BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Katonda awulira essaala zonna?
Katonda tasosola. (Zabbuli 145:18, 19) Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, atukubiriza okumubuulira kyonna ekitweraliikiriza. (Abafiripi 4:6, 7) Kyokka, waliwo essaala Katonda z’atawulira. Ng’ekyokulabirako, bwe tusaba nga tuddiŋŋana ebigambo tatuwulira.—Soma Matayo 6:7.
Ate era, Yakuwa tawulira ssaala z’abo abamenya amateeka ge mu bugenderevu. (Engero 28:9) Ng’ekyokulabirako, mu biseera eby’edda Katonda yagaana okuwulira essaala z’Abaisiraeri abaali abatemu. Ekyo kitegeeza nti Katonda bw’aba ow’okuwulira essaala zaffe, waliwo bye tulina okukola.—Soma Isaaya 1:15.
Biki bye tulina okukola okusobola okuwulirwa Katonda?
Katonda tayinza kuwulira ssaala zaffe bwe tumusaba nga tetulina kukkiriza. (Yakobo 1:5, 6) Tulina okuba nga tukkiriza nti gyali era nti atufaako. Tusobola okunyweza okukkiriza kwaffe nga tusoma Bayibuli, kubanga okukkiriza okwa nnamaddala kuba kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.—Soma Abebbulaniya 11:1, 6.
Tusaanidde okusaba mu bwesimbu era nga tuli bawombeefu. Ne Yesu, Omwana wa Katonda, yabanga muwombeefu ng’asaba. (Lukka 22:41, 42) N’olwekyo, mu kifo ky’okusaba ng’abalagira Katonda eky’okukola, tusaanidde okusoma Bayibuli tusobole okumanya engeri gy’ayagala tumusabemu.—Soma 1 Yokaana 5:14.