-
Okusoma Ebyawandiikibwa ng’Oggumiza AwasaaniraGanyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
-
-
ESSOMO 21
Okusoma Ebyawandiikibwa ng’Oggumiza Awasaanira
BW’OBA obuulira abalala ku bigendererwa bya Katonda ng’oli mu nnimiro oba ng’owa emboozi ku pulatifomu, by’oyogera bisaanidde okwesigamizibwa ku Kigambo kya Katonda. Kino kizingiramu okusoma obulungi Ebyawandiikibwa.
Okuggumiza Obulungi Kizingiramu Okwoleka Enneewulira. Olina okulaga enneewulira etuukagana n’Ebyawandiikibwa by’oba osoma. Lowooza ku byokulabirako bino. Ng’osoma Zabbuli 37:11, mu ddoboozi eriwulikika, eddoboozi lyo lirina okulaga nti weesunga emirembe egisuubizibwa mu lunyiriri olwo. Bw’oba osoma Okubikkulirwa 21:4, awoogera ku nkomerero y’okubonaabona n’okufa, eddoboozi lyo lisaanidde okulaga nti weesunga ekiseera ekyo eky’ekitalo. Okubikkulirwa 18:2, 4, 5, awatukubiriza okufuluma mu “Babulooni Ekinene,” walina okusomebwa mu ddoboozi eriraga nti kino kirina okukolebwa mu bwangu. Kya lwatu, enneewulira gye twoleka nga tusoma erina okuba ng’etuukirawo bulungi. Enneewulira etuukirawo esinziira ku bigambo by’oba osoma mu kyawandiikibwa era n’amakulu ge kiwa.
Ggumiza Ebigambo Ebituufu. Singa wabaawo ebigambo by’oyagala okussaako essira mu kyawandiikibwa, bisome ng’obiggumiza. Ng’ekyokulabirako, bw’oba osoma Matayo 6:33, tojja kuggumiza bigambo “n’obutuukirivu bwe” oba “ebyo byonna,” bw’onooba oyagala kunnyonnyola kye kitegeeza “okusooka okunoonya obwakabaka.”
Bw’oba olina ekitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, oyinza okwagala okusoma Matayo 28:19. Bigambo ki by’olina okuggumiza? Bw’oba ng’oyagala kukubiriza ab’oluganda okufuna be bayigiriza Baibuli, ggumiza ebigambo “mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Ku luuyi olulala, bw’oba oteekateeka kwogera ku buvunaanyizibwa bw’Omukristaayo obw’okubuulira abagwira amazima ga Baibuli, oba okukubiriza ababuulizi abamu okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako, oyinza okuggumiza ebigambo “amawanga gonna.”
Emirundi mingi, ekyawandiikibwa kikozesebwa okuddamu ekibuuzo omuntu ky’aba abuuzizza oba okukakasa ensonga abalala gye bawakanya. Singa oggumiza buli kigambo ekiri mu kyawandiikibwa, abakuwuliriza bayinza okulemererwa okutegeera ensonga gy’oyagala okussaako essira. Ensonga gy’oyagala okubalaga mu byawandiikibwa oyinza okuba nga ggwe ogitegeera bulungi, naye bo bayinza obutagitegeera.
Ng’ekyokulabirako, bw’oba osoma Zabbuli 83:18, mu Baibuli erimu erinnya lya Katonda, n’oggumiza ebigambo “oli waggulu nnyo,” omuntu gw’osomera ayinza obutategeera linnya lya Katonda eriri mu lunyiriri olwo. Olina okuggumiza erinnya “Yakuwa.” Kyokka, bw’oba okozesa ekyawandiikibwa kye kimu okunnyonnyola ebikwata ku bufuzi bwa Yakuwa, olina okuggumiza ebigambo “oli waggulu nnyo.” Mu ngeri y’emu, bw’oba okozesa Yakobo 2:24 okulaga nti kikulu okuba n’okukkiriza okuliko ebikolwa, bw’oggumiza ebigambo “aweebwa obutuukirivu” mu kifo ky’ekigambo “bikolwa,” kiyinza okuleetera abamu ku bakuwuliriza obutakitegeera.
Ekyokulabirako ekirala ekirungi kisangibwa mu Abaruumi 15:7-13. Ennyiriri ezo kitundu kya bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira ekibiina ekyalimu ab’Amawanga n’Abayudaaya. Mu nnyiriri ezo omutume annyonnyola nti obuweereza bwa Kristo tebuganyula Bayudaaya bakomole bokka naye era buganyula n’ab’Amawanga, ne kiba nti nabo basobola ‘okuwa Katonda ekitiibwa olw’okusaasira.’ Awo Pawulo n’alyoka ajuliza ebyawandiikibwa bina, okulaga nti ab’amawanga balina enkizo eyo. Wandisomye otya ennyiriri ezo okusobola okuggumiza ensonga Pawulo gye yalina mu birowoozo? Osobola okuggumiza ebigambo “ab’Amawanga” mu lunyiriri 9, “mmwe ab’amawanga” mu lunyiriri 10, “mmwe ab’amawanga mwenna” ne “ebika byonna” mu lunyiriri 11, era ne “ab’amawanga” mu lunyiriri 12. Gezaako okusoma Abaruumi 15:7-13 ng’oggumiza ebigambo ebyo. Bw’okola bw’otyo, ensonga Pawulo gye yali annyonnyola etegeerekeka bulungi.
Engeri ez’Enjawulo ez’Okuggumizaamu. Ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu bisobola okuggumizibwa mu ngeri eziwerako. Engeri gy’oggumizaamu erina okuba ng’etuukagana bulungi n’ekyawandiikibwa awamu n’ekigendererwa ky’emboozi. Engeri ezimu ez’okuggumiza ze zino wammanga.
Okukyusakyusa mu ddoboozi osobole okuggyayo amakulu. Kino osobola okukikola ng’oyongeza ku ddoboozi oba ng’olikendeezaako. Mu nnimi nnyingi osobola okweyambisa engeri eno okuggumiza. Naye ate mu nnimi ezimu, ekyo kiyinza okukyusiza ddala amakulu g’ebigambo. Ate era okusobola okuggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu, oyinza okukendeeza ku sipiidi ng’obisoma. Bwe kiba nti mu lulimi lw’oyogera tekisoboka kuggumiza bigambo ebimu mu ngeri eno, kijja kukwetagisa okukozesa engeri endala yonna etera okweyambisibwa mu lulimi olwo okusobola okuggumiza ensonga gy’oyagala.
Okusiriikiriramu. Osobola okusiriikiriramu nga tonnasoma nsonga nkulu eri mu kyawandiikibwa oba oluvannyuma lw’okugisoma, oba oyinza okukola byombi. Okusiriikiriramu nga tonnasoma nsonga nkulu kireetera abakuwuliriza okwekkaanya ekiddako, ate okusiriikiriramu ku nkomerero kiggumiza ebyo ebiba bisomeddwa. Kyokka, bw’osiriikiriramu wano na wali, tewajja kubaawo nsonga evaayo.
Okuddamu ebigambo. Oyinza okuggumiza ensonga enkulu singa oddamu n’osoma ekigambo oba ebigambo ebiggyayo ensonga. Abasinga kye batera okukola, kwe kusoma ekyawandiikibwa kyonna ate oluvannyuma ne baddamu okusoma ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu.
Obubonero. Osobola okukozesa obubonero okuggumiza ebigambo by’oyogera.
Eddoboozi erisaanira. Mu nnimi ezimu, eddoboozi ly’okozesa ng’osoma lisobola okuggyayo amakulu era ne lyawula ebigambo ebimu ku binnaabyo. Kyokka era obwegendereza bwetaagisa, naddala singa ebigambo by’oba osoma biba bikiina.
Omulala bw’Aba nga y’Asomye Ekyawandiikibwa. Nnyinimu bw’aba nga y’asomye ekyawandiikibwa, ayinza okuggumiza ebigambo ebikyamu oba n’obutaggumizayo n’ekimu. Kati olwo wandikoze ki? Kiba kirungi okusooka okunnyonnyola ensonga lwaki ekyawandiikibwa ekyo kisomeddwa. Ng’omaze okuginnyonnyola, oyinza okumulaga ebigambo ebiggyayo amakulu gennyini agali mu kyawandiikibwa.
-
-
Okunnyonnyola Obulungi EbyawandiikibwaGanyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
-
-
ESSOMO 22
Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa
BWE tuba tuyigiriza abalala, twetaaga okukola ekisingawo ku kubasomera obusomezi ennyiriri okuva mu Baibuli. Omutume Pawulo bw’ati bwe yawandiikira mukwano gwe Timoseewo: ‘Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’—2 Tim. 2:15.
Okusobola okukola ekyo, tulina okunnyonnyola ebyawandiikibwa mu ngeri etuukagana n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Mu kifo ky’okumala galonda ebigambo ebikusanyusizza oba okunnyonnyola okusinziira ku ndowooza yaffe, kyandibadde ky’amagezi ne tusooka okwetegereza ennyiriri eziriraanyewo. Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yalabula abantu be ku bannabbi abaali bagamba nti boogera ebiva eri Katonda kyokka nga mu butuufu baali boogera ‘biva mu mitima gyabwe.’ (Yer. 23:16) Ng’alabula Abakristaayo obutayingiza ndowooza z’abantu mu Kigambo kya Katonda, omutume Pawulo yawandiika bw’ati: “Twagaana eby’ensonyi ebikisibwa, nga tutambulira mu bukuusa, so tetukyamya Kigambo kya Katonda.” Mu biseera ebyo abatunzi b’omwenge abataali beesigwa baasaabululanga omwenge gwe batunda basobole okufuna amagoba amangi. Ffe tetusaabulula Kigambo kya Katonda nga tutabikamu obufirosoofo bw’abantu. Pawulo yagamba bw’ati: ‘Tetuli nga bali abasinga obungi abatabanguzi b’ekigambo kya Katonda: naye twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo.’—2 Kol. 2:17; 4:2.
Emirundi egimu, oyinza okujuliza ekyawandiikibwa ng’oyagala kulaga omusingi ogukirimu. Baibuli erimu emisingi mingi egituwa obulagirizi mu bintu eby’enjawulo. (2 Tim. 3:16, 17) Kakasa nti okozesa ekyawandiikibwa mu butuufu bwakyo mu kifo ky’okukinnyonnyola ng’oyagala kituukane n’ekyo ky’oyagala okwogera. (Zab. 91:11, 12; Mat. 4:5, 6) Engeri gy’okinnyonnyolamu erina okuba ng’etuukagana n’ekigendererwa kya Yakuwa, era n’Ekigambo kya Katonda kyonna awamu.
Ate era ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima’ kikwetaagisa okumanya obulungi Baibuli ky’egamba. Teri nga “muggo” ogw’okukubisa abalala. Bannaddiini abaawakanya Yesu Kristo baajulizanga Ebyawandiikibwa kyokka ne babuusa amaaso ebintu ebisinga obukulu mu maaso ga Katonda gamba ng’okulaga obwenkanya, ekisa era n’obwesigwa. (Mat. 22:23, 24; 23:23, 24) Yesu yayoleka engeri za Kitaawe bwe yali ayigiriza Ekigambo kya Katonda. Yanyiikira okubuulira amazima era n’alaga nti yali ayagala nnyo abantu be yali ayigiriza. Twandifubye okukoppa ekyokulabirako kye.—Mat. 11:28.
Biki ebiyinza okutuyamba okukozesa obulungi ekyawandiikibwa? Okusoma Baibuli obutayosa kijja kutuyamba. Ate era twetaaga okusiima enteekateeka Yakuwa gy’ataddewo ‘ey’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mw’ayitira okugabula emmere ey’eby’omwoyo abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza. (Mat. 24:45) Bwe tuba ab’okuganyulwa mu mmere gye tufuna okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, tulina okwesomesa, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa awamu n’okuzeenyigiramu.
Akatabo Reasoning From the Scriptures bwe kabaawo mu lulimi lwo, nako kayinza okukuyamba. Bw’oyiga okukakozesa obulungi ojja kusobola okumanya engeri y’okukozesa obulungi ebyawandiikibwa bye tutera okukozesa mu nnimiro. Bwe wabaawo ekyawandiikibwa ky’oyagala okukozesa naye nga tokitegeera bulungi, kinoonyerezeeko osobole okukikozesa obulungi.—Nge. 11:2.
Mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi. Bw’oba oyigiriza abalala, kakasa nti bategeera bulungi engeri ekyawandiikibwa ky’okozesezza gye kikwatagana n’ensonga gy’oyogerako. Singa obuuza ekibuuzo nga tonnasoma kyawandiikibwa, abakuwuliriza basaanidde okulaba engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kiddamu ekibuuzo ekyo. Ate singa okozesa ekyawandiikibwa okuwagira ky’oba oyogedde, kakasa nti omuyizi ategeera bulungi engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kikakasaamu ekintu ekyo.
Tekimala okusoma obusomi ekyawandiikibwa k’obeere ng’osoma oggumiza. Kijjukire nti, abantu abasinga obungi tebamanyi nnyo biri mu Baibuli, era bayinza obutategeera nsonga yo ng’obasomedde ekyawandiikibwa omulundi ogusooka. Bayambe okwetegereza ekitundu mu kyawandiikibwa ky’osomye ekiggyayo obulungi ensonga gy’oyagala bategeere.
Okusobola okukola ekyo kiba kikwetaagisa okuggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga gy’oba omunnyonnyola. Engeri esingayo obwangu ey’okukikolamu kwe kuddamu n’osoma ebigambo ebiggyayo amakulu. Singa oba oyogera n’omuntu, oyinza okumubuuza ebibuuzo ebinaamuyamba okulaba ebigambo ebiggyayo amakulu. Aboogezi abamu bwe baba boogera eri abantu abawerako, bakozesa ebigambo ebirala ebitegeeza ekyo kye baagala kitegeerekeke mu kyawandiikibwa ekisomeddwa oba baddamu okwogera ebigambo ebirimu ebiggyayo ensonga enkulu. Naawe bw’osalawo okukola bw’otyo, kakasa nti abakuwuliriza balaba nti ekyawandiikibwa kikwatagana bulungi n’ensonga gy’oyogerako.
Bw’omala okutegeera ebigambo ebyetaaga okuggumizibwa mu kyawandiikibwa, ojja kuba osobola okukinnyonnyola obulungi. Kati weebuuze: Mu kukyanjula, nnalaze bulungi ensonga lwaki tugenda kukisoma? Bw’oba nga wagiraze, laga engeri ebigambo by’oyagala okuggumiza gye bikwataganamu n’ekyo ky’oyagala abakuwuliriza bategeere. Laga bulungi engeri gye bikwataganamu. Ne bwe kiba nti tewayanjudde kyawandiikibwa mu ngeri eyo, olina okulaga engeri gye kituukaganamu ne by’oyogera.
Abafalisaayo baabuuza Yesu ekibuuzo kye baali basuubira nti kinaamuzibuwarira okuddamu. Bamubuuza nti: “Omuntu ayinza okugoba mukazi we okumulanga buli kigambo?” Yesu yabaddamu ng’ajuliza Olubereberye 2:24. Weetegereze nti yassa essira ku bigambo ebyo byokka ebyali biddamu ekibuuzo kyabwe. Ng’amaze okubalaga nti abantu bwe bafumbiriganwa bafuuka “omubiri gumu,” Yesu yawunzika ng’agamba: “Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.”—Mat. 19:3-6.
Ekyawandiikibwa osaanidde kukinnyonnyola kwenkana wa okusobola okuggyayo obulungi amakulu? Kino kisinziira ku bakuwuliriza kye bamanyi ku nsonga gy’oyogerako era ne ku bukulu bwayo. Kinnyonnyole mu ngeri ennyangu era ng’otuukira ddala ku nsonga.
Kubaganya Ebirowoozo n’Abalala nga Weeyambisa Ebyawandiikibwa. Ebikolwa by’Abatume 17:2, 3 walaga nti omutume Pawulo bwe yali mu buweereza e Ssessaloniika, ‘yakubaganya ebirowoozo n’abalala nga yeeyambisa Ebyawandiikibwa.’ Kino buli muweereza wa Yakuwa asaanidde okumanya engeri y’okukikolamu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yayogera ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, era n’alaga nti bino by’ali byalagulwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, oluvannyuma n’alyoka afundikira ng’agamba nti: “Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo.”
Bwe yali awandiikira Abebbulaniya, Pawulo yajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi mingi. Okusobola okuggumiza oba okunnyonnyola obulungi ensonga, yanokolangayo ekigambo oba ebigambo ebiwerako ate oluvannyuma n’annyonnyola amakulu gaabyo. (Beb. 12:26, 27) Mu Abebbulaniya essuula 3, Pawulo yajuliza Zabbuli 95:7-11. Weetegereze nti yanokolayo ebintu bisatu mu nnyiriri ezo: (1) omutima (Beb. 3:8-12), (2) ekigambo “Leero” (Beb. 3:7, 13-15; 4:6-11), ne (3) ebigambo: “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange” (Beb. 3:11, 18, 19; 4:1-11). Gezaako okukola nga Pawulo ng’onnyonnyola ebyawandiikibwa.
Weetegereze engeri Yesu gye yakozesaamu obulungi Ebyawandiikibwa mu Lukka 10:25-37. Omuyigiriza w’Amateeka omu yamubuuza: “Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Ng’addamu omusajja oyo, Yesu yasooka kumubuuza ye ky’alowooza, oluvannyuma n’amulaga obukulu bw’okukola ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba. Yesu bwe yalaba nti omusajja oyo tategedde ky’amugambye, yanokolayo ekigambo kimu mu kyawandiikibwa—“muliraanwa,” era n’akimunnyonnyola bulungi. Mu kifo ky’okuwa obuwi amakulu gaakyo, yagera olugero okusobola okumuyamba okutuuka ku nsonga gye yali ayogerako.
Kya lwatu nti Yesu bwe yabanga addamu ebibuuzo, teyajulizanga bujuliza byawandiikibwa ebiwa eky’okuddamu obutereevu. Yasokanga kulaga kye bigamba, n’oluvannyuma n’abikwataganya n’ekibuuzo ekyabanga kimubuuziddwa.
Bwe yali ng’ayogera n’Abasaddukayo abaali bawakana nti teri kuzuukira, Yesu yaddamu ng’ajuliza ebimu ku bigambo ebiri mu Okuva 3:6. Naye teyakoma ku kujuliza bujuliza kyawandiikibwa ekyo. Wabula yakikozesa okubalaga nti okuzuukiza abafu kimu ku ebyo ebiri mu nteekateeka ya Katonda.—Mak. 12:24-27.
Bw’oyiga okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa ojja kufuuka omuyigiriza omulungi.
-
-
Okulaga Omuganyulo gw’Ebyo by’OyogerakoGanyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
-
-
ESSOMO 23
Okulaga Omuganyulo gw’Ebyo by’Oyogerako
K’OBEERE ng’oyogera na muntu omu oba eri ekibiina ky’abantu, tekiba kya magezi kusuubira nti abakuwuliriza bajja kwagala ky’oyogerako olw’okuba gwe okyagala. Obubaka bwo bukulu nnyo, naye singa olemererwa okubalaga omuganyulo ogubulimu, oboolyawo, tebajja kussaayo birowoozo byabwe kumala kiseera ekiwanvu.
Bwe kityo bwe kiba k’obeere ng’oyogera eri abantu mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bayinza okussaayo omwoyo bw’okozesa ekyokulabirako oba bw’obategeeza ekintu kye batawulirangako. Naye singa oyogera ku bintu bye bamanyi kyokka n’otobigaziyaako, bayinza obutassaayo birowoozo. Weetaaga okubayamba okutegeera ensonga lwaki by’oyogerako bya muganyulo era n’engeri gye biyinza okubaganyulamu.
Baibuli etukubiriza okulowooza mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 3:21) Yakuwa yakozesa Yokaana Omubatiza okuyamba abantu okutambuliranga mu “magezi ag’abatuukirivu.” (Luk. 1:17) Ago ge magezi agasibuka mu kutya Yakuwa. (Zab. 111:10) Abo abasiima amagezi gano bayambibwa ne basobola okwaŋŋanga embeera y’obulamu obw’omu kiseera kino era n’okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.—1 Tim. 4:8; 6:19.
Okutegeka Emboozi Eganyula. Emboozi yo bw’eba ey’okuganyula abawuliriza, tokoma ku kulowooza ku by’ogenda kwogera byokka, naye era lowooza ne ku abo abagenda okukuwuliriza. Tobalowoozaako wamu ng’ekibiina. Kubanga mu abo abagenda okukuwuliriza mulimu abantu kinnoomu n’amaka ag’enjawulo. Muyinza okubaamu abaana abato, abavubuka, abantu abakulu ne bannamukadde. Ate era muyinza okubaamu abappya awamu n’abo abaatandika edda okuweereza Yakuwa nga naawe tonnazaalibwa. Abamu bayinza okuba nga bakulu mu by’omwoyo; ate abalala bayinza okuba nga tebannaba kwekutulira ddala ku nsi n’empisa zaayo. Weebuuze: ‘Bye ŋŋenda okwogerako binaabaganyula bitya? Nnyinza ntya okubayamba okutegeera bye ŋŋenda okwogerako?’ Oyinza okusalawo okussa essira ku kibinja kimu oba bibiri eby’abantu abo aboogeddwako waggulu. Naye, n’abalala tobasuula muguluka.
Kiba kitya singa osabibwa okwogera ku emu ku njigiriza enkulu ez’omu Baibuli? Osobola otya okutegeka emboozi yo mu ngeri eneeganyula n’abo abamanyi obulungi enjigiriza eyo? Fuba okubayamba okweyongera okukakasa nti enjigiriza eyo ntuufu. Mu ngeri ki? Ng’owa obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obuwagira enjigiriza eyo. Era osobola n’okubayamba okweyongera okutegeera enjigiriza ya Baibuli eyo. Kino oyinza okukikola ng’olaga engeri enjigiriza eyo gy’ekwataganamu n’enjigiriza endala ez’omu Baibuli era n’engeri za Yakuwa kennyini. Kozesa ebyokulabirako ebiraga engeri okutegeera enjigiriza eyo gye kiganyuddemu abantu era ne kinyweza n’essuubi lyabwe ery’omu biseera eby’omu maaso.
Omuganyulo oguli mu ebyo by’oyogera tegulina kulagirwa mu kufundikira mwokka. Okuviira ddala ku ntandikwa y’emboozi yo, buli omu ku abo abakuwuliriza alina okuwulira nti by’oyogera ‘bimukwatako.’ Era weeyongere okubalaga engeri by’oyogerako gye bibakwatako ng’ogaziya buli nsonga nkulu eri mu mboozi ate era ne mu kufundikira.
Bw’oba obalaga engeri ebyo by’oyogerako gye bibakwatako, kakasa nti okikola mu ngeri etuukana n’emisingi gya Baibuli. Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti olina okukikola mu ngeri ey’okwagala era eraga nti ofaayo. (1 Peet. 3:8; 1 Yok. 4:8) Bwe yali ng’akola ku bizibu eby’amaanyi mu Ssessaloniika, omutume Pawulo yayogera ne ku ngeri baganda be Abakristaayo gye baali bakulaakulana mu by’omwoyo. Ate era yayoleka obwesige nti ne mu nsonga eyali eyogerwako, ab’oluganda abo baali baagala okukola ekituufu. (1 Bas. 4:1-12) Ekyo nga kyakulabirako kirungi nnyo eky’okukoppa!
Mu mboozi yo oyagala kukubiriza balala kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza amawulire amalungi? Bayambe okubeera abanyiikivu era n’okusiima enkizo eyo. Kyokka, mu kukola ekyo, kijjukire nti abantu balina obusobozi bwa njawulo era ne Baibuli bw’etyo bw’egamba. (Mat. 13:23) Toyogera na ba luganda ng’olinga abavunaana omusango. Abebbulaniya 10:24 watukubiriza ‘okwoleka okwagala n’ebikolwa ebirungi.’ Singa tukubiriza abalala okuba n’okwagala, bye banaakola bajja kubikola nga balina ebiruubirirwa ebirungi. Mu kifo ky’okubalagira obulagizi kye balina okukola, kitegeere nti Yakuwa ayagala ‘tumugondere olw’okukkiriza.’ (Bar. 16:26) Ekyo bwe tukimanya, tufuba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwa baganda baffe.
Okuyamba Abalala Okulaba Omugaso Oguli mu Bubaka Bwaffe. Ng’obuulira abalala, tolema kubalaga engeri amawulire amalungi gye gabaganyulamu. Okusobola okukola ekyo, kikwetaagisa okumanya ebintu abali mu kitundu kyo bye balowoozaako ennyo. Osobola otya okubimanya? Wuliriza amawulire ku rediyo oba ku ttivi. Tunuulira emitwe gy’empapula z’amawulire. Fuba okutandika emboozi n’abantu, era owulirize bulungi nga boogera. Oyinza okukizuula nti waliwo ebizibu eby’amaanyi ebibanyiga, gamba ng’okufiirwa omulimu, okusasula ebisale by’amayumba, obulwadde, okufiirwa omwagalwa, ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya obubatuusiddwako omuntu ali mu buyinza, okusasika kw’obufumbo, okulabirira abaana, n’ebirala bingi. Baibuli esobola okubayamba? Awatali kubuusabuusa esobola.
Bw’otandika emboozi n’omuntu, oba ne ky’oyagala mwogereko. Kyokka, singa omuntu akulaga nti waliwo ensonga endala gye yandyagadde mwogereko, tolonzalonza kwogera ku nsonga eyo bw’oba ng’osobola, oba mutegeeze nti ojja kuddayo omunnyonnyole ebikwata ku nsonga eyo. Kya lwatu, ‘tetweyingiza mu nsonga z’abantu ezitatukwatako,’ naye tubategeeza ebiri mu Baibuli ebisobola okubaganyula. (2 Bas. 3:11) Awatali kubuusabuusa, ekisinga okusikiriza abantu, bwe bubaka obuli mu Baibuli obukwatira ddala ku bulamu bwabwe.
Singa abantu tebalaba ngeri bubaka bwaffe gye bubakwatako, bayinza obuteeyongera kussaayo birowoozo byabwe. Ne bwe batuleka okweyongera okwogera, kyokka ne tulemererwa okubalaga engeri bye twogerako gye bibakwatako, tebajja kuganyulwa. Singa tubalaga bulungi engeri obubaka bwaffe gye bubaganyulamu, bye twogerako biyinza okubaleetera okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe.
Bw’oba oyigiriza abantu Baibuli, weeyongere okubalaga engeri by’obayigiriza gye bibakwatako. (Nge. 4:7) Yamba b’oyigiriza okutegeera okubuulirira okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, emisingi egirimu, awamu n’ebyokulabirako ebibalaga engeri gye bayinza okutambulira mu makubo ga Yakuwa. Yogera ku miganyulo egiva mu kukola ekyo. (Is. 48:17, 18) Ekyo kijja kukubiriza abayizi bo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwabwe. Bayambe okwagala Yakuwa era n’okwagala okukola ebimusanyusa, ekyo kye kijja okubasobozesa okussa mu nkola okubuulirira okuva mu Kigambo kya Katonda.
-