LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bh sul. 7 lup. 66-75
  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa
  • Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OMWAGALWA BW’AFA
  • “LAZAALO, FULUMA OJJE!”
  • EBYO BYE TUYIGIRA KU BYAWANDIIKIBWA EBYOGERA KU KUZUUKIRA
  • ‘BONNA ABALI MU NTAANA EZIJJUKIRWA’
  • OKUZUUKIRIRA OBULAMU OBW’OMU GGULU
  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Essuubi Ekkakafu
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Abantu Abaafa—Bajja Kuzuukira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
bh sul. 7 lup. 66-75

Essuula ey’Omusanvu

Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa

Tukakasa tutya nti wajja kubaawo okuzuukira?

Yakuwa alina ndowooza ki ku kuzuukiza abafu?

Baani abanaazuukizibwa?

1-3. Mulabe ki atugoba, era lwaki okwekenneenya ekyo Baibuli ky’eyigiriza kijja kutuleetera obuweerero?

KUBA akafaananyi ng’olina omulabe gw’odduka. Akusinga amaanyi era adduka nnyo okukusinga. Okimanyi nti talina kisa kubanga asse mikwano gyo. Wadde ofuba okudduka ennyo nga bw’osobola, yeeyongera bweyongezi okukusemberera. Era kirabika nti tewaliiwo ssuubi lyonna lya kumusimattuka. Kyokka, mu kaseera ako, wajjawo omuntu asobola okukununula. Wa maanyi nnyo okusinga omulabe oyo, era akusuubiza okukuyamba. Ng’owulira obuweerero bwa maanyi!

2 Mazima ddala, waliwo omulabe ng’oyo akugoba. Mu butuufu ffenna atugoba. Nga bwe twayiga mu ssuula evuddeko, Baibuli egamba nti okufa mulabe. Tewali n’omu ku ffe ayinza okumusimattuka. Abasinga obungi ku ffe tulabye ng’atta abaagalwa baffe. Kyokka, Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga okufa. Y’ayinza okutununula era yakiraga dda nti asobola okuwangula omulabe oyo. Era asuubiza okumuzikiririza ddala. Baibuli egamba: “Omulabe ow’enkomerero aliggibwawo kwe kufa.” (1 Abakkolinso 15:26) Ago nga mawulire malungi!

3 Kati ka twekenneenye engeri gye tuwuliramu ng’omuntu gwe tumanyi afudde. Ekyo kijja kutuyamba okutegeera ekintu ekinaatuleetera essanyu. Yakuwa asuubiza nti abafu bajja kuddamu okubeera abalamu. (Isaaya 26:19) Bajja kuddamu babeere balamu okuyitira mu kuzuukira.

OMWAGALWA BW’AFA

4. (a) Engeri Yesu gye yeewuliramu ng’omwagalwa we afudde etuyigiriza ki ku nneewulira ya Yakuwa? (b) Yesu yalina mukwano gwa ngeri ki ne Lazaalo awamu ne bannyina?

4 Wali ofiiriddwako omwagalwa wo? Obulumi, ennyiike, n’ennaku by’oba nabyo tebirojjeka. Mu kiseera ng’ekyo, kiba kitwetaagisa okusoma Ekigambo kya Katonda okusobola okubudaabudibwa. (2 Abakkolinso 1:3, 4) Baibuli etuyamba okutegeera engeri Yakuwa ne Yesu gye bawuliramu ng’omuntu afudde. Yesu, eyayolekera ddala engeri za Kitaawe, yali amanyi bulungi obulumi obubaawo ng’omuntu afiiriddwa. (Yokaana 14:9) Yesu bwe yagendanga mu Yerusaalemi, yateranga okukyalira Lazaalo ne bannyina, Malyamu ne Maliza, abaali babeera e Bessaniya ekyali okumpi ne Yerusaalemi. Yesu yafuuka mukwano gwabwe ow’oku lusegere. Baibuli egamba: “Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo.” (Yokaana 11:5) Naye, nga bwe twayize mu ssuula evuddeko, Lazaalo yafa.

5, 6. (a) Yesu yakola ki bwe yalaba ab’eŋŋanda era n’emikwano gya Lazaalo nga bakungubaga? (b) Lwaki okukungubaga kwa Yesu kutuzzaamu amaanyi?

5 Yesu yawulira atya nga mukwano gwe afudde? Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu yagenda eri ab’eŋŋanda za Lazaalo ne mikwano gye abaali bakungubaga. Yesu bwe yabalaba nga bakungubaga yakwatibwako nnyo. ‘Yasinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira.’ Era ebyawandiikibwa byongera ne biraga nti, ‘Yesu yakaaba amaziga.’ (Yokaana 11:33, 35) Yesu okukungubaga kyali kiraga nti talina ssuubi? Nedda. Mu butuufu, Yesu yali akimanyi nti ekintu eky’essanyu kyali kigenda kubeerawo. (Yokaana 11:3, 4) Wadde kyali kityo, yawulira obulumi n’ennaku omuntu by’afuna ng’afiiriddwa.

6 Ku ludda olulala, okukungubaga kwa Yesu kutuzzaamu amaanyi. Kutuyigiriza nti, Yesu ne Kitaawe Yakuwa, bakyayira ddala okufa. Naye Yakuwa Katonda asobola okulwanyisa omulabe oyo n’amuwangula! Ka tulabe ekyo Katonda kye yasobozesa Yesu okukola.

“LAZAALO, FULUMA OJJE!”

7, 8. Lwaki kyalabika nga Lazaalo eyali tayinza kuddamu kuba mulamu, naye kiki Yesu kye yakola?

7 Lazaalo yali aziikiddwa mu mpuku, era Yesu n’alagira baggyewo ejjinja eryali liteekeddwako. Maliza teyakisemba kubanga waali wayiseewo ennaku nnya era omulambo gwa Lazaalo guteekwa okuba nga gwali guvunze. (Yokaana 11:39) Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, tewaaliwo ssuubi lyonna nti Lazaalo ayinza okuddamu okuba omulamu.

8 Ejjinja lyaggibwawo, era Yesu n’ayogerera waggulu nti: “Lazaalo, fuluma ojje!” Kiki ekyaddirira? “Eyali afudde n’afuluma.” (Yokaana 11:43, 44) Oyinza okuteebereza essanyu abaaliwo lye baafuna? Ka kibe nti abaaliwo baali ba ŋŋanda za Lazaalo, mikwano gye, oba baliraanwa, baali bamanyi nti afudde. Kyokka kati, omwagalwa waabwe eyali afudde, yali alamuse. Ekyo kyalabika ng’ekirooto obulooto. Awatali kubuusabuusa, bangi baawambatira Lazaalo olw’essanyu eringi. Okufa nga kwali kuwanguddwa!

9, 10. (a) Yesu yalaga atya Ensibuko y’amaanyi ge yakozesa okuzuukiza Lazaalo? (b) Miganyulo ki egiri mu kusoma ebyawandiikibwa ebyogera ku kuzuukira?

9 Yesu teyagamba nti ekyamagero ekyo yakikola mu maanyi ge. Mu kusaba kwe nga tannazuukiza Lazaalo, yakyoleka bulungi nti Yakuwa ye yali Ensibuko y’amaanyi ge yakozesa okumuzuukiza. (Yokaana 11:41, 42) Guno si gwe gwali omulundi gwokka Yakuwa okukozesa amaanyi ge okuzuukiza omuntu. Lazaalo y’omu ku bantu omwenda abaazuukizibwa aboogerwako mu Kigambo kya Katonda.a Okusoma ku bantu abo abaazuukizibwa kituleetera essanyu. Olw’okuba mu abo abaazuukizibwa mwalimu abato n’abakulu, abasajja n’abakazi, Abaisiraeri era n’abatali Baisiraeri, kituyamba okutegeera nti Katonda tasosola. Nga waaliwo okujaganya kwa maanyi nnyo abantu abo bwe baazuukizibwa! Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yazuukiza omuwala omuto, bazadde b’omuwala oyo ‘baafuna essanyu ery’ensusso.’ (Makko 5:42, NW) Mazima ddala, Yakuwa yabakolera ekintu ekyabaleetera essanyu eritagambika.

10 Kya lwatu, abo Yesu be yazuukiza baddamu ne bafa. Ekyo kitegeeza nti okubazuukiza tekyalina makulu? N’akatono. Ebyawandiikibwa ebyo ebyogera ku kuzuukira byoleka amazima agali mu Baibuli era ne bituwa essuubi.

EBYO BYE TUYIGIRA KU BYAWANDIIKIBWA EBYOGERA KU KUZUUKIRA

11. Ebitegeezebwa ku kuzuukizibwa kwa Lazaalo bikakasa bitya obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Omubuulizi 9:5?

11 Baibuli eyigiriza nti “abafu tebaliiko kye bamanyi.” By’etutegeeza ku Lazaalo bikakasa ensonga eyo. Ng’amaze okuzuukizibwa, Lazaalo yabuguumiriza abantu ng’ayogera ku biri mu ggulu? Oba yababuulira ku ebyo ebikwata ku muliro ogutazikira? Nedda. Okusinziira ku Baibuli, Lazaalo teyayogera kintu kyonna ekifaananako bwe kityo. Ennaku ennya ze yamala ng’afudde, yali ‘talina ky’amanyi.’ (Omubuulizi 9:5) Yali afudde.​—Yokaana 11:11.

12. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti okuzuukira kwa Lazaalo ddala kwaliwo?

12 Bye tusoma ku Lazaalo era bituyigiriza nti okuzuukira gye kuli, si lufumo bufumo. Yesu yazuukiza Lazaalo mu maaso g’abajulirwa bangi. N’abakulembeze b’eddiini abaali bataagala Yesu tebaawakanya kyamagero ekyo. Wabula, baagamba: “Tukole tutya, kubanga omuntu oyo [Yesu] akola obubonero bungi.” (Yokaana 11:47) Abantu bangi baagenda okulaba Lazaalo eyali azuukiziddwa. N’ekyavaamu, n’abalala bangi baatandika okukkiririza mu Yesu. Okuzuukizibwa kwa Lazaalo bwali bukakafu obwenkukunala obubalaga nti Yesu yali atumiddwa Katonda. Obukakafu buno bwali bwa maanyi nnyo ne kiba nti abamu ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baateesa okutta Yesu ne Lazaalo.​—Yokaana 11:53; 12:9-11.

13. Kiki kye tuyinza okusinziirako okukkiriza nti Yakuwa asobola okuzuukiza abafu?

13 Kiba kya magezi okukkiriza nti okuzuukira kujja kubaawo? Yee, kubanga Yesu yayigiriza nti ekiseera kijja kutuuka ‘bonna abali mu ntaana ezijjukirwa’ bazuukizibwe. (Yokaana 5:28) Jjukira nti buli kiramu kyonna Yakuwa ye yakitonda. Kyandituzibuwalidde okukkiriza nti Yakuwa asobola okuzzaawo obulamu? Kya lwatu okuzaawo obulamu bw’omuntu eyafa kiba kyetaagisa Yakuwa okumujjukira. Asobola okujjukira abaagalwa baffe abaafa? Obwengula bulimu emmunyeenye ezitabalika, naye buli emu ku zo Katonda agimanyi erinnya! (Isaaya 40:26) N’olwekyo, Yakuwa Katonda asobola bulungi okujjukira ebyo byonna ebikwata ku baagalwa baffe abaafa, era mwetegefu okubakomyawo mu bulamu.

14, 15. Okusinziira ku ebyo Yobu bye yayogera, Yakuwa alina ndowooza ki ku kuzuukiza abafu?

14 Yakuwa alina ndowooza ki ku kuzuukiza abafu? Baibuli eraga nti ayagalira ddala nnyo okubazuukiza. Yobu, omusajja eyali omwesigwa yabuuza: “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate?” Yobu yali ayogera ku kiseera we yandibeeredde mu magombe ng’alindirira okutuusa Katonda lwe yandimujjukidde. Yagamba Yakuwa: “Wandimpise, nange nandikuyitabye, Wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.”​—Yobu 14:13-15.

15 Kirowoozeeko! Yakuwa ayagalira ddala nnyo okuzuukiza abafu. Tekizzaamu amaanyi okumanya ekyo? Baani abanaazuukizibwa mu biseera eby’omu maaso era banaabeera wa?

‘BONNA ABALI MU NTAANA EZIJJUKIRWA’

16. Abafu banaazuukizibwa kubeera mu mbeera ki?

16 Baibuli by’etutegeeza ebikwata ku bantu abaazuukizibwa bituyigiriza bingi ku kuzuukira okunaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Abantu abaakomezebwawo mu bulamu wano ku nsi baddamu okubeera n’abaagalwa baabwe. Abanaazuukizibwa mu biseera eby’omu maaso nabo bajja kuddamu okubeera n’abaagalwa baabwe naye mu mbeera esingawo obulungi. Nga bwe twayiga mu Ssuula 3, Katonda alina ekigendererwa eky’okufuula ensi yonna olusuku lwe. N’olwekyo, abafu tebajja kuzuukizibwa kudda mu nsi erimu entalo, obumenyi bw’amateeka, oba obulwadde. Bajja kufuna omukisa ogw’okubeera ku nsi emirembe gyonna nga bali mu mirembe n’essanyu.

17. Abo abanaazuukizibwa baliba benkana wa?

17 Baani abanaazuukizibwa? Yesu yagamba nti ‘abo bonna abali mu ntaana ezijjukirwa bajja kuwulira eddoboozi lye baveemu.’ (Yokaana 5:28, 29) Ate era, Okubikkulirwa 20:13 lugamba: “Ennyanja n’ereeta abafu abalimu, n’okufa n’Amagombe ne bireeta abafu abalimu.” Amagombe tegajja kusigalamu bafu. (Laba empapula 212-13.) Obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali emagombe bajja kukomezebwawo mu bulamu. Omutume Pawulo yagamba: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Ekyo kitegeeza ki?

18. Abamu ku “batuukirivu” abanaazuukizibwa be baani, era essuubi lino likukwatako litya?

18 “Abatuukirivu” bazingiramu bangi ku abo be tusomako mu Baibuli abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi. Oyinza okulowooza ku Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Musa, Luusi, Eseza, n’abalala bangi. Abasajja bano n’abakazi abaalina okukkiriza okw’amaanyi, boogerwako mu ssuula ey’e 11 mu kitabo ky’Abebbulaniya. Era mu “batuukirivu” abo muzingiramu abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino. Olw’essuubi ery’okuzuukira lye tulina tetukyali mu buddu bw’okutya okufa.​—Abebbulaniya 2:15.

19. “Abatali batuukirivu” be baani, era kakisa ki Yakuwa kagenda okubawa?

19 Ate kiri kitya eri abo abataasobola kuweereza Yakuwa oba okumugondera olw’okuba baali tebamumanyi? Obuwumbi n’obuwumbi ‘bw’abatali batuukirivu’ abo tebajja kwerabirwa. Nabo bajja kuzuukizibwa, bayigirizibwe ebikwata ku Katonda ow’amazima era n’engeri y’okumuweerezamu. Mu kiseera eky’emyaka olukumi, abafu bajja kuzuukizibwa bafune omukisa ogw’okwegatta ku bantu abatuukirivu abanaaba baweereza Yakuwa ku nsi. Kijja kuba kiseera kirungi nnyo. Ekiseera kino Baibuli ekiyita Olunaku olw’Okusaliramu Omusango.b

20. Ggeyeena kye ki, era bantu ba ngeri ki abagendayo?

20 Ekyo kitegeeza nti abantu bonna abaali babaddewo bajja kuzuukizibwa? Nedda. Baibuli egamba nti abafu abamu bali mu “Ggeyeena.” (Lukka 12:5) Ggeyeena kyali kifo ekyasuulibwangamu kasasiro ebweru wa Yerusaalemi. Era waayokerwangayo ebisasiro n’emirambo. Emirambo egyasuulibwanga eyo gyali gy’abantu abaali batwalibwa nti tebasaanira kuziikibwa wadde okuzuukizibwa. N’olwekyo, Ggeyeena kabonero akakiikirira okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe. Wadde nga Yesu ajja kulamula abalamu n’abafu, Yakuwa ye Mulamuzi omukulu. (Ebikolwa 10:42) Ababi n’abo abatali beetegefu kukyusa nneeyisa yaabwe embi tajja kubazuukiza.

OKUZUUKIRIRA OBULAMU OBW’OMU GGULU

21, 22. (a) Kuzuukira kwa ngeri ki okulala okuliyo? (b) Ani eyasooka okuzuukizibwa mu bulamu obw’omwoyo?

21 Era Baibuli eyogera ku kuzuukira okw’engeri endala, okuzuukira ng’ekitonde eky’omwoyo mu ggulu. Mu Baibuli mulimu ekyokulabirako kimu kyokka eky’okuzuukira okw’engeri ng’eyo, era nga kye kya Yesu Kristo.

22 Nga Yesu amaze okuttibwa, Yakuwa teyamuleka kusigala mu magombe. (Zabbuli 16:10; Ebikolwa 13:34, 35) Katonda yazuukiza Yesu, naye si n’omubiri ng’ogw’abantu. Omutume Peetero agamba nti Kristo ‘yattibwa mu mubiri, n’azuukizibwa mu mwoyo.’ (1 Peetero 3:18) Mazima ddala, kino kyali kyamagero kya kitalo. Yesu yaddamu okuba omulamu nate ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. (1 Abakkolinso 15:3-6) Yesu ye muntu eyasooka okuzuukira mu ngeri ng’eno ey’ekitiibwa. (Yokaana 3:13) Naye si ye yandibadde asembayo.

23, 24. Baani abali mu ‘kisibo ekitono’ era bali bameka?

23 Bwe yali anaatera okuddayo mu ggulu, Yesu yagamba abagoberezi be abeesigwa nti yali agenda ‘okubateekerateekera ebifo mu ggulu.’ (Yokaana 14:2) Abo abagenda mu ggulu Yesu yabayita “ekisibo ekitono.” (Lukka 12:32) Bantu bameka abanaabeera mu kisibo kino ekitono eky’Abakristaayo abeesigwa? Okusinziira ku Okubikkulirwa 14:1, omutume Yokaana agamba: “Ne ndaba, era laba, Omwana gw’endiga ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni, era wamu naye akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n’erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe.”

24 Abakristaayo bano 144,000, nga muno mw’otwalidde n’abatume ba Yesu abaali abeesigwa, bazuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu. Bazuukizibwa ddi? Omutume Pawulo yagamba nti bandizuukiziddwa mu kiseera ky’okubeerawo kwa Kristo. (1 Abakkolinso 15:23, NW) Nga bw’ojja okuyiga mu Ssuula 9, kati tuli mu kiseera ekyo. Bwe kityo, abatono ennyo abakyasigaddewo ku 144,000 bwe bafa kati, bazuukirirawo mu bulamu obw’omu ggulu. (1 Abakkolinso 15:51-55) Kyokka, abantu abasinga obungi abanaazuukizibwa, balina essuubi ery’okubeera ku nsi mu Lusuku lwa Katonda.

25. Kiki kye tugenda okuyiga mu ssuula eddako?

25 Yee, Yakuwa ajja kuwangulira ddala omulabe waffe kufa, aviirewo ddala! (Isaaya 25:8) Kyokka, oyinza okwebuuza, ‘abo abanaazuukizibwa okugenda mu ggulu banaakolayo ki?’ Bajja kubeera bafuzi mu gavumenti ey’omu ggulu. Tujja kuyiga ebisingawo ku gavumenti eyo mu ssuula eddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Ebyawandiikibwa ebirala ebyogera ku bantu abaazuukizibwa bye bino: 1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37; 13:20, 21; Matayo 28:5-7; Lukka 7:11-17; 8:40-56; Ebikolwa 9:36-42; ne Ebikolwa 20:7-12.

b Okumanya ebisingawo ebikwata ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango n’engeri omusango gye gulisalibwamu, laba empapula 213-15.

BAIBULI KY’EYIGIRIZA

▪ Ebyawandiikibwa ebyogera ku kuzuukira bituwa essuubi ekkakafu.​—Yokaana 11:39-44.

▪ Yakuwa mwetegefu okuzuukiza abafu.​—Yobu 14:13-15.

▪ Bonna abali mu ntaana bajja kuzuukizibwa.​—Yokaana 5:28, 29.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 69]

Eriya yazuukiza omwana wa nnamwandu.​—1 Bassekabaka 17:17-24

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 69]

Omutume Peetero yazuukiza omukyala Omukristaayo ayitibwa Doluka.​—Ebikolwa 9:36-42

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 69]

Okuzuukira kwa Lazaalo kwaleetera abantu essanyu eppitirivu.​—Yokaana 11:38-44

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 75]

Mu Lusuku lwa Katonda, abafu bajja kuddamu okuba n’abaagalwa baabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share