OLUYIMBA 4
“Yakuwa Ye Musumba Wange”
1. Yakuwa Musumba wange
Era mmugoberera.
Amanyi byonna bye nneetaaga;
Amanyi bye njagala.
Antegekera emmeeza
Okuli ebirungi.
Okwagala kwe kwa lubeerera.
Nnin’e mirembe mingi.
’Kwagala kwe kwa lubeerera.
Nnin’e mirembe mingi.
2. Amakubo go malungi;
Go ga butuukirivu.
Kyenva ngatambuliramu nze
Nga ndi mumalirivu.
Ne bwe mba mu kizikiza,
Omuggo gwo guŋŋumya.
Ggwe Mukwano gwange asingayo,
Siityenga kabi konna.
Ggwe Mukwano gwang’a singayo,
Siityenga kabi konna.
3. Yakuwa oli mulungi;
Nja kukugoberera.
Ggw’ompa amaanyi; ggw’ompummuza;
Bye nneetaaga ggw’obimpa.
Essuubi lyange kkakafu
Kubanga weesigika.
Ekisa ky’ondaga n’okwagala,
Ka bingobererenga.
’Kisa ky’ondaga n’okwagala,
Ka bingobererenga.
(Laba ne Zab. 28:9; 80:1.)