“Ddala Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?”
“Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye?”—MAT. 24:45.
1, 2. Yesu ayitira mu ani okutuliisa mu by’omwoyo, era lwaki twetaaga okutegeera oyo gw’akozesa?
“BANNYINAZE, waliwo ebitundu bingi bye simanyi na muwendo bye mufulumirizza mu bitabo byaffe mu kiseera kyennyini mwe mbadde nsingira okubyetaaga.” Ebyo bye bigambo mwannyinaffe omu bye yateeka mu bbaluwa gye yawandiika nga yeebaza ab’oluganda abaweereza ku kitebe kyaffe ekikulu olw’omulimu omulungi gwe bakola. Naawe wali owuliddeko bw’otyo? Abasinga obungi ku ffe twali tuwuliddeko bwe tutyo. Ekyo kyanditwewuunyisizza? Nedda.
2 Emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna mu kiseera ekituufu bukakafu obulaga nti Yesu, Omutwe gw’ekibiina, atuukiriza ekisuubizo kye, okutuliisa mu by’omwoyo. Naye Yesu ayitira mu ani okutuliisa mu by’omwoyo? Bwe yali ayogera ku kabonero akandiraze okubeerawo kwe, Yesu yagamba nti yandikozesezza “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuwa ab’omu nju ye ‘emmere mu kiseera ekituufu.’a (Soma Matayo 24:45-47.) Omuddu oyo omwesigwa Yesu gw’ayitiramu okuliisa abagoberezi be ab’amazima mu kiseera kino eky’enkomerero. Ffenna twetaaga okutegeera omuddu oyo omwesigwa, kubanga okusobola okuba n’enkolagana nnungi ne Katonda twetaaga emmere ey’eby’omwoyo omuddu oyo gy’agaba.—Mat. 4:4; Yok. 17:3.
3. Ebitabo byaffe bibadde binnyonnyola bitya ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa?
3 Ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa bitegeeza ki? Emabegako ebitabo byaffe byali bigamba nti Yesu yasigira omuddu omwesigwa ab’omu nju ye ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Byali bigamba nti omuddu omwesigwa be Bakristaayo bonna abaafukibwako amafuta ababaddengawo ku nsi okuva mu mwaka ogwo. Era byali bigamba nti ab’omu nju be baafukibwako amafuta kinnoomu. Ate era byali bigamba nti mu 1919, Yesu yasigira omuddu omwesigwa “ebintu bye byonna”—ebintu bye byonna ebiri ku nsi ebikwatagana n’Obwakabaka. Kyokka bwe tweyongera okwekenneenya ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi, ne tusaba Yakuwa atuwe obulagirizi, era ne tubifumiitirizaako, twakiraba nti twalina okukyusa mu ngeri gye twali tutegeeramu ebigambo ebyo. (Nge. 4:18) Kati ka twetegereze ebigambo bya Yesu ebyo era tulabe engeri gye bitukwatako, ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi.
EBIGAMBO BYA YESU EBIKWAATA KU MUDDU OMWESIGWA BITUUKIRIRA DDI?
4-6. Lwaki tugamba nti ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa byatandika kutuukirira luvannyuma lwa 1914?
4 Ennyiriri endala eziri mu Matayo essuula 24 ziraga nti ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi tebyatandika kutuukirira ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., wabula byatandika kutuukirira mu kiseera kino eky’enkomerero. Kati ka tulabe engeri Ebyawandiikibwa gye bikakasa ensonga eyo.
5 Yesu yayogera ku muddu omwesigwa bwe yali ayogera obunnabbi obukwata ku ‘kabonero akandiraze okubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’ (Mat. 24:3) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:4-22, bituukirizibwa emirundi ebiri. Ogusooka, okuva mu mwaka gwa 33 E.E. okutuuka mu 70 E.E. Ogw’okubiri, bituukirizibwa mu kiseera kyaffe ku kigero ekisingawo. Ekyo kitegeeza nti ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa nabyo byandibadde bituukirira emirundi ebiri? Nedda.
6 Okutandikira ku Matayo 24:29, ebigambo Yesu bye yayogera okusingira ddala bikwata ku ebyo ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe. (Soma Matayo 24:30, 42, 44.) Ng’ayogera ku ekyo ekinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yesu yagamba nti abantu “baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu bire eby’eggulu.” Oluvannyuma yakubiriza abo abandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma okuba obulindaala olw’okuba bandibadde ‘tebamanyi lunaku Mukama waabwe lw’alijjirako’ era olw’okuba ‘Omwana w’omuntu ajja kujjira mu kiseera kye batamusuubiriramu.’b Yesu bwe yali ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma, we yayogerera ne ku muddu omwesigwa. Ekyo kiraga nti ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa byatandika kutuukirizibwa luvannyuma lwa 1914, ng’ennaku ez’oluvannyuma zitandise. Ekyo kikola amakulu. Lwaki tugamba bwe tutyo?
7. Kibuuzo ki ekikulu ekyajjawo ng’ekiseera ky’amakungula kitandise, era lwaki?
7 Kati lowooza ku kibuuzo kino: “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani?” Mu kyasa ekyasooka kyali tekyetaagisa kubuuza kibuuzo ekyo. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, abatume baakolanga ebyamagero era baasobozesanga n’abalala okufuna ebirabo eby’omwoyo, ekintu ekyalaga nti be bantu Katonda be yali akozesa. (Bik. 5:12) N’olwekyo kyali tekyetaagisa muntu yenna kwebuuza baani Kristo be yali alonze okukulembera ekibiina. Kyokka mu 1914, embeera yali ya njawulo nnyo. Ekiseera ky’amakungula kyatandika mu mwaka ogwo. Era ekiseera kyali kituuse okwawula omuddo ku ŋŋaano. (Mat. 13:36-43) Ekiseera ky’amakungula bwe kyatandika, wajjawo ekibuuzo ekikulu ennyo: Okuva bwe kiri nti waaliwo Abakristaayo ab’obulimba bangi abaali beeyita abagoberezi ba Kristo ab’amazima, omuntu yanditegedde atya eŋŋaano, Abakristaayo abaafukibwako amafuta? Ebyo Yesu bye yayogera ku muddu omwesigwa bituyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta be bandibadde baliisibwa obulungi mu by’omwoyo.
OMUDDU OMWESIGWA ERA OW’AMAGEZI Y’ANI?
8. Lwaki abo Bayibuli beeyita omuddu omwesigwa bateekwa kuba Bakristaayo abaafukibwako amafuta?
8 Abo Bayibuli beeyita omuddu omwesigwa balina kuba nga Bakristaayo abaafukibwako amafuta abali ku nsi. Abakristaayo abo bayitibwa “bakabona abaweereza nga bakabaka” era bakwasiddwa omulimu ‘“gw’okulangirira obulungi” bw’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo.’ (1 Peet. 2:9) N’olwekyo kituukirawo okuba nti “bakabona abaweereza nga bakabaka” be bayigiriza bakkiriza bannaabwe amazima.—Mal. 2:7; Kub. 12:17.
9. Omuddu omwesigwa be baafukibwako amafuta bonna abali ku nsi? Nnyonnyola.
9 Kati olwo omuddu omwesigwa be Bakristaayo bonna abaafukibwako amafuta? Nedda. Ekituufu kiri nti si buli Mukristaayo eyafukibwako amafuta nti yeenyigira mu mulimu gw’okugabira bakkiriza banne mu nsi yonna emmere ey’eby’omwoyo. Abamu ku baafukibwako amafuta basajja abaweereza ng’abakadde oba ng’abaweereza mu bibiina byabwe. Bayigiriza abalala nga babuulira nnyumba ku nnyumba oba nga bali mu bibiina byabwe, era bagoberera obulagirizi obuva ku kitebe kyaffe ekikulu. Naye tebeenyigira mu mulimu ogw’okuwa ab’oluganda mu nsi yonna emmere ey’eby’omwoyo. Ate abamu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta bakazi, abatasobola kuyigiriza mu kibiina.—1 Kol. 11:3; 14:34.
10. Omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani?
10 Kati olwo omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani? Nga Yesu bwe yaliisanga abantu abangi ng’ayitira mu batono mu kyasa ekyasooka, omuddu oyo be b’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abeenyigira obutereevu mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo n’okugigabula mu kiseera eky’okubeerawo kwa Kristo. Ab’oluganda abo babaddenga bakolera wamu ku kitebe kyaffe ekikulu. N’olwekyo, omuddu omwesigwa be b’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyokka weetegereze nti Yesu bwe yali ayogera ku muddu omwesigwa yakozesa ekigambo “omuddu,” so si abaddu. N’olwekyo, ebyo ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bye basalawo, babisalirawo wamu.
AB’OMU NJU BE BAANI?
11, 12. (a) Bintu ki ebibiri omuddu omwesigwa by’asigirwa? (b) Ddi Yesu lwe yasigira omuddu omwesigwa ab’omu nju ye, era baani be yalonda?
11 Okusinziira ku bigambo bya Yesu, omuddu omwesigwa era ow’amagezi asigirwa ebintu bibiri eby’enjawulo. Ekisooka, mukama we amusigira ab’omu nju ye; ate eky’okubiri mukama we amusigira ebintu bye byonna. Okuva bwe kiri nti ebigambo bya Yesu ebyo bituukirira mu kiseera kya nkomerero, omuddu oyo asigirwa ebintu ebyo byombi luvannyuma lwa 1914 ng’ekiseera ky’okubeerawo kwa Yesu nga Kabaka kitandise.
12 Ddi Yesu lwe yasigira omuddu omwesigwa ab’omu nju ye? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tuddemu tulowooze ku ebyo ebyaliwo mu 1914, ekiseera ky’amakungula we kyatandikira. Nga bwe twalabye, mu kiseera ekyo waaliwo ebibiina by’abantu bingi abaali beeyita Abakristaayo. Ekyebuuzibwa kiri nti, mu bibiina ebyo byonna, kibiina ki Yesu kye yandironze era mu kyo n’alondamu omuddu omwesigwa? Ekibuuzo ekyo kyaddibwamu oluvannyuma lwa Yesu ne Kitaawe okulambula yeekaalu ey’eby’omwoyo okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919.c (Mal. 3:1) Baasanyuka nnyo okulaba nga waaliwo Abayizi ba Bayibuli abatono abaali bakiraga nti baagala nnyo Yakuwa n’Ekigambo kye. Kya lwatu nti Abayizi ba Bayibuli baali beetaaga okulongoosebwa, era bakkiriza okulongoosebwa mu kiseera ekyo eky’okugezesebwa. (Mal. 3:2-4) Abayizi ba Bayibuli abo abaali abeesigwa baali Bakristaayo ba mazima, eŋŋaano eyogerwako mu lugero lwa Yesu. Mu 1919, mu Bayizi ba Bayibuli Yesu yalondamu abasajja abaafukibwako amafuta abaalina ebisaanyizo okuba omuddu omwesigwa era ow’amagezi era n’abasigira ab’omu nju ye.
13. Ab’omu nju be baani? Nnyonnyola.
13 Kati olwo ab’omu nju be baani? Beebo abalya emmere ey’eby’omwoyo. Ennaku ez’oluvannyuma bwe zaali zaakatandika, ab’omu nju bonna baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta naye oluvannyuma beegattibwako ab’ekibiina ekinene eky’ab’endiga endala. Leero ab’endiga endala be basinga obungi mu ‘kisibo ekimu’ Yesu ky’akulembera. (Yok. 10:16) Abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bonna balya ku mmere y’emu ey’eby’omwoyo omuddu omwesigwa gy’agabula mu kiseera ekituufu. Ate abo abali ku Kakiiko Akafuzi, nga bano ye muddu omwesigwa era ow’amagezi, nabo ba mu nju? Ab’oluganda abo nabo beetaaga okuliisibwa mu by’omwoyo. N’olwekyo, ab’oluganda abo bakimanyi nti ng’abantu kinnoomu nabo ba mu nju okufaananako abagoberezi ba Yesu abalala bonna ab’amazima.
Essuubi lyaffe ka libe lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna tuli ba mu nju era ffenna twetaaga emmere ey’eby’omwoyo y’emu ejjira mu kiseera ekituufu
14. (a) Buvunaanyizibwa ki omuddu omwesigwa bw’alina, era buzingiramu ki? (b) Kulabula ki Yesu kwe yawa omuddu omwesigwa era ow’amagezi? (Laba akasanduuko akalina omutwe “Singa Omuddu aba Mubi . . .”)
14 Yesu yakwasa omuddu omwesigwa era ow’amagezi obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo. Mu biseera by’edda, omuddu eyeesigika, oba omuwanika, ye yaddukanyanga buli kimu mu nnyumba ya mukama we. (Luk. 12:42) N’olwekyo, omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’alina obuvunaanyizibwa okuddukanya ennyumba ey’okukkiriza. Obuvunaanyizibwa obwo buzingiramu okulabirira ebizimbe ebikozesebwa mu mulimu gw’Obwakabaka, okulabirira omulimu ogw’okubuulira, okuteekateeka enkuŋŋaana ennene, n’okukuba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli bye tukozesa mu mulimu gw’okubuulira, mu kwesomesa, ne mu nkuŋŋaana. Emmere yonna ey’eby’omwoyo ab’omu nju gye bafuna, bagifuna okuyitira muddu omwesigwa.
OMUDDU ASIGIRWA DDI EBINTU BYA MUKAMA WE BYONNA?
15, 16. Yesu asigira ddi omuddu omwesigwa ebintu bye byonna?
15 Yesu asigira ddi omuddu omwesigwa “ebintu bye byonna”? Yesu yagamba nti: “Alina essanyu omuddu oyo singa mukama we akomawo [obutereevu, “ajja,”] n’asanga ng’akola bw’atyo. Mazima mbagamba nti, Alimusigira ebintu bye byonna.” (Mat. 24:46, 47) Weetegereze nti Yesu asigira omuddu omwesigwa ebintu bye byonna ng’amaze okukomawo n’amusanga “ng’akola bw’atyo,” kwe kugamba, ng’agenda mu maaso n’okugaba emmere ey’eby’omwoyo. Ekyo kiraga nti oluvannyuma lw’omuddu okusigirwa ab’omu nju, wandiyiseewo ekiseera nga tannasigirwa bintu byonna. Okusobola okumanya ddi Yesu lw’asigira omuddu ebintu bye byonna, tulina okusooka okutegeera ebintu bibiri: Ddi lw’akomawo, era n’ebintu bye bizingiramu ki?
16 Yesu akomawo ddi? Ennyiriri endala eziri mu Matayo essuula 24 zituyamba okufuna eky’okuddamu. Ennyiriri ezo zikozesa ekigambo ‘okujja,’ oba okukomawo nga zoogera ku kiseera Yesu lw’agenda okujja okusala omusango n’okuzikiriza ababi ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.d (Mat. 24:30, 42, 44) N’olwekyo, ‘okukomawo’ oba ‘okujja’ kwa Yesu okwogerwako mu bunnabbi obukwata ku muddu omwesigwa kubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.
17. Ebintu bya Yesu bizingiramu ki?
17 ‘Ebintu bya Yesu byonna’ bizingiramu ki? Ebintu bya Yesu tebiri ku nsi kwokka. Ne mu ggulu waliyo ebintu bye. Lumu Yesu yagamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Mat. 28:18; Bef. 1:20-23) Ebintu bya Yesu leero bizingiramu Obwakabaka bwa Masiya, obwamukwasibwa mu 1914. Yesu ajja kufugira wamu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta mu Bwakabaka obwo.—Kub. 11:15.
18. Lwaki Yesu ajja kusigira omuddu omwesigwa ebintu bye byonna?
18 Okusinziira ku ebyo bye tulabye, tuwunzike tutya? Yesu bw’anajja okusala omusango mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ajja kusanga ng’omuddu omwesigwa akola bulungi omulimu gwe ogw’okuwa ab’omu nju ye emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. Yesu ajja kumusigira ebintu bye byonna. Ab’oluganda abakola ng’omuddu omwesigwa Yesu ajja kubasigira ebintu bye byonna bwe banaaweebwa empeera yaabwe mu ggulu era ne batandika okufugira awamu naye.
19. Omuddu omwesigwa anaaweebwa empeera nnene mu ggulu okusinga abaafukibwako amafuta abalala? Nnyonnyola.
19 Omuddu omwesigwa anaaweebwa empeera nnene mu ggulu okusinga abaafukibwako amafuta abalala? Nedda. Oluusi Yesu aliko ebintu bye yasuubizanga abantu abatono naye nga n’abalala ba kubifuna. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo kye yasuubiza abatume be 11 mu kiro ekyasembayo amale attibwe. (Soma Lukka 22:28-30.) Yesu yasuubiza abasajja abo nti baali bajja kufugira wamu naye mu Bwakabaka bwe, olw’okuba baali beesigwa. Kyokka oluvannyuma lw’emyaka mingi, Yesu yalaga nti abaafukibwako amafuta bonna 144,000 bandifugidde wamu naye mu Bwakabaka bwe. (Kub. 1:1; 3:21) Mu ngeri y’emu, wadde nga mu Matayo 24:47 Yesu yasuubiza nti ab’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abakola ng’omuddu omwesigwa yali ajja kubasigira ebintu bye byonna, ebigambo bye ebyo bikwata ku baafukibwako amafuta bonna. Bonna 144,000 bajja kusigirwa ebintu bya Yesu byonna.—Kub. 20:4, 6.
Bonna 144,000 bajja kusigirwa ebintu bya Yesu byonna (Laba akatundu 19)
20. Lwaki Yesu yateekawo omuddu omwesigwa, era kiki ky’omaliridde okukola?
20 Okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi, Yesu aliisa abagoberezi be ng’akozesa enkola y’emu gye yakozesa mu kyasa ekyasooka. Aliisa bangi ng’ayitira mu batono. Yesu yalonda omuddu omwesigwa era ow’amagezi okusobola okukakasa nti abagoberezi be ab’amazima, abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala, bafuna emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu mu nnaku ez’oluvannyuma. N’olwekyo, ka ffenna tukirage nti tusiima enteekateeka eyo nga tuwagira omuddu omwesigwa era ow’amagezi.—Beb. 13:7, 17.
a Akatundu 2: Ku mulundi omulala, “omuddu” oyo Yesu yamuyita “muwanika” ate “ab’omu nju ye” n’abayita “abaweereza be.”—Luk. 12:42-44.
b Akatundu 6: “Okujja” kwa Kristo (erʹkho·mai) kwawukana ku “kubeerawo” kwe (pa·rou·siʹa). Okubeerawo kwe kutandika nga tannajja kuzikiriza babi.
c Akatundu 12: Laba ekitundu “Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna,” mu magazini eno, olupapula 11-12, akatundu 7-10.
d Akatundu 16: Laba ekitundu “Tubuulire, Ebintu Ebyo Biribaawo Ddi?” mu magazini eno, olupapula 7-8, akatundu 14-18.