LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 12/1 lup. 12-14
  • Omutume Peetero Ye Paapa Eyasooka?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omutume Peetero Ye Paapa Eyasooka?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “NDIZIMBA EKKANISA YANGE KU LWAZI LUNO”
  • “GGWE PEETERO . . .”
  • PAAPA YE MUSIKA WA PEETERO?
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yanywerera ku Yesu Wadde nga Yafuna Ebigezo Bingi
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 12/1 lup. 12-14
Omutume Peetero ayogera ne Yesu

Omutume Peetero Ye Paapa Eyasooka?

“Kalidinaali Jorge Mario Bergoglio, S.J., alondeddwa okubeera paapa, era omusika wa Peetero owa 265.”​—BYA KITONGOLE KY’E VATICAN EKY’EBY’AMAWULIRE, VATICAN CITY, MAAKI 13, 2013.

“Bisopu w’e Rooma alina obuyinza okukulembera Kkereziya, kubanga aba musika w’Omutukuvu Peetero, Yesu Kristo gwe yawa obuyinza obwo.”​—EKITABO THE PRIMACY OF THE BISHOP OF ROME DURING THE FIRST THREE CENTURIES, 1903, EKYA VINCENT ERMONI.

‘Omuntu yenna singa agamba nti bisopu w’e Rooma si ye musika w’Omutukuvu Peetero, aba kyewaggula.’ ​—OLUKIIKO LW’E VATICAN OLWASOOKA, JJULAAYI 18, 1870.

EBYO ebyasalibwawo mu lukiiko lw’e Vatican olwasooka mu 1870, Abakatuliki bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna babitwala ng’enjigiriza enkulu ennyo mu ddiini yaabwe etasobola kukyusibwa. Naye tusaanidde okwebuuza nti, Enjigiriza eyo esibuka mu Byawandiikibwa? Ddala Paapa Francis musika w’omutume Peetero? Ye abaffe, Peetero ye paapa eyasooka?

“NDIZIMBA EKKANISA YANGE KU LWAZI LUNO”

Ebyo olukiiko lw’e Vatican bye lwasalawo mu 1870, byesigamizibwa ku ngeri gye baategeeramu ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 16:16-19 ne Yokaana 21:15-17. Ebyo bye tusoma mu nnyiriri ezo ne mu bitabo bya Bayibuli ebirala, biraga nti Peetero yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi mu kibiina Ekikristaayo. Mu butuufu, ku mulundi gwe baasooka okusisinkana, Yesu yakiraga nti Peetero yandibadde ng’olwazi. (Yokaana 1:42) Naye ekyo kitegeeza nti Yesu yawa Peetero obukulu?

Mu Matayo 16:17, 18, Yesu yagamba Peetero nti: “Ggwe Peetero, [erinnya eryo litegeeza “Olwazi”], nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno.”a Yesu yali ategeeza nti “ekkanisa” ye, oba ekibiina kye, kyandizimbiddwa ku Peetero, omuntu? Peetero ye yandibadde omukulembeze w’abagoberezi ba Yesu bonna? Abatume abalala abaaliwo baategeera batya ebigambo bya Yesu ebyo? Ebitabo by’Enjiri biraga nti oluvannyuma abatume baakaayana emirundi egiwerako ku ani ku bo eyali asinga obukulu. (Matayo 20:20-27; Makko 9:33-35; Lukka 22:24-26) Abatume bandikaayanye singa Yesu yali alonze Peetero okubakulira?

Ate ye Peetero yategeera atya ebigambo bya Yesu? Peetero yali Muyisirayiri, era ateekwa okuba nga yali yasoma ku bunnabbi obwogera ku “jjinja” oba “ejjinja ery’oku nsonda” obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (Endagaano Enkadde). (Isaaya 8:13, 14; 28:16; Zekkaliya 3:9) Peetero bwe yajuliza ekimu ku Byawandiikibwa ebyo ng’awandiikira bakkiriza banne, yannyonnyola nti “ejjinja ery’oku nsonda” ye Mukama waffe Yesu Kristo, eyali Masiya. Ekigambo pe’tra eky’Oluyonaani Peetero kye yakozesa ng’ayogera ku Kristo, kye kigambo kye kimu Yesu kye yakozesa mu Matayo 16:18, ng’ayogera ne Peetero.​—1 Peetero 2:4-8.

Omutume Pawulo naye yali mugoberezi wa Yesu. Pawulo yakitwala nti Peetero ye yalondebwa okukulira abalala? Ng’ayogera ku kifo Peetero kye yalina, Pawulo yawandiika nti Peetero yali omu ku abo “abaali batwalibwa ng’empagi mu kibiina.” Omutume Pawulo yalaga nti waaliwo abalala abaali “empagi” mu kibiina. (Abaggalatiya 2:9) Singa Peetero ye yalondebwa okukulembera ekibiina, abalala bandibadde bamutwala butwazi ng’omu ku abo abaali empagi mu kibiina?

Lumu Peetero bwe yalaga nti asosola abantu ab’amawanga, Pawulo yamunenya mu lujjudde lw’abantu. (Abaggalatiya 2:11-14) Omutume Pawulo teyakitwala nti Kristo yali azimbye ekkanisa, oba ekibiina ku Peetero, oba ku muntu omulala yenna atatuukiridde. Wabula yali akimanyi nti Yesu Kristo gwe musingi ekibiina Ekikristaayo kwe kyazimbibwa. Pawulo yawandiika nti: “Olwazi olwo lwali Kristo.”​—1 Abakkolinso 3:9-11; 10:4.

“GGWE PEETERO . . .”

Kati olwo tusaanidde kutegeera tutya ebigambo: “Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno”? Okusobola okutegeera ebigambo ebyo, tulina okwekenneenya ennyiriri eziriraanyeewo. Yesu ne Peetero baali boogera ku ki? Yesu yali yaakamala okubuuza abayigirizwa be nti: “Mmwe mumpita mutya?” Amangu ddala, Peetero yamuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.” Yesu yasiima Peetero olw’okuddamu bw’atyo era n’agamba nti yandizimbye “ekkanisa” ye, oba ekibiina kye ku “lwazi” olusingayo. Olwazi olwo ye Yesu kennyini.​—Matayo 16:15-18.

Tusaanidde kutegeera tutya ebigambo bya Yesu bino: “Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno”?

Waliwo ne Bafaaza bangi abakatuluki abaawandiika nti olwazi olwogerwako mu Matayo 16:18 ye Kristo. Ng’ekyokulabirako, Augustine eyaliwo mu kyasa eky’okutaano yawandiika nti: “Mukama waffe yagamba nti: ‘Ku lwazi luno kwe ndizimba Ekkanisa yange,’ kubanga Peetero yali amugambye nti: ‘Ggwe Kristo Omwana wa Katonda omulamu.’ N’olw’ensonga eyo, nja kuzimba Ekkanisa yange ku lwazi luno lw’okkiririzzaamu.” Emirundi mingi Augustine yagamba nti “Olwazi (Petra) yali Kristo.”

Agustine n’abalala tebakkiriziganya n’ebyo ebyasalibwa olukiiko lw’e Vatican mu 1870 nti Peetero lwe lwazi ekibiina kwe kyazimbibwa. Ate era okusinziira ku mwekenneenya wa Bayibuli ow’omu Switzerland ayitibwa Ulrich Luz, abeekennyeenya bangi abaliwo mu kiseera kino nabo tebakkiriziganya n’ekyo olukiiko lw’e Vatican kye lwasalawo, era singa baaliwo mu kiseera ekyo, Ekkereziya yandigambye nti ebyo bye boogera bya sswakaba.

PAAPA YE MUSIKA WA PEETERO?

Peetero yali tamanyi na kumanya ekitiibwa “paapa.” Ne babisopu abataali ba mu Rooma beewanga ekitiibwa ekyo okutuukira ddala mu kyasa eky’omwenda. Ekitiibwa ekyo kyatandika okukozesebwa mu butongole ng’ekyasa eky’ekkumi n’ekimu kinaatera okuggwaako. Ate era tewali Mukristaayo n’omu eyaliwo mu kiseera ky’abatume eyali ayinza okulowooza nti omutume Peetero yali wakusikirwanga. Omuwandiisi Omugirimaani ayitibwa Martin Hengel yawunzika ng’agamba nti, “tewali bukakafu bwonna mu byawandiikibwa, wadde mu byafaayo obusinziirwako okulonda paapa.”

Peetero ye paapa eyasooka? Yalina abasika? Ddala Ekkereziya okulonda paapa kyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa? Ekyokuddamu mu bibuuzo ebyo byonna kiri nti nedda. Ekituufu kiri nti, Yesu yazimba ekkanisa ye, oba ekibiina kye eky’amazima, ku ye kennyini. (Abeefeso 2:20) N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, Nnazuula ekibiina ekyo?

a Ebyawandiikibwa ebimu eby’Oluyonaani (Endagaano Empya) ebijuliziddwa mu kitundu kino biggiddwa mu Bayibuli y’Oluganda eya 1968.

Olukiiko lw’e Vatican olwasooka 1869-1870

Ekitiibwa “Paapa” Kyatandika Kitya Okukozesebwa?

  • Mu mwaka 32 E.E.: Yesu yagamba nti ajja kuzimba ekkanisa oba ekibiina ku ye kennyini; teyalonda Peetero kukulira balala

  • Mu mwaka 55-64: Abatume Pawulo ne Peetero baawandiika amabaluwa ne bakiraga nti Yesu Kristo gwe musingi gwokka ogw’ekibiina Ekikristaayo

  • Mu mwaka 254-257: Bisopu Stephen ow’e Rooma yagamba nti y’akulira babisopu abalala era nti ye musika wa Peetero. Naye babisopu abalala gamba nga Firmilian ow’e Kayisaaliya ne Cyprian ow’e Carthage, baawakanya ebyo bisopu Stephen bye yagamba

  • Mu mwaka 296-304: Ekitibwa “papa” oba “paapa,” kyazuulibwa mu bigambo ebyayolebwa ku malaalo ga bisopu w’e Rooma

  • Mu kyasa eky’okutaano: Bisopu w’e Rooma omulala ayitibwa Leo I, yajuliza Matayo 16:18 okukikkaatiriza nti y’akulira babisopu abalala

  • Mu kyasa eky’omukaaga: Ekitiibwa paapa kyeyongera okukozesebwa ku babisopu b’e Rooma; babisopu abalala abataali b’e Rooma nabo beeyongera okwewa ekitiibwa ekyo okutuukira ddala mu kyasa eky’omwenda

  • Mu mwaka 1075: Gregory VII yalangirira nti ekitiibwa “paapa” kirina kukozesebwa ku bisopu w’e Rooma yekka. Munnabyafaayo omu yagamba nti ebiragiro Gregory VII bye yassaawo bifuula paapa “okuba ng’azze mu kifo kya Kristo”

  • Mu mwaka 1870: Olukiiko lw’e Vatican olwasooka lwasalawo nti “bisopu w’e Rooma ye musika w’Omutukuvu Peetero eyali Omukulembeze w’Abatume, era nti paapa y’akiikirira Kristo, era y’akulira Ekkanisa yonna”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share