Oluyimba 107
Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa
Printed Edition
	1. Yimusa ’maaso go
Olengere ’mitala.
Laba ’lusozi lwa
Yakuwa oluwanvu.
’Bantu balweyuna;
Bava mu bifo byonna,
Nga bagamba: ‘Mujje,
Muweereze Katonda.’
’Kiseera kituuse
Batono babe ggwanga ddene.
’Mikisa egiva
Eri Katonda tugirabye.
Abantu bangi nnyo
Bajja eri Katonda.
Era bamaliridde
Okumuweereza.
2. Yesu yatugamba
Tugende tubuulire.
’Njiri y’Obwakabaka
Ebuulirwa wonna.
Kristo ye kabaka
Era ’koowoola bonna.
’Ddoboozi lye
’Bawombeefu baliwulira.
Kya ssanyu ’kulaba
Ab’ekibiina ekinene!
Ffenna twenyigidde
Mu kuyamba ’bantu ’balala.
Ka tunyiikirire
’Kukoowoola ’balala,
‘Bajje waggulu ku
Lusozi lwa Yakuwa.’
(Era laba Zab. 43:3; 99:9; Is. 60:22; Bik. 16:5.)