LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 4/15 lup. 22-26
  • Yakuwa Amanyi Okununula Abantu Be

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Amanyi Okununula Abantu Be
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BWE YALEETA AMATABA
  • KU NNYANJA EMMYUFU
  • NGA YERUSAALEMI KIZIKIRIZIBWA
  • EBYOKULABIRAKO EBYO BINYWEZA OKUKKIRIZA KWAFFE
  • Eryato lya Nuuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • ‘Yawonyezebwawo n’abalala musanvu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Ebikwata ku Nuuwa n’Amataba—Ddala Byaliyo?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • ‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 4/15 lup. 22-26

Yakuwa Amanyi Okununula Abantu Be

“Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.”​—2 PEET. 2:9.

LWAKI TUSOBOLA OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA:

Atuukiriza ebigendererwa bye mu kiseera kye ekituufu?

Ajja kukozesa amaanyi ge okununula abantu be?

Amanyi engeri ebintu gye bijja okutambulamu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?

1. Embeera eneeba etya ku nsi mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene’?

ENSI ya Sitaani ejja kuzikirizibwa mbagirawo ng’abantu tebakisuubira. (1 Bas. 5:2, 3) Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ensi yonna ejja kubaamu akakyankalano. (Zef. 1:14-17) Mu kiseera ekyo wajja kubaawo okubonaabona kungi. Ng’eyogera ku kiseera ekyo, Bayibuli egamba nti wajja kubaawo ekibonyoobonyo ekinene “ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo okutuusa leero.”​—Soma Matayo 24:21, 22.

2, 3. (a) Kiki Sitaani ky’ajja okwagala okukola abantu ba Katonda mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene’? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okwesiga Yakuwa nti ajja kusobola okununula abantu be?

2 “Ekibonyoobonyo ekinene” bwe kinaaba kinaatera okuggwako, “Googi ow’omu nsi ya Magoogi” ajja kulumba abantu ba Katonda. Mu kiseera ekyo, ‘eggye eddene’ lijja kulumba abantu ba Katonda nga liringa ‘ekire ekibisse ku nsi.’ (Ez. 38:2, 14-16) Tewali kibiina ky’abantu kijja kuyamba bantu ba Yakuwa. Yakuwa yekka y’ajja okusobola okubalokola. Kiki abantu ba Katonda kye bajja okukola ng’abalabe baabwe babalumbye nga baagala okubasaanyawo?

3 Bw’oba oli omu ku baweereza ba Yakuwa, oli mukakafu nti Yakuwa ajja kusobola okukuuma abantu be mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene era nti ajja kubanunula? Omutume Peetero yagamba nti: “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa, naye abatali batuukirivu ajja kubazikiriza ku lunaku olw’okusalirako omusango.” (2 Peet. 2:9) Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be mu biseera ebyayita kijja kutuyamba okwongera okumwesiga, nga tuli bakakafu nti ajja kutununula. Ka tulabeyo ebyokulabirako bisatu ebiraga engeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be.

BWE YALEETA AMATABA

4. Bintu ki ebyalina okusooka okukolebwa ng’Amataba tegannajja?

4 Ka tusooke tulowooze ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Mataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Waliwo ebintu ebyali birina okusooka okukolebwa ng’Amataba tegannajja. Eryato eddene lyali lirina okuzimbibwa era nga n’ensolo zirina okuyingizibwa mu lyato. Ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Olubereberye tebiraga nti Yakuwa yasooka kulinda lyato limale kuzimbibwa olwo n’alyoka asalawo ddi Amataba lwe gandizze. Yakuwa yateekawo ekiseera Amataba kwe gandijjidde nga tasinziira ku mulimu gw’okuzimba eryato. Mu butuufu, Yakuwa yali yasalawo dda ddi Amataba lwe gandizze nga tannaba na kugamba Nuuwa kuzimba lyato. Ekyo tukimanyira ku ki?

5. Kiki Yakuwa kye yali alangirira mu bigambo ebiri mu Olubereberye 6:3, era ekyo yakirangirira ddi?

5 Bayibuli eraga nti Yakuwa yasalawo olunaku Amataba kwe gandijjidde era ekyo n’akirangirira mu ggulu. Okusinziira ku Olubereberye 6:3, Yakuwa yagamba nti: “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yakuwa yali tayogera ku myaka abantu okutwalira awamu gye balina okuwangaala, wabula yali alangirira ekiseera ekyali kisigaddeyo alyoke azikirize abantu ababi abaali ku nsi.a Okuva bwe kiri nti Amataba gaatandika mu 2370 E.E.T., ebigambo ebyo Katonda ateekwa okuba nga yabyogera mu 2490 E.E.T. Mu kiseera ekyo, Nuuwa yalina emyaka 480 egy’obukulu. (Lub. 7:6) Nga wayise emyaka nga 20, mu mwaka gwa 2470 E.E.T., Nuuwa yatandika okuzaala abaana. (Lub. 5:32) Nuuwa bwe yamala okuzaala batabani be abo abasatu, waali wabulayo emyaka nga 100 Amataba galyoke gajje. Naye Yakuwa yali tannaba kubuulira Nuuwa mulimu gwe yali agenda okukola okusobola okuwonyaawo abantu. Kati olwo waayitawo bbanga lyenkana wa Katonda n’alyoka abuulira Nuuwa omulimu gwe yali agenda okukola?

6. Ddi Yakuwa lwe yagamba Nuuwa okuzimba eryato?

6 Kirabika Yakuwa yamala emyaka egiwerako nga tannabuulira Nuuwa ekyo kye yali agenda okukola. Ekyo tukimanyira ku ki? Ebyawandiikibwa biraga nti Katonda we yagambira Nuuwa okuzimba eryato, batabani be baali basajja bakulu era nga bawasizza n’abakazi. Yakuwa yagamba Nuuwa nti: “Ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n’abaana bo, ne mukazi wo, n’abakazi b’abaana bo wamu naawe.” (Lub. 6:9-18) N’olwekyo, kirabika nti Yakuwa we yagambira Nuuwa okuzimba eryato, waali wabulayo emyaka nga 40 oba 50 Amataba galyoke gajje.

7. (a) Nuuwa n’ab’omu maka ge baayoleka batya okukkiriza? (b) Yakuwa yabuulira ddi Nuuwa Amataba lwe ganditandise?

7 Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baali bazimba eryato, bateekwa okuba nga baali beebuuza engeri Yakuwa gye yandireeseemu Amataba na ddi lwe ganditandise. Wadde ng’ebintu ebyo baali tebabimanyi, ekyo tekyabalemesa kweyongera kuzimba lyato. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.” (Lub. 6:22) Kyokka bwe waali wabulayo ennaku musanvu Amataba gatandike, Yakuwa yategeeza Nuuwa ddi Amataba lwe ganditandise. Ennaku ezaali zisigaddeyo zaali zimala Nuuwa n’ab’omu maka ge okuyingiza ebisolo mu lyato. Bwe kityo, enkuba we yatandikira okutonnya “mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi,” buli kimu kyali kiwedde okukolebwa.​—Lub. 7:1-5, 11.

8. Ebyo bye tusoma ku Mataba biraga bitya nti Yakuwa amanyi ekiseera ekituufu eky’okununuliramu abantu be?

8 Ebyo bye tusoma ku Mataba biraga nti Yakuwa Katonda amanyi ekiseera ekituufu eky’okununuliramu abantu be n’engeri entuufu ey’okubanunulamu. Ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu bw’esembera, tusaanidde okuba abakakafu nti ebintu byonna Yakuwa by’asuubizza bijja kutuukirira mu kiseera kye ekigereke, ku lunaku lwennyini “n’ekiseera” kyennyini bye yateekawo.​—Mat. 24:36; soma Kaabakuuku 2:3.

KU NNYANJA EMMYUFU

9, 10. Yakuwa yakozesa atya abantu be okukwasa eggye lya Misiri?

9 Ebyo bye tulabye ebikwata ku Mataba bitulaze bulungi nti Yakuwa atuukiriza ebigendererwa bye mu kiseera kye ekigereke. Ekyokulabirako eky’okubiri kye tugenda okulaba kiraga ensonga endala eyandituleetedde okwesiga Yakuwa nti asobola okununula abantu be: Yakuwa ajja kukozesa amaanyi ge agataliiko kkomo okununula abantu be. Kyo kituufu nti Yakuwa tasobola kulemererwa kununula bantu be, naye ebiseera ebimu abaleka okuba mu mbeera enzibu ng’ayagala okukwasa abalabe be. Bwe kityo bwe kyali bwe yali anunula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri.

10 Abaisiraeri abaava e Misiri baali obukadde nga busatu. Yakuwa yalagira Musa okukulembera abaana ba Isiraeri mu ngeri eyandireetedde Falaawo okulowooza nti baali babungeetera mu nsi nga basobeddwa. (Soma Okuva 14:1-4.) Ekyo kyaleetera Falaawo awamu n’eggye lye okuwondera Abaisiraeri ne babasanga ku Nnyanja Emmyufu. Abaisiraeri baalabika ng’abaali batakyalina buddukiro. (Kuv. 14:5-10) Naye tewaaliwo kabi konna kaali kayinza kubatuukako. Lwaki? Kubanga Yakuwa yali mwetegefu okubalwanirira.

11, 12. (a) Yakuwa yalwanirira atya Abaisiraeri, era biki ebyavaamu? (b) Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki ku Yakuwa?

11 “Empagi ey’ekire” eyali ekulembedde Abaisiraeri yava mu maaso gaabwe n’edda emabega waabwe, bw’etyo n’eremesa eggye ly’Abamisiri okubatuukako. Empagi eyo yaleeteranga Abaisiraeri ekitangaala obudde obw’ekiro ate nga bo Abamisiri ebaleetera kizikiza. (Soma Okuva 14:19, 20.) Yakuwa yayawulamu ennyanja ng’akozesa omuyaga ogw’amaanyi ogw’ebuvanjuba, entobo y’ennyanja “n’agifuula olukalu.” Ekyo kiteekwa okuba nga kyatwala ekiseera ekiwerako, kubanga Bayibuli egamba nti omuyaga gwakunta okutuusa “obudde okukya” era oluvannyuma lw’ekyo “abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w’ennyanja ku lukalu.” Okuva bwe kiri nti eggye ly’Abamisiri lyali litambulira ku magaali, sipiidi Abaisiraeri kwe baali batambulira yali ntono nnyo bw’ogigeraageranya ku y’Abamisiri. Kyokka, Abamisiri baali tebasobola kubakwata, kubanga Yakuwa yali alwanirira Abaisiraeri. Yakuwa yatabulatabula eggye ly’Abamisiri, n’aggyako nnamuziga ku magaali gaabwe ne bazibuwalirwa okugavuga.​—Kuv. 14:21-25.

12 Abaisiraeri bonna bwe baatuuka ku lukalu, Yakuwa yagamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.” Abamisiri baagezaako okudduka, naye Yakuwa n’abasuula mu nnyanja wakati. Baali tebasobola kuwona. Bayibuli egamba nti: “Tewaasigala n’omu ku bo.” (Kuv. 14:26-28) Bw’atyo Yakuwa yakiraga nti alina amaanyi okununula abantu be okuva mu mbeera yonna.

NGA YERUSAALEMI KIZIKIRIZIBWA

13. Bulagirizi ki Yesu bwe yawa, era kiki abagoberezi be kye bayinza okuba nga baali beebuuza?

13 Ekyokulabirako eky’okusatu kye tugenda okulaba kikwata ku ebyo ebyaliwo mu kyasa ekyasooka ng’amagye g’Abaruumi galumbye Yerusaalemi. Ekyokulabirako ekyo kiraga nti Yakuwa amanyi bulungi engeri ebintu gye bijja okutambulamu ng’ekigendererwa kye kituukirizibwa. Ng’ayitira mu Mwana we, Yakuwa yawa Abakristaayo abaali mu Yerusaalemi ne Yuda obulagirizi obwandibayambye okuwonawo ng’ekibuga Yerusaalemi kizikirizibwa mu mwaka gwa 70 E.E. Yesu yagamba nti: “Bwe muliraba eky’omuzizo ekizikiriza, nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, . . . abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.” (Mat. 24:15, 16) Naye abagoberezi ba Yesu banditegedde batya nti obunnabbi obwo bwali butandise okutuukirizibwa?

14. Bintu ki ebyaliwo ebyayamba abagoberezi ba Yesu okutegeera amakulu g’ebigambo bye yali abagambye?

14 Nga wayise emyaka mingi, abagoberezi ba Yesu baategeera amakulu g’ebigambo bye yali abagambye. Mu mwaka gwa 66 E.E., eggye ly’Abaruumi eryali liduumirwa Cestius Gallus lyajja okukkakkanya akeediimo akaali katandikiddwawo Abayudaaya. Abayudaaya abaali beekalakaasa bwe baddukira mu yeekaalu, eggye ly’Abaruumi lyatandika okumenya ebisenge bya yeekaalu. Abakristaayo abassaayo omwoyo ku bigambo bya Yesu baategeera ekyo kye kyali kitegeeza. Bwe baalaba eggye ly’Abaruumi, abantu abaali batasinza Yakuwa, eryali lizze ne bendera yaalyo ne lituuka ku bbugwe wa yeekaalu y’omu Yerusaalemi, baategeera nti ekyo kye kyali “eky’omuzizo” ekyali kiyimiridde mu “kifo ekitukuvu.” Ekyo kye kyali ekiseera abagoberezi ba Yesu okutandika ‘okuddukira mu nsozi.’ Naye bandisobodde batya okudduka mu kibuga ng’ate eggye ly’Abaruumi lyali likyetoolodde? Waliwo ekintu ekyali kitasuubirwa ekyali kinaatera okubaawo.

15, 16. (a) Kiki Yesu kye yali alagidde abagoberezi be okukola, era lwaki kyali kikulu nnyo okukolera ku bulagirizi bwe? (b) Kiki ekinaatuyamba okuwonawo?

15 Nga tekisuubirwa, Cestius Gallus awamu n’abasirikale be baava mu Yerusaalemi ne batandika okugenda. Abayudaaya abaali beekalakaasa baatandika okubawondera. Okuva bwe kiri nti kati Abaruumi baali bavudde mu Yerusaalemi ate nga n’Abayudaaya abaali beekalakaasa baali babagoberedde, ekyo kyawa akakisa abagoberezi ba Yesu okudduka okuva mu kibuga. Yesu yali agambye abagoberezi be okuva mu kibuga mu bwangu era tebaalina kutwala bintu byabwe. (Soma Matayo 24:17, 18.) Ddala kyali kyetaagisa okudduka mu kibuga mu bwangu? Yee, kubanga oluvannyuma lw’ennaku ntono Abayudaaya abaali bawondedde Abaruumi baakomawo ne batandika okukaka abantu b’omu Yerusaalemi ne Yuda okubeegattako. Ebiwayi by’Abayudaaya ebitali bimu byatandika okulwanira obuyinza era mu kaseera katono embeera mu kibuga yeeyongera okwonooneka. Mu kiseera ekyo kyali kizibu nnyo okuva mu Yerusaalemi. Abaruumi bwe baakomawo mu mwaka gwa 70 E.E., kyali tekikyasoboka kuva mu Yerusaalemi. (Luk. 19:43) Abo bonna abaali batannafuluma mu kibuga baazingirizibwayo! Kyokka Abakristaayo abaali bakoledde ku bigambo bya Yesu ne baddukira mu nsozi baawonawo. Baakyerabirako n’agaabwe nti Yakuwa amanyi okununula abantu be. Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki?

16 Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Abakristaayo kijja kuba kibeetaagisa okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda n’obulagirizi obuva mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, Yesu yalagira abayigirizwa be ‘okuddukira mu nsozi.’ Mu kibonyoobonyo ekinene naffe tujja kulagirwa ‘okudduka.’ Tunadduka mu ngeri ki? Ekyo tujja kukimanya mu kiseera ekyo.b Naye tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutubuulira eky’okukola mu kiseera ekituufu. Okuba abawulize ne tukolera ku bulagirizi obunaatuweebwa mu kiseera ekyo kye kijja okutuyamba okuwonawo. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ddala nkolera ku bulagirizi bwonna Yakuwa bw’awa abantu be leero? Bwe wabaawo obulagirizi obuba buzze, ntandikirawo okubukolerako oba ndwawo okubukolerako?’​—Yak. 3:17.

EBYOKULABIRAKO EBYO BINYWEZA OKUKKIRIZA KWAFFE

17. Obunnabbi bwa Kaabakuuku obukwata ku Googi okulumba abantu ba Katonda butuyigiriza ki?

17 Kati ka tuddemu tulowooze ku ebyo ebigenda okubaawo nga Googi alumbye abantu ba Katonda. Okufaananako Ezeekyeri, nnabbi Kaabakuuku naye yayogera ku kiseera ekyo. Yagamba nti: “Nnawulira, olubuto ne lutandika okuntokota; emimwa gyange gyakankana olw’amawulire; okuvunda kwayingira mu magumba gange; nnakankana era ne nnindirira olunaku olw’ennaku ey’amaanyi, ne nnindirira [Katonda] lw’alijja okulumba abalabe.” (Kaab. 3:16, NW) Kaabakuuku bwe yawulira nti abalabe baali bagenda kulumba abantu ba Katonda, olubuto lwatandika okumutokota, emimwa gye ne gikankana, era n’amaanyi ne gamuggwaamu. Wadde kyali kityo, yali mwetegefu okulindirira olunaku lwa Yakuwa olukulu. Googi n’abagoberezi be bwe banaatulumba, naffe tuyinza okutya ennyo. Naye okufaananako Kaabakuuku, naffe tulina okwesiga Yakuwa nga tukimanyi nti ajja kusobola okununula abantu be.​—Kaab. 3:18, 19.

18. (a) Lwaki tetusaanidde kutya ebyo ebinaabaawo ng’abalabe baffe batulumbye? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Ebyokulabirako ebisatu bye tulabye bitulaze bulungi nti Yakuwa amanyi okununula abantu be. Ekigendererwa kye kijja kutuukirira, era ajja kuwangula abalabe be. Bwe tuba twagala okuba mu abo abanaajaguliza obuwanguzi bwa Yakuwa, tulina okusigala nga tuli beesigwa gy’ali okutuukira ddala ku nkomerero. Naye Yakuwa atuyamba atya leero okusigala nga tuli beesigwa gy’ali? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 15, 2010, olupapula 30-31.

b Laba Watchtower, Maayi 1, 1999, olupapula 19.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Lwaki tewaaliwo kabi konna kaali kayinza kutuuka ku Baisiraeri?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share