LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 11/15 lup. 31-32
  • “Nnali ng’Enfudu mu Kiwaawo Kyayo”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Nnali ng’Enfudu mu Kiwaawo Kyayo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 11/15 lup. 31-32

ETTEREKERO LYAFFE

“Nnali ng’Enfudu mu Kiwaawo Kyayo”

MU 1929, waaliwo kaweefube ow’enjawulo mu Amerika eyamala ennaku omwenda. Ababuulizi nga 10,000 be beenyigira mu kaweefube oyo era baagaba ebitabo nga 250,000. Mu babuulizi abo mwalimu bakolopoota (bapayoniya) nga 1,000. Mu 1929, omuwendo gwa bapayoniya gwali gweyongedde emirundi esatu bw’ogugeraageranya ku abo abaaliwo mu 1927. Akapapula akayitibwa Bulletina kaagamba nti “kyali kyewuunyisa nnyo” okulaba nti omuwendo gwa bapayoniya gwali gweyongedde nnyo.

Mu 1929, waaliwo akatuubagiro k’eby’enfuna mu Amerika. Nga Okitobba 29, 1929 akatale k’emigabo mu kibuga New York kaaviirako eby’enfuna mu nsi yonna okugootaana. Bbanka nnyingi zaggalawo, faamu ennene zaalekera awo okukola, amakolero amanene gaggalwawo, era abantu bukadde na bukadde baafiirwa emirimu gyabwe. Mu 1933, amayumba nga 1,000 ge gaaboyebwanga buli lunaku olwa bannannyinigo okulemererwa okusasula.

Ababuulizi ab’ekiseera kyonna baakola ki mu mbeera eyo? Bangi ku bo baatandika okukozesa emmotoka zaabwe ng’ennyumba ne kiba nti kyali tekikyabeetaagisa kusasula ssente za nnyumba. Ekyo kyayamba bapayoniya bangi okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe, ne basobola okwemalira ku mulimu gw’okubuulira.b Ate bwe wabangawo olukuŋŋaana olunene, emmotoka zaabwe ezo ze baasulangamu ne bawona okusasula ssente za wooteeri. Mu 1934, akapapula akayitibwa Bulletin kaawa ab’oluganda amagezi ku bintu ebirala bye baali basobola okuteeka mu mmotoka zaabwe basobole okuzifuula ng’ennyumba. Muno mwe mwali okuteekamu amazzi, sitoovu, n’ekitanda kye baali basobola okuzingako.

Ababuulizi bangi okwetooloola ensi baatandika okwezimbira ebiyumba ku mmotoka zaabwe. Ow’oluganda Victor Blackwell yagamba nti: “Nuuwa yali tazimbangako lyato, era nange nnali sizimbangako kiyumba ku mmotoka.” Wadde kyali kityo, ow’oluganda oyo yasobola okukizimba.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Emmotoka gye baazimbako ekiyumba, ng’egenda okusomosebwa omugga mu Buyindi

Avery Bristow ne mukyala we Lovenia nabo baalina emmotoka gye baazimbako ekiyumba. Avery yagamba nti: “Nnali ng’enfudu mu kiwaawo kyayo​—nnatambulanga n’ennyumba yange.” Bristow ne mukyala we baaweerereza wamu nga bapayoniya ne Harvey Conrow ne mukyala we Anne, abaali bakozesezza ebipapula okuzimba ekiyumba ku mmotoka yaabwe. Buli lwe baasimbulanga okubaako gye balaga, ebipapula byagendanga bigwa. Avery yagamba nti: “Abantu baali tebalabangako kiyumba kifaanana ng’ekyo, era tewali yali azzeemu kukirabako!” Kyokka Ow’oluganda Avery yagamba nti Conrow ne mukyala we awamu ne batabani baabwe ababiri buli kiseera baabanga basanyufu. Harvey Conrow yagamba nti: ‘Twalina buli kimu kye twali twetaaga, era Yakuwa yatulabirira bulungi nga tumuweereza.’ Avery, mukyala we, ne batabani baabwe ababiri baagenda mu Ssomero lya Gireyaadi era ne basindikibwa okuweereza ng’abaminsani mu Peru.

Giusto Battaino ne mukyala we Vincenza nabo baaweereza nga bapayoniya. Bwe baakimanya nti baali bagenda kuzaala omwana, emmotoka yaabwe baagizimbako ekiyumba. Ekiyumba ekyo kyali kisingira wala weema ze baasulangamu mu kusooka. N’oluvannyuma lw’okuzaala muwala waabwe, beeyongera okuweereza nga bapayoniya nga babuulira abantu aboogera Oluyitale ababeeranga mu Amerika.

Abantu bangi bakkiriza amawulire amalungi, naye abantu abamu abaali abaavu n’abo abataalina mirimu tebaabanga na ssente za kuwaayo okusobola okufuna ebitabo. N’olwekyo, okusobola okufuna ebitabo, baawangayo ebintu ebirala. Waliwo bapayoniya babiri abaayogera ku bintu eby’enjawulo 64 abantu bye baabawa.

Fred Anderson yabuulira omusajja omu omulimi eyali ayagala ebitabo byaffe naye nga talina ssente. Okusobola okufuna ebitabo, yawaayo galubindi ezaali eza maama we. Omusajja omulimi gwe yaddako okwogera naye yali ayagala okusoma ebitabo byaffe naye nga talina galubindi. Fred yamuwa galubindi ezo, era omusajja oyo yawaayo ssente ez’ebitabo n’eza galubindi.

Herbert Abbott yabeeranga n’akayumba k’enkoko mu mmotoka ye mwe yateekanga enkoko abantu ze baawangayo. Bwe yawezanga enkoko ssatu oba nnya, yazitwalanga mu katale n’azitunda n’agula amafuta g’emmotoka ye. Agamba nti: “Oluusi tetwabanga na ssente, naye ekyo tekyatumalangamu maanyi. Bwe twabanga n’amafuta mu mmotoka, tweyongeranga okuweereza nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira.”

Okwesiga Yakuwa n’okuba abamalirivu okumuweereza, kyayamba ab’oluganda okuyita mu biseera ebyo ebyali ebizibu. Lumu omuyaga ogw’amaanyi gwasuula omuti ne gukuba emmotoka ya Maxwell ne Emmy Lewis n’ekutukamu bibiri. Naye we gwagikubira, baali bamaze okugibuukamu. Maxwell yagamba nti: “Ebizibu ng’ebyo tebyatumalaamu maanyi kubanga twali tukimanyi nti bitera okubaawo. Twali tukyalina omulimu munene ogw’okukola, era twali bamalirivu okugukola.” Nga bayambibwako mikwano gyabwe, Maxwell ne Emmy baddamu okuzimba ekiyumba ku mmotoka yaabwe.

Ne leero, Abajulirwa ba Yakuwa bukadde na bukadde boolese omwoyo gw’okwefiiriza. Okufaananako ba payoniya abo abaasooka, naffe tuli bamalirivu okweyongera okubuulira okutuusa Yakuwa lw’anaagamba nti omulimu ogwo guwedde.

a Kati kayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

b Mu kiseera ekyo, bapayoniya abasinga obungi baali tebakola. Baafunanga ebitabo ku ssente entonoko era bwe baabigabiranga abantu, ssente abantu ze baawangayo baafissangako, ne zibayamba okukola ku byetaago byabwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza