LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwyp sul. 69
  • Lwaki Nnandisabye?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Nnandisabye?
  • Abavubuka Babuuza
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okusaba kye ki?
  • Katonda awulira okusaba?
  • Biki bye nnyinza okwogerako nga nsaba?
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Engeri gy’Oyinza Okusembereramu Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Abavubuka Babuuza
ijwyp sul. 69
Omuwala ng’atudde ku lubalama lw’ennyanja

ABAVUBUKA BABUUZA

Lwaki Nsaanidde Okusaba?

Abavubuka bangi bagamba nti basaba, naye ekyo tebakikola buli lunaku. Abamu beebuuza obanga okusaba kintu ekikolebwa omuntu okusobola okuwulira obuwulizi obulungi, oba nti kisingawo ku ekyo.

  • Okusaba kye ki?

  • Katonda awulira okusaba?

  • Biki bye nnyinza okwogerako nga nsaba?

  • Bavubuka banno kye bagamba

Okusaba kye ki?

Okusaba kwe kwogera n’Omutonzi w’ebintu byonna. Kirowoozeeko, Yakuwa asingira wala abantu, kyokka “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Mu butuufu, Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8.

Oyinza otya okusemberera Katonda?

  • Engeri emu gy’oyinza okusemberera Katonda, kwe kumusaba. Era eyo ye ngeri gy’oyogeramu naye.

  • Engeri endala kwe kusoma Bayibuli. Era awo Katonda aba ayogera naawe.

Bw’owuliziganya ne Katonda okuyitira mu kusaba n’okusoma Bayibuli, ojja kufuuka mukwano gwe.

“Okwogera ne Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, ye nkizo esinga zonna omuntu gy’ayinza okufuna.”​—Jeremy.

“Okubuulira Yakuwa ebindi ku mutima kindeetera okuwulira nga ndi kumpi naye.”​—Miranda.

Katonda awulira okusaba?

Wadde ng’okkiririza mu Katonda era ng’omusaba, kiyinza okukuzibuwalira okukikkiriza nti awulira okusaba kwo. Kyokka Bayibuli Yakuwa emuyita oyo “Awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Ate era Bayibuli ekugamba ‘okumukwasa byonna ebikweraliikiriza.’ Lwaki? ‘Kubanga akufaako.’​—1 Peetero 5:7.

Eky’okulowoozaako: Otera okwogera ne mikwano gyo? Osobola okukola kye kimu n’eri Katonda. Musabe buli lunaku ng’okozesa erinnya lye, Yakuwa. (Zabbuli 86:5-7; 88:9) Mu butuufu, Bayibuli ekugamba nti “musabenga obutayosa.”​—1 Abasessalonika 5:17.

“Bwe nsaba, mba njogera ne Kitange ow’omu ggulu, era mmubuulira byonna ebindi ku mutima.”​—Moises.

“Mbuulira Yakuwa byonna ebindi ku mutima nga bwe nnandibibuulidde maama wange oba mukwano gwange ow’oku lusegere.”​—Karen.

Biki bye nnyinza okwogerako nga nsaba?

Bayibuli egamba nti: “Mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”​—Abafiripi 4:6.

Ekyo kitegeeza nti bw’oba osaba osobola okubuulira Katonda ebizibu byo? Yee! Mu butuufu, Bayibuli egamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga.”​—Zabbuli 55:22.

Kyo kituufu nti bw’oba osaba, tosaanidde kwogera ku bizibu byo byokka. Omuwala ayitibwa Chantelle agamba nti: “Yakuwa teyandibadde mukwano gwange wa nnamaddala singa nnali mmubuulira bizibu byange byokka. Mpulira nti nnina kusooka kumwebaza, era eby’okumwebaza mbirina.”

Eky’okulowoozaako: Biki Yakuwa by’akukoledde by’osaanidde okumwebaza? Osobola okulowoozaayo ku bintu bisatu Yakuwa by’akukoledde leero by’osobola okumwebaza?

“N’ekintu ekitono ennyo, gamba ng’ekimuli ekikulabikidde obulungi, osobola okukyebaliza Yakuwa.”​—Anita.

“Lowooza ku kintu kimu Yakuwa kye yatonda ekikusanyusa oba olunyiriri mu Bayibuli olukukutteko, weebaze Yakuwa.”​—Brian.

Bavubuka banno kye bagamba

Moises

“Yakuwa ayagala tumubuulire byonna ebituli ku mutima. Yakuwa ayagala okutuyamba wadde ng’amanyi bye twetaaga nga tetunnaba na kumusaba. Bwe tumubuulira byonna ebituli ku mutima, kiraga nti tumwesiga.”​—Moises.

Miranda

“Okusaba kulinga omuguwa; nga Yakuwa akutte oludda olumu nga naawe okutte oludda olulala. Bwe mbuulira Yakuwa ebindi ku mutima, mbeera ng’akutte oludda olumu olw’omuguwa nga ndunywezezza era nga ne Yakuwa akutte oludda olulala. Ekyo kindeetera okuwulira nga nnina enkolagana ey’oku lusegere naye.”​—Miranda.

Jeremy

“Bwe tuteegendereza, tuyinza okwesanga nga Yakuwa tumusaba busabi bye twagala. Bwe twebaza Yakuwa mu ssaala zaffe, kituyamba okusiima ebintu ebirungi ebingi by’atukoledde era kituyamba obuteerowoozaako ffekka nga tusaba.”​—Jeremy.

Shelby

“Gye tukoma okwebaza Yakuwa, gye tukoma okusiima by’atukolera. Bwe twebaza Yakuwa kituleetera okussa ebirowoozo ku mikisa gy’atuwa, mu kifo ky’okubissa ku bizibu bye tulina.”​—Shelby.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share