LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 6/15 lup. 7-11
  • Yagala Nnyo Ennyumba ya Yakuwa!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yagala Nnyo Ennyumba ya Yakuwa!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ennyumba ya Katonda​—Mu Kiseera eky’Edda ne mu Kino
  • Okuweereza n’Omutima Gwonna Kivaamu Emikisa
  • Tulabirire Ebifo Byaffe Gye Tukuŋŋaanira
  • Gondera Obulagirizi Obuva eri Katonda
  • Kolera ku Bulagirizi Obukuweebwa
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • ‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 6/15 lup. 7-11

Yagala Nnyo Ennyumba ya Yakuwa!

“Okwagala ennyo ennyumba yo kulindya.”​—YOK. 2:17.

1, 2. Yesu yakola ki ng’agenze mu yeekaalu mu 30 E.E., era lwaki?

KUBA akafaananyi ng’embaga y’Okuyitako eya 30 Embala Eno (E.E.) etuuse, era nga waakayita emyezi mukaaga bukya Yesu atandika buweereza bwe. Kati atuuse e Yerusaalemi, era ali mu Luggya lw’Ab’amawanga awali “abatunda ente, endiga, n’enjiibwa, era n’abawaanyisa ssente nga batudde mu bifo byabwe.” Akwata emiguwa n’akolamu embooko era n’agoba ebisolo byonna awamu n’ababitunda n’ababigula. Yesu era ayiwa ssente z’abavungisa ssente n’avuunika emmeeza zaabwe. Alagira n’abo abatunda enjiibwa okuggyawo ebintu byabwe bagende.​—Yok. 2:13-16.

2 Bino byonna Yesu abikola olw’okulumirirwa yeekaalu. Abagamba nti: “Ennyumba ya Kitange mulekere awo okugifuula ey’okusuubuliramu!” Abayigirizwa ba Yesu bwe balaba ebyo byonna, bajjukira ebigambo bino Dawudi bye yawandiika emyaka mingi emabega: “Okwagala ennyo ennyumba yo kulindya.”​—Yok. 2:16, 17; Zab. 69:9.

3. (a) Okwagala ennyo ekintu kizingiramu ki? (b) Kiki kye tuyinza okwebuuza?

3 Okulumirirwa ennyumba ya Katonda, oba okugyagala ennyo, kye kyaleetera Yesu okukola ebintu ebyo. Okwagala ennyo ekintu kizingiramu “okukyettanira oba okukikola n’obunyiikivu.” Mu kyasa kino ekya 21, Abakristaayo abaagala ennyo ennyumba ya Katonda basukka mu bukadde omusanvu. Kati buli omu ku ffe ayinza okwebuuza nti, ‘Nsobola ntya okwongera ku kwagala kwe nnina eri ennyumba ya Yakuwa?’ Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tusooke twetegereze ennyumba ya Katonda y’eruwa mu kiseera kino. Oluvannyuma tujja kulaba ebyokulabirako by’abasajja aboogerwako mu Baibuli abaali baagala ennyo ennyumba ya Katonda. Ebyokulabirako byabwe byawandiikibwa “okutuyigiriza” era bisobola okutukubiriza okuba n’okwagala okusinga kwe tulina kati.​—Bar. 15:4.

Ennyumba ya Katonda​—Mu Kiseera eky’Edda ne mu Kino

4. Yeekaalu Sulemaani gye yazimba yali ya ki?

4 Mu Isiraeri ey’edda, ennyumba ya Katonda ye yali yeekaalu mu Yerusaalemi. Kya lwatu nti Yakuwa omwo si mwe yabeeranga. Ye kennyini yagamba nti: “Eggulu ye ntebe yange, n’ensi ye ntebe y’ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? Era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?” (Is. 66:1) Wadde kyali kityo, yeekaalu eyo Sulemaani gye yazimba kye kyali ekifo ekikulu abantu mwe baasinzizanga Yakuwa n’okumusaba.​—1 Bassek. 8:27-30.

5. Okusinza okwabanga mu yeekaalu ya Sulemaani kwali kukiikirira nteekateeka ki eriwo leero?

5 Leero, ennyumba ya Yakuwa si kizimbe buzimbe ekiri mu Yerusaalemi oba awantu awalala wonna, wabula ye nteekateeka ey’okusinza Yakuwa okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo. Abaweereza ba Yakuwa bonna abeesigwa ku nsi bassa kimu nga bamusinza mu yeekaalu eno ey’eby’omwoyo.​—Is. 60:4, 8, 13; Bik. 17:24; Beb. 8:5; 9:24.

6. Bakabaka ki aba Yuda abaali baagala ennyo okusinza okw’amazima?

6 Oluvannyuma lwa Isiraeri okwekutulamu ebitundu bibiri mu 997 ng’Embala Eno Tennatandika (E.E.T.), bakabaka 4 ku abo 19 abaafuga Yuda baali baagala nnyo okusinza okw’amazima. Abana abo ye Asa, Yekosofaati, Keezeekiya, ne Yosiya. Bikulu ki bye tubayigirako?

Okuweereza n’Omutima Gwonna Kivaamu Emikisa

7, 8. (a) Yakuwa tulina kumuweereza mu ngeri ki okusobola okufuna emikisa gye? (b) Kiki kye tuyigira ku Kabaka Asa?

7 Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Asa, Yakuwa yateekawo bannabbi bayambe eggwanga Lye okutambulira mu kkubo eddungi. Ng’ekyokulabirako, Baibuli egamba nti Asa yawulirizanga nnabbi Azaliya, mutabani wa Obedi. (Soma 2 Ebyomumirembe 15:1-8.) Asa yaleeta enkyukakyuka ezaayamba abantu ba Yuda okuba obumu, era n’abalala bangi bava mu bwakabaka bwa Isiraeri ne bajja mu lukuŋŋaana olunene olwali e Yerusaalemi. Bonna awamu baagamba nti baali bamaliridde okusinza Yakuwa n’obwesigwa. Tusoma nti: “Ne balayirira Mukama n’eddoboozi ddene n’okwogerera waggulu n’amakondeere n’eŋŋombe. Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya n’okwagala kwabwe kwonna; ne bamulaba: Mukama n’abawa okuwummula enjuyi zonna.” (2 Byom. 15:9-15) Naffe Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi bwe tunaamuweereza n’omutima gwaffe gwonna.​—Mak. 12:30.

8 Kya nnaku nti oluvannyuma Asa yakwatibwa obusungu nga Kanani omulabi amulaze ensobi ye. (2 Byom. 16:7-10) Ffe tweyisa tutya Yakuwa bw’atuwabula oba bw’atuwa obulagirizi okuyitira mu bakadde? Tuwuliriza era ne tukolera ku kubuulirira okwo okuba kwesigamiziddwa ku Baibuli, oba naffe tunyiiga bunyiizi?

9. Kizibu ki ekyayolekera Yekosofaati n’eggwanga lya Yuda, era baakola ki?

9 Kabaka Yekosofaati yafuga Yuda mu kyasa eky’ekkumi E.E.T., era ye n’eggwanga lya Yuda baalumbibwa eggye eryalimu Abamoni, Abamowaabu, n’abantu b’omu nsozi za Seyiri. Kabaka oyo yakola ki wadde nga yali atidde nnyo? Ye n’abasajja be, awamu ne bakazi bwabwe n’abaana, baakuŋŋaanira mu nnyumba ya Yakuwa ne basaba. (Soma 2 Ebyomumirembe 20:3-6.) Ng’akolera ku bigambo Sulemaani bye yayogera ng’awaayo yeekaalu, Yekosofaati yasaba Yakuwa nti: “Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? Kubanga tetulina maanyi n’akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe.” (2 Byom. 20:12, 13) Yekosofaati bwe yamala okusaba, awo wennyini “wakati mu kibiina,” omwoyo gwa Yakuwa ne gujja ku Yakaziyeeri Omuleevi era n’ayogera ebigambo ebyabudaabuda abantu n’okubagumya.​—Soma 2 Ebyomumirembe 20:14-17.

10. (a) Yekosofaati n’eggwanga lya Yuda baafuna batya obulagirizi? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima obulagirizi Yakuwa bw’atuwa leero?

10 Yee, Yekosofaati n’abantu ba Yuda baafuna obulagirizi bwa Yakuwa okuyitira mu Yakaziyeeri. Leero tubudaabudibwa era ne tufuna obulagirizi okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi. N’olwekyo, tusaanidde okugondera n’okuwa abakadde ekitiibwa, abafuba okutulunda n’okututuusaako obulagirizi obuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”​—Mat. 24:45; 1 Bas. 5:12, 13.

11, 12. Kiki kye tuyiga mu kyokulabirako kya Yekosofaati n’eggwanga lya Yuda?

11 Nga Yekosofaati n’abantu be bwe baakuŋŋaana ne basaba Yakuwa okubawa obulagirizi, naffe tusaanidde okujjumbira okukuŋŋaana awamu ne baganda baffe ne bannyinnaffe. Bwe twesanga mu bizibu eby’amaanyi nga tetumanyi kya kukola, tusaanidde okugoberera ekyokulabirako kya Yekosofaati n’abantu ba Yuda nga tusaba Yakuwa era nga tumussaamu obwesige. (Nge. 3:5, 6; Baf. 4:6, 7) Ne bwe tuba mu kifo ekyesudde, okusaba Yakuwa kitugatta ne “baganda [baffe] bonna abali mu nsi.”​—1 Peet. 5:9.

12 Yekosofaati n’abantu be baagoberera obulagirizi Katonda bwe yabawa okuyitira mu Yakaziyeeri. Kiki ekyavaamu? Olutalo baaluwangula ne bakomawo e Yerusaalemi ‘mu nnyumba ya Mukama nga basanyuka, nga bakuba entongooli n’ennanga, era nga bafuuwa amakondeere.’ (2 Byom. 20:27, 28) Naffe bwe tutyo tugondera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye era twenyigira mu kumutendereza.

Tulabirire Ebifo Byaffe Gye Tukuŋŋaanira

13. Mulimu ki Keezeekiya gwe yakola ku ntandikwa y’obufuzi bwe?

13 Mu mwezi ogwasooka ogw’obufuzi bwe, Keezeekiya yalaga nti ayagala nnyo okusinza Yakuwa bwe yaggulawo yeekaalu n’eddamu okukozesebwa era n’agiddaabiriza. Yakunga bakabona n’Abaleevi ne balongoosa ennyumba ya Katonda. Omulimu guno baagukolera mu nnaku 16 zokka. (Soma 2 Ebyomumirembe 29:16-18.) Kino kifaananako n’omulimu gwe tukola mu kuyonja n’okuddaabiriza ebifo mwe tukuŋŋaanira, ekyoleka nti twagala nnyo okusinza Yakuwa. Ggwe towulirangako byakulabirako biraga nti abantu bakwatibwako nnyo nga balabye obunyiikivu bw’ab’oluganda abeenyigira mu mirimu ng’egyo? Yee, obunyiikivu bwabwe buweesa Yakuwa ettendo ery’amaanyi.

14, 15. Mulimu ki oguleetedde ennyo Yakuwa ettendo? Waayo ebyokulabirako.

14 Mu kibuga ekimu ekiri mu bukiika kkono bwa Bungereza, waaliwo omusajja eyali awakanya eky’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka ekyali kiriraanye ewuwe. Naye ab’oluganda mu kitundu ekyo baamukwata bulungi. Bwe baalaba ekikomera ekyali wakati w’ennyumba ye n’Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kyetaaga okuddaabiriza, baamusaba ne bakirongoosa nga tebamusabye ssente yonna. Baakola na bunyiikivu, era kumpi ekisenge kyonna baazimba kipya. Engeri eyo ennungi ab’oluganda gye baakwatamu embeera yaleetera omusajja oyo okukyusa endowooza ye. Kati afaayo nnyo okulaba nti Ekizimbe ky’Obwakabaka ekyo tekibaako kabi konna.

15 Abantu ba Yakuwa beenyigira mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa okwetooloola ensi. Bannakyewa okuva mu bitundu ebiba okumpi n’ekifo awaba wazimbibwa beegatta ku bazimbi ab’ekiseera kyonna abava mu nsi ezitali zimu ne bazimba Ebizimbe by’Obwakabaka, Ebizimbe by’Ekuŋŋaana Ennene n’amaka ga Beseri. Sam, yinginiya omukugu mu byuma ebitambuza empewo mu bizimbe awamu ne mukyala we Ruth beenyigidde mu mulimu gw’okuzimba mu nsi eziwerako ez’omu Bulaaya ne mu Africa. Bafuna essanyu lingi okukolera awamu n’ab’oluganda mu bitundu ebyo mu kubuulira amawulire amalungi. Sam annyonnyola bw’ati ekyamusikiriza okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu nsi ezitali zimu: “Ab’oluganda abaweereza mu maka ga Beseri wano ewaffe ne mu nsi endala be bankubiriza. Okulaba obulabi essanyu lye baalina n’obunyiikivu bwabwe kyandeetera okwagala okuyingira mu buweereza ng’obwo.”

Gondera Obulagirizi Obuva eri Katonda

16, 17. Abantu ba Katonda bakoze kaweefube ki, era biki ebivuddemu?

16 Ng’oggyeko okuddaabiriza yeekaalu, Keezeekiya yazzaawo okukwata embaga ey’Okuyitako buli mwaka nga Yakuwa bwe yali yalagira. (Soma 2 Ebyomumirembe 30:1, 4, 5.) Keezeekiya n’abatuuze b’omu Yerusaalemi baayita abantu b’eggwanga lyonna okubaawo, nga mw’otwalidde n’ab’omu bwakabaka bw’omu bukiika kkono. Abaddusi baatumibwa okugenda mu bitundu by’eggwanga byonna okutwala amabaluwa agayita abantu.​—2 Byom. 30:6-9.

17 Naffe leero tukola kaweefube afaananako bw’atyo. Nga tugondera ekiragiro kya Yesu, tukozesa obupapula obukubiddwa obulungi ne tuyita abantu ababeera mu bitundu byaffe okutwegattako mu kujjukira okufa kwa Mukama waffe. (Luk. 22:19, 20) Tuweebwa obulagirizi mu Nkuŋŋaana zaffe ez’Obuweereza era twenyigira mu kaweefube oyo n’obunyiikivu. Nga Yakuwa atuwadde emikisa mingi olw’okufuba bwe tutyo! Omwaka oguwedde, ababuulizi obukadde nga musanvu beenyigira mu kuyita abantu, era abantu 17,790,631 baaliwo ku mukolo ogwo!

18. Lwaki okwagala ennyo okusinza okw’amazima kikulu gy’oli?

18 Keezeekiya ayogerwako bw’ati: “Yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri; awo oluvannyuma lwe ne wataba amufaanana mu bakabaka bonna aba Yuda so si mu abo abaamusooka. Kubanga [yanywerera ku] Mukama, teyaleka kumugoberera naye n’akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa.” (2 Bassek. 18:5, 6) Naffe tusaanidde okugoberera ekyokulabirako ekyo. Okwagala ennyo ennyumba ya Katonda kijja kutuyamba ‘okunywerera ku Yakuwa’ nga bwe tulindirira okufuna obulamu obutaggwawo.​—Ma. 30:16.

Kolera ku Bulagirizi Obukuweebwa

19. Kufuba kwa ngeri ki okubaawo ng’Ekijjukizo kituuse?

19 Ne Yosiya bwe yali afuga nga kabaka yakola enteekateeka ez’amaanyi ez’okukwata embaga y’Okuyitako. (2 Bassek. 23:21-23; 2 Byom. 35:1-19) Naffe tufuba okulaba nti tuteekateeka bulungi enkuŋŋaana ennene n’omukolo gw’Ekijjukizo. Ab’oluganda mu nsi ezimu bakuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu, ne bwe kiba nti okukikola kiteeka obulamu bwabwe mu kabi. Abakadde bafuba okulaba nti buli omu abeerawo, era bannamukadde n’abo abalina obulemu bayambibwa okubaawo ku mukolo ogwo.

20. (a) Kiki ekyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Yosiya, era yakola ki? (b) Ekyo tukiyigamu ki?

20 Mu kiseera Kabaka Yosiya we yakolera kaweefube ow’okuzzaawo okusinza okw’amazima, Kabona Omukulu Kirukiya ‘yazuula ekitabo ky’amateeka ga Mukama agaaweerwa mu mukono gwa Musa.’ Ekitabo ekyo yakikwasa Safani omuwandiisi wa kabaka, naye n’akisomera Kabaka Yosiya. (Soma 2 Ebyomumirembe 34:14-18.) Kiki ekyavaamu? Amangu ago kabaka yayuza ekyambalo kye olw’ennaku ennyingi era yalagira basajja be bagende beebuuze ku Yakuwa. Ng’ayitira mu nnabbi omukazi Kuluda, Katonda yalaga nti yali munyiivu olw’ebintu ebimu ebyali bikolebwa mu kusinza mu Yuda. Kyokka Yakuwa yasiima Yosiya olwa kaweefube gwe yakola okuggyawo okusinza okw’obulimba, wadde ng’eggwanga lyonna okutwalira awamu yali agenda kulibonereza. (2 Byom. 34:19-28) Kino tukiyigamu ki? Awatali kubuusabuusa, tulina okuba n’endowooza ng’eya Yosiya. Kiba kirungi okukolera amangu ku bulagirizi bwa Yakuwa, tusobole okwewala ebizibu ebiva mu kuleka obwakyewaggula n’obutali bwesigwa okuyingirira okusinza kwaffe. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kusanyuka nga tulaze obunyiikivu mu kusinza okw’amazima, nga bwe kyali ku Yosiya.

21, 22. (a) Lwaki tusaanidde okwagala ennyo ennyumba ya Yakuwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?

21 Bakabaka abo bonna abana​—Asa, Yekosofaati, Keezeekiya, ne Yosiya​—baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwagala ennyumba ya Katonda n’okusinza okw’amazima. Okwagala okw’engeri eyo naffe kwandituleetedde okwesiga ennyo Yakuwa n’okuba abanyiikivu mu kumusinza. Yee, okukolera ku bulagirizi obuva eri Katonda n’okuwuliriza amagezi agatuweebwa abakadde mu kibiina kivaamu essanyu.

22 Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku ngeri gye tuyinza okulagamu obunyiikivu mu buweereza bwaffe, era kijja kukubiriza abavubuka okuweereza Kitaffe ow’omu ggulu n’obunyiikivu. Tujja kulaba n’engeri gye tuyinza okwewalamu ekimu ku bintu Setaani by’asinga okukozesa okutusuula. Bwe tukolera ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza, tuba tukoppa ekyokulabirako ky’Omwana we Yesu eyayogerwako nti: “Okwagala ennyo ennyumba yo kundidde.”​—Zab. 69:9, NW; 119:111, 129; 1 Peet. 2:21.

Ojjukira?

• Kuweereza kwa ngeri ki Yakuwa kw’awa omukisa, era lwaki?

• Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa?

• Okwagala ennyo ennyumba ya Katonda kuyinza kutya okutuleetera okugondera obulagirizi obuva gy’ali?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Asa, Yekosofaati, Keezeekiya, ne Yosiya baalaga batya nti baali baagala nnyo ennyumba ya Yakuwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share