Oluyimba 104
Ya Mutende Awamu Nange
Printed Edition
1. Ya mutende;
Musuutenga!
Y’atuwa ffe ebirungi byonna.
Buli lukya,
Tumutende.
Okwagala kwe kutuukiridde.
Twatule ’linnya lye, tulitende.
2. Ya mutende.
Atufaako;
’Byetaago byaffe abikolako.
Abanafu
Abagumya;
Omwoyo gwe ffenna gutuyamba.
Amaanyi ge, Ka tugatendenga.
3. Ya mutende.
Wa bwenkanya;
Abudaabuda era mwesigwa.
Aliwonya
’Bantu bonna.
’Bwakabaka nga bufuga wonna.
Mujje tumutendereze ffenna.
(Era laba Zab. 94:18, 19; 145:21; 147:1; 150:2.)