LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 11/15 lup. 15
  • Okuweereza Katonda Lye Ddagala Lye!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okuweereza Katonda Lye Ddagala Lye!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 11/15 lup. 15
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Okuweereza Katonda Lye Ddagala Lye!

Lumu bapayoniya babiri mu Kenya bwe baayingira mu nnyumba emu, beewuunya nnyo okulaba omusajja omutono ennyo eyali yeebase ku kitanda. Omusajja oyo yali mulema, ng’ekifuba kye, olubuto lwe, n’emikono gye bimpi nnyo. Bwe baamubuulira ku kisuubizo kya Katonda ekigamba nti ‘awenyera alibuuka ng’ennangaazi,’ omusajja oyo yasanyuka nnyo.​—Is. 35:6.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Omusajja oyo ayitibwa Onesmus, era kati anaatera okuweza emyaka 40. Bapayoniya baakitegeerako nti Onesmus yazaalibwa n’obulwadde bw’amagumba obuyitibwa osteogenesis imperfecta. Amagumba ge gaali manafu nnyo era nga gasobola okumenyeka amangu. Okuva bwe kiri nti obulwadde obwo tebuwona, Onesmus yali asuubira okumala obulamu bwe bwonna ng’ali mu bulumi era ng’abeera mu kagaali k’abalema.

Onesmus yakkiriza okuyiga Bayibuli. Kyokka maama we yamugaana okugenda mu nkuŋŋaana, ng’agamba nti ekyo kyali kiyinza okumuleetera okwongera okulumizibwa. Ab’oluganda baakwatanga enkuŋŋaana ku butambi ne babumuleetera awaka. Nga wayise emyezi etaano ng’ayiga Bayibuli, Onesmus yasalawo okugenda mu nkuŋŋaana wadde ng’ekyo kyali kisobola okumuviirako obuzibu.

Okugendanga mu nkuŋŋaana kyaleetera Onesmus okwongera okulumizibwa? Nedda. Onesmus agamba nti: “Obulumi bwe nnabanga nabwo bwakendeeranga bwe nnabanga mu nkuŋŋaana.” Awulira nti ebintu bye yali ayize mu Bayibuli bye byamuyamba okufuna obuweerero. Maama wa Onesmus bwe yalaba enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwa mutabani we, yasanyuka nnyo era naye n’atandika okuyiga Bayibuli. Yagambanga nti: “Okuweereza Katonda lye ddagala lya mutabani wange.”

Nga wayise ekiseera kitono, Onesmus yafuuka omubuulizi atali mubatize. Oluvannyuma yabatizibwa era kati muweereza mu kibiina. Wadde nga tasobola kukozesa magulu ge n’ogumu ku mikono gye, Onesmus yali ayagala okukola kyonna ky’asobola okuweereza Yakuwa. Yali ayagala okuweereza nga payoniya omuwagizi naye ng’atya, kubanga yalowoozanga ku ky’okuba nti yali ajja kwetaaga omuntu okumusindikangako mu kagaali. Ekyo bwe yakigambako bakkiriza banne, baamusuubiza okumuyamba. Ekyo baakikola era Onesmus yasobola okuweereza nga payoniya omuwagizi.

Onesmus bwe yali ayagala okutandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo era yafunamu okutya. Kyokka lumu yasoma ekyawandiikibwa ky’olunaku ne kimuzzaamu amaanyi. Ekyawandiikibwa ekyo yali Zabbuli 34:8, awagamba nti: “Mulege mutegeere Mukama nga mulungi.” Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku kyawandiikibwa ekyo, Onesmus yasalawo okutandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kati Onesmus abuulira ennaku nnya buli wiiki era alina abayizi ba Bayibuli abawerako abakulaakulana. Mu 2010, yagenda mu Ssomero lya Bapayoniya. Onesmus yasanyuka nnyo okulaba ng’omu ku b’oluganda abaasooka okumubuulira, yali omu ku basomesa baabwe!

Bazadde ba Onesmus bombi baafa, era kati ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina be bamulabirira. Onesmus musanyufu nnyo olw’emikisa gyonna Yakuwa gy’amuwadde, era yeesunga nnyo ekiseera lwe wataliba muntu yenna agamba nti “ndi mulwadde.”​—Is. 33:24.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza