Oluyimba 42
‘Yambanga Abanafu’
Printed Edition
1. ’Bunafu bwe tulina
Ddala bungi nnyo.
Naye ffenna Yakuwa,
Atwagala nnyo.
Katonda wa kisa,
Era wa kwagala.
Naffe ka twolekenga
Nnyo okwagala.
2. Bw’olaba abanafu,
Bafengako nnyo.
Twagulibwa musaayi
Gwa Yesu Kristo.
Katonda ’baagala,
’Maanyi agabawa.
Tubalumirirwenga,
Tubayambenga.
3. Tuleme kubanenya;
Tufengayo ku
Ngeri y’okubayamba
’Maanyi gaddemu.
Tunyiikirirenga,
’Kubabudaabuda;
Bwe tunaabawagira,
Bajja kuguma.
(Era laba 2 Kol. 11:29; Is. 35:3, 4; Bag. 6:2.)