Oluyimba 59
Twewaddeyo Eri Katonda!
Printed Edition
1. Eri Kristo, Yakuwa atuleese ffe,
Tufuuse bayigirizwa be.
Ekitangaala kyase,
Kiva eri Yakuwa.
Okukkiriza kwaffe
Kweyongeredde ddala nnyo.
(CHORUS)
Twewaayo eri Katonda; Twasalawo.
Tusanyukira mu ye ne Yesu.
2. Tutegeezezza Yakuwa mu ssaala nti
Tunamuweereza bulijjo.
Nga ssanyu lya nsusso nnyo,
Ffe okubuuliranga,
Erinnya lya Yakuwa,
N’enjiri y’Obwakabaka!
(CHORUS)
Twewaayo eri Katonda; Twasalawo.
Tusanyukira mu ye ne Yesu.
(Era laba Zab. 43:3; 107:22; Yok. 6:44.)