Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
Printed Edition
(Matayo 26:26-30)
1. Yakuwa, Kitaffe mu ggulu,
Kino kiro kitukuvu!
Nga Nisaani kkumi na nnya wayoleka,
Obwenkanya n’okwagala.
Omwana gw’Endiga gwaliibwa,
Isiraeri n’eteebwa.
Mukama waffe yatuukiriza kino
Bwe yawaayo obulamu bwe.
2. Mu maaso go ffe tukuŋŋaanye.
Ng’endiga mu ddundiro lyo.
Okutenda okwagala kw’Omwana wo,
N’erinnya lyo ettukuvu.
Kagusigale omukolo
Guno ku mitima gyaffe.
Tutambule nga Yesu bwe yatulaga,
Tujja kufuna obulamu.
(Era laba Luk. 22:14-20; 1 Kol. 11:23-26.)