LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bhs sul. 7 lup. 71-82
  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Read in Baibuli Ky’Eyigiriza
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OMUNTU WO BW’AFA
  • “LAAZAALO, FULUMA!”
  • “MUWALA, NKUGAMBA NTI YIMUKA”
  • BYE TUYIGIRA KU BYAWANDIIKIBWA EBYOGERA KU KUZUUKIRA
  • “BALIWULIRA EDDOBOOZI LYE NE BAVAAMU”
  • ABANAAZUUKIBWA OKUGENDA MU GGULU
  • Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Essuubi Ekkakafu
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Okuzuukira Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Waliwo Essuubi ery’Okuddamu Okulaba Abaafa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
bhs sul. 7 lup. 71-82

ESSUULA EY’OMUSANVU

Wajja Kubaawo Okuzuukira!

1-3. Ffenna tuli mu busibe ki, era Yakuwa anaatuggya atya mu busibe obwo?

KUBA akafaananyi nga bakusalidde ekibonerezo kya kusibwa mu kkomera obulamu bwo bwonna olw’omusango gw’otazza. Tolina ssuubi lyonna nti lulikya n’oteebwa, era owulira nti tolina ky’oyinza kukolawo. Naye oba okyali awo ng’onakuwadde n’okizuula nti waliwo alina obusobozi obukuggyayo mu kkomera, era ng’asuubizza okukuyamba! Owulira otya?

2 Ffenna tuli mu busibe bw’okufa. Ne bwe tukola tutya, tetuyinza kubweggyamu. Naye Yakuwa alina obuyinza okutuggya mu busibe obwo, era asuubizza nti “omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.”—1 Abakkolinso 15:26.

3 Teeberezaamu obuweerero bw’olifuna nga tokyeraliikirira nti ojja kufa! Naye Yakuwa tajja kukoma ku kuggyawo buggyi kufa, wabula ajja kuzuukiza n’abantu abaafa. Lowooza ku ngeri ekyo gye kinaakuganyulamu. Yakuwa asuubiza nti “abafu” bajja kuddamu babeere balamu. (Isaaya 26:19) Kino Bayibuli ky’eyita okuzuukira.

OMUNTU WO BW’AFA

4. (a) Kiki ekisobola okutubudaabuda nga tufiiriddwa omu ku b’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe? (b) Abamu ku baali mikwano gya Yesu be baani?

4 Bwe tufiirwa omu ku b’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe, tulumwa nnyo. Muli tuba tuwulira nga tetulina kye tuyinza kukolawo. Tuba tetusobola kuzzaawo bulamu bw’oyo aba afudde. Naye Bayibuli etubudaabuda. (Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.) Ka tulabeyo ekyokulabirako kimu ekiraga nti Yakuwa ne Yesu baagala nnyo okuzuukiza abantu baffe abaafa. Yesu bwe yali ku nsi, yateranga okukyalira Laazaalo ne bannyina, Maliza ne Maliyamu. Bonsatule abo baali mikwano gya Yesu. Bayibuli egamba nti, “Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne muganda we, era ne Laazaalo.” Naye eky’ennaku ekiseera kyatuuka Laazaalo n’afa.—Yokaana 11:3-5.

5, 6. (a) Yesu yakola ki bwe yalaba ab’eŋŋanda za Laazaalo awamu ne mikwano gye nga bakaaba? (b) Lwaki kituzzaamu nnyo amaanyi okumanya engeri Yesu gy’awuliramu ng’omuntu afudde?

5 Yesu yagenda okubudaabuda Maliza ne Maliyamu. Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, yagenda ebweru w’ekibuga okumusisinkana. Wadde nga yali musanyufu okulaba Yesu, yamugamba nti: “Singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde.” Maliza yakitwala nti Yesu yali aluddewo okutuuka. Oluvannyuma Yesu yalaba Maliyamu muganda wa Maliza ng’akaaba. Bwe yalaba nga banakuwavu, yawulira bubi nnyo, era n’akaaba. (Yokaana 11:21, 33, 35) Yawulira obulumi obw’amaanyi omuntu bw’awulira ng’afiiriddwa omuntu we gw’ayagala ennyo.

6 Okukimanya nti Yesu naye alumwa nga ffe bwe tulumwa nga tufiiriddwa, kituzzaamu nnyo amaanyi. Yesu alinga Kitaawe. (Yokaana 14:9) Yakuwa alina obuyinza okuggirawo ddala okufa, era ajja kukuggyawo mu kiseera ekitali kya wala.

“LAAZAALO, FULUMA!”

7, 8. Lwaki Maliza yali tayagala jjinja liggibwe ku ntaana Laazaalo mwe yali, naye kiki Yesu kye yakola?

7 Yesu bwe yatuuka ku ntaana omulambo gwa Laazaalo mwe gwali guteekeddwa, yasanga ku mulyango gwayo kuteekeddwako ejjinja eddene. Yesu yagamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza yali tayagala baliggyewo olw’okuba omulambo gwa Laazaalo gwali gumaze ennaku nnya mu ntaana. (Yokaana 11:39) Maliza yali tamanyi ekyo Yesu kye yali agenda okukola.

Yesu azuukiza Laazaalo, era ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye basanyuka nnyo

Ab’eŋŋanda za Laazaalo ne mikwano gye baasanyuka nnyo ng’azuukiziddwa!—Yokaana 11:38-44

8 Yesu yagamba Laazaalo nti: “Fuluma!” Ekyo Maliza ne Maliyamu kye baalaba kyali kyewuunyisa nnyo. ‘Omusajja eyali afudde yafuluma ng’ebigere bye n’emikono gye bizingiddwako engoye.’ (Yokaana 11:43, 44) Laazaalo yali azzeemu okuba omulamu! Yali agenda kuddamu okubeera awamu n’ab’omu maka ge era n’emikwano gye. Baali basobola okumukwatako n’okwogera naye. Ekyo nga kyali kyewuunyisa nnyo! Yesu yali azuukizza Laazaalo.

“MUWALA, NKUGAMBA NTI YIMUKA”

9, 10. (a) Ani yawa Yesu amaanyi agaamusobozesa okuzuukiza abantu? (b) Lwaki ebyawandiikibwa ebyogera ku kuzuukira bya muganyulo nnyo gye tuli?

9 Yesu yakozesa maanyi ge okuzuukiza abantu? Nedda. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali agenda okuzuukiza Laazaalo, yasooka kusaba Yakuwa n’amuwa amaanyi agaamusobozesa okumuzuukiza. (Soma Yokaana 11:41, 42.) Laazaalo si ye yekka eyazuukizibwa. Bayibuli eyogera ne ku muwala ow’emyaka 12 eyali omulwadde ennyo. Kitaawe Yayiro yali tamanyi kya kukola, bw’atyo ne yeegayirira Yesu awonye muwala we. Oyo ye mwana yekka gwe yalina. Bwe yali akyayogera ne Yesu, waliwo abasajja abajja ne bamugamba nti: “Muwala wo afudde! Lwaki otawaanya omuyigiriza?” Naye Yesu n’agamba Yayiro nti: “Totya, ba n’okukkiriza, muwala wo ajja kuba mulamu.” Awo Yesu n’agenda ne Yayiro. Bwe baatuuka ku nnyumba ya Yayiro, Yesu yalaba abantu abaali bakaaba. Yesu yabagamba nti: “Mulekere awo okukaaba, kubanga tafudde, wabula yeebase.” Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina bateekwa okuba nga baatandika okwebuuza Yesu kye yali ategeeza. Yesu yagamba abantu bonna bafulume ebweru, n’atwala kitaawe w’omuwala ne nnyina mu kisenge omuwala gye yali. Yesu yakwata omuwala ku mukono n’amugamba nti: “Muwala, nkugamba nti Yimuka.” Oyinza okuteeberezaamu essanyu bazadde b’omuwala lye baawulira omuwala oyo bwe yayimuka n’atandika okutambula! Baasanyuka nnyo kubanga Yesu yali azuukizza muwala waabwe. (Makko 5:22-24, 35-42; Lukka 8:49-56) Okuva ku lunaku olwo, buli lwe baalabanga muwala waabwe, bateekwa okuba nga bajjukiranga ekyo Yakuwa kye yabakolera okuyitira mu Yesu.a

10 Abo Yesu be yazuukiza oluvannyuma baddamu ne bafa. Naye bye tusoma ku bantu abo bya muganyulo nnyo gye tuli kubanga bituwa essuubi. Yakuwa ayagala okuzuukiza abantu, era ajja kubazuukiza.

BYE TUYIGIRA KU BYAWANDIIKIBWA EBYOGERA KU KUZUUKIRA

Peetero azuukiza Doluka nga waliwo n’abantu abalaba

Omutume Peetero yazuukiza omukyala Omukristaayo ayitibwa Doluka.—Ebikolwa 9:36-42

Omwana Eriya gw’azuukizza, maama we amuggwa mu kifuba

Eriya yazuukiza omwana wa nnamwandu.—1 Bassekabaka 17:17-24

11. Omubuulizi 9:5 watulaga ki ku mbeera Laazaalo gye yalimu ng’afudde?

11 Bayibuli ekiraga kaati nti “abafu tebaliiko kye bamanyi.” Bw’atyo ne Laazaalo bwe yali. (Omubuulizi 9:5) Nga Yesu bwe yagamba, Laazaalo yali ng’eyeebase otulo. (Yokaana 11:11) Laazaalo bwe yali mu ntaana, yali ‘talina ky’amanyi.’

12. Tukakasiza ku ki nti Laazaalo yazuukizibwa?

12 Yesu bwe yali azuukiza Laazaalo, waaliwo abantu bangi abaakiraba. N’abalabe ba Yesu baakitegeera nti yali akoze ekyamagero ekyo. Laazaalo yali mulamu, era obwo bwali bukakafu obulaga nti yali azuukiziddwa. (Yokaana 11:47) Ate era abantu bangi baagenda okulaba Laazaalo, n’ekyavaamu, bakkiriza nti Yesu yatumibwa Katonda. Abalabe ba Yesu tekyabasanyusa, era baakola olukwe okutta Yesu ne Laazaalo.—Yokaana 11:53; 12:9-11.

13. Kiki ekitukakasa nti Yakuwa ajja kuzuukiza abantu abaafa?

13 Yesu yagamba nti “bonna abali mu ntaana ez’ekijjukizo” bajja kuzuukizibwa. (Yokaana 5:28, obugambo obuli wansi) Ekyo kitegeeza nti abo bonna Yakuwa b’ajjukira bajja kuddamu babe balamu. Naye Yakuwa okusobola okuzuukiza omuntu, alina okuba ng’ajjukira buli kimu ekikwata ku muntu oyo. Naye ddala asobola okujjukira buli kimu ekikwata ku muntu eyafa? Lowooza ku buwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye eziri mu bwengula. Bayibuli egamba nti Yakuwa amanyi erinnya lya buli emu ku zo. (Soma Isaaya 40:26.) Bwe kiba nti Yakuwa ajjukira erinnya lya buli mmunyeenye, kiba kitegeeza nti si kizibu n’akamu gy’ali okujjukira buli kimu ekikwata ku abo bonna b’ajja okuzuukiza. N’ekisinga obukulu, Yakuwa ye yatonda buli kimu, n’olwekyo, alina obusobozi obw’okuzuukiza abantu abaafa.

14, 15. Ebigambo bya Yobu bituyigiriza ki ku kuzuukira?

14 Yobu, omusajja eyali omwesigwa, yali akkiririza mu kuzuukira. Yabuuza nti: “Omuntu bw’afa, asobola okuddamu okuba omulamu?” Oluvannyuma yagamba Yakuwa nti: “Olimpita, nange ndikuyitaba. Olyagala nnyo omulimu gw’engalo zo.” Yobu yali akimanyi nti Yakuwa yeesunga nnyo ekiseera lw’alizuukiza abantu abaafa.—Yobu 14:13-15.

15 Okukimanya nti wajja kubaawo okuzuukira kikuleetera kuwulira otya? Oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Ab’eŋŋanda zange ne mikwano gyange abaafa nabo banaazuukizibwa?’ Kitubudaabuda nnyo okukimanya nti Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abantu abaafa. Kati ka tulabe Bayibuli ky’egamba ku baani abajja okuzuukizibwa ne wa we bajja okubeera.

“BALIWULIRA EDDOBOOZI LYE NE BAVAAMU”

16. Abanaazuukizibwa okubeera ku nsi banaabeera mu mbeera ki?

16 Abo abaazuukizibwa mu biseera eby’edda baddamu ne babeera wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe wano ku nsi. Ekyo kijja kubaawo ne mu biseera eby’omu maaso, naye abo abanaazuukizibwa bajja kubeera mu mbeera nnungi nnyo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Olw’okuba ku luno abo abanaazuukizibwa bajja kuba basobola okubeera ku nsi emirembe gyonna nga tebafa. Ate era embeera eneebaawo ku nsi ejja kuba ya njawulo nnyo ku eyo eriwo leero. Ensi ejja kuba teriimu ntalo, bumenyi bw’amateeka, wadde obulwadde.

17. Baani abanaazuukizibwa?

17 Baani abanaazuukizibwa? Yesu yagamba nti ‘bonna abali mu ntaana baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.’ (Yokaana 5:28, 29) Ate Okubikkulirwa 20:13 wagamba nti: “Ennyanja n’ereeta abafu abagirimu, n’okufa n’amagombe ne bireeta abafu ababirimu.” Ekyo kiraga nti obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bajja kuzuukizibwa. Omutume Pawulo naye yagamba nti ‘abatuukirivu n’abatali batuukirivu’ bajja kuzuukizibwa. (Soma Ebikolwa 24:15.) Ekyo kitegeeza ki?

Mu lusuku lwa Katonda, abantu basanyuka okuddamu okulaba abantu baabwe abaafa

Mu Lusuku lwa Katonda, abafu bajja kuzuukizibwa baddemu okubeera n’abantu baabwe

18. ‘Abatuukirivu’ abanaazuukizibwa be baani?

18 Mu bantu “abatuukirivu” abanaazuukizibwa mwe muli n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi. Abantu nga Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Musa, Luusi, ne Eseza bajja kuzuukizibwa baddemu okubeera wano ku nsi. Osobola okusoma ku bamu ku basajja n’abakazi abo mu Abebbulaniya essuula 11. Kati ate bo abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abafa mu kiseera kyaffe? Nabo ‘batuukirivu,’ era bajja kuzuukizibwa.

19. “Abatali batuukirivu” be baani, era kakisa ki Yakuwa k’agenda okubawa?

19 Mu bantu ‘abatali batuukirivu’ abanaazuukizibwa mwe muli obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abataafuna kakisa kumanya Yakuwa. Wadde baafa, Yakuwa tabeerabiranga. Ajja kubazuukiza, era bajja kufuna akakisa okuyiga ebimukwatako n’okumuweereza.

20. Lwaki abantu abamu tebajja kuzuukizibwa?

20 Ekyo kiba kitegeeza nti abantu bonna abaafa bajja kuzuukizibwa? Nedda. Yesu yagamba nti abantu abamu tebajja kuzuukizibwa. (Lukka 12:5) Ani anaasalawo obanga omuntu asaanidde okuzuukizibwa oba tasaanidde kuzuukizibwa? Yakuwa ye Mulamuzi omukulu, naye awadde Yesu obuyinza “okuba omulamuzi w’abalamu n’abafu.” (Ebikolwa 10:42) Abantu ababi era abatali beetegefu kukyusa nneeyisa yaabwe tebajja kuzuukizibwa.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 19.

ABANAAZUUKIBWA OKUGENDA MU GGULU

21, 22. (a) Abagenda okubeera mu ggulu banaazuukizibwa na mubiri gwa ngeri ki? (b) Ani eyasooka okuzuukizibwa nga wa kubeera mu ggulu?

21 Bayibuli egamba nti abantu abamu bajja kubeera mu ggulu. Omuntu bw’azuukizibwa nga wa kubeera mu ggulu, tazuukizibwa ng’alina omubiri ogw’ennyama. Azuukizibwa ng’alina omubiri ogw’omwoyo n’atwalibwa mu ggulu.

22 Yesu ye muntu eyasooka okuzuukizibwa mu ngeri eyo. (Yokaana 3:13) Yesu bwe yattibwa, waayitawo ennaku ssatu Yakuwa n’amuzuukiza. (Zabbuli 16:10; Ebikolwa 13:34, 35) Yesu teyazuukizibwa ng’alina omubiri gwa nnyama. Omutume Peetero yagamba nti Yesu “yattibwa mu mubiri naye n’afuulibwa mulamu mu mwoyo.” (1 Peetero 3:18) Yesu yazuukizibwa ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi! (1 Abakkolinso 15:3-6) Naye Bayibuli egamba nti si ye yekka eyali ow’okuzuukizibwa mu ngeri eyo.

23, 24. Baani abali mu ‘kisibo ekitono’ Yesu kye yayogerako, era bali bameka?

23 Yesu bwe yali anaatera okufa, yagamba abayigirizwa be abeesigwa nti: “Ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.” (Yokaana 14:2) Kino kitegeeza nti abamu ku bagoberezi be ba kuzuukizibwa bagende babeere naye mu ggulu. Abanaagenda mu ggulu bali bameka? Yesu yalaga nti bandibadde batono; yabayita “ekisibo ekitono.” (Lukka 12:32) Omutume Yokaana atutegeeza omuwendo gwabwe. Agamba nti yalaba Yesu “ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni [olw’omu ggulu], ng’ali wamu ne 144,000.”—Okubikkulirwa 14:1.

24 Abo 144,000 bandizuukiziddwa ddi? Bayibuli egamba nti bandizuukiziddwa nga Yesu atandise okufuga mu ggulu. (1 Abakkolinso 15:23) Ekyo kye kiseera kye tulimu kati, era abasinga obungi ku 144,000 baamala dda okuzuukizibwa ne batwalibwa mu ggulu. Abo abakyali ku nsi mu kiseera kino, bwe bafa bazuukirirawo ne batwalibwa mu ggulu. Naye abantu abasinga obungi bajja kuzuukizibwa mu biseera eby’omu maaso babeere mu Lusuku lwa Katonda wano ku nsi.

25. Kiki kye tujja okuyiga mu ssuula eddako?

25 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kusumulula abantu bonna mu busibe bw’okufa, era okufa kujja kuggweerawo ddala! (Soma Isaaya 25:8.) Naye abo abagenda mu ggulu banaakolayo ki? Bayibuli egamba nti bajja kufuga ne Yesu mu gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda. Tujja kuyiga ebisingawo ku gavumenti eyo mu ssuula eddako.

a Mu Bayibuli mulimu ebyawandiikibwa ebirala ebyogera ku bantu abalala abaazuukizibwa, nga mu bano mwalimu abato n’abakulu, abasajja n’abakazi, Abayisirayiri n’abataali Bayisirayiri. Osobola okubasomako mu 1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37; 13:20, 21; Matayo 28:5-7; Lukka 7:11-17; 8:40-56; Ebikolwa 9:36-42; 20:7-12.

BYE TUYIZE

EKISOOKA: YAKUWA AJJA KUGGYAWO OKUFA

“Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.”—1 Abakkolinso 15:26

Bayibuli etubudaabuda etya nga tufiiriddwa?

  • 2 Abakkolinso 1:3, 4

    Bwe tufiirwa omu ku b’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe, muli tuba tuwulira nga tetulina kye tuyinza kukolawo. Naye Bayibuli etubudaabuda.

  • Isaaya 25:8; 26:19

    Yakuwa asobola okuggirawo ddala okufa. N’abaafa ajja kubazuukiza.

EKY’OKUBIRI: TULI BAKAKAFU NTI WAJJA KUBAAWO OKUZUUKIRA

“Muwala, nkugamba nti Yimuka.”—Makko 5:41

Lwaki tuli bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira?

  • Yokaana 11:1-44

    Yesu yazuukiza Laazaalo.

  • Makko 5:22-24, 35-42

    Yesu yazuukiza omuwala omuto.

  • Yokaana 11:41, 42

    Yesu yazuukiza abafu ng’akozesa amaanyi Yakuwa ge yamuwa.

  • Yokaana 12:9-11

    Abantu bangi baalaba Yesu ng’azuukiza abafu. N’abalabe ba Yesu baakitegeera nti yali asobola okuzuukiza abafu.

EKY’OKUSATU: YAKUWA AJJA KUZUUKIZA OBUWUMBI N’OBUWUMBI BW’ABANTU ABAAFA

“Olimpita, nange ndikuyitaba. Olyagala nnyo omulimu gw’engalo zo.”—Yobu 14:13-15

Baani abanaazuukizibwa?

  • Yokaana 5:28, 29

    Abo bonna Yakuwa b’ajjukira bajja kuzuukizibwa.

  • Ebikolwa 24:15

    Abatuukirivu n’abatali batuukirivu bajja kuzuukizibwa.

  • Isaaya 40:26

    Yakuwa ajjukira erinnya lya buli mmunyeenye, n’olwekyo asobola okujjukira kalonda yenna akwata ku abo b’anaazuukiza.

EKY’OKUNA: ABAMU BAZUUKIZIBWA OKUGENDA OKUBEERA MU GGULU

“Ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.”—Yokaana 14:2

Baani abazuukizibwa okugenda okubeera mu ggulu?

  • 1 Peetero 3:18

    Yesu ye yasooka okuzuukizibwa n’agenda mu ggulu.

  • Lukka 12:32

    Yesu yagamba nti abantu batono nnyo abajja okuzuukizibwa bagende babeere mu ggulu.

  • Okubikkulirwa 14:1

    Yakuwa yalonda abantu 144,000 ab’okugenda mu ggulu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share