Oluyimba 137
Tuwe Obuvumu
Wanula:
Bwe tuba nga tubuulira
’Njiri y’Obwakabaka,
Bangi abatuziyiza
N’abatusekerera.
Naye ka tutyenga ggwe,
Tulemenga kutya bantu.
Ai Yakuwa tukusaba
Otuwenga omwoyo gwo.
(CHORUS)
Tuyambe tube bavumu
Okutya kutuggweemu.
Tubuulire n’obuvumu
Ensi yonna emanye
Nti olunaku lwo lujja
Olwa Kalumagedoni.
Tukusaba otuwenga
Obuvumu.
Wadde tubaamu okutya
Omanyi tuli nfuufu.
Wasuubiz’o kutuyamba
Era tuli bagumu.
Lab’o kutiisatiisa
Kw’abo abatuyigganya
Tuyambe tugende mu maaso
’Kubuulira n’obuvumu.
(CHORUS)
Tuyambe tube bavumu
Okutya kutuggweemu.
Tubuulire n’obuvumu
Ensi yonna emanye
Nti olunaku lwo lujja
Olwa Kalumagedoni.
Tukusaba otuwenga
Obuvumu.
(Era laba 1 Bas. 2:2; Beb. 10:35.)