-
Ddala Wakyaliyo Abantu Abeesigwa?Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 1
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI KIKULU OKUBA OMWESIGWA?
Ddala Wakyaliyo Abantu Abeesigwa?
Hitoshi yali akola ku bya mbalirira mu kitongole ekimu mu Japaani. Bwe yali yeekenneenya lipooti y’embalirira n’oyo eyali amukulira ku mulimu, yamugamba nti teyalina kukola lipooti ntuufu ekwata ku by’embalirira. Hitoshi yamunnyonnyola nti yali tasobola kulimba. N’ekyavaamu eyali amukulira yamutiisatiisa okumugoba ku mulimu, era oluvannyuma yamugoba.
Hitoshi yatandika okweraliikirira, era yeebuuzanga obanga yandizzeemu okufuna omulimu. Lumu bwe yali agenze okunoonya omulimu, yagamba eyali agenda okumuwa omulimu nti yali tayinza kwenyigira mu bukumpanya obw’engeri yonna. Eyali agenda okumuwa omulimu yamugamba nti, “Endowooza yo yeewuunyisa!” Ab’omu maka ga Hitoshi awamu ne mikwano gye baamukubiriza okunywerera ku kituufu. Kyokka, Hitoshi yatandika okubuusabuusa. Yagamba nti, “Nnatandika okwebuuza obanga ddala kigasa okubeera omwesigwa olw’ebyo bye nzikiririzaamu.”
Ebyo ebyatuuka ku Hitoshi biraga nti abantu bangi tebakitwala nga kikulu okuba omwesigwa. Mu butuufu, bangi bakitwala nti okuba omwesigwa kifiiriza, naddala mu bya bizineesi. Omukyala omu abeera mu South Africa agamba nti, “Abantu be nkola nabo si beesigwa era ebiseera ebimu mpikirizibwa okuba nga bo.”
Ekimu ku bikolwa ebyoleka obutali bwesigwa ekicaase ennyo leero kwe kulimba. Okunoonyereza okwakolebwa Robert S. Feldman ow’omu yunivasite ya Massachusetts mu Amerika kwalaga nti abantu 60 ku buli kikumi balimba waakiri omulundi gumu mu buli mboozi ey’eddakiika ekkumi. Feldman agamba nti: “Ekyo kyatwewuunyisa nnyo, kubanga twali tetusuubira nti abantu balimba nnyo bwe batyo.” Abantu bangi tebaagala kulimbibwa, kyokka nga bo emirundi mingi balimba.
Naye lwaki okulimba, okubba, n’ebikolwa ebirala ebitali bya bwesigwa bicaase nnyo leero? Kabi ki akali mu butaba beesigwa? Era tuyinza tutya okwewala obutaba beesigwa?
-
-
Akabi Akali mu Butaba MwesigwaOmunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 1
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI KIKULU OKUBA OMWESIGWA?
Akabi Akali mu Butaba Mwesigwa
“Wabaawo embeera eyeetaagisa obutaba mwesigwa okusobola okugiyitamu.”—Samantha, ow’omu South Africa.
Naawe bw’otyo bw’olowooza? Okufaananako Samantha, ffenna oluusi twesanga mu mbeera enzibu. Engeri gye tweyisaamu nga twesanze mu mbeera eyinza okutuleetera obutaba beesigwa, eraga ekyo kye tuli. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba twagala nnyo okusanyusa abalala, tuyinza okukitwala nti oluusi kyetaagisa obutaba beesigwa. Kyokka amazima bwe gazuuka, ebivaamu tebiba birungi n’akamu. Lowooza ku bino:
OBUTABA BEESIGWA KYONOONA ENKOLAGANA YAFFE N’ABALALA
Enkolagana ennungi ebaawo wakati waffe n’abalala eba yeesigamye ku bwesige bwe batulinamu. Kitwala ekiseera abantu okwesigaŋŋana n’okufuuka ab’omukwano. Abantu bwe baba ab’okwesigaŋŋana, buli omu alina okuba ng’ayogera amazima eri munne, era nga buli omu akolera munne ebirungi. Kyokka, ekikolwa kimu ekitali kya bwesigwa kiyinza okwonoona enkolagana ennungi, era kitwala ekiseera kiwanvu okugizzaawo.
Wali olimbiddwako omuntu gwe wali otwala nga mukwano gwo? Bwe kiba bwe kityo, wawulira otya? Oteekwa okuba nga wawulira bubi nnyo. Awatali kubuusabuusa, obutali bwesigwa busobola okwawukanya abantu abadde ab’omukwano nfanfe.
KIVIIRAKO ABALALA OBUTABA BEESIGWA
Okunoonyereza okwakolebwa Profesa Robert Innes, ow’omu yunivasite ya California kwalaga nti “obutali bwesigwa buleetera abalala obutaba beesigwa.” N’olwekyo, obutali bwesigwa busobola okugeraageranyizibwa ku kawuka akaleeta obulwadde—bw’obeera n’omuntu atali mwesigwa, naawe osobola okufuuka atali mwesigwa.
Oyinza otya okwewala obutaba mwesigwa? Bayibuli esobola okukuyamba. Soma ekitundu ekiddako olabe ebimu ku byawandiikibwa ebisobola okukuyamba.
-
-
Emiganyulo Egiri mu Kubeera OmwesigwaOmunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2016 | Na. 1
-
-
EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI KIKULU OKUBA OMWESIGWA?
Emiganyulo Egiri mu Kubeera Omwesigwa
“Tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, era twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”—Abebbulaniya 13:18.
Mu Bayibuli, ekigambo eky’Oluyonaani ekitera okuvvuunulwa “obwesigwa” kitegeeza “ekintu ekirungi ennyo.” Ate era kiyinza n’okutegeeza omuntu alina empisa ennungi.
Abakristaayo bafuba okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” Ekyo kizingiramu ki?
OKUMANYA EKYO KYE TULI MUNDA
Abantu bangi beeraba mu ndabirwamu buli ku makya nga tebannava waka. Bakola bwe batyo kubanga baba baagala bakakase nti balabika bulungi. Naye waliwo ekintu ekikulu ennyo okusinga endabika yaffe ey’okungulu. Mu butuufu, ekyo kye tuli munda kisobola okulungiya oba okwonoona ekyo kye tuli kungulu.
Bayibuli ekiraga kaati nti ffenna emitima gyaffe gyekubidde ku kukola bintu bibi. Olubereberye 8:21 wagamba nti: “Ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu byekubidde ku kukola kibi okuva mu buto bwe.” N’olwekyo, ffenna tulwanagana n’ekibi ekiri mu ffe. Omutume Pawulo yayogera ku ngeri gye yalwanaganamu n’ekibi. Yagamba nti: “Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange, naye mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula muddu wa tteeka lya kibi eriri mu mubiri gwange.”—Abaruumi 7:22, 23.
Ng’ekyokulabirako, omutima gwaffe bwe gutusendasenda okukola ekintu ekibi oba obutaba beesigwa, tetusaanidde kukola ekyo omutima gwaffe kye gutugamba. Bwe tusalawo okuziyiza ekirowoozo ekibi, tusobola okusigala nga tuli beesigwa wadde ng’abantu be tubeeramu si beesigwa.
OKULWANYISA OBUTALI BWESIGWA
Okusobola okubeera abeesigwa, kitwetaagisa okuba n’emitindo gy’empisa gye tugoberera. Eky’ennaku, abantu bangi bamala ebiseera bingi nga basalawo ngoye ki ze banaayambala naye nga tebalowooza ku nneeyisa yaabwe. Mu kukola bwe batyo, baleetera ababalaba okulowooza nti tebasobola kukola bintu bibi. Ekitabo ekiyitibwa The (Honest) Truth About Dishonesty kigamba nti: “Tukola ebikolwa ebitali bya bwesigwa naye ne tusigala nga tukyalabika ng’abantu abeesigwa mu maaso g’abalala.” Tuyinza tutya okumanya emitindo gy’empisa egy’okugoberera okusobola okuba abeesigwa?
Abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna bakizudde nti Bayibuli esobola okubayamba. Bayibuli erimu emitindo gy’empisa egitasangika walala wonna. (Zabbuli 19:7) Ewa amagezi amalungi agakwata ku maka, emirimu, engeri gye tusaanidde okweyisaamu, n’engeri gye tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Amagezi agagirimu gayambye abantu okumala ekiseera kiwanvu. Amagezi agagirimu gasobola okuyamba abantu ab’amawanga gonna. Bwe tusoma Bayibuli ne tufumiitiriza ku ebyo ebigirimu, era ne tubikolerako, tusobola okuba abeesigwa.
Kyokka, okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli si kye kokka ekyetaagisa okusigala nga tuli beesigwa. Kijjukire nti ensi gye tulimu mbi era etupikiriza okugoberera emitindo gyayo. N’olwekyo, tusaanidde okusabanga Katonda atuyambe. (Abafiripi 4:6, 7, 13) Bwe tukola bwe tutyo, tujja kumalirira okukola ekituufu n’okubeera abeesigwa mu bintu byonna.
EMIGANYULO EGIRI MU KUBEERA ABEESIGWA
Hitoshi, eyayogeddwako mu kitundu ekyasoose, aganyuddwa nnyo mu kuba omukozi omwesigwa. Kati w’akolera mukama we amwagala nnyo olw’obwesigwa bwe. Hitoshi agamba nti: ‘Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnafuna omulimu ogunsobozesa okusigala nga ndi mwesigwa.’
Waliwo abantu abalala abaganyuddwa mu kubeera abeesigwa nga Hitoshi. Bakolera ku bigambo bino ebisangibwa mu Bayibuli: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”
Toba na Kikulumiriza
Cheryl, ow’omu Ireland agamba nti: “Nnava mu ssomero nga nnina emyaka 13 ne ntandika okukolagana n’ababbi. Kumpi ssente zonna ze nnali nfuna nnazifunanga mu kubba. Oluvannyuma lw’ekiseera nga mmaze okufumbirwa, Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okutuyigiriza Bayibuli, nze n’omwami wange. Twayiga nti Yakuwaa Katonda tayagalira ddala bikolwa bibi, era twabireka. Mu 1990 twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.”—Engero 6:16-19.
“Ennyumba yange yali ejjudde ebintu ebibbe, naye kati tebikyalimu; ekyo kindeetera okuwulira nti sirina kinnumiriza. Bwe ndowooza ku myaka gye nnamala nga nneenyigira mu bikolwa ebibi, nneebaza Yakuwa olw’okundaga ekisa ekingi. Kinsanyusa buli lwe nzijukira nti bye nkola bisanyusa Yakuwa.”
Sonny, ow’omu Hong Kong agamba nti: “Mukama wange bwe yakizuula nti sakkiriza nguzi eyali empeebwa omu ku abo abaali baagala okufuuka bakasitoma baffe, yaŋŋamba nti: ‘Katonda wo akufudde omuntu omwesigwa! Twesiimye okuba n’omukozi nga ggwe.’ Olw’okuba nfuba okuba omwesigwa mu bintu byonna, muli mpulira nti nnina enkolagana ennungi ne Katonda. Era ekyo kinsobozesa okuyamba n’ab’omu maka gange awamu n’abantu abalala okuba abeesigwa.”
Emirembe mu Mutima
Tom, ow’omu Amerika agamba nti: “Nkola ng’omumyuka wa dayirekita mu emu ku bbanka ezirina bakasitoma mu nsi nnyingi. Mu mulimu guno, bangi bakitwala nti okugaggawala kikulu okusinga okubeera omwesigwa. Bangi balowooza nti ‘si kibi obutaba mwesigwa ku kigero ekitono kasita kiba nti ogenda kugaggawala.’ Naye olw’okusigala nga ndi mwesigwa, nnina emirembe mu mutima. Ndi mumalirivu okusigala nga di mwesigwa ka kibe ki ekinaavaamu. Bakama bange bakimanyi nti sisobola kubalimba era tebasobola kunkozesa kulimba muntu mulala.”
Kiweesa Ekitiibwa
Kaori, ow’omu Japaani agamba nti: “Ebintu bwe byabula ku mulimu, mukozi munnange eyali ankulira yali ayagala nnimbe, naye ne ŋŋaana. Abaali babibbye bwe baazuulibwa, mukama wange yanneebaza olw’okuba omwesigwa. Si kyangu kubeera mwesigwa mu nsi eno ejjudde obutali bwesigwa. Kyokka bwe tusigala nga tuli beesigwa, abalala batussaamu ekitiibwa.”
Egyo gye gimu ku miganyulo egiri mu kuba abeesigwa.
a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.
-