Oluyimba 86
Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo
Printed Edition
1. Saala, Eseza, Luusi n’abalala—
Baali bakyala beesigwa nnyo ddala.
Baalaga nti baagala nnyo Katonda.
Yakuwa yasiima ’bakyala abo.
N’abalala bangi yabasiima,
Abaayoleka okukkiriza ng’okwo.
2. Obwesigwa, obuvumu, n’ekisa,
’Ngeri ezaagalwa abantu ffenna;
Abakyala abo baazoolekanga.
Baali kyakulabirako kirungi.
Ne bannyinaffe ababakoppa,
Musiimibwa era ’ssanyu lyammwe lingi.
3. Abawala n’abakyala ’bakulu,
Abakola ebyo ebigwanira,
Abawulize era ’beetoowaza,
Mwagala okusiimibwa Katonda.
Era Yakuwa k’abakuumenga,
Nga mukakasa nti ‘mpeera yammwe ejja.
(Era laba Baf. 4:3; 1 Tim. 2:9, 10; 1 Peet. 3:4, 5.)