Oluyimba 65
“Lino lye Kkubo”
1. Waliwo ekkubo,
Nga lyo lya mirembe.
Lyeryo lye wayiga,
Era nga lyava dda,
Lye kkubo eryo
Yesu lye yakulaga.
Lya mirembe
gy’Ekigambo kya Yakuwa.
(CHORUS)
’Kkubo eryo; Lidda mu bulamu.
Tolivaamu; Totunula bbali!
Katonda ’gamba: ‘Ba mu kkubo;
Todda nnyuma, Litambuliremu.’
2. Waliwo ekkubo,
Nga lyo lya kwagala.
Togenda walala;
Katonda ’tulaze.
’Kwagala kwe kungi;
Era kwa mazima.
’Kkubo lya kwagala;
Tukwatibwako nnyo.
(CHORUS)
’Kkubo eryo; Lidda mu bulamu.
Tolivaamu; Totunula bbali!
Katonda ’gamba: ‘Ba mu kkubo;
Todda nnyuma, Litambuliremu.’
3. Waliwo ekkubo,
Nga lyo lya bulamu.
Katonda ’tugamba:
Teri lirisinga,
Lino lya mirembe,
Lino lya kwagala.
Lino lya bulamu;
Twebaze Katonda.
(CHORUS)
’Kkubo eryo; Lidda mu bulamu.
Tolivaamu; Totunula bbali!
Katonda ’gamba: ‘Ba mu kkubo;
Todda nnyuma, Litambuliremu.’
(Era laba Zab. 32:8; 139:24; Nge. 6:23.)