LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 272-lup. 281 kat. 4
  • Obubaka Bwe Tulina Okubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obubaka Bwe Tulina Okubuulira
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘MUTYE KATONDA OW’AMAZIMA ERA MUKWATE EBIRAGIRO BYE’
  • ‘OKUWA OBUJULIRWA KU YESU’
  • “ENJIRI ENO EY’OBWAKABAKA”
  • Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 272-lup. 281 kat. 4

Obubaka Bwe Tulina Okubuulira

Yakuwa atuwadde obuvunaanyizibwa n’enkizo ey’ekitalo, ng’agamba: “Mmwe muli bajulirwa bange, . . . nange ndi Katonda.” (Is. 43:12) Tetuli bubeezi bakkiriza, naye era tulangirira amazima agali mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Bubaka ki bwe tuweereddwa okulangirira mu kiseera kyaffe? Bwebwo obukwata ku Yakuwa Katonda, Yesu Kristo, n’Obwakabaka bwa Masiya.

‘MUTYE KATONDA OW’AMAZIMA ERA MUKWATE EBIRAGIRO BYE’

EDDA ennyo ng’Obukristaayo tebunnabaawo, Yakuwa yabuulira Ibulayimu ebikwata ku nteekateeka ey’okuwa “amawanga gonna ag’omu nsi” omukisa. (Lub. 22:18) Ate era yaluŋŋamya Sulemaani okuwandiika ekintu ekikulu abantu bonna kye balina okukola: ‘Okutya Katonda ow’amazima n’okukwata ebiragiro bye. Kubanga ekyo kye kigwanira omuntu.’ (Mub. 12:13) Naye abantu ab’omu mawanga gonna bandiyize batya ebintu bino?

Wadde ng’ebbanga lyonna wabaddewo abantu abamu abakkiririza mu kigambo kya Katonda, Baibuli ekyoleka bulungi nti okubunyisa amawulire amalungi mu mawanga gonna, kwandibaddewo mu kiseera ‘ky’olunaku lwa Mukama waffe.’ Ekiseera kino kyatandika mu 1914. (Kub. 1:10) Ku bikwata ku kiseera kino, Okubikkulirwa 14:6, 7 zaalagula nti obubaka buno obukulu obwandibuuliddwa wansi w’obulagirizi bwa malayika bwandituuse mu “buli ggwanga, n’ekika, n’olulimi, n’abantu.” Abantu bandibadde bakubirizibwa nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse, mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.” Katonda ayagala obubaka buno bubuulirwe. Tulina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obubaka buno.

“Katonda ow’Amazima.” Yakuwa bwe yagamba nti, “Mwe muli bajulirwa bange,” ensonga eyali mu ddiiro yali ekwata ku ani eyali Katonda omutuufu. (Is. 43:10) Obubaka obulina okubuulirwa tebulina kulaga bulazi nti abantu basaanidde okuba n’eddiini oba nti balina okubaako katonda gwe bakkiririzaamu. Wabula, tulina okubabuulira nti Omutonzi w’eggulu n’ensi ye Katonda yekka ow’amazima. (Is. 45:5, 18, 21, 22; Yok. 17:3) Katonda yekka ow’amazima y’ayinza okwogera ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso era ne bituukirira. Tulina obuvunaanyizibwa okubuulira abantu nti, ebyo Yakuwa bye yayogera mu biseera eby’emabega era ne bituukirira, bukakafu obulaga nti buli kye yasuubiza kijja kutuukirira.​—Yos. 23:14; Is. 55:10, 11.

Kya lwatu, abangi be tubuulira balina bakatonda be basinza ate abalala bagamba nti tebalina katonda yenna gwe basinza. Abantu okusobola okutuwuliriza, kiyinza okutwetaagisa okwogera ku kintu kye tukkiriziganya nabo. Tuyinza okukoppa ekyokulabirako ekiri mu Ebikolwa By’Abatume 17:22-31. Weetegereze nti wadde ng’omutume Pawulo yayogera n’abantu mu ngeri ey’obwegendereza yakyoleka bulungi nti buli muntu avunaanyizibwa eri Katonda Eyatonda eggulu n’ensi.

Okumanyisa Erinnya lya Katonda. Fuba okutegeeza abantu nti Katonda ow’amazima alina erinnya. Yakuwa ayagala nnyo erinnya lye. (Kuv. 3:15; Is. 42:8) Ayagala abantu balimanye. Erinnya lye ery’ekitalo yaliwandiisa mu Baibuli emirundi egisukka mu 7,000. Tulina obuvunaanyizibwa okulitegeeza abantu.​—Ma. 4:35.

Abantu bonna okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo balina okumanya Yakuwa n’okukoowoola erinnya lye. (Yo. 2:32; Mal. 3:16; 2 Bas. 1:8) Kyokka, abantu abasinga obungi tebamanyi Yakuwa. Mu abo mwe muli bangi abagamba nti basinza Katanda ow’amazima ayogerwako mu Baibuli. Ne bwe baba nga balina Baibuli era nga bazisoma, bayinza obutamanya linnya lya Katonda kubanga liggiddwa mu nkyusa za Baibuli nnyingi ezikubiddwa leero. Ekintu kyokka abantu abamu kye bamanyi ku linnya lya Yakuwa kiri nti abakulu b’amadiini babagaana okulikozesa.

Tuyinza tutya okumanyisa abantu erinnya lya Katonda? Engeri esinga obulungi kwe kulibalaga mu Baibuli​—bwe kiba kisoboka mu Baibuli zaabwe. Mu nkyusa za Baibuli ezimu, erinnya eryo lirimu emirundi nkumi na nkumi. Mu nkyusa endala lisangibwa mu Zabbuli 83:18 wokka oba mu Okuva 6:3-6, oba liyinza okusangibwa mu bugambo obwa wansi obwogera ku Okuva 3:14, 15 oba 6:3. Enkyusa eziwerako, zikozesa ebigambo nga “Mukama” oba “Katonda” nga biwandiikiddwa mu ngeri ey’enjawulo, mu bifo erinnya lya Katonda we lyali mu nnimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Bw’osanga abantu abalina enkyusa ya Baibuli empya erinnya lya Katonda mwe liggiddwa, kiyinza okukwetaagisa okukozesa enkyusa za Baibuli enkadde okubalaga ekyo abavvuunuzi kye bakoze. Mu nsi ezimu, oyinza okutegeeza abantu nti erinnya lya Katonda lisangibwa mu nnyimba ezimu ez’eddiini, oba nti liwandiikiddwa ku bizimbe ebimu.

Yeremiya 10:10-13 mu New World Translation, ziyinza okuba ennungi okukozesa singa oba osanze abantu abasinza bakatonda abalala. Ennyiriri ezo tezikoma ku kulaga linnya lya Katonda kyokka, naye era zinnyonnyola bulungi kyali.

Tokozesa bigambo nga “Katonda” oba “Mukama” mu kifo ky’okukozesa erinnya lya Katonda nga Kristendomu bw’ekola. Naye kino tekitegeeza nti buli lw’oba onyumya n’omuntu olina okukozesa erinnya eryo. Olw’okuba abantu abamu tebaagala kuwulira linnya lya Katonda, bayinza okukomya emboozi. Kyokka, oluvannyuma lw’emboozi okugwa amakerenda, oyinza okukozesa linnya lya Katonda.

Baibuli ekozesa erinnya lya Katonda emirundi mingi okusinga bw’ekozesa ebigambo “Mukama” ne “Katonda.” Wadde kiri kityo, abawandiisi ba Baibuli tebaateeka linnya lya Katonda mu buli lunyiriri. Baalikozesa we kyali kisaanira. Naffe tusobola okulikozesa mu ngeri y’emu.

Nnannyini Linnya. Wadde nga kikulu okumanya nti Katonda alina erinnya, waliwo ebintu ebirala bingi ebimukwatako omuntu by’alina okumanya.

Abantu okusobola okwagala Yakuwa n’okumukkiririzaamu, beetaga okumanya engeri ze. Yakuwa bwe yabuulira Musa erinnya lye ku Lusozi Sinaayi, teyakoma ku kumubuulira bubuulizi linnya eryo, naye era yamutegeeza n’ezimu ku ngeri Ze ezisinga obukulu. (Kuv. 34:6, 7) Naffe twandikoppye ekyokulabirako ekyo.

K’obe ng’oyigiriza abantu abaakatandika okuyiga amazima oba ng’owa emboozi mu kibiina, laga engeri ebisuubizo by’Obwakabaka gye byoleka engeri za Katonda. Bw’oba oyogera ku mateeka ge, ggumiza engeri gye goolekamu amagezi ge n’okwagala. Kyoleke bulungi nti ebyo Katonda by’atwetaagisa tebitunyigiriza wabula bituganyula. (Is. 48:17, 18; Mi. 6:8) Laga nti engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge eyoleka engeri ze, emitindo gye, n’ebigendererwa. Laga engeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri ze mu ngeri etuukiridde. Leka by’oyogera birage nti oyagala Yakuwa. Bw’okola bw’otyo kijja kuleetera abakuwuliriza okumwagala.

Obubaka bwe tubuulira mu kiseera kino bukubiriza abantu okutya Katonda. N’olwekyo, bye twogera nga tubuulira, bisaanidde okukubiriza abantu okutya Katonda. Abantu bwe batya Yakuwa, kibaviirako okumuwa ekitiibwa. (Zab. 89:7) Okutya Yakuwa kizingiramu okumanya nti ye Mulamuzi asingiridde era nti essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso lyesigamye ku kuba nti tulina enkolagana ennungi naye. (Luk. 12:5; Bar. 14:12) N’olwekyo, bwe tumutya era ne tumwagala tujja kwewala okumunyiiza. (Ma. 10:12, 13) Okutya Katonda kutuleetera okukyawa ekibi, okugondera amateeka ge, n’okumusinza n’omutima gwaffe gwonna. (Ma. 5:29; 1 Byom. 28:9; Nge. 8:13) Kutukuuma obutagezaako kuweereza Katonda ate mu kiseera kye kimu ne twagala ebintu by’ensi.​—1 Yok. 2:15-17.

Erinnya lya Katonda​—“Kigo kya Maanyi.” Abantu bwe bategeera Yakuwa obulungi bafuna obukuumi obw’amaanyi. Obukuumi buno tebabufuna lwa kuba nti bakozesa erinnya lya Katonda oba nti basobola okwogera ezimu ku ngeri ze, wabula lwa kuba bamwesiga. Engero 18:10 lwogera bwe luti ku bantu ng’abo: “Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi, omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.”

Kozesa bulungi akakisa k’ofuna okukubiriza abalala okussa obwesige mu Yakuwa. (Zab. 37:3; Nge. 3:5, 6) Obwesige ng’obwo bulaga nti omuntu akkiririza mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye. (Beb. 11:6) Singa abantu ‘bakoowoola erinnya lya Yakuwa’ nga bakkiriza nti ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, ne batambulira mu makubo ge, era nga bakkiriza nti obulokozi obwa nnamaddala buva gyali​—Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti bajja kulokolebwa. (Bar. 10:13, 14) Bw’oba oyigiriza abalala, bayambe okukulaakulanya okukkiriza ng’okwo mu bulamu bwabwe.

Abantu bangi boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Bayinza obutalaba ngeri yonna gye bayinza kubivvuunukamu. Bakubirize okuyiga amakubo ga Yakuwa, okumwesiga, era n’okussa mu nkola bye bayiga. (Zab. 25:5) Bakubirize okusaba ennyo obuyambi bwa Katonda era n’okumwebaza olw’ebyo by’abakolera. (Baf. 4:6, 7) Bwe bategeera Yakuwa, nga bayitira mu kusoma Baibuli awamu n’okulaba engeri gy’atuukirizaamu ebyo by’abasuubiza, bajja kutandika okulaba engeri gy’akuumamu abo abamanyi erinnya lye.​—Zab. 34:8; Yer. 17:7, 8.

Kozesa bulungi buli kakisa k’ofuna okuyamba abantu okutegeera omuganyulo oguli mu kutya Yakuwa, Katonda, ow’amazima n’okugondera amateeka ge.

‘OKUWA OBUJULIRWA KU YESU’

OLUVANNYUMA lw’okuzuukira, era nga tannaddayo mu ggulu, Yesu Kristo yagamba abagoberezi be nti: “Munaabanga bajulirwa bange . . . okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Bik. 1:8) Abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’omu kiseera kyaffe boogerebwako ng’abo “abalina okutegeeza kwa Yesu.” (Kub. 12:17) Onyiikira okuwa obujulirwa obwo?

Abantu bangi abagamba nti bakkiririza mu Yesu, tebamanyi nti yali yabeerawo dda nga tanajja ku nsi. Tebamanyi nti bwe yali ku nsi yali muntu ddala. Tebamanyi nsonga lwaki Yesu ayitibwa Omwana wa Katonda. Bamanyi kitono nnyo ku kifo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Tebamanyi ky’akola kati era tebamanyi engeri obulamu bwabwe gye bujja okukwatibwako ekyo ky’anaakola mu biseera eby’omu maaso. Era mu butamanya bayinza n’okulowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiririza mu Yesu. Buvunaanyizibwa bwaffe okufuba okubabuulira amazima agakwata ku bintu bino.

Ate era waliwo abalala abatakkiriza nti Yesu yali abaddewo. Abamu bamutwala ng’omuntu obuntu eyatutumuka ennyo mu byafaayo. Bangi tebakikkiriza nti Mwana wa Katonda. ‘Okuwa obujulirwa ku Yesu’ nga tubuulira abantu ng’abo, kyetaagisa okufuba okw’amaanyi, obugumiikiriza, n’okukozesa amagezi.

Abakuwuliriza ka babe na ndowooza ki, beetaaga okumanya ekituufu ku Yesu Kristo bwe baba ob’okuganyulwa mu nteekateeka ya Katonda ey’okuwa abantu obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Katonda akyoleka bulungi nti ayagala abantu bonna ‘bakkirize nti Yesu ye Mukama’ era bagondere obufuzi bwe. (Baf. 2:9-11) N’olwekyo, wadde nga tusanga abantu abalina endowooza enkyamu, tetusobola kulekayo kwogera ku nsonga eyo. Wadde nga mu mbeera ezimu tusobola okwogera kyere ku bikwata ku Yesu Kristo ne bwe kiba nti gwe mulundi gwaffe ogusooka okwogera n’omuntu, mu mbeera endala twetaaga okukozesa amagezi bwe tuba ab’okuyamba abatuwuliriza okufuna endowooza entuufu ku Yesu. Era kiyinza okutwetaagisa okulowooza ku ngeri gye tuyinza okubuulira abantu ebisingawo, ku mirundi emirala gye tuddako okubakyalira. Kyokka kiyinza obutasoboka okukubaganya ebirowoozo ku buli kimu ekikwata ku Yesu okutuusa nga tutandise okuyigiriza omuntu Baibuli.​—1 Tim. 2:3-7.

Ekifo kya Yesu Ekikulu mu Kutuukirizibwa kw’Ebigendererwa bya Katonda. Kitwetaagisa okuyamba abantu okumanya nti omuntu tasobola kuba na nkolagana nnungi na Katonda bw’aba nga takkiririza mu Yesu Kristo, olw’okuba Yesu lye ‘kkubo’ era nga ‘tewali n’omu ajja eri Kitaawe okuggyako ng’ayitidde mu ye.’ (Yok. 14:6) Okuggyako ng’omuntu ategeera ekifo ekikulu Katonda ky’awadde Omwana we omubereberye, tasobola kutegeera Baibuli. Lwaki? Kubanga Yakuwa yafuula Omwana we okuba omusaale mu kutuukiriza ebigendererwa Bye. (Bak. 1:17-20) Obunnabbi bwa Baibuli bwonna busonga ku nsonga eno. (Kub. 19:10) Ebizibu byonna ebyajjawo olw’okwewaggula kwa Setaani n’ekibi kya Adamu, bijja kuggwaawo okuyitira mu Yesu Kristo.​—Beb. 2:5-9, 14, 15.

Omuntu okusobola okutegeera ekifo kya Kristo, alina okumanya nti abantu bali mu mbeera mbi gye batasobola kweggyamu. Ffenna twazaalibwa mu kibi. Kino kiyinza okutukwatako mu ngeri ez’enjawulo mu bulamu bwaffe. Era ekiseera kituuka ne tufa. (Bar. 3:23; 5:12) Kubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo n’abo b’owa obujulirwa. Bategeeze nti, okuyitira mu kinunulo kya Yesu Kristo, Yakuwa ateereddewo abo bonna abakkiririza mu kinunulo enteekateeka y’okusumululwa mu kibi n’okufa. (Mak. 10:45; Beb. 2:9) Enteekateeka eyo y’ejja okubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 3:16, 36) Tewaliiwo ngeri ndala eyinza okubasobozesa okufuna bulamu butaggwaawo. (Bik. 4:12) Ng’obuulira, oba ng’owa emboozi mu kibiina, tokoma ku kwogera bwogezi ku nsonga zino. Mu ngeri ey’ekisa era ey’obugumiikiriza, yamba abakuwuliriza okusiima Kristo olw’okwewaayo okutununula. Omuntu bw’asiima ekirabo kino kirina eky’amaanyi kye kikola ku ndowooza ye, enneeyisa ye, n’ebiruubirirwa bye mu bulamu.​—2 Kol. 5:14, 15.

Kya lwatu, Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka omulundi gumu. (Beb. 9:28) Kyokka, kaakano aweereza nga Kabona Omukulu. Yamba abantu okuteegera ekyo kye kitegeeza. Balina ebibeeraliikiriza, babonaabona, oba boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’enneeyisa embi ey’abantu ababeetoolodde? Yesu bwe yali ku nsi, naye yayolekagana n’ebizibu ng’ebyo. Amanyi engeri gye tunyigirizibwamu. Olw’okuba tetutuukiridde, tuwulira nti twetaaga Katonda okutulaga ekisa? Bwe tusaba Katonda okutusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu, Yesu akola nga “omuwolereza eri Kitaffe.” Mu ngeri ey’obusaasizi “atuwolereza.” (1 Yok. 2:1, 2; Bar. 8:34) Okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, n’omulimu gwe nga Kabona Omukulu, tusobola okutuukirira Yakuwa okufuna obuyambi bwe twetaaga. (Beb. 4:15, 16) Wadde nga tetutuukiridde, obuyambi Yesu bw’atuwa nga Kabona Omukulu, butusobozesa okuweereza Katonda nga tulina omuntu w’omunda omulungi.​—Beb. 9:13, 14.

Ate era, olw’okuba Katonda gw’alonze ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Yesu alina obuyinza bungi. (Mat. 28:18; Bef. 1:22, 23) Bwe kityo, atuwa obulagirizi bwe twetaaga okusobola okutuukiriza Katonda by’ayagala. Bw’oba oyigiriza abalala, bayambe okutegeera nti Yesu Kristo gwe Mutwe gw’ekibiina, so si muntu mulala yenna. (Mat. 23:10) Okuviira ddala ku mulundi gw’osooka okwogera n’abo abaagala okumanya amazima, bakubirize okujja mu nkuŋŋaana z’ekibiina, gye tuyigira Baibuli nga tweyambisa ebitabo ebituweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Bayambe okumanya “omuddu” ne Mukama we basobole okutegeera obukulembeze bwa Yesu. (Mat. 24:45-47) Banjule eri abakadde, era obannyonnyole ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa abakadde bye balina okutuukiriza. (1 Tim. 3:1-7; Tito 1:5-9) Bannyonnyole nti abakadde si be bannannyini kibiina, wabula batuyamba okutambulira mu bigere bya Yesu Kristo. (Bik. 20:28; Bef. 4:16; 1 Peet. 5:2, 3) Yamba abo abaagala okumanya ebisingawo okukitegeera nti, okwetooloola ensi waliwo ekibiina ekikulemberwa Kristo.

Tuyiga okuva mu bitabo bya Baibuli eby’Enjiri nti Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi ng’ebulayo ekiseera kitono attibwe, abagoberezi be baamutendereza ng’oyo ‘ajjira mu linnya lya Yakuwa.’ (Luk. 19:38) Abantu bwe beeyongera okuyiga Baibuli, bategeera nti Yakuwa yawa Yesu obuyinza okufuga amawanga gonna. (Dan. 7:13, 14) Bw’oba owa emboozi mu kibiina oba ng’olina b’oyigiriza Baibuli, bayambe okutegeera n’okusiima ekyo obufuzi bwa Yesu kye bujja okutukolera.

Kiggumize nti engeri gye tweyisaamu eraga oba nga ddala tukkiriza nti Yesu Kristo ye Kabaka era oba nga tugondera obufuzi bwe. Yogera ku mulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be okukola oluvannyuma lw’okulondebwa nga Kabaka. (Mat. 24:14; 28:18-20) Kubaganya n’abantu ebirowoozo ku ebyo Yesu, Omuwi w’Amagezi ow’Ekitalo bye yagamba nti bye tusaanidde okukulembeza mu bulamu. (Is. 9:6, 7; Mat. 6:19-34) Yogera ku ndowooza Omulangira ow’Emirembe gye yagamba nti abagoberezi be gye bandibadde nayo. (Mat. 20:25-27; Yok. 13:35) Weegendereze oleme kusalira balala musango nti bakola kitono nnyo, wabula bakubirize okulaba oba nga ddala engeri gye bakozesaamu obulamu bwabwe eraga nti bagondera obukulembeze bwa Kristo. Naawe kikwetaagisa okukola ekintu kye kimu.

Okussaawo Kristo ng’Omusingi. Omulimu gw’okufuula abayigirizwa, Baibuli egugeraageranya ku kuzimba ennyumba nga Yesu Kristo gwe musingi. (1 Kol. 3:10-15) Kino tusobola okukikola nga tuyamba abantu okumanya Yesu mu ngeri Baibuli gy’emwogerako. Weegendereze baleme kukitwala nti gwe gwe balina okugoberera. (1 Kol. 3:4-7) Bayambe okutegeera nti Yesu Kristo gwe balina okugoberera.

Singa omusingi tuba tugutaddewo bulungi, abayizi bajja kukitegeera nti Kristo yatuteerawo ekyokulabirako ‘tutambulirenga mu bigere bye.’ (1 Peet. 2:21) Okugatta ku ekyo, kubiriza abayizi okusoma ebitabo bya Baibuli eby’Enjiri nga babitwala ng’ekintu ekibawa obulagirizi so si ng’ebyafaayo ebyaliwo. Bayambe okujjukiranga n’okukoppa engeri n’endowooza za Yesu. Bayambe okutegeera engeri Yesu gye yatwalamu Kitaawe, ekyo kye yakola bwe yali ng’akemebwa, engeri gye yagumiikirizaamu ng’agezesebwa, engeri gye yalagamu nti agondera Katonda, n’engeri gye yakolaganamu n’abantu mu mbeera ezitali zimu. Ssa essira ku mulimu Yesu gwe yasinga okukola mu bulamu bwe. Omuyizi bw’anaayolekagana n’ebigezo oba eby’okusalawo mu bulamu bwe, ajja kusookanga kwebuuza: ‘Yesu yandikoze ki ng’ali mu mbeera ng’eno? Engeri gye nneeyisaamu mu bulamu eraga nti nsiima ebyo by’ankoledde?’

Bw’oba owa emboozi mu kibiina, leka kulowooza nti olw’okuba baganda bo bakkiririza mu Yesu, tekikwetaagisa kwogera ku bukulu bwe. By’oyogera bijja kuba n’amakulu mangi singa ozimbira ku kukkiriza kwabwe okwo. Bw’oba oyogera ebikwata ku nkuŋŋaana, bikwataganye n’ekifo kya Yesu ng’Omutwe gw’ekibiina. Bw’oba oyogera ku buweereza bw’ennimiro, laga endowooza Yesu gye yalina ku buweereza bwe, era kino kikwataganye n’omulimu gw’akola leero ogw’okukuŋŋaanya abantu abajja okuwonyezebwawo basobole okuyingira mu nsi empya.

Tekimala okusoma obusomi ebikwata ku Yesu. Okusobola okufuuka Abakristaayo aba nnamaddala, abantu bateekwa okumukkiririzaamu era n’okumwagalira ddala. Okwagala ng’okwo, kubaleetera okumugondera. (Yok. 14:15, 21) Kubasobozesa okunywerera mu kukkiriza bwe babeera mu mbeera enzibu, okweyongera okutambulira mu bigere bya Kristo obulamu bwabwe bwonna, n’okukakasa nti bakuze mu by’omwoyo era nti ‘banyweredde ddala ku musingi.’ (Bef. 3:17) Obulamu ng’obwo buweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa, Kitaawe wa Yesu Kristo.

“ENJIRI ENO EY’OBWAKABAKA”

BWE yali ayogera ebintu ebyandiraze okubeerawo kwe n’amafundikira g’embeera z’ebintu zino, Yesu yagamba: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna, awo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Mat. 24:14.

Bubaka ki obulina okubuulirwa wonna? Bwebwo obukwata ku Bwakabaka Yesu bwe yatukubiriza okusaba Katonda nga tugamba nti: “Obwakabaka bwo bujje.” (Mat. 6:10) Okubikkulirwa 11:15 lubwogerako nga “obwakabaka bwa Mukama waffe [Yakuwa] era [o]bwa Kristo we” kubanga obuyinza obw’okufuga buva eri Yakuwa era ng’abuwadde Kristo. Kyokka, weetegereze nti obubaka Yesu bwe yagamba nti bwandibuuliddwa mu kiseera kyaffe busingawo ku obwo abagoberezi be ab’omu kyasa ekyasooka bwe baabuulira. Baabuuliranga abantu nti: “Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi.” (Luk. 10:9) Mu kiseera ekyo, Yesu, eyafukibwako amafuta okuba Kabaka, yali wakati mu bo. Naye nga bwe kiragibwa mu Matayo 24:14, Yesu yalagula ku kubuulira okwandikoleddwa mu nsi yonna okukwata ku kintu ekirala ekikulu ekizingirwa mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda.

Nnabbi Danyeri yaweebwa okwolesebwa okukwata ku kintu ekyo. Yalaba “omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu,” Yesu Kristo, nga “omukadde eyaakamala ennaku ennyingi,” Yakuwa Katonda, amuwa “okufuga, n’ekitiibwa n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi bamuweerezenga.” (Dan. 7:13, 14) Ekintu ekyo ekikulu ennyo kyaliwo mu mwaka 1914. Oluvannyuma, Omulyolyomi ne badayimooni be baasuulibwa ku nsi. (Kub. 12:7-10) Kino kyalaga nti enteekateeka y’ebintu eno yali eyingidde mu nnaku zaayo ez’enkomerero. Naye nga tennaba kusaanyizibwawo, amawulire galina okulangirirwa mu nsi yonna nti, Masiya, Yakuwa gwe yassaawo, kaakano afuga mu ggulu. Buli wantu wonna, abantu babuulirwa obubaka buno. Ekyo kye bakolawo nga babuuliddwa kiraga endowooza gye balina ku Oyo Ali Waggulu ennyo “afugira mu bwakabaka bw’abantu.”​—Dan. 4:32.

Kyo kituufu nti, wakyaliwo ebirala bingi ebitannatuukirizibwa. Wadde nga tukyasaba nti “Obwakabaka bwo bujje,” tekitegeeza nti tebunnateekebwawo. Wabula, bwe tusaba bwe tutyo tuba tutegeeza nti Obwakabaka obw’omu ggulu bujja kutuukiriza obunnabbi, gamba, ng’obwo obuli mu Danyeri 2:44 n’obwo obuli mu Okubikkulirwa 21:2-4. Bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda olujjudde abantu abaagala Katonda ne bantu bannaabwe. Bwe tuba tubuulira “enjiri eno ey’obwakabaka,” twogera ku bisuubizo ebyo. Naye era tubuulira nti Yakuwa awadde Omwana we obuyinza okufuga. Ossa essira ku mawulire gano amalungi bw’oba owa obujulirwa ku Bwakabaka?

Okunnyonnyola Ebikwata ku Bwakabaka. Tusobola tutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okulangirira Obwakabaka bwa Katonda? Wadde nga tuyinza okusikiriza abantu okutuwuliriza nga twogera ku bintu eby’enjawulo, tulina okukyoleka amangu nti obubaka bwaffe bukwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

Nga tukola omulimu guno ogw’okulangirira Obwakabaka, kikulu nnyo okusoma oba okujuliza ebyawandiikibwa ebibwogerako. Bw’oba oyogera ku Bwakabaka, kakasa nti abo b’oyogera nabo bategeera bulungi kye butegeeza. Kiyinza okukwetaagisa okunnyonnyola ebisingawo mu kifo ky’okubagamba obugambi nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti. Abantu abamu kiyinza okubazibuwalira okulowooza ku kintu ekitalabika okuba gavumenti. Oyinza okukubaganya nabo ebirowoozo ku bintu eby’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, amaanyi agasika ebintu okudda wansi (gravity) tegalabika naye waliwo ebintu bingi bye tulaba ebiraga nti amaanyi ago weegali. Tetusobola kulaba Oyo eyassaawo amateeka amaanyi ago kwe gakolera, kyokka, kyeyoleka kaati nti alina amaanyi mangi. Baibuli emuyita “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (1 Tim. 1:17) Oba oyinza okugamba nti, mu nsi ezimu ennene ennyo, abantu bangi tebatuukangako mu kibuga ekikulu oba okulaba ku mukulembeze waabwe. Ebintu ebyo babimanya bwe basoma oba bwe bawulira amawulire. Mu ngeri y’emu, Baibuli ekubiddwa mu nnimi ezisukka mu 2,200, etubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era etutegeeza ani aweereddwa obuyinza okufuga n’ekyo Obwakabaka kye bukola. Magazini Omunaala gw’Omukuumi, ekubibwa mu nnimi nnyingi okusinga akatabo akalala konna akafulumizibwa buli luvannyuma lwa kiseera, era ekigendererwa kyayo kwe ‘Kulangirira Obwakabaka bwa Yakuwa’ nga bwe kiragibwa ku ddiba lyayo.

Okusobola okuyamba abantu okutegeera nti Obwakabaka gavumenti, oyinza okwogera ku bintu ebimu bye baagala gavumenti zibakolere: okulongoosa eby’enfuna, okuleetawo emirembe, okumalawo obumenyi bw’amateeka, okumalawo obusosoze, n’okulongoosa omutindo gw’eby’enjigiriza n’eby’obulamu. Kirage nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okukola ku bintu bino mu bujjuvu awamu n’ebintu ebirala abantu bye beegomba.​—Zab. 145:16.

Fuba okuleetera abantu okwesunga okufugibwa Yesu Kristo mu Bwakabaka bwa Katonda. Kirage nti ebyamagero bye yakola byayoleka ebyo by’anaakolera abantu ng’afuga nga Kabaka. Enfunda n’enfunda yogera ku ngeri ennungi ze yayoleka. (Mat. 8:2, 3; 11:28-30) Bannyonnyole nti yawaayo obulamu bwe ku lwaffe era nti oluvannyuma Katonda yamuzuukiza n’amuwa obulamu obutayinza kuzikirira mu ggulu. Eyo kati gy’asinziira okufuga nga Kabaka.​—Bik. 2:29-35.

Kiggumize nti kaakano Obwakabaka bwa Katonda bufuga mu ggulu. Kyokka, kitegeere nti abantu abasinga obungi tebalaba mbeera ze basuubira kubaawo ezandibakakasizza nti obufuzi ng’obwo weebuli. Kirage nti otegeera endowooza yaabwe era obabuuze oba nga bamanyi ekyo Yesu Kristo kye yagamba ekyandibadde kikakasa nti weebuli. Yogera ebimu ku bintu ebiri mu kabonero k’okubeerawo kwe ebisangibwa mu Matayo essuula 24, Makko essuula 13, oba Lukka essuula 21. Oluvannyuma babuuze ensonga lwaki okutuuzibwa kwa Kristo ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu kwandiviiriddeko embeera ng’ezo okubaawo ku nsi. Balage Okubikkulirwa 12:7-10, 12.

Okusobola okubakakasa nti Obwakabaka bwa Katonda bulina kye bukola, soma Matayo 24:14, era obannyonnyole enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Baibuli eriwo kati mu ensi yonna. (Is. 54:13) Tegeeza abantu amasomero ag’enjawulo Abajulirwa ba Yakuwa mwe baganyulwa​—gonna ageesigamiziddwa ku Baibuli era nga si ga kusasulira. Bannyonnyole nti, ng’oggyeko okubuulira nnyumba ku nnyumba, tuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere, kinnoomu oba ng’amaka mu nsi ezisukka mu 230. Gavumenti ki ey’abantu esobola okussaawo enteekateeka y’okuyigiriza ng’eyo, nga teyigiriza bantu baayo bokka naye era n’abantu mu nsi yonna? Kubiriza abantu okujja mu Kizimbe ky’Obwakabaka, okubeerawo mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa, balabe engeri okuyigirizibwa okwo gye kukwata ku bulamu bw’abantu.​—Is. 2:2-4; 32:1, 17; Yok. 13:35.

Gw’obuulira anaategeera engeri obulamu bwe gye bukwatibwako? Mu ngeri ey’amagezi mugambe nti ekigendererwa ky’okumukyalira kwe kumutegeeza nti abantu bonna balina eddembe okwesalirawo oba nga bandyagadde okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Kino bakikola batya? Nga bayiga ebyo Katonda by’abeetaagisa era nga babikolerako kati.​—Ma. 30:19, 20; Kub. 22:17.

Okuyamba Abalala Okussa Obwakabaka bwa Katonda mu Kifo Ekisooka. Omuntu ne bw’aba akkiriza obubaka bw’Obwakabaka, waliwo ebintu by’alina okusalawo. Obwakabaka bwa Katonda anaabussa mu kifo ki mu bulamu bwe? Yesu yakubiriza abagoberezi be ‘okusooka okunoonya obwakabaka.’ (Mat. 6:33) Tuyinza tutya okuyamba Bakristaayo bannaffe okukola ekyo? Nga ffe ffennyini tussaawo ekyokulabirako ekirungi era nga tukubaganya nabo ebirowoozo ku buweereza obw’enjawulo bwe basobola okwenyigiramu. Oluusi tuyinza okubabuuza oba nga baali balowoozezza ku buweereza obw’engeri yonna bwe bayinza okwenyigiramu oba tuyinza okubabuulira ku ebyo abalala bye bakola. Nga tukubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa mu ngeri esobola okubaleetera okweyongera okwagala Yakuwa. Nga tukiggumiza nti Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala. Nga tuggumiza obukulu bw’omulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Ekisinga obulungi kwe kubaleetera okwagala okuweereza mu kifo ky’okubagamba obugambi okwenyigira mu buweereza.

Awatali kubuusabuusa, obubaka obukulu ffenna bwe tulina okubuulira bwebwo obukwata ku Yakuwa Katonda, Yesu Kristo, n’Obwakabaka. Obubaka buno obukulu tusaanidde okubussaako essira nga tubuulira abantu, nga tuliko bye twogera mu kibiina oba nga tulina ebintu ebirala bye tukola. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti ddala tuganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

ABANTU BONNA BEETAAGA OKUTEGEERA . . .

  • Nti Yakuwa ye Mutonzi w’eggulu n’ensi.

  • Nti Yakuwa ye Katonda omu ow’amazima.

  • Nti Yakuwa ye Katonda ow’okwagala, ow’amagezi agasingiridde, ow’obwenkanya, era nti y’asinga amaanyi.

  • Nti tuvunaanyizibwa eri Yakuwa olw’ebyo bye tukola.

ENGERI GYE TUSINZAAMU YAKUWA . . .

  • Yandibadde eyoleka okwagala kwe tulina gy’ali.

  • Yandibadde esibuka mu mutima ogwemalidde ku Katonda, so si ogwo ogwagala ebintu by’ensi.

  • Yandibadde ewa obukakafu nti enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga nkulu.

YAMBA ABANTU OKUTEGEERA . . .

  • Nti Yesu Kristo lye kkubo lyokka mwe basobola okuyitira okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda.

  • Nti okusobola okununulibwa okuva mu kibi n’okufa omuntu alina okukkiririza mu Yesu Kristo.

  • Nti Katonda ayagala abantu bonna bategeere nti Yesu ye Mukama waabwe, nga tebamuyita buyisi Mukama waabwe, naye nga bakwata amateeka ge.

  • Nti Baibuli by’eyogera ku Yesu Kristo bituufu, naye nti bingi Kristendomu by’emuyigirizaako si bituufu era bibuzaabuza.

WEEBUUZE:

  • Engeri gye nneeyisa eraga nti ntwala Yesu Kristo ng’Omutwe gw’ekibiina?

  • Ebikolwa byange biraga nti nsiima ssaddaaka ya Kristo?

  • Nnyinza ntya okulaga nti ebikolwa byange n’endowooza yange, bituukagana n’ekyokulabirako ekyatuteerwawo Omwana wa Katonda?

TEGEEZA ABANTU  . . .

  • Nti Obwakabaka bwa Katonda kaakano bufuga mu ggulu era nti mu kiseera ekitala kya wala bujja kuggyawo obufuzi bw’abantu.

  • Nti Obwakabaka bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda olulibaamu abantu abaagala Katonda ne bannaabwe.

  • Nti Obwakabaka bwe bwokka obujja okukola ku byetaago by’abantu bonna mu ngeri ematiza.

  • Nti bye tukola kati byoleka obanga twagala okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda.

WEEBUUZE:

  • Ebiruubirirwa byange biraga nti nsooka kunoonya Bwakabaka?

  • Waliwo we nneetaaga okukyusaamu okusobola okukola kino mu ngeri esingawo?

  • Kiki kye nsobola okukola okuleetera abalala okwagala okusooka okunoonya Obwakabaka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share