LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 7/1 lup. 13
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 7/1 lup. 13

OBADDE OKIMANYI?

Amaato ag’edda gaakolebwanga gatya ne gatayingiramu mazzi?

Lionel Casson, eyanoonyereza ku ngeri amaato ag’edda gye gaakolebwangamu, yannyonnyola ekyo abakozi b’amaato mu kiseera ky’obufuzi bw’Abaruumi kye baakolanga okuziyiza amaato okuyingiramu amazzi. Bwe baamalirizanga okuzimba eryato, “baalisiiganga envumbo munda ne kungulu okusobola okuzibikira emiwaatwa amazzi mwe gandiyise.” Obufuzi bw’Abaruumi we bwatandikira, waali wayise emyaka mingi ng’Abakaadiya n’Abababulooni bakola amaato era nga bagasiigako envumbo.

Envumbo eteri nkwafu

Envumbo ng’eno yali nnyingi nnyo mu bitundu ebyogerwako mu Bayibuli

Enkola ey’okusiiga envumbo ku maato eyogerwako ne mu Olubereberye 6:14. Katonda yagamba Nuuwa okuzimba eryato era alisiige envumbo munda ne kungulu. Envumbo eyo yali efaanana ng’ebifuta ebiddugavu.

Envumbo eyo yali ya bika bibiri; waaliwo enkwafu n’etaali nkwafu. Abantu abaakolanga amaato mu biseera by’edda baagasiigangako envumbo etaali nkwafu, era bwe yakalanga amazzi gaabanga tegasobola kugiyitamu kuyingira mu lyato.

Mu bitundu bingi ebyogerwako mu Bayibuli, kyabanga kyangu okufuna envumbo. Ng’ekyokulabirako, Ekiwonvu ky’e Sidimu, ekyali okumpi n’Ennyanja Enfu, kyalimu envumbo nnyingi.​—Olubereberye 14:10.

Mu biseera by’edda, ebyennyanja byakuumibwanga bitya ne bitayonooneka?

Abantu baava dda nga balya ebyennyanja. Abamu ku batume ba Yesu baali bavubi ku nnyanja y’e Ggaliraaya. (Matayo 4:18-22) Ebimu ku byennyanja ebyavubibwanga byatwalibwanga mu kampuni z’ebyennyanja ezaabanga okumpi n’ennyanja eyo.

Abavubi ab’edda nga basitudde eby’ennyanja

Abavubi b’omu Misiri ey’edda nga basitudde ebyennyanja

Enkola eyakozesebwanga okukuuma ebyennyanja ne bitayonooneka mu kibuga Ggaliraaya eky’edda, ekyakozesebwa mu bitundu ebimu. Ebyennyanja baasookanga kubiggyamu byenda ne babyoza bulungi. Ekitabo ekiyitibwa Studies in Ancient Technology kigamba nti oluvannyuma “baabisiiganga omunnyo mu kamwa, mu biviiri, ne ku magalagamba. Ebyennyanja ebyo byapangibwanga ne biteekebwako omunnyo, ne bipangibwako ebirala nabyo ne biteekebwako omunnyo, oluvannyuma ne bibikkibwa okumala ennaku wakati w’essatu n’ettaano. Oluvannyuma lw’ennaku ezo byakyusibwanga ne biddamu okubikkibwa okumala ennaku ze zimu. Mu kiseera ekyo omunnyo gwayingiranga mu byennyanja ne bikala.”

Ekiseera ebyennyanja ebyakazibwanga mu ngeri eyo kye byamalanga nga tebinnayonooneka tekimanyiddwa. Naye okuva bwe kiri nti Abamisiri ab’edda baakazanga ebyennyanja mu ngeri eyo ne babitunda e Busuuli, kiraga nti byalwangawo okwonooneka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share