ESSUULA 14
Yakuwa Akola Enteekateeka ‘y’Ekinunulo ku lw’Abangi’
1, 2. Bayibuli ennyonnyola etya embeera abantu gye balimu, era bayinza batya okugivaamu?
“EBITONDE byonna bisindira wamu era birumwa.” (Abaruumi 8:22) Ng’akozesa ebigambo ebyo, omutume Pawulo yalaga embeera embi ffenna gye tulimu. Okusinziira ku ndaba y’obuntu, kirabika nti tewali ngeri yonna okubonaabona, ekibi, n’okufa gye biyinza kuggwaawo. Naye Yakuwa takitwala bw’atyo. (Okubala 23:19) Katonda ow’obwenkanya yatukolera enteekateeka tusobole okuva mu mbeera embi gye tulimu. Enteekateeka eyo eyitibwa ekinunulo.
2 Ekinunulo kye kirabo ekisingirayo ddala obukulu Yakuwa kye yawa abantu. Kitusobozesa okununulwa mu kibi n’okufa. (Abeefeso 1:7) Kye kisinziirwako okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo, mu ggulu oba mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Lukka 23:43; Yokaana 3:16; 1 Peetero 1:4) Naye ekinunulo kye ki? Kituyigiriza ki ku bwenkanya bwa Yakuwa?
Ensonga Lwaki Twali Twetaaga Ekinunulo
3. (a) Lwaki ekinunulo kyali kyetaagisa? (b) Lwaki Katonda teyawaanyisa buwanyisa kibonerezo kya kufa ekyali ku zzadde lya Adamu?
3 Ekinunulo kyali kyetaagisa olw’ekibi kya Adamu. Adamu bwe yajeemera Katonda, yaleetera abaana be okulwala, ennaku, obulumi, n’okufa. (Olubereberye 2:17; Abaruumi 8:20) Katonda teyasonyiwa busonyiyi bantu n’awaanyisa ekibonerezo ky’okufa n’ekibonerezo ekirala ekitali kikakali. Singa yakola bw’atyo, yandibadde asudde muguluka tteeka lye erigamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa.” (Abaruumi 6:23) Ate era singa Yakuwa teyakolera ku mitindo gye egy’obwenkanya, wandibaddewo akavuyo mu butonde, era bamalayika n’abantu tebandimugondedde!
4, 5. (a) Bintu ki eby’obulimba Sitaani bye yayogera ku Katonda, era lwaki Yakuwa yali alina okulaga nti tebyali bituufu? (b) Biki Sitaani bye yayogera ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa?
4 Nga bwe twalaba mu Ssuula 12, obujeemu obwaliwo mu Edeni bwaleetawo ensonga enkulu ezaalina okugonjoolwa. Sitaani yasiiga enziro erinnya lya Katonda eddungi. Yawaayiriza Yakuwa nti yali mulimba era nnaakyemalira eyaggya eddembe ku bitonde bye. (Olubereberye 3:1-5) Ate era olw’okuba Katonda yalina ekigendererwa eky’okujjuza ensi abantu abatuukiridde, Sitaani bwe yaleetera abantu abaasooka okujeema, yalabisa Katonda ng’eyali alemereddwa okutuukiriza ekigendererwa ekyo. (Olubereberye 1:28; Isaaya 55:10, 11) Singa Yakuwa talina kye yakolawo, bingi ku bitonde bye ebitegeera byandibuusizzabuusizza obanga mufuzi mulungi.
5 Sitaani era yayogera eby’obulimba ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa, bwe yagamba nti bamuweereza olw’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe era nti bwe bandifunye ebizibu, tewali n’omu yandisigadde nga mwesigwa eri Katonda. (Yobu 1:9-11) Ensonga ezo zaali nkulu nnyo n’okusinga embeera embi abantu gye baalimu. Yakuwa yalina okulaga nti ebyo Sitaani bye yayogera byali bya bulimba. Naye Katonda yali ayinza atya okugonjoola ensonga zino ate mu kiseera kye kimu n’anunula abantu?
Ekinunulo Ekisasulira Ekyo Kye Twafiirwa
6. Bigambo ki ebikozesebwa mu Bayibuli ebikwata ku nteekateeka Katonda gye yakola okununula abantu?
6 Enteekateeka Yakuwa gye yakozesa okugonjoolamu ensonga yali ya busaasizi ate nga ya bwenkanya nnyo, omuntu yenna gye yali tayinza na kulowoozaako. Kyokka yali nnyangu nnyo. Enteekateeka eyo eyinza okuyitibwa okutabaganya, oba okutangirira. (Zabbuli 49:8; Danyeri 9:24; Abakkolosaayi 1:20; Abebbulaniya 2:17) Naye ekigambo ekisinga okunnyonnyola obulungi enteekateeka eyo ky’ekyo Yesu kennyini kye yakozesa. Yagamba nti: “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo [Oluyonaani, lyʹtron] ku lw’abangi.”—Matayo 20:28.
7, 8. (a) Ekigambo “ekinunulo” kitegeeza ki mu Byawandiikibwa? (b) Mu ngeri ki ekinunulo gye kikwataganyizibwa n’okwenkanankana?
7 Ekinunulo kye ki? Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozeseddwa wano kiva mu kigambo ekitegeeza “okusumulula.” Ekigambo ekyo kyakozesebwanga ku ssente ezaasasulwanga okusobozesa abawambiddwa mu ntalo okusumululwa. N’olwekyo, ekinunulo kiyinza okunnyonnyolwa ng’ekyo ekisasulwa okuzzaawo ekintu. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ekigambo “ekinunulo” (koʹpher) kiva mu kigambo ekitegeeza “okubikka.” Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba Nuuwa ‘okusiiga’ oba okubikka eryato ebintu ebiyitibwa koferi. (Olubereberye 6:14) Kino kituyamba okutegeera nti ekinunulo era kitegeeza okubikka ebibi.—Zabbuli 65:3.
8 Tekyewuunyisa nti enkuluze eyitibwa Theological Dictionary of the New Testament egamba nti ekigambo kino (koʹpher) “buli lwe kikozesebwa kitegeeza ekyenkanankana oba ekirina kye kyenkanankana nakyo.” N’olwekyo, okusobola okubikka ekibi, ekisasulwa kirina okwenkanankanira ddala, oba okubikkira ddala, ekiba kyonooneddwa olw’ekibi. Bwe kityo, Amateeka Katonda ge yawa Isirayiri gaali gagamba nti: “Obulamu bunaaweebwangayo olw’obulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono, ekigere olw’ekigere.”—Ekyamateeka 19:21.
9. Lwaki abasajja abaalina okukkiriza baawaayo ssaddaaka z’ensolo, era Yakuwa yatunuulira atya ssaddaaka ezo?
9 Abasajja abeesigwa okuva ku Abbeeri n’okweyongerayo, baawaangayo ssaddaaka z’ebisolo eri Katonda. Mu kukola ekyo, baakyoleka nti boonoonyi era nti baali beetaaga okununulibwa, era bakkiririza mu kisuubizo kya Katonda eky’okununulibwa okuyitira mu ‘zzadde lye yasuubiza.’ (Olubereberye 3:15; 4:1-4; Eby’Abaleevi 17:11; Abebbulaniya 11:4) Yakuwa yasiima ssaddaaka ezo era n’ayamba abaweereza be okufuna enkolagana ennungi naye. Wadde kyali kityo, ebisolo ebyaweebwangayo byalina kye bisongako. Ebisolo byali tebiyinza kubikka bibi by’abantu, kubanga bya wansi ku bantu. (Zabbuli 8:4-8) Bwe kityo, Bayibuli egamba: “Omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.” (Abebbulaniya 10:1-4) Ssaddaaka ng’ezo kyali kifaananyi bufaananyi, oba akabonero akooleka ssaddaaka y’ekinunulo eyali ey’okujja.
‘Ekinunulo Ekyenkanankana’
10. (a) Omununuzi yali alina kwenkanankana n’ani, era lwaki? (b) Lwaki ssaddaaka ya muntu omu yekka ye yali yeetaagisa?
10 Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Bonna baafiira mu Adamu.’ (1 Abakkolinso 15:22) Bwe kityo, ekinunulo kyalina okuzingiramu okufa kw’oyo eyali yenkanankana Adamu, kwe kugamba, omuntu atuukiridde. (Abaruumi 5:14) Tewali kitonde kirala kyonna ekyandisobozesezza obwenkanya okubaawo. Omuntu atuukiridde yekka, oyo atalina kibi kya Adamu, ye yandisobodde okuwaayo “ekinunulo” ekyenkanankanira ddala obulamu obutuukiridde Adamu bwe yatufiiriza. (1 Timoseewo 2:6, obugambo obuli wansi) Kyandibadde tekyetaagisa obukadde n’obukadde bw’abantu abatuukiridde okuweebwayo nga ssaddaaka okununula buli omu ku bazzukulu ba Adamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu muntu omu [Adamu] ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.” (Abaruumi 5:12) Era okuva “okufa bwe kwayitira mu muntu,” Katonda yakola enteekateeka okununula abantu ‘okuyitira mu muntu.’ (1 Abakkolinso 15:21) Mu ngeri ki?
‘Ekinunulo ekyenkanankana ku lwa bonna’
11. (a) Omununuzi ‘yandireze atya ku kufa ku lwa buli muntu’? (b) Lwaki Adamu ne Kaawa tebandiganyuddwa mu kinunulo? (Laba obugambo obuli wansi.)
11 Yakuwa yakola enteekateeka omuntu atuukiridde aweeyo obulamu bwe kyeyagalire. Okusinziira ku Abaruumi 6:23, “empeera y’ekibi kwe kufa.” Mu kuwaayo obulamu bwe, omununuzi ‘yandireze ku kufa ku lwa buli muntu.’ Kwe kugamba, yandisasulidde ekibi kya Adamu. (Abebbulaniya 2:9; 2 Abakkolinso 5:21; 1 Peetero 2:24) Kino kyandivuddemu ebirungi bingi nnyo. Ekinunulo bwe kyandiggyewo ekibonerezo ky’okufa ekyasalirwa abaana ba Adamu abawulize, ekibi n’okufa byandibadde tebikyalina maanyi.a—Abaruumi 5:16.
12. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okusasula ebbanja gye kuyinza okuganyula abantu bangi.
12 Lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi ng’obeera mu kibuga ng’abakirimu abasinga obungi bakozesebwa mu kkolero eddene eriri mu kibuga ekyo. Ggwe ne baliraanwa bo musasulwa bulungi era obulamu bwammwe bweyagaza. Kiba bwe kityo okutuusa ekkolero eryo lwe liggalwawo. Lwaki liggalwawo? Maneja w’ekkolero eryo akumpanyizza ssente era ekyo ne kiviirako ekkolero okugwa. Olw’okuba temukyalina mirimu, ggwe ne baliraanwa bo temukyasobola kusasula bisale ebibabanjibwa. Bannammwe mu bufumbo, abaana bammwe, n’abababanja bakosebwa olw’obukumpanya bw’omuntu oyo omu. Waliwo asobola okubayamba? Yee! Nnagagga omu asalawo okuyingira mu nsonga. Amanyi omugaso gw’ekkolero eryo. Era alumirirwa abakozi baalyo abangi n’ab’omu maka gaabwe. N’olwekyo, akola enteekateeka okusasula ssente ze babanja ekkolero liddemu okuggulwawo. Okusasulibwa kw’ebbanja eryo kuleeta obuweerero eri abakozi, ab’omu maka gaabwe, n’abababanja. Mu ngeri y’emu, okusasula ebbanja lya Adamu kyaganyula obukadde n’obukadde bw’abantu.
Ani Yakola Enteekateeka y’Ekinunulo?
13, 14. (a) Yakuwa yakola atya enteekateeka ey’okuwaayo ekinunulo ku lw’abantu? (b) Ekinunulo kyasasulwa eri ani, era lwaki ekyo kyali kyetaagisa?
13 Yakuwa yekka ye yali ayinza okuwaayo “Omwana gw’Endiga . . . aggyawo ebibi by’ensi.” (Yokaana 1:29) Naye Katonda teyamala galonda malayika yenna okununula abantu. Wabula yatuma Oyo eyandisobodde okulagira ddala nti Sitaani bye yayogera ku baweereza ba Yakuwa byali bya bulimba. Mu butuufu, Yakuwa yawaayo ssaddaaka esingayo obulungi ng’atuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka, “gwe yayagalanga ennyo.” (Engero 8:30) Kyeyagalire, Omwana wa Katonda “yeggyako” ekitiibwa kye eky’omu ggulu. (Abafiripi 2:7) Mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yakyusa obulamu bw’Omwana we omubereberye eyali mu ggulu, n’abuteeka mu lubuto lw’omuwala Omuyudaaya embeerera eyali ayitibwa Maliyamu. (Lukka 1:27, 35) Omwana oyo bwe yazaalibwa yatuumibwa Yesu. Naye mu mateeka yali ayinza okuyitibwa Adamu ow’okubiri, kubanga yali yenkanankanira ddala Adamu. (1 Abakkolinso 15:45, 47) Bwe kityo, Yesu yali asobola okwewaayo nga ssaddaaka okununula abantu aboonoonyi.
14 Ani yandisasuddwa ekinunulo? Zabbuli 49:7 lugamba nti ekinunulo kyandisasuddwa eri ‘Katonda.’ Naye Yakuwa si ye yakola enteekateeka y’ekinunulo? Ye yagikola, kyokka ekyo tekifuula kinunulo kuba kintu ekiwaanyisibwa okutuusa obutuusa omukolo era ekitalina makulu, gamba ng’okuggya ssente mu nsawo yo emu n’oziteeka mu ndala. Tulina okukitegeera nti ekinunulo nkola ya mu mateeka. Mu kukola enteekateeka ey’okuwaayo ekinunulo eky’omuwendo omunene ennyo, Yakuwa yalaga nti anywerera ku bwenkanya bwe obutuukiridde.—Olubereberye 22:7, 8, 11-13; Abebbulaniya 11:17; Yakobo 1:17.
15. Lwaki kyali kyetaagisa Yesu okubonaabona n’okufa?
15 Mu mwaka gwa 33 E.E., kyeyagalire Yesu Kristo yakkiriza okubonaabona ennyo okusobola okusasula ekinunulo. Yakkiriza okukwatibwa n’avunaanibwa emisango gy’atazza, n’asingisibwa omusango, era n’akomererwa ku muti. Ddala kyali kyetaagisa Yesu okubonaabona ennyo bw’atyo? Kyali kyetaagisa, kubanga ensonga ekwata ku bwesigwa bw’omuntu yalina okugonjoolwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Katonda teyakkiriza Yesu kuttibwa Kerode ng’akyali muwere. (Matayo 2:13-18) Naye Yesu bwe yakula, yali asobola okwaŋŋanga obulumbaganyi bwa Sitaani ng’ategeera bulungi ensonga ezizingirwamu.b Olw’okusigala nga ‘mwesigwa, nga taliiko kya kunenyezebwa, nga mulongoofu, era nga tali ng’aboonoonyi,’ wadde nga yayisibwa bubi nnyo, Yesu yakiraga mu bujjuvu nti Yakuwa alina abantu abasigala nga beesigwa gy’ali wadde nga bagezesebwa. (Abebbulaniya 7:26) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yesu bwe yali agenda okufa, yagamba nti: “Kiwedde!”—Yokaana 19:30.
Okumaliriza Okuwaayo Ekinunulo
16, 17. (a) Yesu yeeyongera atya okukola omulimu gwe ogw’okununula? (b) Lwaki kyali kyetaagisa Yesu okulabika “mu maaso ga Katonda ku lwaffe”?
16 Naye Yesu yali tannamaliriza mulimu gw’okununula. Ku lunaku olw’okusatu oluvannyuma lw’okufa, Yakuwa yamuzuukiza mu bafu. (Ebikolwa 3:15; 10:40) Yakuwa okuzuukiza Yesu, yamusasula olw’okusigala nga mwesigwa, ate era n’amuwa enkizo okumaliriza omulimu ogw’okununula ng’aweereza nga Kabona Asinga Obukulu. (Abaruumi 1:4; 1 Abakkolinso 15:3-8) Omutume Pawulo yagamba nti: “Kristo bwe yajja nga kabona asinga obukulu, . . . yayingira omulundi gumu mu kifo ekitukuvu n’atufunira obulokozi obw’olubeerera, era teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nte ento ennume wabula na musaayi gwe gwennyini. . . . Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono, ekifaananyi obufaananyi eky’ekifo kyennyini, wabula yayingira mu ggulu mmwennyini, era kaakano alabika mu maaso ga Katonda ku lwaffe.”—Abebbulaniya 9:11, 12, 24.
17 Kristo yali tayinza kugenda mu ggulu na musaayi ggwe. (1 Abakkolinso 15:50) Wabula, yatwala ekyo omusaayi kye gwali gukiikirira, kwe kugamba, omuwendo gw’obulamu bwe obutuukiridde bwe yalina ng’ali ku nsi, ogwali gwetaagibwa mu mateeka. Ng’ali mu ggulu, mu maaso ga Katonda, yawaayo omuwendo gw’obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu aboonoonyi. Yakuwa yakkiriza ssaddaaka eyo? Yee, era ekyo kyeyoleka ku Pentekooti 33 E.E., omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa 120 mu Yerusaalemi. (Ebikolwa 2:1-4) Wadde ng’ekyo kyali kirungi nnyo, abantu baali batandika butandisi okuganyulwa mu nteekateeka y’ekinunulo.
Emiganyulo gy’Ekinunulo
18, 19. (a) Bibinja ki ebibiri ebiganyulwa mu kinunulo? (b) ‘Ab’ekibiina ekinene,’ baganyulwa batya mu kinunulo kati era bajja kuganyulwa batya mu biseera eby’omu maaso?
18 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolosaayi, Pawulo yagamba nti okuyitira mu musaayi gwa Kristo, Katonda yatabagana n’ebintu ebirala byonna. Era Pawulo yagamba nti okutabagana okwo kuzingiramu ebibinja bibiri, kwe kugamba, “ebintu eby’omu ggulu n’eby’oku nsi.” (Abakkolosaayi 1:19, 20; Abeefeso 1:10) Ekibinja ekisooka, kirimu Abakristaayo 144,000 abalina essuubi ery’okuweereza nga bakabona mu ggulu era n’okufuga ne Kristo Yesu nga bakabaka ku nsi. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 7:4; 14:1-3) Okuyitira mu bo, mpolampola emiganyulo gy’ekinunulo gijja kutuuka ku bantu abawulize mu bbanga ery’emyaka olukumi.—1 Abakkolinso 15:24-26; Okubikkulirwa 20:6; 21:3, 4.
19 Ebintu “eby’oku nsi” be bantu abasuubira okufuna obulamu obutuukiridde mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Okubikkulirwa 7:9-17, luboogerako ‘ng’ekibiina ekinene’ ekinaawonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja. Naye tekibeetaagisa kulinda okusobola okufuna emiganyulo gy’ekinunulo. Baamala dda ‘okwoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.’ Olw’okuba bakkiririza mu kinunulo, ne mu kiseera kino bafuna emiganyulo egy’eby’omwoyo okuva mu nteekateeka eno ey’okwagala. Baweereddwa obutuukirivu nga mikwano gya Katonda! (Yakobo 2:23) Olwa ssaddaaka ya Yesu, ‘basemberera entebe ey’ekisa eky’ensusso nga tebaliimu kutya kwonna.’ (Abebbulaniya 4:14-16) Bwe basobya, basonyiyibwa ddala. (Abeefeso 1:7) Wadde nga tebatuukiridde, balina omuntu ow’omunda omuyonjo. (Abebbulaniya 9:9; 10:22; 1 Peetero 3:21) Bwe kityo, okutabagana ne Katonda si kintu kye tulinda obulinzi, wabula kintu ekiriwo ddala leero! (2 Abakkolinso 5:19, 20) Mu myaka olukumi, mpolampola abantu bajja “kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda” era mu nkomerero ‘bafune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.’—Abaruumi 8:21.
20. Okufumiitiriza ku kinunulo kikukwatako kitya kinnoomu?
20 ‘Twebaza nnyo Katonda okuyitira mu Yesu Kristo’ olw’okutuwa ekinunulo! (Abaruumi 7:25) Enteekateeka y’ekinunulo nnyangu, kyokka eyoleka amagezi ga Yakuwa amangi ennyo. (Abaruumi 11:33) Bwe tukifumiitirizaako era ne tukisiima, kikwata ku mitima gyaffe ne kitwagazisa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda ow’obwenkanya. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tulina ensonga ennungi etuleetera okutendereza Yakuwa “ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.”—Zabbuli 33:5.
a Adamu ne Kaawa baali tebayinza kuganyulwa mu kinunulo. Amateeka ga Musa gaawa omusingi guno ogukwata ku oyo eyattanga omuntu mu bugenderevu: “Temukkirizanga kinunulo kiweebwayo ku lw’omutemu agwanira okufa.” (Okubala 35:31) Kya lwatu, Adamu ne Kaawa baali basaanidde okufa kubanga mu bugenderevu baajeemera Katonda. Bwe kityo, baafiirwa enkizo ey’okufuna obulamu obutaggwaawo.
b Okusobola okusasulira ddala mu bujjuvu ekibi kya Adamu, Yesu yalina okufa ng’omusajja atuukiridde, so si ng’omwana omuwere atuukiridde. Kijjukire nti Adamu yayonoona mu bugenderevu, era ng’amanyi bulungi n’ekyandivuddemu. N’olwekyo, okusobola okubeera “Adamu ow’oluvannyuma” n’okubikka ekibi ekyo, Yesu yalina okuba ng’afuuse muntu mukulu ng’ategeera bulungi ekyo kye yasalawo eky’okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. (1 Abakkolinso 15:45, 47) N’olwekyo, ekyo Yesu kye yakola eky’okusigala nga mwesigwa mu buli mbeera n’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, Bayibuli ekiyita ‘ekikolwa kimu eky’obutuukirivu.’—Abaruumi 5:18, 19.