Oluyimba 33
Temubatyanga!
1. Abantu bange mugende,
’Njiri mugibuulire.
Temutyanga balabe.
Bonna mubamanyise
Nti Omwana wange Kristo,
Ku nsi kuno yasuula,
Sitaani Omulyolyomi,
Era wa kumusiba.
(CHORUS)
Temutyanga abalabe,
Wadde nga batiisa nnyo.
Nja kukuuma omwesigwa;
Gye ndi wa muwendo nnyo.
2. Abalabe ka babeere,
Ba maanyi, nga batiisa,
Wadde beewoomyawoomya,
Okukwasa ’bajega,
Temubatyanga n’akamu,
Temutekemukanga;
Nja kuyamba abeesigwa,
Bawangulire ddala.
(CHORUS)
Temutyanga abalabe,
Wadde nga batiisa nnyo.
Nja kukuuma omwesigwa;
Gye ndi wa muwendo nnyo.
3. Nze maanyi go n’engabo yo;
Totya nti nkwerabidde.
Ne bw’ofiira ku ttale,
Ndikuggya emagombe.
Tebazikiriza mmeeme,
Abatta omubiri.
Era ggwe beera mwesigwa;
Weewalenga obubi!
(CHORUS)
Temutyanga abalabe,
Wadde nga batiisa nnyo.
Nja kukuuma omwesigwa;
Gye ndi wa muwendo nnyo.
(Era laba Ma. 32:10; Nek. 4:14; Zab. 59:1; 83:2, 3.)