Oluyimba 51
Tunyweredde ku Yakuwa
Printed Edition
1. Yakuwa y’oyo agwanidde okufuga.
Mu byonna by’akola, alaga obwenkanya.
Buli ky’ayogera kya kutuukirira.
Tunyweredde ku Yakuwa; tumwesiga.
Obufuzi bwe ddala bwa muganyulo.
2. Obufuzi bwe bwa bwenkanya; bwa mazima.
Ekifo w’abeera kijjudde ekitiibwa.
Kaakano abawombeefu bajja gy’ali.
Tunyweredde ku Yakuwa, ye Katonda;
Tumuwenga ekitiibwa ky’agwanidde.
3. Ye w’ekitiibwa ekisingirayo ddala.
Teri mulabe ayinza kumulemesa.
Bijja kubaawo byonna bye yasuubiza.
Tunyweredde ku Yakuwa; Tumusinza,
Era tweyongere ’kumwemalirako.
(Era laba Ma. 4:4; 30:20; 2 Bassek. 18:6; Zab. 89:14.)