LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lr sul. 13 lup. 72-76
  • Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu
  • Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Similar Material
  • Yesu Atandika Okufuna Abayigirizwa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Alonda Abatume Kkumi na Babiri
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Ayigiriza ku Lusozi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Yigira ku Muyigiriza Omukulu
lr sul. 13 lup. 72-76

ESSUULA 13

Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu

Nassanayiri (era ayitibwa Battolomaayo) atudde wansi w’omuti

Omusajja ono y’ani, era yafuuka atya omuyigirizwa wa Yesu?

OLOWOOZA ani muweereza wa Katonda asingayo okuba omulungi mu bonna abaali babaddewo?— Kituufu, ye Yesu Kristo. Olowooza tusobola okubeera nga ye?— Bayibuli egamba nti yatuteerawo ekyokulabirako eky’okugoberera. Era ayagala tubeere bayigirizwa be.

Omanyi ebizingirwa mu kuba omuyigirizwa wa Yesu?— Muzingiramu ebintu bingi. Ekisooka, tulina okumuyigirako. Naye ekyo si kye kyokka kye tulina okukola. Era tulina n’okukkiriza ebyo by’atugamba. Bwe tubikkiriza, awo tujja kusobola okubikola.

Abantu bangi bagamba nti bakkiririza mu Yesu. Naye olowooza bonna bayigirizwa be?— Nedda, abasinga obungi si bayigirizwa be. Bayinza n’okuba nga bagenda mu masinzizo. Kyokka bangi ku bo tebawangayo kiseera kuyiga ebyo Yesu bye yayigiriza. Mazima ddala, abo bokka abagoberera ekyokulabirako kya Yesu be bayigirizwa be.

Ka twogere ku abo abaali abayigirizwa ba Yesu ng’akyali ku nsi. Omu ku abo abaasooka okufuuka abayigirizwa be ye Firipo. Firipo yagenda n’ayita mukwano gwe Nassanayiri (era ayitibwa Battolomaayo), gw’olaba mu kifaananyi ng’atudde wansi w’omuti. Nassanayiri bwe yajja eri Yesu, Yesu yamugamba nti: ‘Laba, omusajja omwesigwa, Omuisiraeri yennyini.’ Nassanayiri yeewuunya era n’amubuuza nti: “Kijja kitya okuba nti ommanyi?”

Yesu ayita Yakobo ne Yokaana babeere bagoberezi be era Peetero ne Andereya bamutunuulidde

Baani bano Yesu bayita babeere abayigirizwa be?

Yesu yamuddamu nti, “Nnakulabye ng’otudde wansi w’omutiini nga Firipo tannakuyita.” Nassanayiri yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yali amanyi bulungi we yali, n’olwekyo Nassanayiri yamugamba nti: “Oli Mwana wa Katonda, era Kabaka wa Isiraeri.”—Yokaana 1:49.

Yuda Isukalyoti, Yuda (era ayitibwa Saddyo), ne Simooni

Yuda Isukalyoti, Yuda (era ayitibwa Saddayo), Simooni

Waliwo abalala abaasooka Firipo ne Nassanayiri okufuuka abayigirizwa ba Yesu. Mu bano mwalimu Andereya ne mukulu we Peetero era ne Yokaana ne mukulu we Yakobo. (Yokaana 1:35-51) Kyokka oluvannyuma, abayigirizwa bano abana baddamu okukola omulimu gwabwe ogw’obuvubi. Lumu Yesu bwe yali atambula ku lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, yalaba Peetero ne Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja. Yesu n’abagamba nti: “Mungoberere.”

Yakobo (mutabani wa Alufaayo), Tomasi, ne Matayo

Yakobo (mutabani wa Alufaayo), Tomasi, Matayo

Yesu bwe yeeyongerako katono mu maaso, yalaba Yakobo ne Yokaana. Baali mu lyato ne kitaabwe nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Nabo Yesu yabayita bamugoberere. Kiki kye wandikoze nga Yesu akuyise? Amangu ago wandimugoberedde?— Abasajja bano baali bamanyi bulungi Yesu. Baali bamanyi nti Katonda ye yamutuma. N’olwekyo amangu ago baaleka omulimu gwabwe ogw’obuvubi ne bagoberera Yesu.​—Matayo 4:18-22.

Nassanayiri, Firipo, ne Yokaana

Nassanayiri, Firipo, Yokaana

Abasajja bano bwe baafuuka abagoberezi ba Yesu, olowooza baakolanga birungi byereere?— Nedda. Oyinza n’okuba ng’ojjukira nti abasajja bano baakaayanako bokka na bokka ani ku bo eyali asinga obukulu. Naye baawuliriza Yesu, era baali beetegefu okukyusa endowooza zaabwe n’enneeyisa yaabwe. Naffe tusobola okuba abayigirizwa ba Yesu singa tuba abeetegefu okukola enkyukakyuka mu ngeri gye tweyisaamu.

Yakobo (muganda wa Yokaana), Andereya, ne Peetero

Yakobo (muganda wa Yokaana), Andereya, Peetero

Yesu yayita abantu aba buli ngeri okubeera abayigirizwa be. Lumu, omufuzi omuto omugagga yajja eri Yesu n’amubuuza ky’asaanidde okukola okufuna obulamu obutaggwawo. Omufuzi oyo omugagga bwe yagamba nti abadde akwata ebiragiro bya Katonda okuva mu buto bwe, Yesu yamugamba nti: ‘Ngoberera.’ Omanyi kye yakola?—

Omusajja oyo yanakuwala nnyo bwe yakitegeera nti okubeera omuyigirizwa wa Yesu kyali kikulu nnyo okusinga okuba omugagga. Teyafuuka muyigirizwa wa Yesu kubanga yali ayagala nnyo ssente okusinga Katonda.​—Lukka 18:18-25.

Oluvannyuma lw’okumala omwaka gumu n’ekitundu ng’abuulira, Yesu yalonda 12 ku bayigirizwa be n’abayita abatume. Abatume baali basajja be yatumanga okukola emirimu emikulu. Omanyi amannya gaabwe?— Ka tugezeeko okugayiga. Tunuulira ebifaananyi byabwe, olabe oba ng’osobola okwogera amannya gaabwe. Kati gezaako okwogera amannya gaabwe nga totunudde mu kitabo.

Abakazi abaafuuka abagoberezi ba Yesu batambula naye, booza engoye ze, era bamufumbira emmere

Abakazi bano abaayambanga Yesu ng’agenze okubuulira, be baani?

Nga wayiseewo ekiseera, omu ku batume 12 yafuuka mubi. Yali Yuda Isukalyoti. Oluvannyuma, omuyigirizwa omulala yalondebwa okuba omutume. Omanyi erinnya lye?— Yali Matiya. Era oluvannyuma lw’ekiseera, Pawulo ne Balunabba nabo balondebwa okuba abatume, naye tebaali ku bali 12.​—Ebikolwa 1:23-26; 14:14.

Nga bwe twayiga mu Ssuula 1 ey’ekitabo kino, Yesu yali ayagala nnyo abaana abato. Lwaki?— Kubanga yali akimanyi nti nabo basobola okufuuka abayigirizwa be. Mu butuufu, abaana basobola okwogera ku bintu ebiyinza n’okuleetera abantu abakulu okuwuliriza era n’okwagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Muyigiriza Omukulu.

Era waliwo n’abakazi bangi abaafuuka abayigirizwa ba Yesu. Abamu baatambulanga naye ng’agenda okubuulira mu bibuga ebirala. Mu bano mwalimu Maliyamu Magudaleena, Yowaana, ne Susaana. Bayinza n’okuba nga baamufumbiranga emmere era ne bamwoleza n’engoye.​—Lukka 8:1-3.

Oyagala okubeera omuyigirizwa wa Yesu?— Jjukira nti tekimala okugamba obugambi nti tuli bayigirizwa be. Tulina okweyisa ng’abayigirizwa ba Yesu wonna we tubeera, so si nga tuli mu nkuŋŋaana za Kikristaayo mwokka. Olowooza ludda wa awalala gye tulina okweyisiza ng’abayigirizwa ba Yesu?—

Yee, tusaanidde okweyisa ng’abayigirizwa ba Yesu nga tuli awaka ne ku ssomero. Nze naawe tulina okukijjukira nti okusobola okuba abayigirizwa ba Yesu aba nnamaddala, buli lunaku tulina okweyisa nga Yesu bwe yeeyisanga, ka tube nga tuli ludda wa.

Omulenzi ali ku ssomero assoma, banne beeyisa bubi

Ludda wa gye tulina okweyisiza ng’abayigirizwa ba Yesu?

Kati musome ebyo Bayibuli by’eyogera ku bayigirizwa ba Yesu, mu Matayo 28:19, 20; Lukka 6:13-16; Yokaana 8:31, 32; ne 1 Peetero 2:21.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share