okubuulira abalala ku nzikiriza ye eyeesigamye ku Baibuli bitundu bikulu eby’okusinza okw’amazima ebitalina kulagajjalirwa. (Abaruumi 10:9, 10, 14; Abebbulaniya 10:24, 25) Olwo, wandikoze otya singa omuntu akulagira obutagoberera ekimu ku ebyo Katonda by’akulagira? Abatume ba Yesu Kristo baagamba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 5:29) Ekyokulabirako kyabwe kisobola okugobererwa mu mbeera nnyingi ez’obulamu. Okwagala kw’olina eri Yakuwa kunaakuleetera okumulaga obuwulize obulina okumuweebwa? Ku kiseera kye kimu, okwagala kw’olina eri omwami wo n’ekitiibwa ky’omuwa binaakuleetera okukola kino mu ngeri eteenyiiza mwami wo?—Matayo 4:10; 1 Yokaana 5:3.
7. Bumalirivu ki omukyala Omukristaayo bw’asaanidde okuba nabwo?
7 Yesu yalaga nga kino kiyinza obutasoboka ebiseera byonna. Yalabula nti olw’okuziyizibwa kw’okusinza okw’amazima, abakkiriza mu maka agamu bandiwulidde nga abasaliddwako okuva ku b’omu maka abalala n’ekitala. (Matayo 10:34-36) Omukazi omu mu Japan kino kyamutuukako. Yaziyizibwa omwami we okumala emyaka 11. Yamuyisanga bubi nnyo era ng’atera okumusibira ebweru. Naye omukyala ono yagumiikiriza. Ab’emikwano mu kibiina Ekikristaayo baamuyamba. Yasabanga obutayosa era n’azzibwamu nnyo amaanyi 1 Peetero 2:20. Omukazi ono Omukristaayo yali mugumu nti bwe yandisigadde nga munywevu, lwandibadde lumu omwami we yandimwegasseko mu kuweereza Yakuwa. Era yamwegattako.
8, 9. Omukyala asaanidde kweyisa atya aleme kuteerawo mwami we nkonge yonna?
8 Waliwo ebintu bingi by’oyinza okukola okukyusa endowooza ya munno mu bufumbo. Ng’ekyokulabirako, singa omwami wo tasemba ddiini yo, tokola bintu ebinaamuleetera okwemulugunya. Kuuma awaka nga wayonjo. Faayo ku ndabika yo. Mulage okwagala n’okusiima. Mu kifo ky’okumuvumirira, muwagire. Mulage nti ossa ekitiibwa mu bukulembeze bwe. Bw’owulira nti alina ekikyamu ky’akukoze, teweesasuza. (1 Peetero 2:21, 23) Olina okumanya nti munno si mutuukirivu, era singa wabaawo obutategeeragana, ggwe oba osooka okumwetondera.—Abeefeso 4:26.
9 Okubeerawo kwo mu nkuŋŋaana kuleme kubeera kyekwaso eky’okulwisa emmere ye. Oyinza n’okusalawo okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo ebiseera ebyo omwami wo by’atabeera waka. Tekiba kya magezi omukyala Omukristaayo okubuulira bba bw’aba nga bba takyagala. Mu kifo ky’ekyo, omukyala agoberera okubuulirira kw’omutume Peetero: “Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya.” (1 Peetero 3:1, 2) Abakyala Abakristaayo munyiikirire okwolesa ebibala by’omwoyo gwa Katonda mu bujjuvu.—Abaggalatiya 5:22, 23.
OMUKYALA BW’ATABA MUKRISTAAYO
10. Omwami omukkiriza yandiyisizza atya mukyala we singa enzikiriza y’omukyala eba ya njawulo ku yiye?
10 Kiba kitya singa omwami ye Mukristaayo nga omukyala y’atali? Baibuli ewa obulagirizi ku mbeera ng’eyo. Egamba: “Ow’oluganda yenna bw’abanga n’omukazi atakkiriza, omukazi bw’atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo.” (1 Abakkolinso 7:12) Era ekubiriza abaami: “Mwagalenga bakazi bammwe.”—Abakkolosaayi 3:19.
11. Omwami ayinza atya okulaga okutegeera era n’akulembera bulungi mukyala we atali Mukristaayo?
11 Singa mukyala wo alina enzikiriza ya njawulo ku yiyo, fuba okumussaamu ekitiibwa n’okufaayo ku nneewulira ye. Ng’omuntu omukulu, asaanidde okuweebwa eddembe okugoberera enzikiriza z’eddiini ye, ka kibe nga ggwe tozikkiririzaamu. Ku mulundi gw’oba osoose okumubuulira ku nzikiriza yo, tomusuubirirawo kulekayo nzikiriza z’abadde akkiririzaamu okumala ebbanga eggwanvu akkirize ekintu ekippya. Mu kifo ky’okumugamba obugambi nti ebyo ye n’ab’ewaabwe bye babadde bakkiririzaamu okumala ebbanga eddene bya bulimba, mu bugumiikiriza gezaako okukubaganya naye ebirowoozo okuva mu Byawandiikibwa. Ayinza okulowooza nti tomufaako singa omala ebiseera bingi nnyo mu mirimu gy’ekibiina. Ayinza okukuziyiza okuweereza Yakuwa, naye ng’ekikulu ky’ayagala okukwoleka kiyinza okuba: “Nneetaaga onfeeko mu ngeri esingawo!” Ba mugumiikiriza. Olw’okumulaga okwagala, ekiseera kiyinza okutuuka n’akkiriza okusinza okw’amazima.—Abakkolosaayi 3:12-14; 1 Peetero 3:8, 9.
OKUTENDEKA ABAANA
12. Ka kibe nti omwami ne mukyala we ba nzikiriza za njawulo, emisingi gy’omu Byawandiikibwa gyandyeyambisiddwa gitya mu kutendeka abaana baabwe?
12 Mu maka agatali bumu mu kusinza, okuyigiriza abaana eby’eddiini kiyinza okuleetawo obutategeeragana. Emisingi egy’omu Byawandiikibwa ginaakozesebwa gitya? Obuvunaanyizibwa obusooka obw’okuyigiriza abaana, Baibuli ebuwa taata, naye ne maama alina omulimu omukulu gw’akola. (Engero 1:8; geraageranya Olubereberye 18:19; Ekyamateeka 11:18, 19.) Ne bwe kiba nga taata takkiriza bukulembeze bwa Kristo, asigala nga gwe mutwe gw’amaka.
13, 14. Singa omwami agaana mukyala we okutwala abaana mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo oba okuyiga nabo, omukyala asaanidde kukola ki?
13 Bataata abamu abatali bakkiriza tebagaana maama kuyigiriza baana bya ddiini. Abalala babaziyiza. Kiba kitya singa omwami wo akugaana okutwala abaana mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba okubayigiriza Baibuli awaka? Kati oba olina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuwerako awatali kugwa lubege—obuvunaanyizibwa bwo eri Yakuwa Katonda, eri balo, n’eri abaana bo abaagalwa. Oyinza kubikwataganya otya?
14 Mazima ddala, ensonga eno ojja kugiteeka mu kusaba. (Abafiripi 4:6, 7; 1 Yokaana 5:14) Naye nga mu nkomerero, ggwe olina okusalawo ekkubo ery’okukwata. Bwe weeyisa mu ngeri ey’amagezi, n’omulaga nti towakanya bukulembeze bwe, ayinza okukendeeza ku kuziyiza kw’abadde ateekawo. Omwami wo ne bw’akugaana okutwala abaana bo mu nkuŋŋaana oba okubayigiriza Baibuli, okyayinza okubayigiriza. Ng’onyumya nabo buli lunaku era ng’obateerawo ekyokulabirako ekirungi, gezaako okuyamba abaana bo okwagala Yakuwa, okukkiririza mu Kigambo kye, okuwa abazadde ekitiibwa—nga mw’otwalidde ne kitaabwe—okufaayo ku bantu abalala, n’okusanyukira okukola emirimu. Oluvannyuma lwa byonna, taata waabwe ayinza okulaba ebirungi ebivuddemu n’asiima okufuba kwo.—Engero 23:24.
15. Taata ali mu kukkiriza alina buvunaanyizibwa ki ku bikwata ku kusomesa abaana?
15 Bw’oba oli mwami omukkiriza nga mukyala wo si mukkiriza, olwo olina okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okukuliza abaana bo “mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abeefeso 6:4) Mu kukola kino, osaanidde okuba ow’ekisa, omwagazi, era atali mukakanyavu ng’okolagana ne mukyala wo.
EDDIINI YO BW’EBA NGA YA NJAWULO KU Y’ABAZADDE BO
16, 17. Misingi ki egy’omu Baibuli abaana gye bateekwa okujjukira singa bagoberera enzikiriza ey’enjawulo okuva ku y’abazadde baabwe?
16 Kya bulijjo kati abaana abato okugoberera eddiini ez’enjawulo ku z’abazadde baabwe. Bwe kityo bwe kiri gy’oli? Bwe kiba bwe kityo, Baibuli erina amagezi g’ekuwa.
17 Ekigambo kya Katonda kigamba: “Muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.” (Abeefeso 6:1, 2) Kino kitegeeza okuwa abazadde bo ekitiibwa ekibagwanidde. Kyokka, wadde okugondera abazadde kikulu, Katonda ow’amazima talina kusuulibwa muguluka. Omwana bw’akula ekimala n’atandika okwesalirawo, aba avunaanyizibwa ekisingawo ku ebyo by’akola. Kino bwe kiri mu mateeka g’ensi naye ate n’okusinga ennyo mu mateeka ga Katonda. “Buli muntu ku ffe alivunaanibwa lulwe mu maaso ga Katonda,” bw’etyo Baibuli bw’egamba.—Abaruumi 14:12, NW.
18, 19. Singa abaana baba mu ddiini ey’enjawulo ku y’abazadde baabwe, bayinza batya okuyamba abazadde baabwe okutegeera enzikiriza yaabwe mu ngeri esingawo?
18 Singa by’okkiririzaamu bikuleetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo, gezaako okutegeera endowooza y’abazadde bo. Bajja kusanyuka singa, olw’okuyiga era n’okugoberera enjigiriza za Baibuli, oyongera okubawa ekitiibwa, okubawulira, era okuba omunyiikivu mu buli kye bakugamba. Kyokka, singa enzikiriza yo empya ekuleetera okugaana enzikiriza n’empisa bo ze bagoberera, bayinza okuwulira nti weesambye eky’obusika kye babadde bakwagaliza. Era bayinza okukulumirirwa singa ky’okola tekisiimibwa mu kitundu oba singa kikuwugula okuva ku biruubirirwa bo bye balowooza nga bye byandikuyambye okugaggawala. Amalala nago gasobola okuba enkonge. Bayinza okulowooza nti olinga abagamba nti ggwe mutuufu bo be bakyamu.
19 N’olwekyo, amangu ddala nga bwe kisoboka, gezaako okukola entegeka abazadde bo basisinkane n’abamu ku bakadde oba Abajulirwa abalala abakuze mu by’omwoyo okuva mu kibiina ekiri mu kitundu kyammwe. Kubiriza abazadde bo okukyalako mu Kingdom Hall beewulirire bo bennyini ku biriyo n’okwerabirako n’agaabwe Abajulirwa ba Yakuwa bwe bafaanana. Oluvannyuma lw’ekiseera, endowooza y’abazadde bo eyinza okukyukako. Ne bwe kiba nga abazadde baziyiza nnyo, boonoona ebitabo ebyogera ku Baibuli, era nga bagaana abaana okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kiyinza okusoboka okusomera awalala, okwogerako ne Bakristaayo banno, okubuulira era n’okuyamba abalala mu ngeri ey’embagirawo. Era osobola n’okusaba Yakuwa. Abavubuka abamu balina kulinda okutuusa lwe baliva awaka nga bakuze ne balyoka bakola ekisingawo. Kyokka, embeera k’ebeere etya awaka, teweerabira ‘kussa kitiibwa mu kitaawo ne nnyoko.’ Kola ky’osuubirwa okukola okuleetawo emirembe mu maka. (Abaruumi 12:17, 18) Okusinga byonna, noonya emirembe ne Katonda.
OBUZIBU BW’OKUBEERA OMUZADDE ATALI WA MUSAAYI
20. Abaana bayinza kuba na nneewulira ki singa kitaabwe oba maama waabwe si wa musaayi?
20 Mu maka mangi embeera esibukako obuzibu obw’amaanyi tekwata ku bya ddiini naye ekwata ku buzaale. Mu maka mangi ennaku zino mulimu abaana abajja n’omuzadde omu oba abazadde bombi be bajja nabo okuva mu bufumbo obulala. Mu maka ng’ago, abaana bayinza okukwatibwa obuggya n’okukyayibwa, oba n’okusanga obuzibu mu kulondawo ani gwe baba balina okugondera. N’ekivaamu, bayinza obutasanyukira ebyo omuzadde atali wa musaayi by’akola mu bwesimbu ng’afuba okubeera taata oba maama omulungi. Kiki ekisobola okuyamba okufuula amaka omuli omuzadde atali wa musaayi okuba ag’essanyu?
K’obe ng’oli muzadde wa musaayi oba atali wa musaayi weesigame ku Baibuli okufuna obulagirizi
21. Wadde nga bali mu mbeera za njawulo, lwaki abazadde abatali ba musaayi basaanidde okweyambisa emisingi egisangibwa mu Baibuli?
21 Kitegeere nti newakubadde embeera ezirimu za njawulo, emisingi gya Baibuli egireetera amaka amalala okuba ag’essanyu gikola ne wano. Okubuusa amaaso emisingi egyo, mu kusooka kiyinza okulabika ng’ekinaagonjoola ekizibu naye ng’oluvannyuma kiyinza okuvaamu emitawaana. (Zabbuli 127:1; Engero 29:15) Kulaakulanya amagezi n’okutegeera—amagezi ag’okukozesa emisingi egyava eri Katonda ng’oluubirira okufuna emiganyulo egy’olubeerera, era n’okutegeera osobole okumanya lwaki ab’omu maka balina ebintu ebimu bye boogera era bye bakola. Era waliwo obwetaavu bw’okweteeka mu mbeera yaabwe.—Engero 16:21; 24:3; 1 Peetero 3:8.
22. Lwaki abaana bayinza okukisangamu obuzibu okukkiriza omuzadde atali wa musaayi?
22 Bw’oba oli muzadde atali wa musaayi, oyinza okujjukira nti bwe wakyaliranga amaka gano, abaana bayinza okuba nga baakusanyukiranga. Naye bwe wafuuka omuzadde waabwe atali wa musaayi endowooza yaabwe yakyuka. Olw’okujjukira omuzadde waabwe yennyini atakyabeera nabo, abaana bayinza okuba bazibuwaliddwa okumanya gwe baba banywererako, oboolyawo nga balowooza nti okwagala kwe balina eri omuzadde waabwe ataliiwo oyagala kukwetwalira. Ebiseera ebimu, bayinza okukwatulira nti si ggwe taata waabwe oba maama waabwe. Ebigambo ng’ebyo birumya nnyo. Kyokka, “toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala.” (Omubuulizi 7:9) Okutegeera n’okweteeka mu mbeera yaabwe byetaagibwa mu kukola ku nneewulira y’abaana ey’omunda.
23. Okukangavvula kusaanidde kukolebwa kutya mu maka omuli abaana abatali ba musaayi?
23 Engeri zino nkulu ddala bw’oba okangavvula. Okukangavvula okusaanira kwetaagibwa. (Engero 6:20; 13:1) Era okuva abaana bonna bwe batafaanana, okukangavvula kuyinza okuba okw’enjawulo. Abazadde abamu abatali ba musaayi bakizudde nti kiba kirungi, naddala mu kusooka, oyo azaalira ddala abaana okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno obw’ekizadde. Kyokka, kikulu nnyo abazadde bombi okukkiriziganya ku kukangavvula okugenda okuweebwa era ne bakutuukiriza, nga tebatiitiibya mwana gwe bazaala bombi okusinga oyo omu ku bo gwe yajja naye. (Engero 24:23) Obuwulize kikulu, naye olina okukimanya nti omwana si mutuukirivu. Tosunguwala kiyitiridde. Kangavvula mu ngeri y’okwagala.—Abakkolosaayi 3:21.
24. Kiki ekiyinza okuziyiza ebizibu ebikwata ku by’empisa wakati w’abantu abatafaananya butonde mu maka omuli omuzadde atali wa musaayi?
24 Okuteeseza awamu ng’amaka kukola kinene mu kuziyiza emitawaana. Kusobola okuyamba amaka okwemalira ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. (Geraageranya Abafiripi 1:9-11.) Era kusobola n’okuyamba buli omu okulaba ky’ayinza okukola okusobola okutuukiriza ebiruubirirwa by’amaka. Ate era, okuteeseza awamu ng’amaka kusobola okukugira ebizibu ebikwata ku mpisa. Abawala balina okumanya ennyambala n’enneeyisa ennungi nga bali ne kitaabwe atali wa musaayi ne bannyinaabwe abatali ba musaayi, n’abalenzi nabo beetaaga okubuulirirwa ku bikwata ku nneeyisa esaanidde eri maama waabwe atali musaayi ne bannyinaabwe abatali ba musaayi.—1 Abasessalonika 4:3-8.
25. Ngeri ki eziyinza okuyamba okukuuma emirembe mu maka omuli omuzadde atali wa musaayi?
25 Mu kwolekagana n’obuzibu obw’enjawulo obw’okubeera omuzadde atali wa musaayi, ba mugumiikiriza. Kitwala ebbanga okukulaakulanya enkolagana empya. Okwagalibwa n’okuweebwa ekitiibwa abaana b’otaazaala kiyinza okulabika ng’ekizibu ennyo. Naye kisoboka. Omutima ogw’amagezi era ogutegeera, awamu n’okwagala okusanyusa Yakuwa, kye kisumuluzo ky’okufuna emirembe mu maka agalimu omuzadde atali wa musaayi. (Engero 16:20) Engeri ng’ezo era ziyinza okukuyamba okwolekagana n’embeera endala.
EBY’OKUFUNA BYAWULAMU AMAKA GAMMWE?
26. Mu ngeri ki ebizibu n’endowooza ebikwata ku by’okufuna gye biyinza okwabuluzaamu amaka?
26 Ebizibu n’endowooza ebikwata ku by’okufuna biyinza okwawulamu amaka mu ngeri nnyingi. Kya nnaku nga amaka agamu gaabuluziddwamu olw’enkaayana ezikwata ku ssente n’okwagala okugaggawala—oba okufuna eby’obugagga ebisingako. Enjawukana ziyinza okubaawo abafumbo bombi bwe baba bakola era nga balina endowooza egamba nti “ssente zange, ssente zo.” Ka kibe nti beewaze enkaayana, abafumbo bombi bwe baba bakola bayinza okwesanga nga balina entegeka etabawa kiseera kubeerako wamu bombi. Kigenda kyeyongerayongera mu nsi bakitaabwe b’abaana okubeera mu bifo ebyesudde okuva ku maka gaabwe okumala ebbanga ggwanvu—emyezi oba n’emyaka—basobole okufuna ssente ezisinga ku ezo ze bandifunye nga bali waka. Kino kiyinza okuvaamu ebizibu eby’amaanyi ddala.
27. Egimu ku misingi egiyinza okuyamba amaka agalina obuzibu bw’eby’ensimbi gye giruwa?
27 Tewali mateeka gayinza kuteekebwawo ku bikwata ku kwolekagana n’embeera zino, okuva buli maka bwe galina ebiganyigiriza n’ebyetaago eby’enjawulo. Kyokka, amagezi Baibuli g’ewa gayinza okuyamba. Ng’ekyokulabirako, Engero 13:10 lulaga nti empaka eziteetaagisa ziyinza okwewalibwa bwe wabaawo ‘okuteesa.’ Kino tekitwaliramu kwogera bwogezi by’olowooza naye n’okunoonya amagezi era n’okutegeera endowooza omuntu omulala gy’alina. Ate era, okuba n’embalirira y’eby’ensimbi ennungi kiyinza okuyamba ab’omu maka okukolera awamu obulungi. Oluusi kiba kyetaagisa—oboolyawo okumala ekiseera kitono—abafumbo bombi okukola okusobola okuwagira ensaasaanya y’eby’ensimbi eyeeyongeddeko, naddala bwe baba balina abaana oba abantu abalala be balabirira. Bwe kiba bwe kityo, omwami asobola okukakasa mukyala we nti akyamufaako. Omwami n’abaana basobola okuyamba ku gy’awaka omukyala gye yandibadde asobola okukola yekka mu mbeera eza bulijjo.—Abafiripi 2:1-4.
28. Kujjukizibwa ki okuyinza okuyamba amaka okuba obumu, singa kuba kugobereddwa?
28 Kyokka, kijjukire nti wadde ssente zeetaagibwa mu mbeera zino ez’ebintu, tezireeta ssanyu. Mazima ddala teziwa bulamu. (Omubuulizi 7:12) Mazima ddala, okuteeka ennyo essira ku by’okufuna kuyinza okuleetawo akabi mu by’omwoyo n’eby’empisa. (1 Timoseewo 6:9-12) Nga ekyandisinzeeko obulungi kwe kusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, nga tulina obwesige nti tujja kufuna emikisa gye nga tufuba okufuna ebyetaagibwa mu bulamu! (Matayo 6:25-33; Abebbulaniya 13:5) Bw’okulembeza eby’omwoyo era n’osooka okunoonya emirembe ne Katonda, oyinza okulaba nga amaka go, wadde tegali bumu olw’embeera ezimu, gafuuka amaka agali obumu ddala mu ngeri ezisingira ddala obukulu.
-
-
Osobola Okuvvuunuka Ebizibu Ebyonoona AmakaEkyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
-
-
ESSUULA EY’EKKUMI N’EBBIRI
Osobola Okuvvuunuka Ebizibu Ebyonoona Amaka
1. Bizibu ki ebyekusifu ebiri mu maka agamu?
EMMOTOKA enkadde yaakamala okwozebwa n’okuzigulwa. Eri buli agirabako etemagana butemaganyi, era erabika ng’empya. Naye wansi waayo, obutalagge bugenda bugyonoona. Kifaananako n’amaka agamu. Wadde ng’eri abalabi buli kintu kirabika ng’ekiri obulungi, obumwenyumwenyu buba bubisse ku kutya n’obulumi. Ab’ebweru kye batasobola kulaba bye bizibu ebigalimu ebigenda bisaanyawo emirembe gy’amaka ago. Ebizibu ebibiri ebisobola okuleetawo kino gwe muze ogw’okwekamirira omwenge n’obukambwe.
EMITAWAANA EGIVA MU KWEKAMIRIRA OMWENGE
2. (a) Baibuli erina ndowooza ki ku kukozesa ebitamiiza? (b) Okwekamirira omwenge kye ki?
2 Baibuli tevumirira kukozesa bitamiiza mu ngeri ey’ekigero, wabula evumirira butamiivu. (Engero 23:20, 21; 1 Abakkolinso 6:9, 10; 1 Timoseewo 5:23; Tito 2:2, 3) Kyokka, okwekamirira omwenge kisingawo ku kuba omutamiivu; gwe muze ogw’okukozesa ennyo ebitamiiza era n’obutasobola kwefuga ng’obinywa. Abo abeekamirira ennyo omwenge bayinza okuba abantu abakulu. Eky’ennaku, bayinza n’okuba abavubuka.
3, 4. Nnyonnyola omuze ogw’okwekamirira omwenge bwe guyisa munne mu mufumbo n’abaana.
3 Baibuli yakiraga dda nti okukozesa obubi ebitamiiza kuyinza okumalawo emirembe mu maka. (Ekyamateeka 21:18-21) Emitawaana egiva mu kwekamirira omwenge gikosa ab’omu maka bonna. Mukazi we ayinza okunoonyereza engeri ey’okumuziyizaamu okwekamirira omwenge oba ey’okwolekagana n’enneeyisa ye.a Agezaako okukweka omwenge, okuguyiwa, okukweka ensimbi ze, n’okumukubiriza okwagala amaka ge, obulamu bwe, era ne Katonda—naye era oyo eyeekamirira omwenge asigala akyagunywa. Bw’alemererwa enfunda n’enfunda okumuziyiza okunywa, asoberwa era n’aggweeramu ddala amaanyi. Ayinza okuwulira okutya, obusungu, okulumirizibwa mu mutima, obuteekakasa, okweraliikirira, era n’awulira ng’ekitiibwa kimuweddemu.
4 Abaana bakosebwa olw’ebyo omuzadde eyeekamirira omwenge by’aba akola. Abamu bakubibwa. Abalala bakolebwako ebikolobero. Bayinza n’okwevunaana bo bennyini olw’omuze gwa muzadde waabwe eyeekamirira omwenge. Emirundi mingi balekera awo okwesiga abalala olw’empisa z’omuzadde waabwe eyeekamirira omwenge ezikyukakyuka. Olw’okuba kibazibuwalira okunyumya ku biri ewaabwe, abaana bayinza okuyiga obutooleka nneewulira zaabwe, n’ebivaamu bitera okuba eby’akabi. (Engero 17:22) Abaana ng’abo bayinza okukula nga tebeekakasa oba nga beefeebya.
AMAKA GAYINZA KUKOLA KI?
5. Omuze ogw’okwekamirira omwenge guyinza kukolebwako gutya, era lwaki kino kizibu?
5 Wadde ng’abakugu bangi bagamba nti omuze ogw’okwekamirira omwenge teguwonyezeka, abasinga obungi bakkiriza nti okuwonyezebwa okw’ekigero kusoboka omuntu bw’agoberera enteekateeka ey’okugwewalira ddala. (Geraageranya Matayo 5:29.) Kyokka, okukkirizisa omuntu alina omuze ogw’okwekamirira omwenge nti yeetaaga obuyambi kyangu kya kwogera naye si kyangu kya kukola, okuva lwe batatera kukkiriza nti balina ekizibu. Naye ab’omu maka bwe babaako kye bakolawo, omuntu oyo ayinza okutandika okukitegeera nti alina ekizibu. Omusawo alina obumanyirivu mu kuyamba abo abeekamirira omwenge era n’ab’omu maka gaabwe yagamba: “Nze ndowooza nti ekisinga obukulu be b’omu maka okweyongera okukola emirimu gyabwe egya bulijjo obulungi nga bwe basobola. Eyeekamirira omwenge yeeyongera okulaba enjawulo ey’amaanyi eriwo wakati we n’abalala mu maka.”
6. Nsibuko ki esinga obulungi ey’okubuulirira eri amaka agalimu omuntu eyeekamirira omwenge?
6 Singa mu maka gammwe mulimu omuntu alina omuze ogw’okwekamirira omwenge, okubuulirira kwa Baibuli okwaluŋŋamizibwa kuyinza okubayamba okweyisa mu ngeri ennungi esoboka. (Isaaya 48:17; 2 Timoseewo 3:16, 17) Lowooza ku gimu ku misingi egiyambye amaka okwaŋŋanga ekizibu ky’omuntu eyeekamirira omwenge.
7. Singa mu maka mulimu eyeekamirira omwenge, ani avunaanyizibwa?
7 Lekera awo okwevunaana omusango. Baibuli egamba nti: “Buli muntu alyetikka omutwalo gwe,” era nti, “buli muntu alivunaanibwa lulwe mu maaso ga Katonda.” (Abaggalatiya 6:5; Abaruumi 14:12, NW) Eyeekamirira omwenge ayinza okugamba nti ab’omu maka ge be bavunaanyizibwa olw’enneeyisa ye. Ng’ekyokulabirako, ayinza okugamba nti: “Singa mwali mumpisa bulungi, nnandibadde sinywa mwenge.” Singa abalala balabika ng’abamusemba, awo baba bamukubiriza kweyongera bweyongezi kunywa. Naye ka kibe nti waliwo embeera oba abantu abatuwaliriza, ffenna ffenna—nga mw’otwalidde n’abo abeekamirira omwenge—tuvunaanyizibwa olw’ebyo bye tukola.—Geraageranya Abafiripi 2:12.
8. Ngeri ki omuntu eyeekamirira omwenge gy’ayinza okuyambibwa okwolekagana n’ebiva mu kizibu kye?
8 Tosaanidde kuwulira nti buli kiseera olina okutaakiriza eyeekamirira omwenge okuva ku ebyo ebiva mu kunywa kwe. Olugero lwa Baibuli olwogera ku muntu ow’obusungu lusobola okukwata ne ku oyo eyeekamirira omwenge: “Kubanga bw’olimuwonya kirigwanira okukola bw’otyo nate omulundi ogw’okubiri.” (Engero 19:19) Leka omuntu oyo eyeekamirira omwenge ayolekagane n’ebiva mu kunywa kwe. Muleke ye kennyini alongoose w’ayonoonye oba akubire mukama we essimu enkeera ng’ettamiiro limuweddeko.
Abakadde Abakristaayo basobola okuba ensibuko y’obuyambi mu kugonjoola ebizibu by’amaka
9, 10. Lwaki amaka omuli abeekamirira omwenge gandikkirizza okuyambibwa, era naddala buyambi bw’ani bwe bandinoonyezza?
9 Kkiriza obuyambi okuva eri abalala. Engero 17:17 lugamba: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era [ye] ow’oluganda eyazaalirwa obuyinike.” Mu maka gammwe bwe mubaamu eyeekamirira omwenge, wabaawo obuyinike. Weetaaga obuyambi. Tolonzalonza kwesigama ku ‘ba mukwano’ okufuna obuwagizi. (Engero 18:24) Okwogerako n’abalala abategeera ekizibu ky’olina oba abo aboolekaganye n’embeera ng’eyo kuyinza okukuyamba okumanya ky’osaanidde okukola ne ky’otasaanidde kukola. Naye togwa lubege. Yogera n’abo be weesiga, abo abanaakuuma “ebyama” byo.—Engero 11:13.
10 Yiga okwesiga abakadde Abakristaayo. Abakadde mu kibiina Ekikristaayo bayinza okuba ensibuko y’obuyambi. Abasajja bano abakulu bamanyi bulungi Ekigambo kya Katonda era balina obumanyirivu bungi mu kukozesa emisingi egikirimu. Bayinza okuba “ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Isaaya 32:2) Abakadde Abakristaayo tebakoma ku kukuuma kibiina okuva ku bintu ebisobola okukyonoona naye era babudaabuda, bazzaamu amaanyi, era bafaayo ku buli omu aba n’ekizibu. Weeyambise mu bujjuvu obuyambi bwe bakuwa.
11, 12. Ani awa amaka agalimu abeekamirira omwenge obuyambi obusinga bwonna, era obuwagizi obwo buweebwa butya?
11 N’ekisinga byonna, funa amaanyi okuva eri Yakuwa. Baibuli etukakasa nti: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese, era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Bw’owulira ng’omenyese omutima oba ng’oweddemu amaanyi olw’ekizibu ky’okubeera n’omuntu alina omuze ogw’okwekamirira omwenge mu maka, kimanye nga ‘Yakuwa ali kumpi.’ Ategeera bulungi ekizibu ky’oyolekaganye nakyo mu maka go.—1 Peetero 5:6, 7.
12 Okukkiriza Yakuwa ky’agamba mu Kigambo kye kuyinza okukuyamba okulwanyisa obweraliikirivu. (Zabbuli 130:3, 4; Matayo 6:25-34; 1 Yokaana 3:19, 20) Okusoma Ekigambo kya Katonda n’okugoberera emisingi egikirimu kukusobozesa okufuna obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ogukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” okusobola okwolekagana n’ebyo ebibaawo buli lunaku.—2 Abakkolinso 4:7, NW.b
13. Kizibu ki eky’okubiri ekyonoonye amaka mangi?
13 Okukozesa obubi ebitamiiza kuyinza okuleetawo ekizibu ekirala ekyonoona amaka—ebikolwa eby’obukambwe mu maka.
EMITAWAANA EGIVA MU BIKOLWA EBY’OBUKAMBWE MU MAKA
14. Ebikolwa eby’obukambwe mu maka byatandika ddi, era embeera eri etya mu biseera bino?
14 Ekikolwa eky’obukambwe ekyasookera ddala mu byafaayo by’omuntu kyali mu maka wakati w’ab’oluganda babiri, Kayini ne Abeeri. (Olubereberye 4:8) Okuva ku olwo, omuntu ayolekaganye n’ebikolwa eby’obukambwe ebya buli ngeri mu maka. Waliwo abaami abakuba bakyala baabwe, abakyala abakola olutalo ku babbaabwe, abazadde abakuba abaana baabwe abato mu ngeri ey’obukambwe, era n’abaana abakulu abayisa obubi bazadde baabwe abakaddiye.
15. Ab’omu maka bayisibwa batya mu nneewulira yaabwe olw’ebikolwa eby’obukambwe mu maka?
15 Akabi akakolebwa ebikolwa eby’obukambwe mu maka tekakoma ku nkovu ku mubiri kyokka. Omukyala omu eyakubibwanga yagamba: “Wabaawo obulumi n’okuswala. Emirundi egisinga ku makya oba toyagala kugolokoka, era oba oyagala waakiri kibe nti waloose buloosi ekirooto ekitiisa.” Abaana abalaba oba abakolebwako ebikolwa eby’obukambwe mu maka nabo bayinza okuba abakambwe mu bukulu nga bafunye amaka agaabwe ku bwabwe.
16, 17. Okutuntuzibwa mu nneewulira ey’omunda kwe kuluwa, era ab’omu maka kubayisa kutya?
16 Obukambwe obw’omu maka tebukoma ku kukuba kyokka. Emirundi mingi buba mu bigambo. Engero 12:18 lugamba: “Wabaawo ayogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala.” “Okufumita” kuno okw’ebikolwa eby’obukambwe mu maka kutwaliramu okuvuma n’okuleekaana, okunoonyereza ensobi olutatadde, okutyoboola, era n’okutiisatiisa. Ebiwundu ebikolwa eby’obukambwe bye bireeta ku nneewulira ez’omunda tebirabika era tebitera kulabibwa balala.
17 Eky’ennaku ennyo kwe kufufuggaza enneewulira y’omwana ey’omunda—okuvumirira n’okunyooma buli kiseera obusobozi bw’omwana, amagezi ge, oba omugaso gw’alina ng’omuntu. Okuvuma okw’engeri eyo kuyinza okusaanyizaawo ddala okwekakasa kwonna omwana kw’ayinza okuba nakwo. Kituufu nti abaana bonna beetaaga okukangavvulwa. Naye Baibuli eragira abazadde abasajja: “Temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.”—Abakkolosaayi 3:21.
ENGERI EY’OKWEWALAMU EBIKOLWA EBY’OBUKAMBWE MU MAKA
Abafumbo Abakristaayo abaagalana era abawaŋŋana ekitiibwa bakolerawo okutereeza ebizibu
18. Ebikolwa eby’obukambwe mu maka bitandikira wa, era Baibuli eraga kkubo ki ery’okubikomya?
18 Ebikolwa eby’obukambwe mu maka bitandikira mu mutima ne mu birowoozo; engeri gye tweyisaamu etandikira mu birowoozo byaffe. (Yakobo 1:14, 15) Okusobola okukomya ebikolwa eby’obukambwe, oyo abikola kimwetaagisa okukyusa endowooza ye. (Abaruumi 12:2) Ekyo kisoboka? Yee. Ekigambo kya Katonda kirina amaanyi agasobola okukyusa abantu. Kisobola n’okusiguukulula endowooza embi eziba ‘zisimbye amakanda.’ (2 Abakkolinso 10:4, NW; Abebbulaniya 4:12) Okumanya okutuufu okwa Baibuli kuyinza okuleetawo enkyukakyuka ey’amaanyi ennyo mu bantu ne boogerwako ng’abambadde omuntu omuggya.—Abeefeso 4:22-24; Abakkolosaayi 3:8-10.
19. Omukristaayo yandibadde na ndowooza ki eri munne mu bufumbo era asaanidde kumuyisa atya?
19 Endowooza gy’olina eri munno mu bufumbo. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Abasajja [bagwanidde] okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka.” (Abeefeso 5:28) Era Baibuli egamba nti omwami asaanidde okussa mu mukazi we ekitiibwa “ng’ekibya ekisinga obunafu.” (1 Peetero 3:7) Abakyala bakubirizibwa “okwagalanga babbaabwe” era ne ‘okubassaamu ekitiibwa.’ (Tito 2:4; Abeefeso 5:33, NW) Mazima ddala tewali mwami atya Katonda asobola kugamba mu bwesimbu nti assaamu mukyala we ekitiibwa bw’aba amukuba oba amuvuma. Era tewali mukyala aboggolera mwami we, amukiina, oba amuvuma olutatadde ayinza okugamba nti amwagalira ddala era amussaamu ekitiibwa.
20. Abazadde bavunaanyizibwa eri ani ku by’okulabirira abaana baabwe, era lwaki abazadde tebandisuubirizza baana baabwe bye batasobola?
20 Endowooza entuufu ku baana. Abaana bagwanidde era beetaagira ddala okwagalibwa n’okufiibwako bazadde baabwe. Ekigambo kya Katonda abaana kibayita “busika okuva eri Yakuwa” era “mpeera.” (Zabbuli 127:3, NW) Abazadde bavunaanyizibwa eri Yakuwa okulabirira obusika obwo. Baibuli eyogera ku ‘ngeri ez’obuto’ ne ku ‘busirusiru’ obw’omu buvubuka. (1 Abakkolinso 13:11, NW; Engero 22:15) Abazadde tebandikyewuunyizza okusanga obusirusiru mu baana baabwe. Abaana si bantu bakulu. Abazadde tebasaanidde kusuubira kinene ekitatuukana na myaka gya mwana, embeera z’akuliziddwamu, n’obusobozi bwe.—Laba Olubereberye 33:12-14.
21. Endowooza esiimibwa Katonda ku bikwata ku bazadde abakaddiye n’enkolagana nabo y’eruwa?
21 Endowooza gy’olina eri abazadde abakaddiye. Eby’Abaleevi 19:32 lugamba: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.” Mu ngeri eyo, Amateeka ga Katonda gaakubiriza okussa ekitiibwa n’okufaayo ennyo ku bakaddiye. Kino kiyinza okuba ekizibu singa omuzadde akaddiye aba yeerondalonda nnyo, mulwadde oba mpozzi nga takyasobola kutambula oba kulowooza mangu. Wadde kiri bwe kityo, abaana bajjukizibwa “okusasula bakadde baabwe.” (1 Timoseewo 5:4) Kino kitegeeza okubayisa obulungi n’okubawa ekitiibwa, mpozzi n’okubalabirira mu by’ensimbi. Okuyisa obubi abazadde abakaddiye mu by’omubiri oba mu ngeri endala kiba kikontanira ddala n’engeri Baibuli gy’etulagira okweyisaamu.
22. Ngeri ki enkulu eyeetaagibwa mu kuvvuunuka ebikolwa eby’obukambwe mu maka, era eyinza kukozesebwa etya?
22 Kulaakulanya okwefuga. Engero 29:11 lugamba: “Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.” Oyinza otya okufuga obusungu bwo? Mu kifo ky’okuleka obusungu okukula, kolerawo mangu okutereeza ebizibu ebiba bizzeewo. (Abeefeso 4:26, 27) Vaawo singa owulira nga toyinza kwefuga. Saba omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukusobozese okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23) Okutambulatambulako oba okukola ekintu eky’amaanyi kiyinza okukuyamba okufuga enneewulira zo. (Engero 17:14, 27) Fuba okuba omuntu “alwawo okusunguwala.”—Engero 14:29.
KWAWUKANA OBA KUSIGALA WAMU?
23. Kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu mu kibiina Ekikristaayo yenyigira mu bikolwa eby’obusungu obubi emirundi n’emirundi awatali kwenenya, oboolyawo nga mw’otwalidde n’okukuba ab’omu maka ge?
23 Baibuli eraga nti mu bikolwa Katonda by’avumirira muzingiramu “obulabe, okuyomba . . . obusungu” era n’egamba nti “buli akola ebiri ng’ebyo talisikira bwakabaka bwa Katonda.” (Abaggalatiya 5:19-21) N’olwekyo, omuntu yenna eyeegamba okuba Omukristaayo eyenyigira mu bikolwa eby’obusungu obubi emirundi n’emirundi awatali kwenenya, mpozzi nga mw’otwalidde n’okukuba munne mu bufumbo oba abaana, ayinza okugobwa mu kibiina Ekikristaayo. (Geraageranya 2 Yokaana 9, 10.) Mu ngeri eno ekibiina kiggibwamu abantu ab’agayisa agabi ne kikuumibwa nga kiyonjo.—1 Abakkolinso 5:6, 7; Abaggalatiya 5:9.
24. (a) Abafumbo abayisibwa obubi bayinza kusalawo kukola ki? (b) Ab’emikwano n’abakadde abamulumirirwa bayinza kuwagira batya omufumbo ayisibwa obubi, naye kiki kye batasaanidde kukola?
24 Kati olwo Abakristaayo mu kiseera kino abakubibwa munnaabwe mu bufumbo nga talagawo kabonero konna ka kukyusaamu? Abamu basazeewo okusigala ne munnaabwe oyo abayisa obubi olw’ensonga ezitali zimu. Abalala basazeewo okugenda, nga bawulira nti embeera yaabwe ey’omubiri, ey’ebirowoozo, n’ey’eby’omwoyo—oboolyawo n’obulamu bwabwe bwennyini—biri mu kabi. Oyo ayolekaganye n’ebikolwa eby’obukambwe mu maka ye yeesalirawo ku lulwe mu maaso ga Yakuwa ky’ayagala okukola. (1 Abakkolinso 7:10, 11) Ab’emikwano, ab’eŋŋanda ze, oba abakadde Abakristaayo abamulumirirwa bayinza okwagala okumuyamba n’okumuwa amagezi, naye tebasaanidde kumukaka kukola kintu kyonna. Ye y’alina okwesalirawo eky’okukola.—Abaruumi 14:4; Abaggalatiya 6:5.
ENKOMERERO Y’EBIZIBU EBYONOONA
25. Ekigendererwa kya Yakuwa eri amaka kye kiruwa?
25 Yakuwa bwe yagatta Adamu ne Kaawa mu bufumbo, tekyali kigendererwa kye obufumbo okwonoonebwa ebizibu ng’omuze ogw’okwekamirira omwenge oba ebikolwa eby’obukambwe. (Abeefeso 3:14, 15) Amaka gaali ga kuba kifo ekijjudde okwagala n’emirembe era nga ebyetaago bya buli omu mu maka eby’ebirowoozo, enneewulira ez’omunda, n’eby’omwoyo bikolebwako. Kyokka, olw’ekibi, obulamu bw’amaka bwagenda buddirira.—Geraageranya Omubuulizi 8:9.
26. Abo abagezaako okutuukanya obulamu bwabwe ne Yakuwa by’ayagala basuubira ki mu biseera eby’omu maaso?
26 Eky’essanyu, Yakuwa tavanga ku kigendererwa kye eri amaka. Asuubiza okuleetawo ensi empya ey’emirembe abantu mwe “balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.” (Ezeekyeri 34:28) Mu biseera ebyo, omuze ogw’okwekamirira omwenge, ebikolwa eby’obukambwe mu maka, n’ebizibu ebirala byonna ebyonoonye amaka ennaku zino biriba tebikyaliwo. Abantu balibangako akamwenyumwenyu, si lwa kubikka ku kutya na bulumi, naye olw’okuba balibanga ‘basanyukira mu mirembe emingi.’—Zabbuli 37:11.
a Wadde twogera ku yeekamirira omwenge okuba omusajja, emisingi egyogeddwako gikwata bulungi ku mukazi bw’aba nga y’alina omuze ogw’okwekamirira omwenge.
b Mu nsi ezimu, mulimu ebifo awajjanjabirwa, amalwaliro n’enteekateeka ez’okuyamba abo abalina omuze ogw’okwekamirira omwenge era n’ab’omu maka gaabwe. Omuntu ye kennyini y’alina okwesalirawo oba ng’anneeyambisa obuyambi obwo oba nedda. Watch Tower Society terina nzijanjaba gy’etongoza. Kyokka, omuntu alina okwegendereza ng’anoonya obuyambi aleme kwenyigira mu bikolwa ebimenya emisingi gy’omu Byawandiikibwa.
-
-
Obufumbo Bwe Buba Bugenda KusasikaEkyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
-
-
ESSUULA EY’EKKUMI N’ESATU
Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika
1, 2. Obufumbo bwe bubaamu ebizibu, kibuuzo ki ekyandibuuziddwa?
MU 1988 omukazi Omuyitale ayitibwa Lucia yali mwennyamivu nnyo.a Oluvannyuma lw’emyaka kkumi obufumbo bwe bwali bugenda kusattululwa. Emirundi mingi yali agezezzaako okuleetawo entegeeragana n’omwami we, naye tekyasoboka. Bwe kityo baayawukana olw’obutategeeragana era yali alina okukuza bawala be ababiri ku bubwe yekka. Bw’ajjukira ebiseera ebyo, Lucia agamba: “Nnali mukakafu nti tewaaliwo kyali kiyinza kuwonya bufumbo bwaffe.”
2 Bw’oba olina ebizibu mu bufumbo, oyinza okutegeera enneewulira ya Lucia. Obufumbo bwo buyinza okubaamu emitawaana era oyinza okuba weebuuza obanga bukyasobola okuwonyezebwa. Bwe kiba bwe kityo, ojja kukisanga nga kya muganyulo okulowooza ku kibuuzo kino: Ngoberedde amagezi gonna amalungi Katonda g’awadde mu Baibuli okuyamba obufumbo okuba obulungi?—Zabbuli 119:105.
3. Wadde ng’okugattululwa mu bufumbo kucaase, mbeera ki eriwo mu abo abaagattululwa mu bufumbo era ne b’omu maka gaabwe?
3 Obutategeeragana bwe buba obw’amaanyi ennyo wakati w’omwami n’omukyala, okusattulula obufumbo kuyinza okulabika ng’ekkubo erisinga obwangu. Naye, wadde nga mu nsi nnyingi amaka agasasika geeyongedde obungi, okunoonyereza okukoleddwa ennaku ezo kulaga nti bangi ku basajja n’abakazi abaagattululwa mu bufumbo bejjusa. Bangi ku bo balwalalwala nnyo, mu mubiri ne mu birowoozo, okusinga abo abasigala nga bafumbo. Obutabufutabufu n’ennaku abaana bye baba nabyo nga bazadde baabwe bagattuluddwa bitera kumala myaka na myaka. Abazadde n’emikwano gy’ab’amaka agasasise nabo bakosebwa. Ate ye Katonda, Eyatandikawo obufumbo, atunuulira atya embeera eyo?
4. Ebizibu by’omu bufumbo byandikoleddwako bitya?
4 Nga bwe kiragibwa mu ssuula ezivuddeko emabega, Katonda yagenderera obufumbo bube bwa lubeerera. (Olubereberye 2:24) Olwo ate, lwaki obufumbo bungi busasika? Kiyinza obutabaawo mbagirawo. Watera okubaawo obubonero obulabula. Ebizibu ebitonotono mu bufumbo biyinza okuzimbulukuka okutuusa lwe biba nga tebikyasobola kuvvuunukibwa. Naye singa ebizibu bino bikolwako mangu awamu n’obuyambi bwa Baibuli, obufumbo bungi tebwandisasise.
TOSUUBIRA BITASOBOKA
5. Mbeera ki ebeererawo ddala abafumbo gye balina okwolekagana nayo?
5 Ekintu ekivaako ebizibu emirundi egimu kwe kuba nti omu oba bombi mu bufumbo basuubira ebitasoboka. Obutabo obwogera ku bantu abaagalana, magazini eŋŋanzi, programu z’oku ttivi, n’ebifaananyi eby’oku ntimbe bisobola okuleetera abantu okuteebereza n’okusuubira ebitali bya mu bulamu obwa bulijjo. Ebibadde bisuubirwa okubaawo bwe bitatuukirira, omuntu asobola okuwulira nga alimbiddwa, nga si musanyufu n’akatono, era nga munyiivu nnyo. Naye, abantu babiri abatali batuukirivu basobola batya okufuna essanyu mu bufumbo? Kyetaagisa kufuba okusobola okutuuka ku nkolagana ennungi.
6. (a) Ndowooza ki etegudde lubege Baibuli gy’ewa ku bufumbo? (b) Ezimu ku nsonga ezisibukako obutategeeragana mu bufumbo ze ziruwa?
6 Baibuli ya muganyulo. Eyogera ku ssanyu eriri mu bufumbo, naye era erabula nti abo abayingira mu bufumbo “banaabeeranga n’okubonaabona mu mubiri.” (1 Abakkolinso 7:28) Nga bwe twakirabye edda, abafumbo si batuukirivu era boonoona. Endowooza n’enneewulira era n’engeri buli omu gye yakuzibwamu bya njawulo. Abafumbo oluusi bafuna obutategeeragana ku bikwata ku nsimbi, abaana, n’abako. Obutaba na biseera kukolera wamu bintu era n’ebizibu ebikwata ku kwetaba nabyo bisobola okusibukako emitawaana.b Kyetaagisa ekiseera okukola ku nsonga ng’ezo, naye toggwaamu maanyi! Abafumbo abasinga obungi basobodde okwolekagana n’ebizibu ng’ebyo ne babigonjoola.
MWOGERE KU BUTATEGEERAGANA BWE MULINA
Ebizibu mubikoleko mangu. Enjuba ereme okugwa ng’okyali munyiivu
7, 8. Bwe wabaawo okulumizibwa mu birowoozo oba obutategeeragana wakati w’abafumbo, ngeri ki gye birina okukolebwako okusinziira ku Byawandiikibwa?
7 Bangi bakisanga nga kizibu okusigala nga bakkakkamu bwe baba boogera ku bibaluma, obutategeeragana, oba ensobi zaabwe. Mu kifo ky’okwogera obutereevu nti: “Mpulira nga tontegeera bulungi,” omu ku bafumbo ayinza okuva mu mbeera n’azimbulukusa ekizibu. Bangi bajja kugamba: “Weefaako wekka,” oba nti, “Tonjagala.” Olw’obutaagala kutandikawo luyombo, munne ayinza okugaana okumwanukula.
8 Ekkubo erisingako obulungi kwe kugoberera okubuulirira kwa Baibuli: “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe.” (Abeefeso 4:26) Abafumbo ababiri abasanyufu, bwe baaweza emyaka 60 mu bufumbo bwabwe, baabuuzibwa ekibasobozesezza okukuuma obufumbo bwabwe nga bulungi. Omwami yagamba: “Tetwebakanga nga tetunnaba kugonjoola butategeeragana, ne bwe bwabanga butono butya.”
9. (a) Kiki ekyogerwako mu Byawandiikibwa okuba ekitundu ekikulu mu mpuliziganya? (b) Kiki abafumbo kye balina okukolanga, wadde nga kyetaagisa obuwombeefu n’obuvumu?
9 Omwami n’omukyala bwe bafuna obutategeeragana, buli omu ku bo ateekwa ‘kuba mwangu wa kuwulira, alwawo okwogera, alwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Oluvannyuma lw’okuwuliriza n’obwegendereza, bombi bayinza okulabawo obwetaavu obw’okwetonda. (Yakobo 5:16) Okwogera mu bwesimbu nti, “Nsonyiwa olw’okukulumya,” kyetaagisa obuwombeefu n’obuvumu. Naye okukola ku butategeeragana mu ngeri eno kuyamba nnyo abafumbo si mu kugonjoola bizibu byabwe kyokka, naye era n’okukulaakulanya omukwano n’enkolagana ey’oku lusegere ebinaabaleetera essanyu erisingako mu bufumbo bwabwe.
OKUSASULA EKIGWANIRA MU BUFUMBO
10. Kya bukuumi ki Pawulo kye yasemba eri Abakristaayo b’e Kkolinso ekiyinza okukwata ku Mukristaayo leero?
10 Omutume Pawulo bwe yawandiikira Abakkolinso, yasemba obufumbo ‘olw’okuba waaliwo obwenzi bungi.’ (1 Abakkolinso 7:2, NW) Ensi mu biseera bino mbi nnyo, kabekasinge n’okusinga bwe kyali mu Kkolinso eky’edda. Ebintu eby’obugwenyufu abantu b’ensi bye boogerako mu lujjudde, engeri eteri nnungi gye bambalamu, engero ez’obugwagwa ezibeera mu magazini ne mu bitabo, ku ttivi, era ne mu bifaananyi eby’oku ntimbe, byonna awamu bisiikuula okwegomba okw’obugwenyufu. Abakkolinso abaali mu mbeera nga zino, omutume Pawulo yabagamba: “Kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga.”—1 Abakkolinso 7:9.
11, 12. (a) Omwami n’omukyala babanjagana ki, era kirina kusasulwa mu mwoyo gwa ngeri ki? (b) Kiki ekyandikoleddwa singa ekigwanira mu bufumbo kigenda kuyimirizibwa okumala akaseera?
11 N’olw’ensonga eno, Baibuli eragira Abakristaayo abafumbo: “Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n’omukazi asasulenga bw’atyo omusajja.” (1 Abakkolinso 7:3) Weetegereze nti essira liri ku kuwa—so si ku kubanja. Okwetaba kw’abafumbo kuleetawo essanyu lingi singa buli omu ku bafumbo aba afaayo ku bulungi bwa munne. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eragira abaami okubeeranga ne bakazi baabwe “n’amagezi.” (1 Peetero 3:7) Kino bwe kiri naddala ku bikwata ku kuwa era n’okufuna ekyo ekigwanira mu bufumbo. Singa omukyala tayisibwa mu ngeri ya kwagala, ayinza okukisanga nga kizibu okunyumirwa ekitundu kino eky’obufumbo.
12 Wabaawo ebiseera abafumbo lwe batasasulagana ekyo ekigwanira mu bufumbo. Kino kiyinza okuba bwe kityo eri omukyala mu biseera ebimu eby’omwezi oba bw’aba awulira ng’akooye nnyo. (Geraageranya Eby’Abaleevi 18:19.) Kiyinza okuba bwe kityo eri omwami bw’aba alina ekizibu eky’amaanyi ky’ayolekaganye nakyo ku mulimu era ng’awulira nti ebirowoozo bye bikooye. Embeera ng’ezo ez’okumala akaseera nga tebasasulaganye ekigwanira mu bufumbo ziyinza okukolebwako singa abafumbo bombi boogera ku nsonga eno mu bwesimbu ne ‘bakkiriziganya.’ (1 Abakkolinso 7:5, NW) Kino kijja kuyamba omulala obutafuna ndowooza nkyamu ku munne. Naye, singa omukyala agenderera bugenderezi obutasasula mwami we oba singa omwami agaana okusasula ekyo ekigwanira mu bufumbo mu ngeri ey’okwagala, ayinza okuleetera munne okukemebwa. Mu mbeera ng’ezo, ebizibu biyinza okubalukawo mu bufumbo.
13. Abakristaayo bayinza batya okukuuma ebirowoozo byabwe nga biyonjo?
13 Okufaananako n’Abakristaayo abalala, abaweereza ba Katonda abafumbo bateekwa okwewala ebisomebwa eby’obugwenyufu, ebiyinza okusiikuula okwegomba okubi era okutali kwa mu butonde. (Abakkolosaayi 3:5) Era bateekwa okukuuma ebirowoozo byabwe n’ebikolwa byabwe bwe baba bakolagana n’abo be batafaananya nabo kikula eky’obusajja oba eky’obukazi. Yesu yalabula: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28) Nga bagoberera okubuulirira kwa Baibuli ku bikwata ku by’okwetaba, abafumbo basobola okwewala okugwa mu kukemebwa n’okukola obwenzi. Basobola okweyongera okunyumirwa enkolagana ey’oku lusegere ennyo mu bufumbo okwetaba mwe kutwalibwa ng’ekirabo eky’omuwendo okuva eri oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa.—Engero 5:15-19.
EKISINZIIRWAKO MU BAIBULI OKUGATTULULWA MU BUFUMBO
14. Mbeera ki ey’ennaku ebaawo ebiseera ebimu? Lwaki?
14 Eky’essanyu, mu bufumbo bw’Abakristaayo obusinga obungi, ebizibu byonna ebibalukawo bisobola okukolebwako. Kyokka, oluusi si bwe kiba. Olw’okuba abantu tebatuukiridde era nga bali mu nsi ennyonoonefu efugibwa Setaani, obufumbo obumu busasika. (1 Yokaana 5:19) Abakristaayo bandyolekaganye batya n’embeera eno enzibu?
15. (a) Okusinziira ku Byawandiikibwa kiki kyokka ekisinziirwako okugattululwa mu bufumbo n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala? (b) Lwaki abamu basazeewo obutagattululwa ne munnaabwe atali mwesigwa?
15 Nga bwe kyayogerwako mu Ssuula 2 ey’ekitabo kino, obwenzi kye kyokka ekisinziirwako mu Byawandiikibwa okugattululwa mu bufumbo n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala.c (Matayo 19:9) Bw’oba olina obukakafu nti munno mu bufumbo tabadde mwesigwa, olwo oba oyolekaganye n’okusalawo okuzibu. Onoosigala mu bufumbo oba onoogattululwa? Tewali kuwalirizibwa. Abakristaayo abamu basonyiye munnaabwe eyenenyereza ddala mu bwesimbu, n’obufumbo bwabwe ne butereera. Abalala basazeewo obutagattululwa olw’abaana.
16. (a) Bintu ki ebimu ebireetedde abamu okugattululwa ne munnaabwe ayonoonye? (b) Oyo atalina musango bw’asalawo okugattululwa oba obutagattululwa mu bufumbo lwaki tewali muntu n’omu yandivumiridde kusalawo kwe?
16 Ku luuyi olulala, ekikolwa ekibi kiyinza okuba nga kyavaamu okufuna olubuto oba endwadde esaasaanira mu kwetaba. Oba mpozzi abaana balina okukuumibwa okuva ku muzadde ayagala okubakolako ebikolobero. Kya lwatu nga waliwo bingi eby’okulowoozaako nga tonnasalawo. Kyokka, singa okimanya nti munno mu bufumbo yayenda, ate oluvannyuma n’oddamu okwetaba naye, mu ngeri eyo oba olaze nti omusonyiye era nti oyagala obufumbo busigalewo. Ekisinziirwako okugattululwa mu Byawandiikibwa n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala kiba tekikyaliwo. Tewali muntu yenna asaanidde kweyingiza mu nsonga zo n’okugezaako okukugamba ky’oba osalawo, era tewali n’omu asaanidde kuvumirira ky’oba osazeewo. Ggwe ojja okwolekagana n’ebinaava mu ky’onooba osazeewo. “Buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.”—Abaggalatiya 6:5.
EBISINZIIRWAKO OKWAWUKANA
17. Bwe waba tewali ayenze, kukugira ki Ebyawandiikibwa kwe biteeka ku kwawukana oba okugattululwa?
17 Waliwo embeera eziyinza okukuwa ensonga entuufu ey’okwawukana oba mpozzi n’okugattululwa ne munno mu bufumbo wadde nga takoze bwenzi? Yee, naye mu mbeera ng’ezo, Omukristaayo taba wa ddembe kufumbiriganwa na muntu mulala. (Matayo 5:32) Wadde nga Baibuli ekkiriza okwawukana ng’okwo, ekiraga nti oyo aba ayawukanye ku munne “asigale nga si mufumbo oba si ekyo atabagane ne munne.” (1 Abakkolinso 7:11, NW) Mbeera ki embi ennyo ezifuula okwawukana okuba nga kusaanira?
18, 19. Ezimu ku mbeera embi ennyo eziyinza okuleetera omufumbo okulowooza ku kwawukana mu mateeka oba okugattululwa wadde nga tasobola kuddamu kuyingira bufumbo bulala ze ziruwa?
18 Amaka gayinza obutaba na byetaagibwa olw’obugayaavu obungi obw’omwami era n’enneeyisa embi z’alina.d Ensimbi amaka ge zifuna ayinza okuzikubisa zzaala oba okuzikozesa mu kwekamirira amalagala oba omwenge. Baibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’atajjanjaba . . . ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Omusajja ng’oyo bw’agaana okukyusa amakubo ge, oboolyawo nga yeeyambisa ensimbi mukyala we z’akola okuwagira emize gye, omukyala ayinza okulondawo okutaasa embeera ye n’ey’abaana ng’ayawukana naye mu mateeka.
19 Ekikolwa ng’ekyo kiyinza okulowoozebwako singa omu ku bafumbo aba mukambwe nnyo eri munne, oboolyawo ng’atera okumukuba ne kiba nti obulamu bwe bwennyini buli mu kabi. Ate era, singa omu ku bafumbo agezaako okuwaliriza munne mu bufumbo okumenya ebiragiro bya Katonda mu ngeri yonna, oyo ali mu kabi ayinza okulowooza ku kwawukana, naddala singa embeera ye ey’eby’omwoyo eba mu kabi. Oyo ali mu kabi ayinza okusalawo nti engeri yokka ‘ey’okuwulira Katonda okusinga abantu’ kwe kwawukana naye mu mateeka.—Ebikolwa 5:29.
20. (a) Amaka bwe gaba gagenda kusasika, kiki ab’emikwano n’abakadde kye bayinza okukola, era kiki kye batasaanidde kukola? (b) Abafumbo tebandikozesezza Baibuli by’eyogera ku kwawukana n’okugattululwa nga eky’okwekwasa okukola ki?
20 Mu mbeera zonna omu ku bafumbo w’abeerera ng’ayisibwa bubi nnyo, tewali n’omu asaanidde kupikiriza oyo ayisibwa obubi okwawukana oba okusigala ne munne. Wadde ng’ab’emikwano n’abakadde bayinza okuwa obuwagizi n’amagezi ageesigamiziddwa ku Baibuli, tebasobola kumanya byonna ebibaawo wakati w’omwami n’omukyala. Yakuwa yekka y’asobola okukiraba. Kya lwatu, omukyala Omukristaayo aba tawadde nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo kitiibwa singa yeekwasa obusonga obutaliimu ave mu bufumbo. Naye singa wabaawo embeera ey’akabi ennyo, tewali n’omu yandimunenyezza singa asalawo okwawukana. Kye kimu ddala n’eri omusajja Omukristaayo anoonya okwawukana. “Fenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ey’emisango eya Katonda.”—Abaruumi 14:10.
ENGERI OBUFUMBO OBWALI BUSASISE GYE BWAWONYEZEBWAMU
21. Kyakulabirako ki ekiraga nti amagezi Baibuli g’ewa ku bufumbo gakola?
21 Emyezi esatu oluvannyuma lwa Lucia, gwe twayogeddeko okusooka, okwawukana n’omwami we, yasisinkana n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’atandika okuyiga Baibuli nabo. “Ekyanneewuunyisa ennyo,” bw’atyo bw’annyonnyola, “Baibuli yampa amagezi ag’omugaso ennyo agaagonjoola ekizibu kyange. Oluvannyuma lw’okusomera wiiki emu yokka, mangu ago nnayagala tutegeeragane n’omwami wange. Leero nsobola okugamba nti Yakuwa amanyi okuwonya obufumbo obuli mu katyabaga olw’okuba by’ayigiriza biyamba abafumbo buli omu okutwala munne nga wa muwendo. Si kya mazima, ng’abamu bwe boogera, nti Abajulirwa ba Yakuwa baabuluzaamu amaka. Nze, bannyamba okuddamu okugatta awamu amaka gange.” Lucia yayiga okugoberera emisingi gya Baibuli mu bulamu bwe.
22. Abafumbo bonna obwesige bwabwe basaanidde kubussa mu ki?
22 Lucia si kye kyokulabirako kyokka. Obufumbo bulina kuba bwa ssanyu, so si mugugu. Olw’ensonga eno, Yakuwa ataddewo ensibuko y’okubuulirira okukwata ku bulamu bw’obufumbo okusingirayo ddala obulungi okuli mu buwandiike—Ekigambo kye eky’omuwendo ennyo. Baibuli esobola okuwa “abasirusiru amagezi.” (Zabbuli 19:7-11) Ewonyezza obufumbo bungi obwali bugenda okusasika era erongoosezza obulala bungi obwalimu ebizibu eby’amaanyi. Ka abafumbo bonna babeere n’obwesige obujjuvu mu kubuulirira okukwata ku bufumbo Yakuwa Katonda kw’awa. Kukolera ddala bulungi nnyo!
a Erinnya likyusiddwa.
b Ebimu ku bino byayogerwako mu ssuula ezaayita.
c Ekigambo kya Baibuli ekivvuunulwa “obwenzi” kitwaliramu obulyi bw’ebisiyaga, okusula n’ensolo, n’ebikolwa ebirala byonna eby’obukaba omubeera okukozesa ebitundu by’omubiri eby’ekyama.
d Kino tekitwaliramu mbeera omwami w’abeerera ng’ayagala nnyo naye nga tasobola kulabirira maka ge olw’ensonga z’atasobola kwebeera, gamba ng’obulwadde oba ebbula ly’emirimu.
-
-
Okukaddiyira AwamuEkyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
-
-
ESSUULA EY’EKKUMI N’ENNYA
Okukaddiyira Awamu
1, 2. (a) Nkyukakyuka ki ezibaawo ng’ogenda okaddiwa? (b) Abasajja abatya Katonda mu biseera bya Baibuli baafuna batya obumativu mu biseera byabwe eby’obukadde?
WAJJAWO enkyukakyuka nnyingi bwe tugenda tukaddiwa. Omubiri gugenda gunafuwa. Bwe tweraba mu ndabirwamu tulaba enkanyanya endala era n’envi nga zeeyongedde mu mutwe—oba ekiwalaata nga kitandise. Tuyinza n’okuba nga twerabiralabira nnyo. Tufunayo ab’eŋŋanda abalala abaana bwe bayingira obufumbo, era n’abazzukulu bwe bazaalibwa. Abamu, okuwummula ku mulimu kubaviiramu embeera y’obulamu ey’enjawulo.
2 Mu butuufu, okukaddiwa kusobola okuleetawo obuzibu bungi. (Omubuulizi 12:1-8) Kyokka, lowooza ku baweereza ba Katonda mu biseera bya Baibuli. Newakubadde oluvannyuma baafa, baafuna amagezi n’okutegeera, ebyabaleetera okuba abamativu mu biseera eby’obukadde. (Olubereberye 25:8; 35:29; Yobu 12:12; 42:17) Baasobola batya okusigala nga basanyufu nga bakaddiye? Mazima ddala kyasoboka olw’okugoberera emisingi gye tusanga mu Baibuli.—Zabbuli 119:105; 2 Timoseewo 3:16, 17.
3. Pawulo yabuulirira atya abasajja n’abakazi abakaddiye?
3 Mu bbaluwa gye yawandiikira Tito, omutume Pawulo yawa obulagirizi obulungi eri abo abakaddiye. Yawandiika: “Abasajja abakadde babenga n’empisa ezisaanira, abafaayo, abalina endowooza ennuŋŋamu, okukkiriza okulamu, okwagala, n’okugumiikiriza. N’abakazi abakadde nabo babe n’empisa ezooleka okutya Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebanywa mwenge mungi, abayigiriza ebirungi.” (Tito 2:2, 3, NW) Okugoberera ebigambo bino kusobola okukuyamba okwolekagana n’ebizibu ebibaawo mu kukaddiwa.
TUUKAGANA N’EMBEERA EY’OKUBA NTI ABAANA BO BEETONGODDE
4, 5. Abazadde bangi beeyisa batya ng’abaana baabwe bavudde awaka, era abamu batuukagana batya n’embeera eyo empya?
4 Obuvunaanyizibwa bwe bukyuka weetaaga okutuukagana n’embeera eba ezzeewo. Ddala kino bwe kibeera abaana abakuze bwe bava awaka ne bayingira obufumbo! Eri abazadde bangi kino kye kisooka okubajjukiza nti bagenda bakaddiwa. Wadde baba basanyufu nti abaana baabwe bakuze, emirundi mingi abazadde basigala beebuuza obanga baakola kyonna ekyali kisoboka okuteekateeka abaana baabwe basobole okweyimirizaawo. Ate era bayinza okuwuubaala nga babavuddeko.
5 N’olwekyo, tekyewuunyisa abazadde bwe beeyongera okulumirirwa abaana baabwe, wadde ng’abaana bamaze okuva awaka. “Singa nsobola okubawulizanga emirundi mingi, okukakasa nti bali bulungi—ekyo kyandinsanyusizza,” bw’atyo maama omu bwe yagamba. Taata omu agamba: “Muwala waffe bwe yava awaka, twasanga obuzibu bungi. Yalekawo eddibu ddene mu maka gaffe kubanga twakoleranga wamu ebintu.” Abazadde bano basobodde batya okwolekagana n’embeera eyo ng’abaana baabwe babavuddeko? Emirundi mingi, nga bafaayo okuyamba abantu abalala.
6. Kiki ekiyamba okukuuma enkolagana ennungi n’amaka g’abaana?
6 Abaana bwe bayingira obufumbo, emirimu gy’abazadde gikyuka. Olubereberye 2:24 lugamba: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we, nabo banaabanga omubiri gumu.” (Italiki zaffe.) Okutegeera emisingi Katonda gye yateekawo egikwata ku bukulembeze n’enteekateeka ennungi kijja kuyamba abazadde okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu.—1 Abakkolinso 11:3; 14:33, 40.
7. Ndowooza ki ennungi taata omu gye yakulaakulanya bawala be nga bavudde awaka ne bafumbirwa?
7 Bawala baabwe ababiri bwe baafumbirwa ne babalekawo, bazadde baabwe baawulira ekiwuubaalo kinene mu bulamu bwabwe. Okusooka, omwami yali tayagala bakoddomi be. Naye bwe yagenda afumiitiriza ku musingi gw’obukulembeze, yakitegeera nti abaami ba bawala be kati be baali bavunaanyizibwa ku maka gaabwe. N’olw’ensonga eyo, bawala be bwe baamusabanga okubawa amagezi, yababuuzanga endowooza y’abaami baabwe bw’eri, olwo n’alyoka akakasa nti abawa obuwagizi nga bwe kisoboka. Kati bakoddomi be bamutwala nga mukwano gwabwe era basiima amagezi g’abawa.
8, 9. Abazadde abamu batuukaganye batya n’embeera ng’abaana baabwe beetongodde?
8 Naye kiba kitya singa abaana abaakafumbiriganwa, wadde nga tebakoze kikontana na byawandiikibwa, tebakola ekyo bazadde baabwe kye balowooza nti kye kisinga obulungi? “Buli kiseera tubayamba okulaba endowooza ya Yakuwa,” bwe batyo omwami n’omukyala abalina abaana abafumbo bwe bagamba, “naye bwe tuba tetukkiriziganya na kye basazeewo, ffe tukkiriza ekyabwe ne tubawagira era ne tubazzaamu amaanyi.”
9 Mu nsi ezimu ez’omu Asia, bamaama abamu kibazibuwalira okukkiriza nti batabani baabwe kati beetongodde. Kyokka, bwe bassa ekitiibwa mu nteekateeka y’Ekikristaayo n’obukulembeze, bakisanga nga obukuubagano ne baka batabani baabwe bukendeera. Omukazi omu Omukristaayo akisanze nti batabani be okuva awaka kimuwadde “essanyu lingi nnyo ddala.” Musanyufu okulaba obusobozi bwabwe mu kuddukanya amaka gaabwe. Kino era kiwewuddeko ku buzito ye n’omwami we bwe balina okwetikka nga bagenda bakaddiwa.
OKUNYWEZA OBUFUMBO BWAMMWE
Nga mugenda mukaddiwa, mwongere okunyweza okwagala kwammwe
10, 11. Kubuulirira ki okw’omu Byawandiikibwa okunaayamba abantu okwewala emitego egibaawo nga batuuludde?
10 Abantu beeyisa mu ngeri za njawulo bwe baba basemberera obukadde. Abasajja abamu bambala mu ngeri ya njawulo balabike ng’abakyali abato. Abakazi abamu beeraliikirira enkyukakyuka ezinaabaawo nga balekedde awo okugenda mu nsonga z’ekikyala. Eky’ennaku, abantu abamu abatuuludde baleetera bannaabwe mu bufumbo obuggya n’obusungu bwe bazannyirirazannyirira n’abo bwe batafaananya kikula eky’obusajja oba eky’obukazi. Kyokka, abasajja abakadde abatya Katonda, baba ne “endowooza ennuŋŋamu,” ne baziyiza okwegomba okubi. (1 Peetero 4:7, NW) Abakazi abakulu nabo bafuba okukuuma obufumbo bwabwe, olw’okuba baagala abaami baabwe, era olw’okwagala okusanyusa Yakuwa.
11 Ng’aluŋŋamizibwa, Kabaka Lemweri yawandiika ng’atenda “omukazi omwegendereza” akolera omwami we “[o]bulungi so si bubi, ennaku zonna ez’obulamu bwe.” (Italiki zaffe.) Omwami Omukristaayo tajja kulemererwa kusiima ngeri mukyala we gy’afuba okugumira ebizibu by’ayolekagana nabyo ng’atuuludde. Okwagala kw’alina kujja kumuleetera ‘okutendereza mukyala we.’—Engero 31:10, 12, 28.
12. Abafumbo bayinza batya okwongera okunyweza obufumbo bwabwe emyaka bwe gigenda gyekulungula?
12 Mu myaka giri nga mufuba okukuza abaana, mwembi muyinza okuba nga mwerekerezanga bye mwagala musobole okukola ku byetaago by’abaana bammwe. Nga bamaze okwetongola, kye kiba ekiseera okuzza ebirowoozo byammwe ku bufumbo bwammwe. “Bawala baffe bwe baava awaka,” bw’atyo omwami omu bwe yagamba, “nnatandika buto okwogereza mukyala wange.” Omwami omulala yagamba: “Buli omu afaayo ku bulamu bwa munne era buli omu ajjukiza munne ku bwetaavu bw’okulabirira omubiri gwe.” Okusobola okwewala ekiwuubaalo, ye ne mukyala we bakyaza ab’oluganda abalala mu kibiina. Yee, okufaayo ku balala kireeta emikisa. Ate era, kisanyusa Yakuwa.—Abafiripi 2:4; Abebbulaniya 13:2, 16.
13. Obwesimbu n’okuba ow’amazima biyamba bitya ng’abafumbo beeyongera okukaddiwa?
13 Toganya mpuliziganya kwonooneka wakati wo ne munno mu bufumbo. Munyumyenga mu bwesimbu. (Engero 17:27) “Twongera okunyweza omukwano gwaffe nga buli omu afaayo ku munne era ng’amulumirirwa,” omwami omu bw’agamba. Mukyala we akkiriziganya naye, n’agamba: “Gye tweyongera okukaddiwa, gye tweyongera okunyumirwa okunywera awamu kacaayi, okunyumya, era n’okukolera awamu.” Okubeera omwesimbu era ow’amazima biyinza okunyweza obufumbo bwammwe ne busobola okugumira obulumbaganyi bwa Setaani, ayonoona obufumbo.
SANYUKIRA BAZZUKULU BO
14. Jjajja wa Timoseewo yakola ki okumuyamba okukula ng’Omukristaayo?
14 Abazzukulu “ngule” ya bakadde. (Engero 17:6) Mazima ddala okuba n’abazzukulu kiyinza okuleeta essanyu lingi—kibuguumiriza era kizzaamu amaanyi. Baibuli eyogera bulungi ku Looyi, eyakolera awamu ne muwala we Ewuniike, okuyigiriza muzzukulu we omuto Timoseewo enzikiriza yaabwe. Omuvubuka ono yakula ng’akimanyi nti maama we ne jjajjaawe amazima ga Baibuli bagatwala nga ga muwendo.—2 Timoseewo 1:5; 3:14, 15.
15. Ku bikwata ku bazzukulu, kya muwendo ki bajjaja kye bayinza okukola, naye balina kwewala ki?
15 Kino nno, kye kifo eky’enjawulo bajjajja mwe bayinza okubaako eky’omuwendo ennyo kye bakola. Bajjajja, mwamala dda okuyigiriza abaana bammwe bye mumanyi ku bigendererwa bya Yakuwa. Kaakano muyinza okukola kye kimu eri omulembe omulala! Abaana abato bangi basanyuka nnyo okuwulira bajjajjaabwe nga babanyumiza engero z’omu Baibuli. Kya lwatu, kitaabwe oba tomuggyeko buvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana be amazima ga Baibuli. (Ekyamateeka 6:7) Wabula, oba omuyambako. Okusaba kwo kube nga okw’omuwandiisi wa Zabbuli: “Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.”—Zabbuli 71:18; 78:5, 6.
16. Bajjajja basobola batya okwewala okuleetawo obukuubagano mu maka g’abaana baabwe?
16 Eky’ennaku, abamu ku bajjajja batiitiibya abato bano ne kireetawo obukuubagano wakati wa bajjajja n’abaana baabwe abakulu. Kyokka, oboolyawo, olw’ekisa kyammwe eky’obwesimbu bazzukulu bammwe bayinza okwanguyirwa okubabuulira ekibali ku mutima bwe baba bawulira nga tebaagala kukibuulira bazadde baabwe. Ebiseera ebimu abato baba basuubira nti bajjajjaabwe bajja kubawagira mu nsonga ezo ze batakkiriziganyaako ne bazadde baabwe. Kati olwo kiki ekirina okukolebwa? Mukozese amagezi era mukubirize bazzukulu bammwe okubuulira bazadde baabwe ekibali ku mutima. Muyinza okubannyonnyola nti kino kisanyusa Yakuwa. (Abeefeso 6:1-3) Bwe kiba kyetaagisa, muyinza okwogerako n’abazadde baabwe ku kizibu kyabwe. Mutegeeze bazzukulu bammwe ku ebyo bye muyize emyaka nga bwe gizze giyitawo. Obwesigwa n’obwesimbu bye mulaga bisobola okubaganyula.
TUUKAGANA N’EMBEERA NGA BW’OGENDA OKADDIWA
17. Bumalirivu ki omuwandiisi wa Zabbuli bwe yalaga Abakristaayo abagenda bakaddiwa bwe bandikoppye?
17 Emyaka bwe gigenda gyekulungula, ojja kukisanga nga tokyasobola kukola byonna bye wakolanga oba bye wandyagadde okukola. Omuntu ayolekagana atya n’obukadde? Muli oyinza okwewulira ng’alina emyaka 30 egy’obukulu, naye bw’otunulako mu ndabirwamu ekulaga kirala nnyo. Toterebuka. Omuwandiisi wa Zabbuli yeegayirira Yakuwa: “Tonsuula mu biro eby’obukadde; tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.” Fuba okukoppa obumalirivu bw’omuwandiisi wa Zabbuli. Yagamba: “Naasuubiranga ennaku zonna, era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.”—Zabbuli 71:9, 14.
18. Omukristaayo omukulu ayinza atya okukozesa okuwummula kwe ku mulimu mu ngeri ey’omuganyulo?
18 Bangi bateeseteese okutendereza Yakuwa mu ngeri esingawo oluvannyuma lw’okuwummula ku mulimu. “Nnateekateeka kye ndikola nga muwala waffe avudde mu ssomero,” bw’atyo taata omu eyawummula ku mulimu bw’annyonnyola. “Nnamalirira okutandika mu buweereza bw’okubuulira ekiseera kyonna, era nnatunda bizineesi yange nsobole okuba n’ebiseera okuweereza Yakuwa ekisingawo. Nnasaba okufuna obulagirizi bwa Katonda.” Bw’oba osemberedde emyaka egy’okuwummula ku mulimu, funa amaanyi mu bigambo by’Omutonzi waffe ow’Ekitalo: “N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n’okutuusa ku nvi naabasitulanga.”—Isaaya 46:4.
19. Abakaddiye baweebwa kubuulirirwa ki?
19 Okutuukana n’embeera ebaawo ng’owumudde ku mulimu kiyinza obutaba kyangu. Omutume Pawulo yawa abasajja abakaddiye amagezi okuba ne “empisa ezisaanira.” Kino kyetaagisa okwefuga, obuteekubiira lubege ku bulamu obw’okwegayaaza. Kiyinza okukwetaagisa okuba n’entegeka gy’ogoberera era n’okwekubiriza wekka n’okusinga bwe kyali nga tonnawummula ku mulimu. N’olwekyo, mube banyiikivu, “nga mulina eby’okukola bingi bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, nga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 15:58, NW) Mwongere ku bye mukola musobole okuyamba abalala. (2 Abakkolinso 6:13) Abakristaayo bangi bakola bwe batyo nga banyiikirira okubuulira amawulire amalungi ng’obusobozi bwabwe bwe bubakkirizisa. Nga mweyongera okukaddiwa, mube ne “okukkiriza okulamu, okwagala, n’okugumiikiriza.”—Tito 2:2, NW.
OKWOLEKAGANA N’OKUFIIRWA MUNNO MU BUFUMBO
20, 21. (a) Mu mbeera zino ez’ebintu, kiki ekyawukanya abafumbo? (b) Ana yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi eri abo ababa bafiiriddwa bannaabwe mu bufumbo?
20 Kya nnaku naye ate nga kya mazima nti mu mbeera zino ez’ebintu, ekiseera kituuka okufa ne kwawukanyamu abafumbo. Abakristaayo abafiiriddwa bannaabwe mu bufumbo bakimanyi nti abaagalwa baabwe beebase, era balina obwesige nti baliddamu okubalaba. (Yokaana 11:11, 25) Naye era okufiirwa kuleeta ennaku nnyingi. Oyo asigaddewo asobola atya okugigumira?a
21 Bwe tujjukira ekyo omuntu omu mu Baibuli kye yakola kijja kutuyamba. Ana yafuuka nnamwandu nga yaakabeera mu bufumbo emyaka musanvu gyokka, ate we tumusomerako yali wa myaka 84 egy’obukulu. Tusobola okuba abakakafu nti yanakuwala nnyo bwe yafiirwa omwami we. Yasobola atya okuguma? Yenyigiranga mu kuweereza okutukuvu eri Yakuwa Katonda mu yeekaalu ekiro n’emisana. (Lukka 2:36-38) Awatali kubuusabuusa, obulamu bwa Ana obw’okuweereza obwalimu okusaba bwasobola okumumalako ennaku n’ekiwuubaalo kye yalina nga nnamwandu.
22. Bannamwandu ne bassemwandu abamu basobodde batya okugumira ekiwuubaalo?
22 “Ekizibu ekinene kye njolekaganye nakyo kwe kubulwa omuntu gwe njogera naye,” bw’atyo omukazi ow’emyaka 72 egy’obukulu eyafiirwa omwami we emyaka kkumi egiyise bw’annyonnyola. “Omwami wange yawulirizanga bulungi. Twayogeranga ku kibiina ne ku buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo.” Nnamwandu omulala agamba: “Wadde ng’ebiseera bwe biyitawo obulumi buggwaawo, nze nkizudde nti ekisingako okuba ekituufu kwe kwogera nti ebyo omuntu by’akola mu biseera by’alina bye bimumalako obulumi. Oba mu mbeera esingako obulungi okuyamba abalala.” Ssemwandu ow’emyaka 67 egy’obukulu akkiriza, ng’agamba: “Engeri ennungi esobola okukuyamba okuguma ng’ofiiriddwa kwe kwewaayo okubudaabuda abalala.”
KATONDA AKUTWALA NG’OLI WA MUWENDO NG’OKADDIYE
23, 24. Kubudaabudibwa ki Baibuli kw’ewa abo abakaddiye, naddala abo abafiiriddwako bannaabwe?
23 Wadde ng’okufa kukutwalako munno omwagalwa, Yakuwa asigala nga mwesigwa, era nga wa mazima. “Ekintu kimu kye nsabye Yakuwa,” bw’atyo Kabaka Dawudi ow’edda bwe yayimba, “kye nnaanoonyanga, nsobole okutuulanga mu nnyumba ya Yakuwa ennaku zonna ez’obulamu bwange, okutunuuliranga obulungi bwa Yakuwa n’okusiimanga yeekaalu ye.”—Zabbuli 27:4, NW.
24 “Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala,” bw’atyo omutume Pawulo bw’akubiriza. (1 Timoseewo 5:3) Okubuulirirwa okuweebwa oluvannyuma lw’ekiragiro kino kulaga nti bannamwandu abasaanira abatalina ba ŋŋanda zaabwe ba ku lusegere ekibiina kiyinza okubawa obuyambi bw’ebintu obwetaagibwa. Kyokka, amakulu g’ekiragiro ‘okuwa ekitiibwa’ gatwaliramu okubatwala nga ba muwendo. Nga bannamwandu ne bassemwandu abatya Katonda bafuna okubudaabudibwa kwa maanyi bwe bamanya nti Yakuwa abatwala nga ba muwendo era nti ajja kubawanirira!—Yakobo 1:27.
25. Abakaddiye basigala balina kiruubirirwa ki?
25 “Ekitiibwa ky’abasajja abakadde ze nvi zaabwe,” Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa bwe kigamba. Ziba ‘ngule ya kitiibwa bwe zirabikira mu kkubo ery’obutuukirivu.’ (Engero 16:31; 20:29, NW) Kale, weeyongere okukuumira obuweereza bwa Yakuwa mu kifo ekisooka mu bulamu bwo, k’obe ng’oli mufumbo oba ng’oli wekka nate. Mu ngeri eno ojja kwekolera erinnya eddungi eri Katonda kaakano era obe n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu nsi obulumi bw’okukaddiwa mwe butaliba nate.—Zabbuli 37:3-5; Isaaya 65:20.
a Okufuna ebisingawo ku nsonga eno, laba brocuwa When Someone You Love Dies, akaakubibwa aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
-
-
Okuwa Bazadde Baffe Abakaddiye EkitiibwaEkyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
-
-
ESSUULA EY’EKKUMI N’ETAANO
Okuwa Bazadde Baffe Abakaddiye Ekitiibwa
1. Bbanja ki lye tulina eri bazadde baffe, era n’olw’ensonga eyo twandibalowoozezzaako tutya era twandibayisizza tutya?
“OWULIRANGA kitaawo eyakuzaala, so tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye,” omusajja ow’amagezi ow’edda bw’atyo bwe yabuulirira. (Engero 23:22) Oyinza okugamba nti, ‘Nze ekyo sisobola kukikola!’ Mu kifo ky’okunyooma bamaama baffe—oba bataata baffe—abasinga obungi ku ffe tuwulira nga tubaagala nnyo. Tukimanyi nga tulina ebbanja ddene nnyo gye bali. Okusooka byonna, bazadde baffe baatuwa obulamu. Wadde Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu, singa bazadde baffe tebaatuzaala tetwandisobodde kubeerawo. Tewali kya muwendo kwenkana bulamu kye tusobola kuwa bazadde baffe. Ate, lowooza ku kwefiiriza, okulumirirwa, ensimbi ezisaasaanyizibwa, era n’okufaayo okw’obwagazi ebyetaagibwa okusobola okukuza omwana okuva mu buwere. N’olwekyo, nga kisaanira ddala okuba nti Ekigambo kya Katonda kibuulirira: “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko . . . olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi”!—Abeefeso 6:2, 3.
OKUFAAYO KU NNEEWULIRA YAABWE
2. Abaana abakuze bayinza batya “okusasula” bazadde baabwe?
2 Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo: “Abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab’omu nnyumba zaabwe, n’okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.” (1 Timoseewo 5:4) Abaana abakulu ‘basasula’ bazadde baabwe ne bajjajjaabwe nga babalaga okusiima olw’emyaka gye baamala nga babalaga okwagala, nga babakolerera, era nga babalabirira. Engeri emu abaana gye bayinza okukolamu kino kwe kumanya nti okufaananako abantu abalala bonna, abakaddiye beetaaga okwagalibwa n’okugumizibwa—ng’emirundi egisinga babyetaaga nnyo. Okufaananako naffe ffenna, beetaaga okukimanya nti batwalibwa nga ba muwendo. Beetaaga okukimanya nti obulamu bwabwe bwa muwendo.
3. Tuyinza tutya okuwa bazadde baffe ne bajjajjaffe ekitiibwa?
3 N’olwekyo, tuyinza okuwa bazadde baffe ne bajjajjaffe ekitiibwa nga tubategeeza nti tubaagala. (1 Abakkolinso 16:14) Bazadde baffe bwe baba tebabeera naffe, tulina okukijjukira nti baba baagala nnyo okuwulira ebitufaako. Ebbaluwa esanyusa, okubakubirayo ku ssimu, oba okubakyalira kiyinza okubawa essanyu lingi nnyo. Miyo, abeera mu Japan, yawandiika bw’ati ng’aweza emyaka 82 egy’obukulu: “Muwala wange [omwami we nga muweereza atambula] aŋŋamba: ‘Maama, tukusaba “otambulenga” naffe.’ Ampeereza entegeka y’entambula yaabwe n’ennamba y’essimu ey’ekibiina gye baba bali buli wiiki. Nsobola okubikkula maapu yange ne ŋŋamba nti: ‘Yee. Kati bali wano!’ Bulijjo nneebaza Yakuwa olw’essanyu ery’okuba n’omwana ng’oyo.”
OKUBAWA OBUYAMBI BW’EBINTU
4. Mu ngeri ki akalombolombo k’eddiini y’Ekiyudaaya gye kaakubirizaamu obutalumirirwa bazadde abakaddiye?
4 Okuwa bazadde bo ekitiibwa kiyinza okutwaliramu n’okubawa obuyambi bw’ebintu? Yee. Emirundi mingi kiba bwe kityo. Mu biseera bya Yesu abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baalina akalombolombo akagamba nti singa omuntu aba awaddeyo ensimbi ze oba ebintu bye nga ‘ekirabo eri Katonda,’ aba takyavunaanyizibwa kubikozesa kulabirira bazadde be. (Matayo 15:3-6) Nga tebaalina kulumirirwa n’akatono! Mu butuufu, abakulembeze b’eddiini abo baali tebakubiriza bantu kuwa bazadde baabwe kitiibwa wabula okubanyooma nga babamma bye beetaaga. Kikafuuwe ffe okukola bwe tutyo!—Ekyamateeka 27:16.
5. Wadde nga mu nsi ezimu mulimu enteekateeka ezikolebwa gavumenti, lwaki emirundi egimu okuwa abazadde ekitiibwa kutwaliramu okubawa obuyambi bw’ensimbi?
5 Mu nsi nnyingi leero, entegeka ez’okuyamba abantu ezaateekebwawo gavumenti zikola ku byetaago ebimu eby’abakadde, gamba ng’okubafunira emmere, engoye, n’aw’okusula. Ng’oggyeeko ebyo, abakadde bennyini bayinza okuba nga beekolerawo dda enteekateeka ey’okubayamba mu myaka gyabwe egy’obukadde. Naye ebintu bino bye beetegekera bwe biggwaawo oba bwe biba tebikyabamala, abaana bawa bazadde baabwe ekitiibwa nga bakola kyonna kye basobola okukola ku byetaago by’abazadde baabwe. Mu butuufu, okulabirira abazadde abakaddiye kabonero akalaga okwemalira ku Katonda, kwe kugamba, omuntu okwemalira ku Yakuwa Katonda, Eyatandikawo enteekateeka y’amaka.
OKWAGALA N’OKWEFIIRIZA
6. Nteekateeka ki abamu ze bakoze okusobola okukola ku byetaago by’abazadde baabwe?
6 Abaana abakulu bangi bafuddeyo ku bwetaavu bw’abazadde baabwe abatakyesobola nga booleka okwagala n’okwefiiriza. Abamu batutte bazadde baabwe mu maka gaabwe oba basengukidde mu kifo ekiri okumpi ne bazadde baabwe we babeera. Abalala basengukidde mu maka g’abazadde baabwe. Emirundi mingi, enteekateeka nga zino zireesewo emiganyulo eri abazadde n’abaana.
7. Lwaki tekiba kirungi okwanguyiriza okusalawo ku bikwata ku bazadde abakaddiye?
7 Kyokka, ebiseera ebimu enteekateeka ezo tezivuddemu birungi. Lwaki? Oboolyawo olw’okuba banguyiriza okusalawo oba okusalawo kwabwe kwali kwa kinyegenyege. “Ow’amagezi afumiitiriza ku ky’agenda okukola,” Baibuli bw’etyo bw’erabula. (Engero 14:15, NW) Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti maama wo omukadde akaluubirirwa okubeera yekka, era n’olowooza nti yandiganyuddwa okusengukira ewuwo. Mu kulowooza ku ky’ogenda okukola, oyinza okulowooza ku bino: Ddala biki bye yeetaaga? Waliwo enteekateeka yonna ey’obwannakyewa oba eya gavumenti eyinza okukola obulungi ku bwetaavu obwo? Eky’okusenguka akyagala? Bw’aba akyagala, obulamu bwe bunaakwatibwako butya? Alina ab’emikwano b’agenda okwawukana nabo? Kino kinaamuyisa kitya mu birowoozo? Bino byonna obyogeddeko naye? Ggwe, ne munno mu bufumbo, era n’abaana bammwe munaayisibwa mutya ng’asengukidde ewammwe? Maama wo bw’aba yeetaaga okulabirirwa, ani agenda okumulabirira? Obuvunaanyizibwa buyinza okugabanyizibwamu? Ensonga eno ogyogeddeko n’ab’omu maka bonna be kikwatako?
8. Baani b’oyinza okwebuuzaako ng’osalawo okuyamba bazadde bo abakaddiye?
8 Okuva obuvunaanyizibwa obw’okumulabirira bwe butwaliramu abaana bonna ab’omu maka, kiyinza okuba eky’amagezi okukiteesaako ng’amaka bonna basobole okwetaba mu kusalawo okwo. Okwogerako n’abakadde mu kibiina Ekikristaayo oba ab’emikwano abayolekaganyeko n’ekizibu ekifaananako bwe kityo kiyinza okuyamba. “Awatali magezi okuteesa kufa,” bw’etyo Baibuli bw’erabula, “naye kunywerera mu lufulube lw’abo abateesa ebigambo.”—Engero 15:22.
WEETEEKE MU KIFO KYE ERA LAGA OKUTEGEERA
Tekiba kya magezi okusalirawo omuzadde ekintu nga tosoose kwogerako naye
9, 10. (a) Wadde emyaka giba gibagenzeeko, abakaddiye basaanidde kufiibwako batya? (b) Ka kibeere ki omwana akuze ky’ayagala okukolera bazadde be, kiki ky’alina okubawa bulijjo?
9 Okuwa abazadde baffe abakaddiye ekitiibwa kitwetaagisa okweteeka mu kifo kyabwe n’okulaga okutegeera. Olw’emyaka gyabwe, abakaddiye bayinza okweyongera okukaluubirirwa okutambula, okulya, n’okujjukira. Bayinza okwetaaga obuyambi. Emirundi egisinga, abaana bafaayo nnyo ku mbeera y’abazadde baabwe era ne bagezaako okuwa obulagirizi. Naye bannamukadde bano bantu bakulu abalina amagezi n’obumanyirivu bungi bwe bafunye mu bulamu, nga beeyimirizaawo bokka era nga beesalirawo bye baagala. Engeri zaabwe ng’abantu kinnoomu era n’ekitiibwa kyabwe biyinza okusinziira ku kifo kye balina ng’abazadde era abantu abakulu. Abazadde abawulira nti bateekwa okuleka abaana baabwe okufuga obulamu bwabwe bayinza okwennyamira oba okunyiiga. Abamu tebakikkiriza era baziyiza ekyo kyonna kye balaba ng’ekibaggyako eddembe lyabwe.
10 Ebizibu ng’ebyo tebiba byangu bya kugonjoola, naye kiba kyoleka ekisa okuleka abazadde abakaddiye okukola kye baagala n’okwesalirawo nga bwe kiba kisoboka. Tekiba kya magezi okusalirawo bazadde bo nga toyogeddeko nabo okusooka. Bye batasobola kukola biyinza okuba bingi. Baleke bakole bye bakyasobola. Oyinza okukisanga nti gy’okoma okwewala okugezaako okufuga obulamu bw’abazadde bo, enkolagana yo nabo gy’ejja okukoma okuba ennungi. Bajja kuba basanyufu okusingawo, era naawe bw’otyo. Ne bwe kiba nga kyetaagisa okugugubira ku bintu ebimu ku lw’obulungi bwabwe, okussaamu bazadde bo ekitiibwa kikwetaagisa obawe ekitiibwa ekibasaanira. Ekigambo kya Katonda kibuulirira: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.”—Eby’Abaleevi 19:32.
OKUBEERA N’ENDOWOOZA ENTUUFU
11-13. Wadde ng’enkolagana y’omwana akuze ne bazadde be teyali nnungi mu biseera ebyayita, ayinza atya okubalabirira mu myaka gyabwe egy’obukadde?
11 Emirundi egimu ekizibu abaana abakulu kye boolekagana nakyo mu kuwa bazadde baabwe ekitiibwa kikwatagana n’enkolagana gye baalina ne bazadde baabwe mu biseera eby’edda. Oboolyawo kitaawo teyakulaga mukwano na kwagala, maama wo yali wa bboggo era mukambwe. Oyinza okuba nga okyawulira ennaku, obusungu, oba obulumi olw’okuba bazadde bo tebeeyisa nga bwe wandibadde oyagala. Oyinza okuvvuunuka enneewulira ng’ezo?a
12 Basse, eyakulira mu Finland, agamba: “Kitange atali wa musaayi yali ofiisa wa SS mu Germany ey’obufuzi bwa Nazi. Yasunguwalanga mangu nnyo, ate nga bw’asunguwala aba wa kabi nnyo. Yakuba maama wange emirundi mingi nga ndaba. Lumu bwe yansunguwalira, yankubisa ekyuma ky’oku lukoba lwe mu maaso. Lwankuba nnyo ne ntalantuka ne ngwa ku kitanda.”
13 Kyokka, yalinayo n’engeri ze endala. Basse ayongerako: “Ku luuyi olulala, yakolanga nnyo okulabirira amaka ge. Teyandagaako n’olumu kwagala kwa muzadde, naye nnali nkimanyi nti enneewulira ye ey’omunda yayonoonebwa. Maama we yamugoba awaka ng’akyali mulenzi muto. Yava buto ng’alwana era yenyigira mu lutalo ng’akyali muvubuka. Embeera ye nnali ngitegeera, era samunenya. Bwe nnakula, nnayagala mmuyambe nga bwe kisoboka okutuusa okufa kwe. Tekyali kyangu, naye nnakola kye nsobola. Nnagezaako okuba omwana omulungi, era ndowooza nga yantwala okuba omwana omulungi.”
14. Kyawandiikibwa ki ekikola mu buli mbeera, nga mw’otwalidde n’ezo ezibaawo mu kulabirira abazadde abakaddiye?
14 Ku nsonga z’amaka, era n’ensonga endala, okubuulirira kwa Baibuli kukola: “Mwambalenga . . . omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.”—Abakkolosaayi 3:12, 13.
ABALABIRIRA NABO BEETAAGA OKULABIRIRWA
15. Lwaki okulabirira abazadde oluusi kinakuwaza?
15 Okulabirira omuzadde ateesobola mulimu gwa maanyi, gubaamu eby’okukola bingi, obuvunaanyizibwa bungi, era gutwala ebiseera bingi. Naye emirundi egisinga, ekitundu ekisingayo obuzibu kiba kikwata ku nneewulira ez’omunda. Kikwasa ennaku okulaba obulamu bw’abazadde bo, okujjukira kwabwe, era n’eddembe lyabwe nga bigenda bikendeera. Sandy, ow’omu Puerto Rico, agamba bw’ati: “Maama wange ye yali yeesigamyeko buli kimu mu maka gaffe. Kyatuluma nnyo okumulaba nga takyesobola. Okusooka, yatandika okuwenyera; n’atandika okukozesa omuggo, okwo n’azzaako ekiwanirira omuntu okutambula, n’oluvannyuma akagaali k’abalema. Embeera ye yeeyongera okuddirira okutuusa lwe yafa. Yalwala kookolo ow’omu magumba n’aba ng’alina okulabirirwa buli kiseera—emisana n’ekiro. Twamunaazanga, twamuliisanga, era twamusomeranga. Kyali kizibu kya maanyi—naddala mu nneewulira ey’omunda. Bwe nnamanya nga maama wange yali agenda kufa, nnakaaba olw’okuba nnali mmwagala nnyo.”
16, 17. Magezi ki agayinza okuyamba oyo alabirira okuba n’endowooza etegudde lubege?
16 Bwe weesanga mu mbeera efaanana bw’etyo, oyinza kukola ki okusobola okugigumira? Okuwuliriza Yakuwa ng’osoma Baibuli era n’okwogera naye mu kusaba bijja kukuyamba nnyo. (Abafiripi 4:6, 7) Era ekiyinza okukuyamba, kakasa nti olya emmere erimu ekiriisa era gezaako okwebaka ekimala. Bw’okola bw’otyo, ojja kusobola okulabirira omwagalwa wo ng’oli mu mbeera nnungi, mu birowoozo ne mu mubiri. Oboolyawo ebiseera ebimu oyinza okuwummulako n’okyusaako okuva ku nkola yo eya bulijjo. Ka kibe nti tolina wantu w’osobodde kugenda kuwummulirako, era kiba kya magezi okufunayo akaseera ak’okuwummulako. Okusobola okufuna ekiseera ekyo, oyinza okukola enteekateeka omuntu omulala okusigala n’omuzadde wo omulwadde.
17 Abantu abakulu abajjanjaba batera okuluubirira okutuukiriza ebintu bye batasobola. Naye towulira ng’azizza omusango olw’ebyo by’otasobola kukola. Mu mbeera ezimu kiyinza okukwetaagisa okutwala omwagalwa wo mu maka omulabirirwa abateesobola. Bwe kiba nti ggwe ojjanjaba, toluubirira kutuukiriza by’otasobola. Olina okufaayo ku byetaago by’abazadde bo naye nga tosudde muguluka byetaago by’abaana bo, ebya munno mu bufumbo, n’ebibyo kennyini.
AMAANYI AGASINGA KU GA BULIJJO
18, 19. Kisuubizo ki eky’okuwa obuwagizi Yakuwa ky’akoze, era kyakulabirako ki ekiraga nti akuuma ekisuubizo kino?
18 Ng’ayitira mu Kigambo kye, Baibuli, Yakuwa awa obulagirizi obusobola okuyamba ennyo omuntu mu kulabirira bazadde be abakaddiye, naye nga buno si bwe buyambi bwokka bw’awa. “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira,” omuwandiisi wa Zabbuli bw’atyo bwe yawandiika ng’aluŋŋamizibwa. “Anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga.” Yakuwa ajja kulokola, oba kukuuma, abeesigwa be okuyita ne mu mbeera ezisingayo okuba enzibu.—Zabbuli 145:18, 19.
19 Myrna, ow’omu Philippines, yategeera ekintu kino bwe yali alabirira maama we, eyali takyesobola oluvannyuma lw’okusanyalala. “Tewali kinakuwaza nga okulaba omwagalwa wo ng’alumizibwa, nga tasobola kukubuulira na wamuluma,” Myrna bw’atyo bwe yawandiika. “Kyali kifaananako n’okumulaba ng’abbira mpolampola mu mazzi, kyokka nga tewali kye nnyinza kukola. Emirundi mingi nnafukamiranga ku maviivi gange ne ntegeeza Yakuwa ku bukoowu bwe nnabanga nabwo. Nnakaaba amaziga nga Dawudi, eyeegayirira Yakuwa ateeke amaziga ge mu kasumbi era amujjukire. [Zabbuli 56:8] Era nga Yakuwa bwe yasuubiza, yampa amaanyi ge nnali nneetaaga. ‘Yakuwa yampanirira.’”—Zabbuli 18:18, NW.
20. Bisuubizo ki eby’omu Baibuli ebiyamba abalabirira okuba n’essuubi, ne bwe kiba nti gwe balabirira afa?
20 Bagamba nti okulabirira abazadde abakaddiye ye “mboozi etafundikirwa mu ngeri esanyusa.” Ka babe nga balabiriddwa bulungi batya, bannamukadde bayinza okufa, nga bwe kyali eri maama wa Myrna. Naye abeesiga Yakuwa bamanyi nti okufa si ye nkomerero ya byonna. Omutume Pawulo yagamba: “Nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Abo bonna abafiiriddwa bazadde baabwe abakaddiye babudaabudibwa essuubi ery’okuzuukira n’ekisuubizo eky’ensi empya esanyusa Katonda gy’agenda okussaawo ‘omutaliba kufa nate.’—Okubikkulirwa 21:4.
21. Birungi ki ebiva mu kuwa abazadde abakaddiye ekitiibwa?
21 Abaweereza ba Katonda bafaayo nnyo ku bazadde baabwe, ka babe nga bakaddiye. (Engero 23:22-24) Babawa ekitiibwa. Olw’okukola bwe batyo, balaba ekyo olugero olwaluŋŋamizibwa kye lugamba: “Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, n’omukazi eyakuzaala ajaguzenga.” (Engero 23:25) Ate era ekisinga byonna, abo abawa bazadde baabwe abakaddiye ekitiibwa basanyusa Yakuwa Katonda era bamuwa ekitiibwa.
a Wano tetwogera ku mbeera abazadde we babeerera nga baakozesa bubi nnyo obuyinza bwabwe, ekiyinza okutwalibwa ng’ekikolwa eky’obumenyi bw’amateeka.
-
-
Amaka Go Gateekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso eby’OlubeereraEkyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
-
-
ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUKAAGA
Amaka Go Gateekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Olubeerera
1. Yakuwa yalina kigendererwa ki eri enteekateeka y’amaka?
YAKUWA bwe yagatta Adamu ne Kaawa mu bufumbo, Adamu yayoleka essanyu lye ng’ayogera ekitontome eky’Olwebbulaniya ekyasookera ddala okuwandiikibwa. (Olubereberye 2:22, 23) Kyokka, Omutonzi yalina ekigendererwa ekisingawo ku kusanyusa obusanyusa abaana be abantu. Yayagala abafumbo n’amaka gaabwe okukola by’ayagala. Yagamba abantu ababiri abaasooka: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28) Nga gwali mulimu mulungi nnyo era oguganyula! Adamu ne Kaawa n’abaana be bandizadde nga bandibadde n’essanyu lingi nnyo singa baali bakoze Yakuwa by’ayagala mu bujjuvu!
2, 3. Amaka gayinza gatya okufuna essanyu erisingirayo ddala leero?
2 Era ne leero, amaka gaba masanyufu nnyo bwe gakolera awamu Katonda by’ayagala. Omutume Pawulo yawandiika: “Okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw’obulamu obwa kaakano n’obw’obugenda okujja.” (1 Timoseewo 4:8) Amaka agatya Katonda era agagoberera obulagirizi bwa Yakuwa nga bwe buli mu Baibuli gajja kufuna essanyu mu ‘bulamu obwa kaakano.’ (Zabbuli 1:1-3; 119:105; 2 Timoseewo 3:16) Ne bwe kiba nti omu yekka ku b’omu maka y’agoberera emisingi gya Baibuli, embeera eba nnungiko okusinga lwe watabaawo n’omu.
3 Ekitabo kino kyogedde ku misingi gya Baibuli mingi egireeta essanyu mu maka. Oboolyawo okyetegerezza nti egimu ku gyo gyogeddwako enfunda nnyingi mu kitabo kino. Lwaki? Kubanga gyoleka amazima ag’ekitalo agaganyula bonna mu mbeera ez’enjawulo mu maka. Amaka aganyiikira okugoberera emisingi gya Baibuli gino gakizuula nti okutya Katonda ddala “kulina okusuubiza okw’obulamu obwa kaakano.” Ka tuddemu nate okwetegereza ena ku misingi egyo emikulu.
OBUKULU BW’OKWEFUGA
4. Lwaki okwefuga kukulu mu bufumbo?
4 Kabaka Sulemaani yagamba: “Ataziyiza mwoyo gwe ali ng’ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe.” (Engero 25:28; 29:11) ‘Omuntu okuziyiza omwoyo gwe,’ okwefuga, kikulu nnyo eri abo abaagala obufumbo obw’essanyu. Okwoleka enneewulira ez’omunda ezoonoona, gamba nga obusungu oba okwegomba eby’obugwenyufu kuleetawo obulumi obuyinza okutwala emyaka emingi okumalawo—bwe kiba nga kiyinzika.
5. Omuntu atatuukiridde ayinza atya okukulaakulanya okwefuga, era miganyulo ki egivaamu?
5 Kya lwatu, tewali muzzukulu wa Adamu n’omu asobola kufugira ddala mubiri gwe ogutali mutuukirivu. (Abaruumi 7:21, 22) Wadde kiri bwe kityo, okwefuga kibala kya mwoyo. (Abaggalatiya 5:22, 23) N’olwekyo, omwoyo gwa Katonda gujja kutuyamba okwefuga singa tusaba okufuna engeri eno, singa tugoberera okubuulirira okusangibwa mu Byawandiikibwa, era singa tukolagana n’abalala abalina engeri eyo ne twewala abatagirina. (Zabbuli 119:100, 101, 130; Engero 13:20; 1 Peetero 4:7) Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuyamba ‘okwewala obwenzi,’ ne bwe tuba nga tukemeddwa. (1 Abakkolinso 6:18) Tujja kulekayo obukambwe era twewale oba tuwangule omuze ogw’okwekamirira omwenge. Era tujja kuba bakkakkamu nga batunyiizizza oba nga twolekaganye n’embeera enzibu. Ffenna awamu—nga mw’otwalidde n’abaana—ka tukulaakulanye ekibala ky’omwoyo kino ekikulu.—Zabbuli 119:1, 2.
ENDOWOOZA ENTUUFU KU BUKULEMBEZE
6. (a) Ntegeka ki ey’obukulembeze Katonda gye yateekawo? (b) Omusajja alina kujjukira ki singa obukulembeze bwe bwa kuleeta essanyu mu maka ge?
6 Omusingi ogw’okubiri omukulu kwe kussa ekitiibwa mu bukulembeze. Pawulo yannyonnyola entegeka y’ebintu entuufu bwe yagamba: “Njagala mmwe okumanya ng’omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Kino kitegeeza nti omusajja y’atwala obukulembeze mu maka, mukyala we n’amuwagira, n’abaana ne bagondera bazadde baabwe. (Abeefeso 5:22-25, 28-33; 6:1-4) Kyokka, weetegereze nti obukulembeze okusobola okuleeta essanyu bulina okukozesebwa mu ngeri entuufu. Abaami abatya Katonda bakimanyi nti okubeera omutwe tekitegeeza kubeera nnaakyemalira. Bakoppa Yesu, Omutwe gwabwe. Newakubadde Yesu yali wa kuba “mutwe ku byonna,” ‘teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza.’ (Abeefeso 1:22; Matayo 20:28) Mu ngeri y’emu, omusajja Omukristaayo akozesa obukulembeze bwe, si kwefaako yekka, naye okukola ku byetaago bya mukyala we n’abaana.—1 Abakkolinso 13:4, 5.
7. Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa eginaayamba omukyala okutuukiriza ekifo kye mu maka ekyamuweebwa Katonda?
7 Ng’atuukiriza ekifo kye, omukyala atya Katonda tagezaako kuvuganya oba kufuga mwami we. Asanyuka okumuwagira era n’okukolera awamu naye. Baibuli oluusi eyogera ku mukyala okuba ng’alina bba ‘amulinako obwannannyini,’ n’ekyoleka bulungi nti omwami gwe mutwe. (Olubereberye 20:3, NW) Bw’abeera mu bufumbo “afugibwa bba.” (Abaruumi 7:2) Mu kiseera kye kimu, Baibuli emuyita “mubeezi” era ‘omujjuuliriza.’ (Olubereberye 2:20, NW) Ajjuuliriza engeri n’obusobozi omwami we by’atalina, era amuwa obuwagizi obwetaagibwa. (Engero 31:10-31) Baibuli era egamba nti omukyala ‘munne’ wa mwami, bwe bakolera awamu. (Malaki 2:14) Emisingi gino egy’omu Byawandiikibwa giyamba omwami n’omukyala buli omu okutegeera ekifo kya munne era buli omu okuwa munne ekitiibwa.
‘BEERANGA MWANGU WA KUWULIRA’
8, 9. Nnyonnyola egimu ku misingi eginaayamba ab’omu maka bonna okulongoosa empuliziganya yaabwe.
8 Mu kitabo kino obukulu bw’empuliziganya bwogeddwako emirundi mingi. Lwaki? Kubanga ebintu bitambula bulungi abantu bwe boogeraganya era buli omu n’awuliriza munne. Kyaggumizibwa enfunda n’enfunda nti empuliziganya yenyigirwamu abakwatibwako bombi. Omuyigirizwa Yakobo yakyogerako bw’ati: “Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera.”—Yakobo 1:19.
9 Era kikulu okwegendereza engeri gye twogeramu. Ebigambo eby’ensumattu, eby’okuyomba, oba ebivumirira tebireetawo mpuliziganya nnungi. (Engero 15:1; 21:9; 29:11, 20) Ne bwe kiba nga kye twogera kituufu, bwe kyogerwa n’obukambwe, n’amalala oba awatali kufaayo ku nneewulira z’abalala, kijja kulumya bulumya. Okwogera kwaffe kusaanidde okubaamu akawoowo, nga ‘kunoze omunnyo.’ (Abakkolosaayi 4:6) Ebigambo byaffe bisaanidde okuba “ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.” (Engero 25:11) Amaka agalina empuliziganya ennungi gayambiddwa kinene nnyo okufuna essanyu.
OBUKULU BW’OKWAGALA
10. Kika ki eky’okwagala ekikulu ennyo mu bufumbo?
10 Ekigambo “okwagala” kirabika enfunda n’enfunda mu kitabo kino. Ojjukira ekika ky’okwagala ekyayogerwako ennyo? Kituufu nti okwagala wakati w’omusajja n’omukazi (Oluyonaani, eʹros) kulina kinene kye kukola mu bufumbo, era mu bufumbo obulungi, omukwano ogw’amaanyi (Oluyonaani, phi·liʹa) gweyongera okukula wakati w’omwami n’omukyala. Naye, ate ekisingawo n’obukulu kwe kwagala okukiikirirwa ekigambo ky’Oluyonaani a·gaʹpe. Kuno kwe kwagala kwe tukulaakulanya eri Yakuwa, eri Yesu era n’eri muliraanwa waffe. (Matayo 22:37-39) Kwe kwagala Yakuwa kw’ayoleka eri olulyo lw’omuntu. (Yokaana 3:16) Nga kirungi nnyo okuba nti tusobola okulaga okwagala kwe kumu okwo eri munnaffe mu bufumbo era n’eri abaana baffe!—1 Yokaana 4:19.
11. Okwagala kuganyula kutya obufumbo?
11 Mu bufumbo okwagala kuno okw’omutindo ogwa waggulu, mazima ddala ‘kye kintu ekinywereza ddala.’ (Abakkolosaayi 3:14) Kugatta wamu abafumbo ne kubaagazisa buli omu okukolera munne n’abaana ekisingayo obulungi. Amaka bwe goolekagana n’embeera enzibu, okwagala kugayamba okukolera awamu. Abafumbo bwe bagenda bakaddiwa, okwagala kubayamba buli omu okuwagira munne n’okweyongera okusiimagana. “Okwagala . . . tekunoonya byakwo, . . . kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriz[a] byonna. Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna.”—1 Abakkolinso 13:4-8.
12. Lwaki abafumbo bwe baba baagala Katonda kinyweza obufumbo bwabwe?
12 Obufumbo buba bunywevu nnyo singa buba tebunywezeddwa kwagalana wakati w’abafumbo kwokka, wabula okusingira ddala okwagala eri Yakuwa. (Omubuulizi 4:9-12) Lwaki? Omutume Yokaana yawandiika: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3) N’olwekyo, abafumbo basaanidde okutendeka abaana baabwe okutya Katonda, si lwa kuba nti baagala nnyo abaana baabwe kyokka, naye olw’okuba kino kiragiro kya Yakuwa. (Ekyamateeka 6:6, 7) Bandyewaze obwenzi si lwa kuba nti baagalana kyokka naye okusingira ddala olw’okuba baagala Yakuwa, oyo ‘alisalira abakaba n’abenzi omusango.’ (Abebbulaniya 13:4) Ka kibe nti omu ku bafumbo aleetawo ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo, okwagala eri Yakuwa kujja kusobozesa omulala okweyongera okugoberera emisingi gya Baibuli. Mazima ddala, amaka nga gaba geesiimye nnyo okwagalana kwe balina bokka na bokka bwe kunywezebwa okwagala kwe balina eri Yakuwa!
AMAKA AGAKOLA KATONDA BY’AYAGALA
13. Okubeera abamalirivu okukola Katonda by’ayagala kinaayamba kitya abantu abakulembeza ebintu ebisinga obukulu?
13 Obulamu bw’Omukristaayo bwonna bwesigamye ku kukola Katonda by’ayagala. (Zabbuli 143:10) Gano ge makulu gennyini ag’okutya Katonda. Okukola Katonda by’ayagala kuyamba amaka okukulembeza ebintu ebisinga obukulu. (Abafiripi 1:9, 10) Ng’ekyokulabirako, Yesu yalabula: “Najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we; abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Matayo 10:35, 36) Nga kituukagana n’okulabula kwa Yesu, abagoberezi be bangi bayigganyizibwa ab’omu maka gaabwe. Nga mbeera ya nnaku, era ya bulumi! Wadde kiri bwe kityo, okwagala kwe tulina eri ab’omu maka tekuteekwa kusinga kwagala kwe tulina eri Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (Matayo 10:37-39) Singa omuntu agumiikiriza ng’aziyizibwa ab’omu maka ge, abamuziyiza bayinza okukyusaako bwe balaba ebirungi ebiva mu kutya Katonda. (1 Abakkolinso 7:12-16; 1 Peetero 3:1, 2) Ka kibe ng’ekyo tekibaddewo, tewali kirungi kya lubeerera kiyinza kufunibwa singa olekayo okuweereza Katonda olw’okuziyizibwa.
14. Okwagala okukola Katonda by’ayagala kuyamba kutya abazadde okukola ebyo ebinaasinga okuganyula abaana baabwe?
14 Okukola Katonda by’ayagala kuyamba abazadde okukola okusalawo okutuufu. Ng’ekyokulabirako, mu bitundu ebimu abazadde batwala abaana baabwe ng’eky’okufunamu amagoba, era basuubira abaana baabwe okubalabirira nga bakaddiye. Wadde nga kituufu era nga kisaana abaana abakuze okulabirira bazadde baabwe abakaddiye, endowooza ng’eyo teyandireetedde bazadde kukubiriza baana baabwe kwemalira ku kunoonya bya bugagga. Abazadde baba tebayambye baana baabwe singa babateekamu omwoyo ogwagala ennyo ebintu okusinga eby’eby’omwoyo.—1 Timoseewo 6:9.
15. Mu ngeri ki nnyina wa Timoseewo, Ewuniike, gye yali ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’omuzadde eyakola Katonda by’ayagala?
15 Ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno ye Ewuniike, nnyina wa mukwano gwa Pawulo omuto Timoseewo. (2 Timoseewo 1:5) Newakubadde yali afumbiddwa atali mukkiriza, Ewuniike, ne jjajja wa Timoseewo Looyi, baakuza Timoseewo n’aba nga atya Katonda. (2 Timoseewo 3:14, 15) Timoseewo bwe yakula ekimala, Ewuniike yamukkiriza okuva awaka atandike okukolera awamu ne Pawulo ng’omuminsani mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Ebikolwa 16:1-5) Ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo omwana we bwe yafuuka omuminsani omwatiikirivu! Okutya Katonda kwe yayoleka mu bukulu bwe kwalaga nti yatendekebwa bulungi ng’akyali muto. Mazima ddala, Ewuniike yafuna okumatira n’essanyu bwe yawuliranga ebifa ku buweereza bwa Timoseewo obw’obwesigwa, wadde nga oboolyawo yasaalirwa obutabeera naye.—Abafiripi 2:19, 20.
AMAKA N’EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO
16. Ng’omwana, kufaayo ki okusaanidde Yesu kwe yalaga, naye ekigendererwa kye ekikulu kyali ki?
16 Yesu yakulira mu maka agatya Katonda, era ng’akuze yalaga engeri omwana gy’alina okufaayo ku nnyina. (Lukka 2:51, 52; Yokaana 19:26) Kyokka, ekigendererwa kya Yesu ekikulu kyali kutuukiriza Katonda by’ayagala, era kino kyali kitwaliramu okuggulirawo abantu ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Kino yakikola bwe yawaayo obulamu bwe obw’omuntu obutuukiridde ng’ekinunulo olw’abantu aboonoonyi.—Makko 10:45; Yokaana 5:28, 29.
17. Ssuubi ki ery’ekitiibwa ekkubo lya Yesu ery’obwesigwa lye lyaggulirawo abo abakola Katonda by’ayagala?
17 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Yakuwa yamuzuukiza mu bulamu obw’omu ggulu n’amuwa obuyinza bungi, n’oluvannyuma n’amufuula Kabaka mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Matayo 28:18; Abaruumi 14:9; Okubikkulirwa 11:15) Ssaddaaka ya Yesu yasobozesa abantu abamu okulondebwa okufuga naye mu Bwakabaka obwo. Era yaggulirawo abantu abalala ab’emitima emirungi ekkubo okusobola okunyumirwa obulamu obutuukiridde ku nsi eriba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 4; 21:3-5; 22:1-4) Emu ku nkizo enkulu ennyo gye tulina leero kwe kubuulira baliraanwa baffe amawulire gano amalungi ag’ekitiibwa.—Matayo 24:14.
18. Kujjukizibwa ki era kukubiriza ki okuweebwa amaka na buli muntu kinnoomu?
18 Ng’omutume Pawulo bwe yalaga, obulamu obw’okutya Katonda buwa essuubi nti abantu basobola okufuna emikisa egyo mu bulamu “obugenda okujja.” Mazima ddala, eno ye ngeri esingirayo ddala obulungi ey’okufuna essanyu! Kijjukire, “ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) N’olwekyo, k’obe ng’oli mwana oba muzadde, mwami oba mukyala, oba muntu mukulu atali mufumbo alina oba atalina baana, fuba okukola Katonda by’ayagala. Ka kibe nti onyigirizibwa oba ng’oyolekaganye n’obuzibu obw’amaanyi ennyo, teweerabiranga nti oli muweereza wa Katonda omulamu. Bwe kityo, ebikolwa byo ka bireetere Yakuwa essanyu. (Engero 27:11) Era empisa zo ka zikuviiremu essanyu mu biseera bino n’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya egenda okujja!
-