Oluyimba 68
Essaala y’Omunaku
Printed Edition
1. Ai Yakuwa: “Wulira
okusaba kwange.”
Omugugu gwe nneetisse
gunzitooweredde.
Okweraliikirira
kummazeemu amaanyi.
Katonda wange mbudaabuda,
nkwegayiridde.
(CHORUS)
Onnyambe nze, okuguma.
’Ssuubi lyange, likakate.
Nkukoowoola, ggwe Yakuwa.
Zza obuggya, ’maanyi gange.
2. Ekigambo kyo kimpa ’maanyi
bwe mba nnafuye;
Kirimu ebirowoozo
by’omuwendo ennyo.
Onnyambe mbeere
n’okukkiriza okunywevu.
Nzijukirenga nti okwagala
kwo kwa maanyi.
(CHORUS)
Onnyambe nze, okuguma.
’Ssuubi lyange, likakate.
Nkukoowoola, ggwe Yakuwa.
Zza obuggya, ’maanyi gange.
(Era laba Zab. 42:6; 119:28; 2 Kol. 4:16; 1 Yok. 3:20.)