Oluyimba 63
Laga Obunywevu
Printed Edition
1. ’Kunywerera ku Yakuwa,
Tukyettanira nnyo ffe.
Ng’abantu be, twagala nnyo,
’Kumanya ’mateeka ge.
’Magezi ge geesigika,
Tugakolerengako.
Ye mwesigwa; Tumwesige.
Tumunywererengako.
2. Nywerera ku b’oluganda,
Tobeeyawulangako.
Bakufaako, beesigika,
Ate nga ba kisa nnyo.
Tubawenga ekitiibwa,
Baganda baffe bonna.
Baibuli etugasse;
Tetubaabuliranga.
3. Tova ku bulagirizi
’Buva mu b’oluganda.
Bwe batuwa amagezi
Tuleme kuganyooma.
Omukisa gwa Yakuwa
Gujja kubeera naffe.
Tubeerenga abeesigwa,
Yakuwa atusiime.
(Era laba Zab. 149:1; 1 Tim. 2:8; Beb. 13:17.)