Oluyimba 31
Tuli Bajulirwa ba Yakuwa!
1. Abantu beekolera,
Bakatonda bangi nnyo.
Naye tebamanyi,
Ow’amazima.
Bakatonda ’balala
Tebayinza kumanya
Ebiribeerawo mu maaso;
Kuba bo si ba mazima.
(CHORUS)
Ffe tuli Bajulirwa
Ba Yakuwa Katonda.
Ye wa bunnabbi bwa mazima;
By’ayogera bibaawo.
2. Tufaayo ’kumanyisa,
Erinnya lya Katonda,
N’obwakabaka bwe,
Tububuulira.
Amazima gafuula
Abantu ab’eddembe.
Era nabo batwegattako;
Okumutenda Yakuwa.
(CHORUS)
Ffe tuli Bajulirwa
Ba Yakuwa Katonda.
Ye wa bunnabbi bwa mazima;
By’ayogera bibaawo.
3. Bwe tuwa ’bujulirwa,
Ku linnya lya Katonda,
Tulabula ’babi,
Abalivvoola.
’Bantu bwe badda gy’ali,
Katonda asonyiwa.
Okubuulira ne kuleeta
Essuubi ery’obulamu.
(CHORUS)
Ffe tuli Bajulirwa
Ba Yakuwa Katonda.
Ye wa bunnabbi bwa mazima;
By’ayogera bibaawo.
(Era laba Is. 37:19; 55:11; Ez. 3:19.)