- 
	                        
            
            Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!Omunaala gw’Omukuumi—2012 | Agusito 15
- 
                            - 
                                        Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi! “Bave mu mutego gw’Omulyolyomi.”—2 TIM. 2:26. WANDIZZEEMU OTYA? Bwe tuba n’omuze ogw’okwogera obubi ku balala, kiki kye tulina okukola? Bwe kituuka ku kutya abantu n’obutekkiriranya nga tupikiriziddwa, kiki kye tuyigira ku Piraato ne Peetero? Oyinza otya okwewala okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze wakola? 1, 2. Mitego ki Omulyolyomi gy’akozesa gye tugenda okulaba mu kitundu kino? OMULYOLYOMI ayagala okukwasa abaweereza ba Yakuwa. Naye tali ng’omuyizzi atta ensolo z’aba akwasizza. Ekigendererwa kya Sitaani kwe kuleetera omuntu gw’aba akwasizza okukola by’ayagala.—Soma 2 Timoseewo 2:24-26. 2 Okusobola okukwasa ensolo, omuyizzi ayinza okukozesa emitego egitali gimu. Ayinza okugezaako okuleetera ensolo okuva gy’ebadde yeekwese asobole okugikwasa ng’akozesa empuluttulizo. Oba ayinza okutega omutego awantu aweekusifu gusobole okukwasa ensolo nga temanyi. Omulyolyomi akozesa emitego ng’egyo okukwasa abaweereza ba Katonda. Okusobola okwewala okukwatibwa Sitaani, tulina okuba obulindaala n’okussaayo omwoyo ku kulabula okutuyamba okumanya emitego gye. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwewalamu emitego esatu Omulyolyomi gy’akozesa okukwasa abantu ba Katonda. Emitego egyo gye gino (1) obutafuga lulimi, (2) okutya abantu n’okupikirizibwa, ne (3) okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze twakola. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba emitego emirala ebiri Sitaani gy’akozesa. WEEWALE OKUKOLEEZA OMULIRO MU KIBIINA 3, 4. Kiki ekiyinza okubaawo singa tulemererwa okufuga olulimi lwaffe? Waayo ekyokulabirako. 3 Okusobola okuleetera ensolo okuva mu kisiko gye ziba zeekwese, omuyizzi ayinza okukikoleezaako omuliro. Ensolo bwe zifubutukayo, olwo n’alyoka azikwata. Omulyolyomi naye ayagala okukoleeza omuliro mu kibiina ab’oluganda bakiddukemu asobole okubakwasa. Tuyinza tutya okumuyambako nga tetugenderedde, bw’atyo n’atukwasa mu mutego gwe? 4 Omuyigiriza Yakobo yageraageranya olulimi ku muliro. (Soma Yakobo 3:6-8.) Singa tulemererwa okufuga olulimi lwaffe, tusobola okukoleeza omuliro ogw’akabonero mu kibiina. Ekyo kiyinza kitya okubaawo? Lowooza ku mbeera eno: Mu lukuŋŋaana lw’ekibiina olumu, ow’oluganda alangirira nti mwannyinaffe omu alondeddwa okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, ababuulizi babiri batandika okwogera ku kirango ekyo. Omu alaga nti asanyuse nnyo okuba nti mwannyinaffe oyo alondeddwa okuweereza nga payoniya. Ate omulala ye agamba nti mwannyinaffe oyo asazeewo okuweereza nga payoniya olw’okwagala okweraga. Ani ku babuulizi abo gwe wandyagadde okuba mukwano gwo? Kyangu okulaba ani ku babuulizi abo ayagala okukoleeza omuliro mu kibiina. 5. Bwe tuba twagala okuzikiza omuliro oguva ku butafuga lulimi, kiki kye tusaanidde okukola? 5 Tuyinza tutya okuzikiza omuliro oguva ku butafuga lulimi? Yesu yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) N’olwekyo, ekintu kye tulina okusooka okukola kwe kukebera omutima gwaffe. Tusaanidde okwewala endowooza enkyamu eziyinza okutuviirako okwogera obubi ku bakkiriza bannaffe. Ng’ekyokulabirako, singa tuwulira nti waliwo ow’oluganda afuba okuluubirira enkizo mu kibiina, tutandika okulowooza nti alina bye yeenoonyeza? Bwe tuba tutera okulowooza nti baganda baffe baweereza Yakuwa nga beenoonyeza byabwe, kiba kikulu okukijjukira nti n’Omulyolyomi yabuusabuusa ebiruubirirwa by’omuweereza wa Katonda omwesigwa Yobu. (Yob. 1:9-11) Mu kifo ky’okubuusabuusa ebiruubirirwa bya muganda waffe, kiba kirungi okulowooza ku nsonga lwaki tubuusabuusa ebiruubirirwa bye. Ddala tulina ensonga entuufu eyandituleetedde okubuusabuusa ebiruubirirwa bya muganda waffe? Oba kyandiba nti omutima gwaffe gwonooneddwa omwoyo gw’ensi ogubunye buli wamu mu nnaku zino ez’oluvannyuma?—2 Tim. 3:1-4. 6, 7. (a) Bintu ki ebiyinza okutuleetera okwogera obubi ku balala? (b) Kiki kye tusaanidde okukola singa abalala batuvuma? 6 Lowooza ku nsonga endala eyinza okutuleetera okwogera obubi ku bakkiriza bannaffe. Tuyinza okuba twagala okulaga abalala nti ebyo bye tukola birungi okusinga eby’abalala. Mu ngeri endala, tuba twagala okulaga nti tuli ba waggulu ku balala. Oba tuyinza okuba nga tugezaako kwekwasa busongasonga olw’okulemererwa okukola ekyo kye tusaanidde okukola. Ka kibe nti amalala, obuggya, oba ekintu ekirala kyonna kye kituleetedde okwogera obubi ku bakkiriza bannaffe, ebivaamu tebiba birungi. 7 Oluusi tuyinza okulowooza nti tulina ensonga entuufu okwogera obubi ku balala. Nabo bayinza okuba nga balina ebintu ebibi bye baatwogerako. Ne bwe kiba nti bye baatwogerako byatuyisa bubi, okwesasuza si kye kintu ekituufu kye tusaanidde okukola. Singa twesasuza, tuba ng’abongera amafuta mu muliro era tuba tukola ekyo Omulyolyomi ky’ayagala, so si Katonda ky’ayagala. (2 Tim. 2:26) Tusaanidde okukoppa Yesu. “Bwe yavumibwa ye teyavuma.” Mu kifo ky’ekyo, “yeewaayo eri oyo asala omusango mu butuukirivu.” (1 Peet. 2:21-23) Yesu yali mukakafu nti Yakuwa yandibadde abaako ky’akolawo mu kiseera kye ekituufu. Naffe tusaanidde okwesiga Katonda. Bwe tukozesa obulungi olulimi lwaffe, kiyamba mu kukuuma emirembe n’obumu mu kibiina.—Soma Abeefeso 4:1-3. WEEWALE OKUTYA ABANTU N’OKWEKKIRIRANYA NG’OPIKIRIZIDDWA 8, 9. Lwaki Piraato yasalira Yesu ogw’okufa? 8 Ensolo eba ekwatiddwa mu mutego eba tekyasobola kwetaaya. Mu ngeri y’emu, omuntu atya abantu era eyekkiriranya ng’apikiriziddwa aba alese abalala okufuga obulamu bwe. (Soma Engero 29:25.) Kati ka tulabe ebyokulabirako by’abantu babiri abekkiriranya nga bapikiriziddwa era abaatya abantu era tulabe n’ekyo kye tuyinza okubayigirako. 9 Gavana wa Rooma Pontiyo Piraato yali akimanyi nti Yesu teyalina musango gwonna era ayinza okuba nga yali tayagala kumutuusaako kabi konna. Mu butuufu, Piraato yagamba nti ‘tewali kintu Yesu kye yali akoze kyali kimugwanyiza kufa.’ Wadde kyali kityo, yamusalira ogw’okufa. Lwaki? Kubanga Piraato yekkiriranya ng’apikiriziddwa abantu. (Luk. 23:15, 21-25) Abantu baagezaako okupikiriza Piraato okukola kye baali baagala nga boogerera waggulu nti: “Bw’ota omusajja ono nga toli mukwano gwa Kayisaali.” (Yok. 19:12) Piraato ayinza okuba nga yatya nti bwe yanditadde Kristo, yandifiiriddwa ekifo kye, oboolyawo n’attibwa n’okuttibwa. Piraato yekkiriranya ng’apikiriziddwa, bw’atyo n’akola ekyo Omulyolyomi kye yali ayagala. 10. Kiki ekyaleetera Peetero okwegaana Kristo? 10 Omutume Peetero yali omu ku mikwano gya Yesu ab’oku lusegere. Yali akkiriza nti Yesu ye Masiya. (Mat. 16:16) Abayigirizwa abalala bwe baaleka Yesu olw’okuba waliwo ebintu bye yayogera bye baali batategedde, Peetero yamunywererako. (Yok. 6:66-69) Era abantu bwe bajja okukwata Yesu, Peetero yakozesa ekitala okulwanirira Mukama we. (Yok. 18:10, 11) Kyokka oluvannyuma, okutya abantu kwaleetera Peetero okwegaana Yesu Kristo. Okutya abantu gulinga omutego. Okumala akaseera katono, Peetero yagwa mu mutego ogwo, bw’atyo n’alemererwa okukola ekituufu n’okusigala nga mwesigwa eri Yesu.—Mat. 26:74, 75. 11. Tuyinza kupikirizibwa tutya nga tuli ku mulimu oba ku ssomero? 11 Ng’Abakristaayo, tulina okwewala okwekkiriranya nga tupikiriziddwa okukola ebintu ebitasanyusa Katonda. Bakama baffe oba abantu abalala bayinza okugezaako okutuleetera obutaba beesigwa ku mulimu oba bayinza okutusendasenda okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bayizi bannaffe bayinza okutupikiriza okubba ebigezo, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, okunywa sigala, okunywa enjaga, okwekamirira omwenge, oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okutya abantu n’okwewala okwekkiriranya nga tupikiriziddwa okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa? 12. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Piraato ne Peetero? 12 Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Piraato ne Peetero? Piraato yali amanyi kitono nnyo ku Kristo. Wadde kyali kityo yali akimanyi nti Yesu teyalina musango era nti teyali muntu wa bulijjo. Naye Piraato teyali mwetoowaze era yali tayagala Katonda ow’amazima. Bwe kityo, kyali kyangu Omulyolyomi okumukwasa. Peetero yali amanyi amazima era yali ayagala nnyo Katonda. Naye ebiseera ebimu yalemererwanga okumanya obusobozi bwe we bukoma era yatyanga abantu n’alemererwa okukola ekituufu. Yesu bwe yali tannakwatibwa, Peetero yagamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala, nze sijja kwesittala.” (Mak. 14:29) Singa Peetero yeesiga Katonda ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yakola, ekyo kyandimuyambye okwetegekera embeera gye yayolekagana nayo. Omuwandiisi wa Zabbuli oyo yagamba nti: “Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: abantu bayinza kunkola ki?” (Zab. 118:6) Bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yatwala Peetero awamu n’abatume abalala babiri mu nnimiro y’e Gesusemane. Mu kifo ky’okusigala nga batunula, Peetero n’abatume abalala beebaka. Yesu yabazuukusa era n’abagamba nti: “Mutunule, musabe muleme kugwa nga mukemeddwa.” (Mak. 14:38) Kyokka Peetero yaddamu okwebaka era oluvannyuma yatya abantu n’alemererwa okukola ekituufu. 13. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okwekkiriranya nga tupikiriziddwa okukola ekintu ekikyamu? 13 Waliwo n’ekintu ekirala kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Piraato ne Peetero: Bwe tuba ab’okwewala okutya abantu oba okwekkiriranya nga tupikiriziddwa, twetaaga okuba n’okumanya okutuufu, okuba abeetoowaze, okumanya obusobozi bwaffe we bukoma, okwagala Katonda, n’okutya Yakuwa. Bwe tuba n’okukkiriza okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu, tetujja kutya kwogera bikwata ku nzikiriza yaffe. Ekyo kijja kutuyamba okwewala okutya abantu n’obutekkiriranya nga tupikiriziddwa. Tusaanidde okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Tulina okukimanya nti twetaaga obuyambi bwa Katonda bwe tuba ab’okuziyiza okupikirizibwa. Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Era okwagala kwe tulina gy’ali kusaanidde okutukubiriza okunywerera ku mitindo gye n’okugulumiza erinnya lye. Ate era twetaaga okweteekerateekera okupikirizibwa nga tekunnaba kututuukako. Ng’ekyokulabirako, twetaaga okusabira abaana baffe n’okubateekateeka nga bukyali kibayambe okumanya eky’okukola nga baana bannaabwe babapikirizza okukola ebintu ebikyamu.—2 Kol. 13:7.a OKULUMIZIBWA EKISUKKIRIDDE—MUTEGO OGUMENYA 14. Bwe kituuka ku nsobi ze twakola emabega, kiki Omulyolyomi ky’ayagala tulowooze? 14 Oluusi omuyizzi atega omutego gwe ng’asiba ekiti ekinene oba ejjinja eddene waggulu mu kkubo ensolo we zitera okuyita. Ensolo bw’eba eyitawo, ekoona ku muguwa, olwo ekiti ekiba kisibiddwa waggulu oba ejjinja ne ligigwako, n’ebetentebwa. Omuntu bw’alumirizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye yakola, abanga eyeetisse ekiti ekinene oba ejjinja eddene. Bwe tulowooza ennyo ku nsobi gye twakola emabega, tuyinza okuwulira nga ‘tumenyesemenyese.’ (Soma Zabbuli 38:3-5, 8.) Sitaani ayagala tulowooze nti ensobi gye twakola ya maanyi nnyo ne kiba nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa era nti tetusobola kutuukiriza Katonda by’atwetaagisa. 15, 16. Oyinza otya okwewala okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye wakola? 15 Oyinza otya okwewala okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye wakola? Bwe kiba nti wakola ekibi eky’amaanyi, baako ky’okolawo okutereeza enkolagana yo ne Yakuwa. Tuukirira abakadde bakuyambe. (Yak. 5:14-16) Kola kyonna ekisoboka okutereeza ebyasoba. (2 Kol. 7:11) Bw’okangavvulwa, toggwamu maanyi kubanga ekyo kiba kiraga nti Yakuwa akwagala. (Beb. 12:6) Ba mumalirivu obutaddamu kukola kibi ekyo era weewale ebintu ebyakuviirako okukola ekibi ekyo. Bw’omala okwenenya n’oleka amakubo go amabi, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo.—1 Yok. 4:9, 14. 16 Abantu abamu beeyongera okulumizibwa olw’ebibi bye baakola emabega ng’ate Yakuwa yabibasonyiwa dda. Bw’oba ng’oli omu ku bantu abo, kijjukire nti Yakuwa yasonyiwa Peetero n’abatume abalala abaayabulira Omwana we omwagala mu kiseera mwe yali asinga okubeetaagira. Ate era Yakuwa yasonyiwa omusajja eyali agobeddwa mu kibiina ky’e Kkolinso olw’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ebyesisiwaza naye oluvannyuma ne yeenenya. (1 Kol. 5:1-5; 2 Kol. 2:6-8) Bayibuli eyogera ku bantu abaakola ebibi eby’amaanyi naye Katonda n’abasonyiwa olw’okuba beenenya.—2 Byom. 33:2, 10-13; 1 Kol. 6:9-11. 17. Ekinunulo kiyinza kukuyamba kitya? 17 Yakuwa ajja kukusonyiwa ensobi ze wakola emabega era azeerabirire ddala singa weenenya mu bwesimbu era n’okkiriza nti ajja kukusaasira. Tosaanidde kulowooza nti ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu tesobola kubikka ku bibi byo. Singa olowooza bw’otyo, olwo nno Sitaani aba akukwasizza. Omulyolyomi ayagala olowooze nti ekinunulo tekisobola kubikka ku bibi byonna, naye kijjukire nti Yakuwa asobola okusonyiwa abo ababa bakoze ebibi singa beenenya mu bwesimbu. (Nge. 24:16) Bw’olumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye wakola oba ng’eyeetisse ekintu ekizitowa ennyo, naye okukkiririza mu kinunulo kisobola okukuyamba okukyetikkulako n’okufuna amaanyi okuweereza Katonda n’omutima gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’obulamu bwo bwonna.—Mat. 22:37. TUMANYI ENKWE ZA SITAANI 18. Tuyinza tutya okwewala emitego gy’Omulyolyomi? 18 Sitaani tafaayo ku mutego ki gw’aba akozesezza okutukwasa; ye ky’ayagala kwe kutukwasa. Okuva bwe kiri nti tumanyi enkwe z’Omulyolyomi, tusobola okumuziyiza n’atatuwangula. (2 Kol. 2:10, 11) Singa tusaba Yakuwa atuwe amagezi nga tugezesebwa, Sitaani tajja kusobola kutukwasa. Yakobo yagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’alangira; era gajja kumuweebwa.” (Yak. 1:5) Bwe tuba twagala Yakuwa okutuwa amagezi tusaanidde okusoma Ekigambo kye obutayosa n’okukolera ku ebyo bye tusoma. Ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi bituyamba okutegeera emitego gy’Omulyolyomi n’okumanya engeri y’okugyewalamu. 19, 20. Lwaki tusaanidde okukyawa ebintu ebibi? 19 Okusaba n’okusoma Bayibuli bituyamba okwagala ebintu ebirungi n’okukyawa ebintu ebibi. (Zab. 97:10) Okufumiitiriza ku ebyo ebiyinza okuva mu kukola ebintu ebibi kisobola okutuyamba okubyewala. (Yak. 1:14, 15) Bwe tuyiga okukyawa ebintu ebibi era ne tuyiga okwagala ebintu ebirungi, olwo ebintu Sitaani by’akozesa okutukwasa biba tebikyatusikiriza. 20 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda atuyamba obutagwa mu mitego gya Sitaani! Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Ekigambo kye, n’ekibiina kye okutulokola “okuva eri omubi.” (Mat. 6:13) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri gye tuyinza okwewala emitego emirala ebiri Omulyolyomi gy’akozesa okukwasa abaweereza ba Katonda. 
 
- 
                                        
- 
	                        
            
            Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani!Omunaala gw’Omukuumi—2012 | Agusito 15
- 
                            - 
                                        Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani! ‘Mube banywevu nga muziyiza enkwe z’Omulyolyomi.’—BEF. 6:11. WANDIZZEEMU OTYA? Omuweereza wa Yakuwa ayinza atya okwewala okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu? Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo omufumbo okwewala okugwa mu mutego ogw’obwenzi? Miganyulo ki gy’oyinza okufuna singa weewala okwagala ebintu n’obwenzi? 1, 2. (a) Lwaki Sitaani tayagala abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’? (b) Mitego ki Sitaani gy’akozesa gye tugenda okulaba mu kitundu kino? SITAANI OMULYOLYOMI tayagala bantu, naddala abo abaweereza Yakuwa. Mu butuufu, Sitaani alwanyisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi. (Kub. 12:17) Abakristaayo abo be bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira era bayambye abantu okumanya nti Sitaani ye mufuzi w’ensi eno. Ate era Omulyolyomi tayagala ‘ab’endiga endala,’ abawagira Abakristaayo abaafukibwako amafuta era abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo. (Yok. 10:16) Sitaani talina ssuubi lya kubeerawo mirembe gyonna. Eyo ye nsonga lwaki musunguwavu nnyo. Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna Sitaani tatwagala. Ye ky’ayagala kwe kutukwasa.—1 Peet. 5:8. 2 Okusobola okutukwasa, Sitaani ateze emitego egitali gimu. Okuva bwe kiri nti ‘azibye amaaso’ g’abo abatakkiriza, abantu abo bagaana amawulire amalungi era tebasobola kulaba mitego egyo. Kyokka, Omulyolyomi asobodde okukwasa n’abamu ku abo abakkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (2 Kol. 4:3, 4) Mu kitundu ekyayita twalaba engeri gye tuyinza okwewala emitego gya Sitaani esatu: (1) obutafuga lulimi, (2) okutya abantu n’okupikirizibwa, ne (3) okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze twakola. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwewala emitego emirala ebiri Sitaani gy’akozesa: okwagala ebintu n’obwenzi. OKWAGALA EBINTU—OMUTEGO OGUTUGA 3, 4. Okweraliikirira okw’obulamu obw’omu kiseera kino kuyinza kutya okutuleetera okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu? 3 Mu lumu ku ngero ze, Yesu yayogera ku nsigo eyasigibwa mu maggwa. Yagamba nti omuntu asobola okuwulira ekigambo, “naye okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga [ne] bizisa ekigambo n’atabala.” (Mat. 13:22) Okwagala ebintu gwe gumu ku mitego omulabe waffe Sitaani gy’akozesa. 4 Waliwo ebintu bibiri ebisobola ‘okuzisa ekigambo.’ Ekisooka kwe ‘kweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino.’ Mu ‘biseera bino ebizibu,’ waliwo ebintu bingi ebisobola okukweraliikiriza. (2 Tim. 3:1) Oyinza okuba ng’okaluubirirwa okwetuusaako ebintu bye weetaaga mu bulamu olw’okuba ebintu biri ku buseere oba olw’okuba tolina mulimu. Oyinza n’okuba nga weeraliikirira ebiseera byo eby’omu maaso era nga weebuuza engeri gy’oneeyimirizaawo ng’okaddiye. Olw’okweraliikirira ebintu ng’ebyo, abamu basazeewo okunoonya eby’obugagga nga balowooza nti bwe banaaba ne ssente ennyingi, bajja kusobola okwetuusaako ebintu byonna bye beetaaga. 5. Eby’obugagga biyinza bitya okutulimba? 5 Ekintu ekirala Yesu kye yayogerako bwe ‘bulimba bw’obugagga.’ Obulimba bw’obugagga awamu n’okweraliikirira bisobola okuzisa ekigambo. Bayibuli egamba nti “ssente ziwa obukuumi.” (Mub. 7:12, NW) Kyokka, tekiba kya magezi kwagala kubeera mugagga. Abantu bangi bakizudde nti gye bakoma okunoonya eby’obugagga, gye bakoma okwagala ebintu. Abamu bafuuse baddu ba bya bugagga.—Mat. 6:24. 6, 7. (a) Mbeera ki esobola okubaawo ku mulimu gwo eyinza okukuleetera okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu? (b) Bintu ki Omukristaayo by’asaanidde okulowoozaako singa asabibwa okumala ekiseera ekisinga ku ekyo ky’abadde amala ku mulimu? 6 Bw’oba teweegenderezza, oyinza okwesanga ng’otandise okwagala eby’obugagga. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera eno. Mukama wo ku mulimu akutuukirira n’akugamba nti: “Nnina amawulire amalungi! Kampuni yaffe ewangudde ttenda eriko ssente empitirivu. Naye ekyo kitegeeza nti ojja kuba olina okukola ekiseera ekisinga ku kya bulijjo okumala emyezi egiwerako. Naye nkukakasa nti omusaala gw’ojja okufuna gujja kuba musava.” Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Kya lwatu nti okulabirira ab’omu maka go kintu kikulu nnyo, naye obwo si bwe buvunaanyizibwa bwokka bw’olina. (1 Tim. 5:8) Waliwo n’ebintu ebirala bingi by’olina okulowoozaako. Kiseera kyenkana wa ky’onooyongera ku biseera by’obadde omala bulijjo ku mulimu? Omulimu gwo teguukulemese okuweereza obulungi Katonda, n’oba nga tosobola kubaawo mu nkuŋŋaana zonna n’okukubiriza Okusinza kw’Amaka obutayosa? 7 Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kiki ky’onookulembeza? Onookulembeza ssente oba enkolagana yo ne Yakuwa? Okwagala okufuna ssente ezisingawo kinaakuleetera okulekera awo okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwo? Osobola okulaba engeri okwagala ebintu gye kuyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa awamu n’enkolagana ab’omu maka go gye balina ne Yakuwa? Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, oyinza otya okwewala okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu?—Soma 1 Timoseewo 6:9, 10. 8. Byakulabirako ki okuva mu Byawandiikibwa ebisobola okutuyamba okwekebera? 8 Bwe tuba ab’okwewala okugwa mu mutego ogw’okwagala ebintu, tuba tulina okwekebera buli kiseera. Tetwagala kuba nga Esawu, ataasiima bintu eby’omwoyo! (Lub. 25:34; Beb. 12:16) Ate era tetwagala kuba ng’omusajja omugagga Yesu gwe yagamba okutunda ebintu bye, agabire abaavu, era afuuke omugoberezi we. Mu kifo ky’okukola ekyo, omusajja oyo ‘yagenda anakuwadde kubanga yalina ebintu bingi.’ (Mat. 19:21, 22) Okwagala ebintu kwaleetera omusajja oyo okufiirwa enkizo ey’amaanyi ey’okuba omugoberezi wa Yesu! Tusaanidde okuba abeegendereza okulaba nti tetufiirwa nkizo ey’okuba abagoberezi ba Yesu Kristo. 9, 10. Okusinziira ku Byawandiikibwa ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku bintu? 9 Bwe tuba twagala okwewala obulimba bw’obugagga, tulina okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Temweraliikiriranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’ Ebintu bino byonna amawanga bye geemalirako. Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu bino byonna mubyetaaga.”—Mat. 6:31, 32; Luk. 21:34, 35. 10 Okusobola okwewala obulimba bw’obugagga, tulina okufuba okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Bayibuli Aguli eyagamba nti: “Tondeka kuba mwavu nnyo oba mugagga nnyo. Mpa ebyo byokka bye nneetaaga.” (Nge. 30:8, Contemporary English Version) Tewali kubuusabuusa nti Aguli yali amanyi omugaso gwa ssente awamu n’obulimba bw’obugagga. Tusaanidde okukijjukiranga nti okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga bisobola okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tweraliikirira ekisukkiridde, tuyinza okuwulira nga tetukyalina biseera na maanyi kukola ku bintu eby’omwoyo era tuyinza okuwulira nga tetukyayagala kukulembeza Bwakabaka mu bulamu bwaffe. N’olwekyo, ka tube bamalirivu obutakkiriza Sitaani kutukwasa ng’akozesa omutego ogw’okwagala ebintu!—Soma Abebbulaniya 13:5. OBWENZI—OMUTEGO OGULINGA EKINNYA 11, 12. Omukristaayo ayinza atya okweteeka mu mbeera eyinza okumusuula mu bwenzi ng’ali ku mulimu? 11 Abayizzi ababa baagala okukwasa ensolo ennene bayinza okusima ekinnya mu kkubo ensolo eyo mw’etera okuyita. Ku kinnya ekyo bayinza okwalirirako obuti era ne bayiwako obutakataka. Ne Sitaani alina omutego ogufaananako ng’ogwo gw’akozesa okukwasa abantu bangi. Omutego ogwo bwe bwenzi. (Nge. 22:14; 23:27) Abakristaayo abamu bagudde mu mutego ogwo oluvannyuma lw’okweteeka mu mbeera ezaakifuula ekyangu gye bali okugwa mu bwenzi. Abakristaayo abamu abafumbo bagudde mu bwenzi oluvannyuma lw’okutandika okuba n’enkolagana etasaana n’abantu abatali bannaabwe mu bufumbo. 12 Omuntu ayinza okutandika okuba n’enkolagana etasaana n’omuntu gw’atafaanaganya naye kikula ng’ali ku mulimu. Okunoonyereza okumu okwakolebwa kwalaga nti abakazi nga kimu kya kubiri abenzi n’abasajja abasinga obungi abenzi, benda ku bakozi bannaabwe. Ku mulimu gy’okolera, okolera wamu n’abantu b’otofaanaganya nabo kikula? Bwe kiba kityo, okolagana otya nabo? Omanyi w’olina okukoma ne kiba nti totandikawo nkolagana eteetaagisa n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula? Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayinza okuba ne mukozi munne omusajja gw’atera okunyumya naye. Ayinza okutandika okumubuulira ku byama bye nga mw’otwalidde n’ebizibu by’alina mu bufumbo bwe. Oba ow’oluganda ayinza okukola omukwano ku mukozi munne omukazi. Ayinza n’okutandika okugamba nti: “Ampuliriza nga ndiko kye mugamba era bye mugamba abitwala nga bikulu. Ate era anzisaamu ekitiibwa. Singa ne mukyala wange bw’atyo bw’ampisa!” Okiraba nti Omukristaayo eyeeyisa bw’atyo aba yeetadde mu mbeera eyinza okumuleetera okugwa mu bwenzi? 13. Enkolagana etasaana wakati w’abantu abatafaanaganya kikula esobola etya okubaawo mu kibiina? 13 Enkolagana etasaana wakati w’abantu abatafaanaganya kikula esobola okubaawo ne mu kibiina. Lowooza ku kintu kino ekyaliwo ddala. Daniel ne mukyala we, Sarah,a baali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Daniel yali mukadde mu kibiina era nga ye muntu akkiriza okukola buli mulimu oguba gumuweereddwa mu kibiina. Daniel yalina abasajja bataano be yali ayigiriza Bayibuli era basatu ku bo ne babatizibwa. Abasajja bano abaali baakabatizibwa baali beetaaga omuntu abafaako. Okuva bwe kiri nti Daniel yalina emirimu mingi egy’okukola mu kibiina, Sarah ye yabafangako. Kyokka ne Sarah yali yeetaaga omuntu amufaako, era abayizi ba Daniel baalaganga nti bamufaako. Embeera eyo yafuuka omutego. Daniel yagamba nti: “Mukyala wange yamalanga ebiseera bingi ng’ayamba abantu abalala, kyokka naye yali yeetaaga okufiibwako n’okuyambibwa mu by’omwoyo. Mu kiseera ekyo nnali sikyamuwa budde bumala, era ebyavaamu tebyali birungi n’akamu. Mukyala wange yagwa mu bwenzi n’omu ku basajja be nnasomesa Bayibuli. Nnalina eby’okukola bingi ne kiba nti nnali sisobola na kukiraba nti mukyala wange yali anafuye nnyo mu by’omwoyo.” Oyinza otya okwewala ekyo okubaawo? 14, 15. Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo abafumbo okwewala okugwa mu bwenzi? 14 Okusobola okwewala okugwa mu bwenzi, kikwetaagisa okufumiitiriza ku bweyamo bwe wakola ng’ofumbiriganwa ne munno. Yesu yagamba nti: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:6) Tosaanidde kulowooza nti emirimu gy’okola mu kibiina mikulu nnyo okusinga munno mu bufumbo. Ate era, kijjukire nti singa ogufuula muze okulekangawo munno n’ogenda okukola ebintu ebitali bikulu nnyo, ekyo kiyinza okunafuya obufumbo bwammwe era kiyinza okubaviirako okukemebwa ne mugwa mu bwenzi. 15 Bw’oba ng’oli mukadde osaanidde okufaayo ku b’oluganda abali mu kibiina. Omutume Peetero yawandiika nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, si lwa buwaze wabula kyeyagalire; era si lwa kwagala kwefunira magoba, naye lwa kwagala kuweereza.” (1 Peet. 5:2) Tosaanidde kulagajjalira ba luganda mu kibiina. Kyokka, tolina kugwa lubege; tosaanidde kufuba kuliisa ba luganda mu kibiina ate ng’eka mukyala wo “afa njala.” Daniel, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Tosaanidde kwemalira ku mirimu gya kibiina n’otuuka n’okulagajjalira ab’omu maka go.” 16, 17. (a) Bintu ki Abakristaayo abafumbo bye bayinza okukola nga bali ku mulimu okulaga nti obufumbo bwabwe babutwala ng’ekintu ekikulu? (b) Ebimu ku bitundu ebifulumidde mu bitabo byaffe ebisobola okuyamba Abakristaayo okwewala obwenzi bye biruwa? 16 Magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zirimu amagezi amalungi agasobola okuyamba abafumbo okwewala okugwa mu bwenzi. Ng’ekyokulabirako, magazini ya Omunaala gw’Omukuumi eya Okitobba 1, 2006, yalimu amagezi gano: “Ku mulimu gy’okolera ne mu bifo ebirala, weewale embeera eyinza okukuviirako okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu bwe mutafaananya naye kikula. Ng’ekyokulabirako, okweyongera okukola n’omuntu ng’oyo oluvannyuma lw’essaawa ez’okunnyuka, kiyinza okubaviirako okugwa mu bwenzi. Ng’omwami oba omukyala omufumbo, olina okukyoleka kaati mu bigambo ne mu bikolwa nti toli mwetegefu kussaawo nkolagana ya ku lusegere n’omuntu atali munno mu bufumbo. Ng’omuntu atya Katonda, osaanidde okwewala okuzannyirira n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula, okwambala obubi oba okwekolako mu ngeri etasaana, kubanga ekyo kiyinza okuleetera abalala okufuna ebirowoozo ebibi. . . . Bw’obeera n’ekifaananyi kya munno mu bufumbo n’eky’abaana bo mu kifo gy’okolera, kijja kukujjukiza ggwe kennyini era kijjukize n’abalala nti obufumbo bwo obutwala ng’ekintu ekikulu. Beera mumalirivu obutakkiriza muntu yenna kugezaako kukusendasenda kuba na nkolagana etasaana naye.” 17 Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Kitegeeza ki Okuba Omwesigwa eri Munno mu Bufumbo?” ekyafulumira mu Awake! eya Apuli 2009 kyalaga akabi akali mu kulowooza ku kwegatta n’omuntu atali munno mu bufumbo. Ekitundu ekyo kyalaga nti singa omuntu aba n’ebirowoozo ng’ebyo, kiba kyangu okugwa mu bwenzi. (Yak. 1:14, 15) Bw’oba ng’oli mufumbo, kiba kya magezi buli luvannyuma lw’ekiseera okusoma ebitundu ng’ebyo ne munno mu bufumbo. Yakuwa ye yatandikawo obufumbo era obufumbo butukuvu. Bw’ofuba okufissangawo akaseera okwogerako ne munno ebikwata ku bufumbo bwammwe ekyo kiba kiraga nti ossa ekitiibwa mu bintu ebitukuvu.—Lub. 2:21-24. 18, 19. (a) Bintu ki ebibi ebiva mu bwenzi? (b) Miganyulo ki egiri mu kuba omwesigwa eri munno mu bufumbo? 18 Bw’oba owulira ng’oyagala okutandikawo enkolagana etasaana n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula, lowooza ku bintu ebibi ebiva mu bukaba n’obwenzi. (Nge. 7:22, 23; Bag. 6:7) Abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu banyiiza Yakuwa. Beerumya era ne balumya nnyo ne bannaabwe mu bufumbo. (Soma Malaki 2:13, 14.) Ku luuyi olulala, lowooza ku miganyulo egiri mu kwewala obukaba n’obwenzi. Bwe weewala ebintu ebyo, ojja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo era ojja kuba n’obulamu obulungi mu kiseera kino awamu n’omuntu ow’omunda omulungi.—Soma Engero 3:1, 2. 19 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Abaagala amateeka [ga Katonda] balina emirembe mingi; so tebaliiko kibeesittaza.” (Zab. 119:165) N’olwekyo, yagala nnyo amazima era ‘weegendereze nnyo engeri gy’otambulamu; totambula ng’atalina magezi naye tambula ng’alina amagezi’ mu nnaku zino embi. (Bef. 5:15, 16) Leero, Sitaani akozesa emitego egitali gimu okukwasa abaweereza ba Yakuwa. Naye Yakuwa atuwadde byonna bye twetaaga “okuba abanywevu” tusobole “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.”—Bef. 6:11, 16. 
 
-